Add parallel Print Page Options

10 (A)Bwe baatuuka ku lusozi ekibiina kya bannabbi ne kimusisinkana, Omwoyo wa Katonda n’amukkako mu maanyi era n’atandika okuwa obunnabbi wamu nabo.

Read full chapter

25 (A)Awo Mukama Katonda n’akkira mu kire n’ayogera ne Musa, n’addira ku mwoyo ogwali mu Musa n’agussa mu bakulembeze ensanvu. Omwoyo bwe baagufuna ne batandika okutegeeza obunnabbi, kyokka tebaddayo nate kukikola.

Read full chapter

23 (A)Awo Sawulo n’agenda e Nayosi mu Laama, naye Omwoyo wa Mukama n’amukkako, n’atambula ng’ayogera eby’obunnabbi okutuuka e Nayosi. 24 (B)Ne yeyambula ebyambalo bye, n’atandika okwogera nga bannabbi mu maaso ga Samwiri. N’abeera bw’atyo olunaku lwonna n’okuzibya obudde. Abantu kyebaava boogera nti, “Ne Sawulo ali mu bannabbi?”

Read full chapter