M’Cheyne Bible Reading Plan
Okuwangula Ogi Kabaka w’e Basani
3 (A)Awo ne tukyuka ne twambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi, Kabaka w’e Basani, n’afuluma n’eggye lye lyonna n’ajja okututabaala mu lutalo olwalwanirwa mu Ederei. 2 (B)Naye Mukama n’aŋŋamba nti, “Tomutya, kubanga oyo mmugabudde mu mukono gwo ye n’eggye lye lyonna n’ensi ye. Kale, mukole nga bwe wakola Sikoni Kabaka w’Abamoli abaabeeranga mu Kesuboni.”
3 (C)Bw’atyo Mukama Katonda waffe n’agabula ne Ogi Kabaka w’e Basani mu mukono gwaffe awamu n’eggye lye lyonna. Ne tubatta bonna obutalekaawo muntu n’omu. 4 (D)Era mu kiseera ekyo ne tuwamba ebibuga bye byonna ne tubitwala. Ebibuga enkaaga byonna tekwaliko kibuga na kimu kye tutaabatwalako, ne tutwala amatwale gonna aga Alugobu ag’obwakabaka bwa Ogi mu Basani. 5 Ebibuga ebyo byonna byali bizimbiddwa mu bigo eby’ebisenge ebiwanvu, n’emizigo egy’emitayimbwa, ng’okwo kw’ogatta n’obubuga obw’omu byalo obutaaliko bisenge. 6 (E)Twabizikiririza ddala byonna nga bwe twakola ebya Sikoni kabaka w’e Kesuboni, nga tuzikiriza buli kibuga n’abasajja bonna abaakirimu n’abakazi n’abaana abato bonna. 7 Naye ente ne tuzeetwalira awamu n’omunyago gwe twaggya mu bibuga bye twawamba.
8 Bwe tutyo mu kiseera ekyo ne tutwala ebitundu by’ensi byonna ebyali ebya bakabaka bombi ab’Abamoli ebyali ku luuyi lw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani; okuva ku Kiwonvu Alunoni okutuuka ku Lusozi Kerumooni. 9 (F)Abasidoni nga Kerumooni baluyita Siriyooni, ate bo Abamoli nga baluyita Seniri. 10 (G)Twatwala ebibuga byonna ebyali mu kitundu ekya waggulu ekitereevu ne Gireyaadi yonna ne Basani yonna okutuuka ku Saleka ne Ederei, ng’ebyo byali bibuga eby’omu bwakabaka bwa Ogi mu Basani. 11 (H)Ogi kabaka wa Basani ye yali asigaddewo ku Balefa. Ekitanda kye kyakolebwa mu kyuma, nga kiriko mita nnya obuwanvu, n’obugazi bwa mita emu n’obutundu munaana. Kikyaliyo mu Raba eky’Abamoni.
Okugabana Ensi
12 (I)Bwe twamala okwetwalira ebitundu by’ensi ebyo bye twawangula mu kaseera ako, ne ngabira Abalewubeeni n’Abagaadi ekitundu ekyo ekiri ku bukiikakkono okuva ku Aloweri n’okugendera ku mukugiro gw’Ekiwonvu kya Alunoni, n’ekitundu ekyamakkati eky’ensi y’ensozi eya Gireyaadi, awamu n’ebibuga byamu. 13 Ekitundu kya Gireyaadi ekyasigalawo, n’obwakabaka bwa Ogi obwa Basani omugendera ne Alugabu, ne mbigabira ekitundu ky’ekika kya Manase. Ekitundu kya Alugabu kyonna mu Basani, wonna nga wayitibwa nsi ya Balefa. 14 (J)Yayiri, ava mu Manase, yafuna ekitundu kyonna ekya Alugabu, era ye Basani, nga kyerambulula okutuukira ddala ku nsalo ey’Abagesuli n’Abamaakasi; n’akibbulamu erinnya lye, n’okutuusa leero ensi Basani eyitibwa Kavosu Yayiri. 15 (K)Gireyaadi nagigabira Makiri. 16 (L)Abalewubeeni n’Abagaadi ne mbagabira ekitundu ky’ensi ekiva ku Gireyaadi okuserengeta mu Kiwonvu kya Alunoni, nga mu makkati gaakyo ye nsalo, n’okutuukira ddala ku mugga Yaboki ogw’ensalo n’Abamoni. 17 (M)Omugga Yoludaani nga ye nsalo ey’ebugwanjuba mu Alaba, okuviira ddala ku Kinneresi okutuuka ku Nnyanja ya Alaba, ye Nnyanja ey’Omunnyo, wansi w’olugulungujjo lw’olusozi Pisuga ku luuyi olw’ebuvanjuba.
18 (N)Mu kiseera ekyo, mmwe ab’ekika kya Lewubeeni, n’ekya Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase, nabalagira nga mbagamba nti, “Mukama Katonda wammwe abawadde ekitundu ky’ensi kino okubeera obutaka bwammwe. Naye basajja bammwe bonna ab’amaanyi abazira nga beesibye ebyokulwanyisa, be balisooka baganda bammwe abaana ba Isirayiri okusomoka Yoludaani. 19 Kyokka, bakazi bammwe, n’abaana bammwe balisigala mu bibuga bye nabawa awamu n’ente zammwe ze mulina, ze mmanyi nga bwe ziri ennyingi, 20 okutuusa nga baganda bammwe bamaze okwetwalira ensi eri emitala w’omugga Yoludaani, Mukama Katonda wammwe gy’abawa; Mukama alyoke awe baganda bammwe ekiwummulo nga nammwe bwe yakibawa. Oluvannyuma mulikomawo mu butaka bwammwe bwe nabagabira.”
21 Mu kiseera ekyo ne ndagira Yoswa, ne mmugamba nti, “Ebyo byonna Mukama Katonda wammwe byakoze bakabaka abo ababiri obyerabiddeko n’amaaso go gennyini. Bw’atyo Mukama bw’alikola obwakabaka bwonna obuli eyo gye mugenda. 22 (O)Temubatyanga; kubanga Mukama Katonda wammwe yennyini y’anaabalwaniriranga.”
Musa Agaanibwa Okutuuka mu nsi Ensuubize
23 Mu kiseera ekyo ne neegayirira Mukama nga njogera nti, 24 (P)“Ayi Mukama Katonda, otandise okundaga nze omuddu wo, omukono gwo ogw’amaanyi n’obukulu bwo obw’ekitiibwa. Kubanga katonda ki ali mu ggulu oba ali ku nsi asobola okukola ebyekyewuunyo bino byonna by’okola, n’emirimu egy’amaanyi bwe gityo gy’okola? 25 (Q)Nkusaba, nsomoke omugga Yoludaani, ŋŋende ndabe ku nsi ennungi bw’etyo eri emitala waagwo, ensi eyo ey’ensozi ezirabika obulungi, awamu ne Lebanooni.”
26 (R)Naye Mukama n’ansunguwalira nnyo ku lwammwe, bye namusaba n’atabiwuliriza. Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’oyogedde bikumale; toddayo kwogera gye ndi nate ku nsonga eyo. 27 (S)Yambuka waggulu ku ntikko y’olusozi Pisuga, ositule amaaso go otunule ebugwanjuba, ne ku bukiikakkono, n’ebuvanjuba ne ku bukiikaddyo. Weerabireko ku nsi eyo n’amaaso go gennyini, kubanga togenda kusomoka mugga guno Yoludaani. 28 (T)Naye obuyinza bukwase Yoswa, omukuutire era omugumye afune amaanyi, kubanga y’agenda okukulembera abantu bano nga basomoka, era ye alibasobozesa okulya ensi eyo gy’ojja okulaba, okubeera obutaka bwabwe.” 29 (U)Bwe tutyo ne tubeera awo mu kiwonvu okumpi ne Besu Peoli.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
85 (A)Ensi yo ogikoledde ebyekisa Ayi Mukama;
Yakobo omuddizza ebibye.
2 (B)Abantu bo obasonyiye ebyonoono byabwe,
n’ebibi byabwe byonna n’obibikkako.
3 (C)Ekiruyi kyo kyonna okirese,
n’oleka n’obusungu bwo obubuubuuka.
4 (D)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda w’obulokozi bwaffe,
oleke okutusunguwalira.
5 (E)Onootusunguwaliranga emirembe gyonna?
Onootunyiigiranga emirembe n’emirembe?
6 (F)Tolituzaamu ndasi,
abantu bo basanyukirenga mu ggwe?
7 Tulage okwagala kwo okutaggwaawo Ayi Katonda,
era otuwe obulokozi bwo.
8 (G)Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;
asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;
naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
9 (H)Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,
ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.
10 (I)Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;
obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11 (J)Obwesigwa bulose mu nsi,
n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12 (K)Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,
n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga,
era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.
Zibasanze abo Abeesiga Misiri
31 (A)Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okuyambibwa,
abeesiga embalaasi,
abeesiga amagaali gaabwe amangi,
abeesiga amaanyi amangi ag’abeebagala embalaasi
ne batatunuulira Omutukuvu wa Isirayiri
wadde okunoonya obuyambi bwa Mukama.
2 (B)Kyokka Mukama mugezi era asobola okuleeta akabi;
tajjulula bigambo bye.
Aligolokokera ku nnyumba y’abatali batuukirivu,
ne ku abo abayamba abakozi b’ebibi.
3 (C)Naye Abamisiri bantu buntu si Katonda
n’embalaasi zaabwe mibiri bubiri.
Katonda bw’agolola omukono gwe
oyo ayamba, alyesittala,
n’oyo ayambibwa aligwa
era bombi balizikiririra wamu.
4 (D)Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama gye ndi nti,
“Ng’empologoma bwe wuluguma,
empologoma ey’amaanyi bwe wulugumira ku muyiggo gwayo
era newaakubadde ng’ekibinja ky’abasumba
kiyitibwa awamu okugirumba,
tetiisibwatiisibwa kuwowogana kwabwe,
newaakubadde oluyoogaano lwabwe.
Bw’atyo ne Mukama Katonda ow’Eggye bw’aliserengeta,
okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku busozi bwa lwo.
5 (E)Ng’ebinyonyi bwe bibuukira waggulu,
bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye bw’alisaanikira Yerusaalemi;
alikikuuma, n’akiwonya,
alikiyitamu n’akirokola.”
6 Mudde eri oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abaana ba Isirayiri. 7 (F)Mu biro ebyo buli omu ku mmwe alisuulira ddala wala ebitali Katonda ebya ffeeza ne zaabu, emikono gyo egitali mituukirivu gye byakola.
8 (G)“Bwasuli kirigwa n’ekitala ekitali kya muntu;
ekitala ekitali ky’abo abafa kirimusaanyaawo.
Alidduka ekitala,
n’abavubuka be balikozesebwa emirimu egy’amaanyi n’obuwaze.
9 (H)Ekigo kyabwe kirigwa olw’okutya,
n’abaduumizi baabwe balitekemuka omutima olw’okulaba ebbendera ey’olutalo,”
bw’ayogera Mukama
nannyini muliro oguli mu Sayuuni,
era nannyini kikoomi ekiri mu Yerusaalemi.
Ennyanjula
1 (A)Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo, Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu. Kristo yakimanyisa ng’atuma malayika we eri omuweereza we Yokaana 2 (B)eyategeeza ekigambo kya Katonda n’obujulirwa bwa Yesu Kristo ku byonna bye yalaba. 3 (C)Alina omukisa oyo asoma n’abo abawulira ebigamb MAT - Mathayo o by’obunnabbi buno, ne beekuuma ebiwandiikiddwa, kubanga ekiseera kiri kiweddeyo.
Okulamusa n’Okutendereza Mukama
4 (D)Nze Yokaana mpandiikira Ekkanisa omusanvu eziri mu Asiya.
Mbagaliza ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda oyo aliwo, era eyaliwo era alibaawo; n’ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g’entebe ye ey’obwakabaka,[a] 5 (E)era n’okuva eri Yesu Kristo omujulirwa omwesigwa. Oyo ye yasooka okuzuukira mu bafu, era y’afuga bakabaka ab’omu nsi; oyo yatwagala, era ye yatuggya mu bibi byaffe n’omusaayi gwe, 6 (F)n’atufuula obwakabaka bw’obwakabona bwa Katonda, Kitaawe. Ekitiibwa n’obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n’emirembe. Amiina.
7 (G)Laba, ajja n’ebire,
na buli liiso lirimulaba,
n’abaamufumita balimulaba,
era n’amawanga gonna ku nsi galimukungubagira.
Weewaawo. Amiina!
8 (H)“Nze Alufa ne Omega,”[b] bw’ayogera Mukama Katonda, “oyo aliwo, eyabaawo era alikomawo, Ayinzabyonna.”
Oyo eyali ng’Omwana w’Omuntu
9 (I)Nze muganda wammwe Yokaana, abonaabonera awamu nammwe mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw’ekigambo kya Katonda era n’okujulira ebya Yesu. 10 (J)Nnali mu mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe,[c] ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka emabega wange, eryavuga ng’ery’akagombe, 11 (K)nga ligamba nti, “By’olaba, biwandiike mu kitabo, okiweereze eri Ekkanisa omusanvu: Ekkanisa ey’omu Efeso, n’ey’omu Sumuna, n’ey’omu Perugamo, n’ey’omu Suwatira, n’ey’omu Saadi, n’ey’omu Firaderufiya n’ey’omu Lawodikiya.”
12 (L)Ne nkyuka okulaba eyali ayogera nange, ne ndaba ebikondo by’ettaala ebya zaabu musanvu. 13 (M)Era wakati mu byo ne ndabamu omuntu “eyali ng’Omwana w’Omuntu” eyali ayambadde ekyambalo ekiwanvu ekikoma ku bigere, nga yeesibye mu kifuba olukoba olwa zaabu. 14 (N)Omutwe gwe n’enviiri ze byali byeru ng’ebyoya by’endiga ebyeru, era nga bifaanana ng’omuzira, n’amaaso ge nga gali ng’ennimi z’omuliro. 15 (O)Ebigere bye byali ng’ekikomo ekizigule ekyakaayakana mu muliro n’eddoboozi lye nga liyira ng’amazzi amangi. 16 (P)Yali akutte emmunyeenye musanvu mu mukono gwe ogwa ddyo era ng’alina ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri[d] mu kamwa ke; n’ekyenyi kye nga kiri ng’enjuba eyakaayakana mu maanyi gaayo.
17 (Q)Bwe namulaba, ne ngwa wansi ku bigere bye ne mba ng’afudde, kyokka ye n’anteekako omukono gwe ogwa ddyo n’aŋŋamba nti, “Totya. Nze Owoolubereberye era Owenkomerero, 18 (R)era omulamu. Nnali nfudde naye kaakano ndi mulamu emirembe gyonna, era nnina ebisumuluzo eby’okufa n’amagombe.
19 “Kale wandiika ebyo by’olabye ebiriwo n’ebyo ebinaatera okubaawo oluvannyuma lw’ebyo ebiriwo. 20 (S)Ka nkubuulire amakulu g’emmunyeenye omusanvu z’olabye mu mukono gwange ogwa ddyo, era n’ebikondo eby’ettaala ebya zaabu omusanvu. Emmunyeenye omusanvu be bamalayika b’Ekkanisa omusanvu, ate ebikondo by’ettaala eza zaabu omusanvu ze Kkanisa omusanvu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.