M’Cheyne Bible Reading Plan
Okuzza Obuggya Endagaano
29 (A)Bino bye bigambo by’endagaano Mukama Katonda gye yalagira Musa okukola n’abaana ba Isirayiri nga bali mu nsi ya Mowaabu, ng’egattibwa ku ndagaano gye yali akoze nabo ku Kolebu.
2 (B)Awo Musa n’ayita Abayisirayiri bonna n’abagamba nti, Mwalaba n’amaaso gammwe ebyo byonna Mukama Katonda bye yakolera mu nsi y’e Misiri ku Falaawo ne ku bakungu be, ne ku nsi ye yonna. 3 (C)Walaba n’amaaso go ebigezo ebinene, n’obubonero obw’ebyamagero, n’ebyewuunyisa ebikulu. 4 (D)Naye n’okutuusa ku lunaku lwa leero Mukama tabawanga mutima ogutegeera, oba amaaso agalaba, oba amatu agawulira. 5 (E)Bwe nabakulembera okumala emyaka amakumi ana mu ddungu engoye zammwe tezaakaddiwako, n’engatto y’omu kigere kyo teyakaddiwa. 6 (F)Temwalya ku mugaati wadde okunywa ku nvinnyo, oba ku kyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza. Ekyo nakikola mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe.
7 (G)Bwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka w’e Kesuboni, ne Ogi kabaka w’e Basani, ne basituka okutulwanyisa, naye ne tubawangula. 8 (H)Twatwala ensi yaabwe, ne tugigabira Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika eky’Abamanase, okuba obutaka bwabwe obw’ensikirano.
9 (I)Noolwekyo mukwatenga ebigambo by’endagaano eno n’obwegendereza, mulyoke muwangulenga mu buli kimu kye munaakolanga. 10 Mukuŋŋaanye wano leero mwenna mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, nga muli n’abakulembeze b’ebika byammwe, n’abakulu bammwe abakulembeze, n’abafuzi bammwe, n’abasajja bonna aba Isirayiri, 11 (J)n’abaana bammwe abato, ne bakazi bammwe, ne munnaggwanga asula awamu naawe mu lusiisira lwo, okukutyabira enku, n’okukukimira amazzi. 12 Oli wano okukola endagaano ne Mukama Katonda wo, ng’ekirayiro gy’ali, Mukama Katonda wo gy’akola naawe leero; 13 (K)alyoke akukakase ng’akunyweza leero okubeeranga eggwanga lye, naye nga ye Katonda wo, nga bwe yakusuubiza, era nga bwe yalayirira bakadde bo: Ibulayimu ne Isaaka. 14 (L)Endagaano eno gye nkola, ng’eriko n’ekirayiro kyayo, 15 (M)sigikola nammwe abayimiridde wano naffe leero mwekka, wabula ngikola wamu n’oyo atali wano naffe leero.
16 Mujjukira bulungi nga bwe twali mu nsi y’e Misiri, ne bwe twajjanga tuyita wakati mu mawanga okutuukira ddala wano. 17 (N)Mwalabanga ebintu eby’ekikaafiiri, nga mwe mwalinga ebifaananyi ebibajje mu miti n’ebiwoole mu mayinja ne mu ffeeza ne mu zaabu. 18 (O)Mukakasize ddala leero nga mu maka gammwe oba mu bika byammwe temulinaamu musajja oba mukazi n’omu akyamizza omutima gwe okuva ku Mukama Katonda waffe agende asinze bakatonda bali abalala abamawanga ago. Mukakasize ddala nga mu mmwe temuliimu kikolo okuyinza okukula obutwa obw’engeri eyo obukaawa ng’omususa.
19 Omuntu ow’engeri ng’eyo ng’awulidde ebigambo eby’ekikolimo kino n’amala yeeyibaala, ne yeetukuza ku bubwe yekka, n’alowooza munda ye nti, “Nzija kubeera bulungi newaakubadde nga mmaliridde okukwata ekkubo eryange ery’obujeemu,” ekyo kinaaletanga akacwano ku ttaka erinnyogovu obulungi ne ku kkalu. 20 (P)Mukama taamusonyiwenga, kubanga obusungu bwa Mukama n’ekiruyi kye binaabuubuukiranga ku muntu oyo. Ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino binaamukkangako, era Mukama alisangula erinnya lye n’aliggya wansi w’eggulu. 21 Mukama anaamwawulanga n’amuggya mu bika byonna ebya Isirayiri n’amubonereza nnyo, nga bwe kiri mu bikolimo byonna eby’endagaano ebiwandiikiddwa mu Kitabo ky’Amateeka kino.
22 (Q)Abaana bammwe abaliddawo ne bannamawanga abaliva mu nsi ezeewala baliraba ekibonerezo ekiriba kigudde ku nsi n’obulwadde Mukama bw’aliba aleese ku ttaka ly’ensi. 23 (R)Ettaka liriba lyonoonese nga lya munnyo n’amayinja agookya, nga tekuyinza kusimbibwako kintu wadde okubaako n’ekimerako, nga n’omuddo tegusobola kumerako. Ensi erifaanana ng’okuzikirizibwa kwa Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu, Mukama bye yazikiriza mu busungu bwe obungi. 24 (S)Amawanga galyebuuza nga geewunya nti, “Lwaki Mukama akoze ekintu kino, n’akikola n’obusungu obungi butyo?”
25 Na kino kye kiriba eky’okuddamu nti, “Kubanga abantu bano basudde eri endagaano ya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, endagaano gye yakola nabo bwe yabaggya mu nsi y’e Misiri. 26 Baagenda ne basinza bakatonda abalala, ne babaweereza, bakatonda be baali batamanyi, era Katonda waabwe be yali tabawadde. 27 (T)Bwe butyo obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku nsi eyo, n’agireetako ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino. 28 (U)Mukama n’abasiguukulula mu nsi yaabwe ng’aliko ekiruyi, era ng’ajjudde obusungu bungi, n’abakasuka mu nsi endala, nga bwe kiri leero.”
29 Ebintu eby’ekyama bya Mukama Katonda waffe, naye ebyo ebyabikkulibwa bye byaffe n’abaana baffe emirembe gyonna, tulyoke tugonderenga ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano.
ז Zayini
49 Jjukira ekigambo kye wansuubiza, nze omuddu wo,
kubanga gwe wampa essuubi.
50 (A)Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi
kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.
51 (B)Ab’amalala banduulira obutamala,
naye nze siva ku mateeka go.
52 (C)Bwe ndowooza ku biragiro byo eby’edda, Ayi Mukama,
biwummuza omutima gwange.
53 (D)Nkyawa nnyo abakola ebibi,
abaleka amateeka go.
54 Ebiragiro byo binfuukidde ennyimba
buli we nsula nga ndi mu lugendo lwange.
55 (E)Mu kiro nzijukira erinnya lyo, Ayi Mukama,
ne neekuuma amateeka go.
56 Olw’okukugonderanga
nfunye emikisa gyo mingi.
ח Esi
57 (F)Ggwe mugabo gwange, Ayi Mukama;
nasuubiza okukugonderanga.
58 (G)Nkwegayirira n’omutima gwange gwonna,
ondage ekisa kyo nga bwe wasuubiza.
59 (H)Bwe ndabye amakubo amakyamu ge nkutte,
ne nkyuka okugoberera ebiragiro byo.
60 Nyanguwa nnyo okugondera amateeka go,
so seekunya.
61 (I)Newaakubadde ng’emiguwa gy’ababi ginsibye,
naye seerabirenga mateeka go.
62 (J)Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza,
olw’ebiragiro byo ebituukirivu.
63 (K)Ntambula n’abo abakutya,
abo bonna abakwata amateeka go.
64 (L)Ensi, Ayi Mukama, ejjudde okwagala kwo;
onjigirize amateeka go.
ט Teesi
65 Okoze bulungi omuddu wo, Ayi Mukama,
ng’ekigambo kyo bwe kiri.
66 Njigiriza okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi, era ompe okumanya;
kubanga nzikiririza mu mateeka go.
67 (M)Bwe wali tonnambonereza nakyama nnyo,
naye kaakano ŋŋondera ekigambo kyo.
68 (N)Ayi Mukama, oli mulungi era okola ebirungi;
onjigirize amateeka go.
69 (O)Ab’amalala banjogeddeko nnyo eby’obulimba,
naye nze nkwata ebyo bye walagira, n’omutima gwange gwonna.
70 (P)Omutima gwabwe gugezze ne gusavuwala;
naye nze nsanyukira amateeka go.
71 Okubonerezebwa kwangasa,
ndyoke njige amateeka go.
72 (Q)Amateeka go ge walagira ga mugaso nnyo gye ndi
okusinga enkumi n’enkumi eza ffeeza ne zaabu.
Abantu ba Katonda Baliva mu Mawanga Gonna
56 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Mukolenga obwenkanya era ebituufu,
kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja,
n’obutuukirivu bwange
bunatera okubikkulibwa.
2 (B)Alina omukisa omuntu akola ekyo,
n’omwana w’omuntu akinyweererako.
Akwata ssabbiiti obutagyonoona,
n’akuuma omukono gwe obutakola kibi na kimu.”
3 (C)Era ne munnaggwanga eyeegatta ku Mukama tayogeranga nti,
“Mukama, oboolyawo alinjawula ku bantu be,”
so n’omulaawe okugamba nti,
“Ndi muti mukalu.”
4 Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,
“Eri abalaawe abakwata ssabbiiti zange
ne basalawo okugoberera ebyo ebinsanyusa,
ne bakuuma endagaano yange,
5 (D)amannya gaabwe galijjukirwa
mu yeekaalu yange mu bisenge byamu, ng’ekijjukizo
n’okusinga bwe mwandibadde n’abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
Ndibawa erinnya eritaliggwaawo
ery’emirembe n’emirembe.
6 (E)N’abo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama,
okumuweereza era n’okwagala erinnya lya Mukama
era n’okubeera abaweereza be,
abakwata ssabbiiti
ne batagyonoona
era ne banyweza endagaano yange,
7 (F)bano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu
era ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey’okusabiramu.
Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe
birikkirizibwa ku kyoto kyange.
Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu
eri amawanga gonna.”
8 (G)Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna,
akuŋŋaanya Abayisirayiri abaawaŋŋangusibwa nti,
“Ndikuŋŋaanyaayo abantu abalala
ng’oggyeko abantu bange aba Isirayiri be nkuŋŋaanyizza.”
Katonda Alumiriza Abakulembeze ba Isirayiri Ebibi byabwe
9 (H)Mukama agamba amawanga amalala okujja
ng’ensolo ez’omu nsiko, galye abantu be.
10 (I)Kubanga abakulembeze ba Isirayiri bazibe ba maaso,
bonna tebalina magezi,
bonna mbwa
ezitasobola kuboggola,
zibeera mu kuloota nakugalaamirira
ezaagala okwebaka obwebasi.
11 (J)Embwa ezirina omululu omuyitirivu
ezitakkuta.
Basumba abatayinza kutegeera,
bonna abakyamye mu makubo gaabwe;
buli muntu ng’afa ku kwenoonyeza ky’anaalya.
12 (K)Bagambagana nti,
“Mujje, leka tukime omwenge tunywe tutamiire.
N’olw’enkya lunaku ng’olwa leero,
oba n’okusingawo.”
Okukemebwa kwa Yesu
4 Awo Yesu n’atwalibwa Mwoyo Mutukuvu mu ddungu okukemebwa Setaani. 2 (A)N’amala ennaku amakumi ana ng’asiiba, nga talya, emisana n’ekiro, oluvannyuma enjala n’emuluma. 3 (B)Setaani n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, lagira amayinja gano gafuuke emmere.”
4 (C)Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ ”
5 (D)Awo Setaani n’amutwala mu kibuga ekitukuvu n’amussa ku kitikkiro kya Yeekaalu. 6 (E)N’amugamba nti,
“Obanga oli Mwana wa Katonda weesuule wansi
kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Katonda aliweereza bamalayika be bakuwanirire mu mikono gyabwe
oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.’ ”
7 (F)Yesu n’addamu Setaani nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”
8 Ate Setaani n’amutwala ku lusozi oluwanvu n’amulengeza ensi zonna n’obwakabaka bwamu n’ekitiibwa kyabwo kyonna, 9 n’amugamba nti, “Bino byonna nnaabikuwa bw’onoovuunama n’onsinza.”
10 (G)Yesu n’addamu nti, “Vvaawo, genda Setaani. Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo yekka, era gw’oweerezanga.’ ”
11 (H)Setaani n’amuviira n’agenda. Bamalayika ne bajja ne bamuweereza.
Yesu Atandika Okubuulira
12 (I)Yesu bwe yawulira nga Yokaana bamusibye mu kkomera n’agenda e Ggaliraaya. 13 (J)Bwe yava e Nazaaleesi n’agenda abeera e Kaperunawumu ekiri ku lubalama lw’ennyanja mu byalo by’e Zebbulooni n’e Nafutaali. 14 Kino ne kituukiriza ekyayogerwa nnabbi Isaaya ng’agamba nti,
15 “Ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, okuliraana ennyanja,
n’ebyalo ebiri emitala w’omugga Yoludaani,
n’e Ggaliraaya ey’ekyengulu omuli bannaggwanga abangi,
16 (K)abantu abaatuulanga mu kizikiza,
balabye Omusana mungi.
Abaatuulanga mu nsi ey’ekisiikirize eky’okufa,
omusana gubaakidde.”
17 (L)Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okubuulira nti, “Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.”
Okuyitibwa kw’Abayigirizwa Abaasooka
18 (M)Yesu bwe yali ng’atambula ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alaba abooluganda babiri: Simooni, gwe bayita Peetero, ne Andereya, nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja, kubanga baali bavubi. 19 (N)Awo Yesu, n’abagamba nti, “Mujje mungoberere, nange ndibafuula abavubi b’abantu.” 20 Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bamugoberera.
21 (O)Bwe yeeyongerayo katono, n’asanga abooluganda abalala babiri: Yakobo, ne Yokaana, nga batudde ne kitaabwe Zebbedaayo mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe, nabo n’abayita bamugoberere. 22 Amangwago, ne baleka awo kitaabwe mu lyato ne bagenda naye.
Yesu Awonya Abalwadde
23 (P)Yesu n’abuna wonna mu Ggaliraaya ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ng’abuulira Enjiri ey’obwakabaka obw’omu ggulu, era ng’awonya buli ndwadde yonna n’obuyongobevu bwonna mu bantu. 24 (Q)Amawulire ag’ebyamagero bye yakolanga ne gatuuka mu Siriya yonna. Ne bamuleetera abayongobevu, n’abalina ebibabonyaabonya, n’ab’ensimbu n’abo abaaliko baddayimooni, abakoozimbye n’ab’endwadde endala ezitali zimu, bonna n’abawonya. 25 (R)Ebibiina binene ne bimugoberera, abantu nga bava mu Ggaliraaya ne mu Dekapoli,[a] ne mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya yonna, n’emitala w’omugga Yoludaani.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.