Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Samwiri 10

10 (A)Awo Samwiri n’addira eccupa ey’amafuta n’agifuka ku mutwe gwa Sawulo, n’amunywegera ng’agamba nti, “Mukama akufuseeko amafuta okufuga abantu be, Isirayiri. (B)Bw’onoova wano leero, onoosisinkana abasajja babiri okumpi n’amalaalo ga Laakeeri, e Zereza ku nsalo ya Benyamini, banaakugamba nti, ‘Endogoyi ze wagenda okunoonya zaalabise. Kitaawo kaakano takyalowooza ku ndogoyi, naye, yeeraliikirira ggwe, nga yeebuuza nti, “Ebya mutabani wange mbikole ntya?” ’ 

(C)“Bw’onoova awo, ne weeyongerayo okutuuka ku mwera gwa Taboli, onoosisinkana abasajja basatu abanaaba bagenda okusisinkana Katonda e Beseri, omu nga yeetisse obubuzi busatu, omulala nga yeetisse emigaati esatu, n’omulala ng’asitudde eccupa y’envinnyo. Banaakulamusa ne bakuwa emigaati ebiri, era gikkirize.

(D)“Bw’onoova eyo ogenda ku Lusozi lwa Katonda oluliko ekigo eky’Abafirisuuti. Bw’onooba onootera okutuuka ku kibuga, onoosisinkana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta okuva mu kifo ekigulumivu nga bakulembeddwamu abakuba entongooli, n’ebitaasa, n’endere, n’ennanga, era nga bawa obunnabbi. (E)Omwoyo wa Mukama anakukkako mu maanyi, n’owa obunnabbi wamu nabo, era onookyusibwa n’ofuuka omuntu omuggya. (F)Obubonero obwo bwe bunaatuukirira, kola kyonna ky’onoolaba nga kituufu, kubanga Katonda ali wamu naawe.

(G)“Serengeta onsookeyo e Girugaali[a]. Nnaakugoberera ne nzija gy’oli okuwaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, naye oteekwa okunnindako okumala ennaku musanvu okutuusa lwe ndijja gy’oli ne nkutegeeza eky’okukola.”

Sawulo Afuulibwa Kabaka

(H)Awo Sawulo bwe yava eri Samwiri, Katonda n’amuwa omutima omuggya, n’obubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo. 10 (I)Bwe baatuuka ku lusozi ekibiina kya bannabbi ne kimusisinkana, Omwoyo wa Katonda n’amukkako mu maanyi era n’atandika okuwa obunnabbi wamu nabo. 11 (J)Abaali baamumanya okuva edda n’edda bwe baamulaba ng’awa obunnabbi wamu ne bannabbi, ne bagambagana nti, “Kiki kino ekituuse ku mutabani wa Kiisi? Sawulo naye ali omu ku bannabbi?” 12 Omu ku batuuze b’ekitundu ekyo n’abuuza nti, “Ye kitaabwe y’ani?” Kyerwava lufuuka olugero nti, “Ne Sawulo ali omu ku bannabbi?” 13 Awo Sawulo bwe yamala okuwa obunnabbi, n’ayambuka mu kifo ekigulumivu.

14 (K)Awo kojja wa Sawulo n’ababuuza ye n’omuweereza nti, “Mubadde wa?” N’addamu nti, “Tubadde tunoonya endogoyi, naye bwe tutaazirabye, ne tugenda eri Samwiri.” 15 Kojja wa Sawulo n’amugamba nti, “Mbuulira Samwiri kye yakugambye.” 16 (L)Sawulo n’addamu nti, “Yatutegeeza nti endogoyi zaali zirabise.” Naye n’atamubuulira Samwiri bye yamugamba ku by’obwakabaka.

17 (M)Samwiri n’ayita abantu ba Isirayiri bakuŋŋaanire eri Mukama e Mizupa[b]. 18 (N)N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Naggya Isirayiri mu Misiri, ne mbalokola okuva mu mukono gw’Abamisiri, ne mu mukono gw’obwakabaka bwonna obwabajooganga. 19 (O)Naye kaakano mujeemedde Katonda wammwe eyabalokola okuva mu buyinike bwammwe n’ennaku yammwe, ne mwogera nti, Nedda, tuteerewo kabaka atufuge.’ Kale mweyanjule mu maaso ga Mukama mu bika byammwe ne nnyiriri zammwe nga bwe biri.”

20 Awo Samwiri bwe yasembeza ebika byonna ebya Isirayiri okumpi ne we yali, ekika kya Benyamini ne kirondebwa na kalulu[c]. 21 N’asembeza ekika kya Benyamini, lunyiriri ku lunyiriri, era olunyiriri lwa Materi ne lulondebwa. N’oluvannyuma Sawulo mutabani wa Kiisi n’alondebwa, naye bwe baamunoonya, nga talabika. 22 (P)Ne beeyongera okwebuuza ku Mukama nti, “Omusajja w’ali wano, atuuse?”

Awo Mukama n’abaddamu nti, “Ye, yeekwese mu bitereke.”

23 (Q)Ne badduka ne bagenda ne bamuleeta. Bwe yayimirira mu bantu, n’aba ng’asinga abantu bonna obuwanvu. 24 (R)Samwiri n’agamba abantu bonna nti, “Mulaba omusajja Mukama gw’alonze? Tewali amwenkana mu bantu bonna.” Abantu ne baddamu n’eddoboozi eddene nti, “Wangaala Kabaka.”

25 (S)Samwiri n’annyonnyola abantu ebiragiro n’obulombolombo eby’obwakabaka, n’abiwandiika mu kitabo n’akiteeka mu maaso ga Mukama. Awo Samwiri n’asiibula abantu bonna, buli omu n’addayo ewuwe.

26 (T)Sawulo naye n’addayo ewaabwe mu Gibea, ng’awerekerwako abasajja abazira Katonda be yali akomyeko ku mitima. 27 (U)Naye abamu ku basajja ab’effujjo ne boogera nti, “Omusajja ono ayinza atya okutulokola?” Ne bamunyooma, era ne batamuwa na birabo. Naye Sawulo n’akisirikira n’atabanyega.

Abaruumi 8

Obulamu Obuva mu Mwoyo

(A)Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango; abo abatagoberera kwegomba okw’omubiri wabula ne bagoberera Omwoyo. (B)Kubanga etteeka ery’Omwoyo aleeta obulamu mu Kristo Yesu, lyannunula okuva mu tteeka ly’ekibi n’okufa. (C)Amateeka ga Musa kye gataayinza kukola, olw’okunafuyizibwa omubiri, Katonda yakikola mu Mwana we yennyini bwe yamutuma mu kifaananyi ky’omubiri ogw’ekibi, n’asalira ekibi omusango mu mubiri. (D)Ekyo kyabaawo, eby’obutuukirivu mu mateeka biryoke bituukirire mu ffe bwe tugondera Omwoyo, ffe abatatambulira mu mubiri naye abatambulira mu Mwoyo.

(E)Abo abalowooleza mu mubiri balowooza bintu bya mubiri, naye abalowooleza mu Mwoyo balowooza bya Mwoyo. (F)Okulowooleza mu by’omubiri kwe kufa, naye okufugibwa Omwoyo bwe bulamu n’emirembe. (G)Kubanga okulowooza eby’omubiri kya bulabe eri Katonda. Ebirowoozo eby’omubiri tebiyinza kuwulira mateeka ga Katonda. N’abo abafugibwa omubiri tebayinza kusanyusa Katonda.

(H)Naye mmwe temufugibwa mubiri wabula mufugibwa Mwoyo, kubanga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe. Era omuntu yenna bw’ataba na Mwoyo wa Kristo, oyo si wa Kristo. 10 (I)Era obanga Kristo ali mu mmwe, omubiri gwammwe mufu olw’ekibi, ate ng’omwoyo gwammwe mulamu olw’obutuukirivu. 11 (J)Era obanga Omwoyo w’oyo eyazuukiza Yesu okuva mu bafu abeera mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo mu bafu, alifuula emibiri gyammwe egifa okuba emiramu ku bw’Omwoyo we abeera mu mmwe.

12 Noolwekyo abooluganda tulina ebbanja, so si eri omubiri okugondera bye gutulagira. 13 (K)Kubanga bwe munaagobereranga omubiri, mugenda kufa. Naye bwe munnatta ebikolwa eby’omubiri, muliba balamu, 14 (L)kubanga abo bonna abakulemberwa Omwoyo wa Katonda be baana ba Katonda. 15 (M)Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bw’oyo tumukoowoola nti, “Aba, Kitaffe.” 16 (N)Omwoyo yennyini akakasiza wamu n’omwoyo waffe nga bwe tuli abaana ba Katonda. 17 (O)Kale nga bwe tuli abaana, tuli basika ba Katonda, era tulisikira wamu ne Kristo, bwe tubonaabonera awamu naye, tulyoke tuweerwe wamu naye ekitiibwa.

Ekitiibwa ekijja

18 (P)Okubonaabona kwe tubonaabona kaakano kutono nnyo bwe kugeraageranyizibwa n’ekitiibwa ekiritubikulirwa. 19 Ebitonde birindirira n’essuubi lingi ekiseera abaana ba Katonda lwe baliragibwa. 20 (Q)Kubanga ebitonde tebyafugibwa butaliimu nga byeyagalidde, wabula ku bw’oyo eyabifugisa, mu kusuubira. 21 (R)Ebitonde birifuulibwa bya ddembe okuva mu kufugibwa okuvunda ne bigabanira wamu n’abaana ba Katonda ekitiibwa eky’okuba mu ddembe.

22 (S)Tumanyi ng’ebitonde byonna bisinda era ne birumwa ng’omukazi alumwa okuzaala bw’abeera. 23 (T)Naye ate si ekyo kyokka, era naffe abalina ebibala ebibereberye eby’Omwoyo, naffe tusinda munda yaffe nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kw’emibiri gyaffe. 24 (U)Twalokolebwa lwa ssuubi eryo. Naye essuubi erirabibwa si ssuubi; kubanga ani asuubira ky’alabako? 25 Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tukirindirira n’okugumiikiriza.

26 (V)N’Omwoyo bw’atyo atubeera mu bunafu bwaffe. Tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira, naye Omwoyo yennyini atwegayiririra n’okusinda okutayogerekeka. 27 (W)Oyo akebera emitima, amanyi Omwoyo ky’alowooza, kubanga yeegayiririra abatukuvu ng’okusiima kwa Katonda bwe kuli. 28 (X)Era tumanyi nga eri abo abaagala Katonda, era abo abayitibwa ng’okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna bibatuukako olw’obulungi. 29 (Y)Kubanga abo be yamanya olubereberye, yabalonda okufaananyizibwa mu kifaananyi ky’Omwana we, ye abeerenga omubereberye mu booluganda abangi. 30 (Z)Abo be yalonda, n’okubayita yabayita, n’abo be yayita, yabawa obutuukirivu, n’abo be yawa obutuukirivu yabagulumiza.

31 (AA)Kale tunaagamba ki ku bintu bino? Katonda bw’abeera ku lwaffe, ani asobola okutulwanyisa? 32 (AB)Oyo ataasaasira Mwana we ye, naye n’amuwaayo ku lwaffe ffenna, talituwa buwi bintu byonna awamu naye? 33 (AC)Ani aliroopa abalonde ba Katonda? Katonda y’awa obutuukirivu. 34 (AD)Ani alibasalira omusango? Kristo Yesu yafa, kyokka okusinga byonna yazuukizibwa, era ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’atwegayiririra. 35 (AE)Ani alitwawukanya n’okwagala kwa Kristo? Kubonaabona, oba bulumi, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwerere, oba kabi, oba kitala? 36 (AF)Kyawandiikibwa nti:

“Ku lulwo tutiisibwatiisibwa n’okuttibwa obudde okuziba,
    era tubalibwa ng’endiga ez’okusalibwa.”

37 (AG)Naye mu bino byonna tuwangudde n’okukirawo ku bw’oyo eyatwagala. 38 (AH)Kubanga nkakasiza ddala nga newaakubadde okufa, wadde obulamu, wadde bamalayika, wadde abafuzi, wadde ebiriwo, wadde ebigenda okujja, wadde amaanyi, 39 (AI)wadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tewali kiriyinza kutwawukanya n’okwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.

Yeremiya 47

Obubaka Obukwata ku Bafirisuuti

47 (A)Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Bafirisuuti nga Falaawo tannalumba Gaza nga kigamba nti:

(B)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Laba amazzi agatumbira mu bukiikakkono,
    galifuuka omugga ogwanjaala.
Galyanjaala ku nsi
    ne mu bibuga byonna ebigirimu n’ababituulamu.
Abantu balikaaba;
    bonna abali mu nsi baliwowoggana.
Olw’emisinde gy’embalaasi ezidduka
    n’okufuumuuka kw’amagaali g’omulabe
    era n’okuwuuma kwa nnamuziga,
bakitaabwe tebajja kukyuka kuyamba baana baabwe,
    emikono gyabwe gya kulebera.
(C)Kubanga olunaku lutuuse
    okuzikiriza Abafirisuuti bonna,
n’okusalako bonna abandisigaddewo
    abandiyambye Ttuulo ne Sidoni.
Mukama wa kuzikiriza Abafirisuuti
    abaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli.
(D)Gaza alimwa omutwe gwe ng’akungubaga.
    Asukulooni alisirisibwa.
Ggwe eyasigala mu kiwonvu,
    olituusa ddi okwesalaasala?

(E)“ ‘Ayi ggwe ekitala kya Mukama Katonda, okaaba,
    obudde bunaatuuka ddi owummule?
Ddayo mu kiraato kyo
    sirika teweenyeenya.’
Naye kiyinza kitya okuwummula
    nga Mukama y’akiragidde,
ng’akiragidde
    okulumba Asukulooni n’olubalama lw’ennyanja?”

Zabbuli 23-24

Zabbuli ya Dawudi.

23 (A)Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
    (B)Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto.
Antwala awali amazzi amateefu.
    (C)Akomyawo emmeeme yange.
Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu
    olw’erinnya lye.
(D)Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;
    kubanga ggwe oli nange.
Oluga lwo n’omuggo gwo
    bye binsanyusa.

(E)Onsosootolera emmere
    abalabe bange nga balaba;
onsiize amafuta ku mutwe,[a]
    ekikompe kyange kiyiwa.
Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nange
    ennaku zonna ez’obulamu bwange;
nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama,
    ennaku zonna.

Zabbuli ya Dawudi.

24 (F)Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna,
    n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja,
    n’agizimba ku mazzi amangi.

(G)Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya?
    Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu?
(H)Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu;
    atasinza bakatonda abalala,
    era atalayirira bwereere.

Oyo Mukama anaamuwanga omukisa,
    n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.
(I)Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya,
    Ayi Katonda wa Yakobo.

(J)Mweggulewo, mmwe bawankaaki!
    Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda,
    Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
(K)Kabaka ow’ekitiibwa ye ani?
    Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza,
    omuwanguzi mu ntalo.
Mweggulewo, mmwe bawankaaki,
    muggulwewo mmwe enzigi ez’edda!
    Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
10 Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani?
    Mukama Ayinzabyonna;
    oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.