M’Cheyne Bible Reading Plan
Amazzi Okuva mu Lwazi
20 (A)Mu mwezi ogw’olubereberye, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, ne batuuka mu ddungu lya Zini, ne batuula mu Kadesi. Miryamu n’afiira eyo, era gye yaziikibwa.
2 (B)Awo ekibiina kyonna ne kitaba na mazzi. Abantu bonna ne beekuŋŋanyiza ku Musa ne Alooni. 3 (C)Ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Singa nno naffe twafa, baganda baffe bwe baafiira mu maaso ga Mukama Katonda! 4 (D)Lwaki waleeta ekibiina kya Mukama Katonda kino mu ddungu tulyoke tufiire wano n’ebisibo byaffe? 5 (E)Lwaki watuggya mu nsi y’e Misiri okutuleeta mu kifo kino ekibi bwe kiti? Tekiriimu mmere ya mpeke wadde ttiini, so si kifo kya mizabbibu, so si kya mikomamawanga. Tewali na mazzi ge tuyinza kunywako!”
6 (F)Awo Musa ne Alooni ne bava mu maaso g’ekibiina ky’abantu ne balaga ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bavuunama wansi. Ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kibalabikira. 7 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 8 (G)“Twala omuggo, ggwe ne muganda wo Alooni mukuŋŋaanye ekibiina kyonna. Lagira olwazi nga n’ekibiina kyonna kiraba, lujja kufukumula amazzi. Bw’otyo obaggire amazzi mu lwazi, basobole okunywako, era banywese n’ebisibo byabwe.”
9 (H)Musa n’aggya omuggo awali Mukama n’agutwala nga Mukama Katonda bwe yamulagira. 10 (I)Musa ne Alooni ne bakuŋŋanyiza ekibiina ky’abantu bonna awali olwazi, Musa n’agamba abantu nti, “Mumpulirize, mmwe abajeemu; kitugwanidde ffe okubaggyira amazzi mu lwazi luno?” 11 (J)Awo Musa n’ayimusa omukono gwe n’akuba olwazi n’omuggo gwe emirundi ebiri. Amazzi mangi ne gafukumuka okuva mu lwazi, abantu bonna mu kibiina ne banywa, n’ebisibo byabwe nabyo ne binywa.
12 (K)Naye Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, “Olwokubanga temunneesize, ne mutampa kitiibwa, ne mutalaga kibiina kino eky’abaana ba Isirayiri nga bwe ndi omutukuvu, noolwekyo temugenda kutuusa kibiina ky’abantu bano mu nsi gye mbasuubizza okubawa.”
13 (L)Ago ge mazzi ag’e Meriba, abaana ba Isirayiri gye baayombera ne Mukama, era ne Mukama Katonda gye yeeragira mu bo nga mutukuvu.
Edomu Obutawa Isirayiri Lukusa Kuyitawo
14 (M)Musa yatumira Kabaka wa Edomu ababaka ng’asinziira e Kadesi ng’amugamba nti,
“Muganda wo Isirayiri agamba bw’ati nti: Ebizibu byonna ebyatutuukako obimanyi. 15 (N)Omanyi nga bajjajjaffe bwe baaserengeta mu Misiri, ne tumalayo emyaka mingi. Abamisiri ne bayisa bubi bakadde baffe, era naffe; 16 (O)naye bwe twakaabirira Mukama Katonda, yawulira okukaaba kwaffe, n’atutumira malayika n’atuggya mu nsi y’e Misiri. Kaakano tuli wano mu Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n’ensi yo.
17 (P)“Nkwegayirira otukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka Olunene, era tetugenda kuluvaamu kukyamako ku ludda olwa kkono oba olwa ddyo okutuusa nga tumaze okuva mu nsi yo.”
18 Naye Edomu n’addamu nti,
“Tojja kuyita wano, bw’onookikola tujja kwesowolayo tukulumbe n’ekitala.”
19 (Q)Abaana ba Isirayiri ne baddamu nti,
“Tujja kwambukira mu luguudo olunene mwokka, era ebisibo byaffe naffe bwe tunaanywa ku mazzi gammwe tujja kugasasulira. Twagala kuyitawo buyisi nga tutambuza bigere, tetwetaagayo kirala.”
20 Naye Edomu n’addamu nti,
“Temuyitawo.”
Edomu ne yeesowolayo n’eggye ddene nnyo era nga lya maanyi. 21 (R)Bw’atyo Edomu n’agaana Isirayiri okuyitira mu matwale ge, Isirayiri n’amuviira.
Okufa kwa Alooni
22 (S)Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Kadesi, ne batuuka ku lusozi Koola. 23 (T)Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni, nga bali ku lusozi Koola okuliraana n’ensalo y’ensi ya Edomu, nti, 24 (U)“Alooni ajja kugenda abantu be bonna gye baalaga, kubanga tagenda kuyingira mu nsi gye nzija okuwa abaana ba Isirayiri. Kubanga mwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku mazzi ag’e Meriba. 25 (V)Leeta Alooni ne mutabani we Eriyazaali, obaleete ku lusozi Koola; 26 (W)Alooni omwambulemu ebyambalo bye, obyambaze Eriyazaali mutabani we, kubanga Alooni ajja kufa agende abantu be bonna gye baalaga.”
27 Musa n’akola nga Mukama bwe yamulagira; ne balinnya olusozi Koola ng’abantu bonna mu kibiina balaba. 28 (X)Musa n’ayambulamu Alooni ebyambalo, n’abyambaza Eriyazaali mutabani wa Alooni. Alooni n’afiira awo ku ntikko y’olusozi. Musa ne Eriyazaali ne baserengeta ne bakka wansi w’olusozi. 29 (Y)Abantu bonna mu kibiina bwe bategeera nga Alooni afudde, ab’omu nnyumba ya Isirayiri bonna ne bakungubagira Alooni okumala ennaku amakumi asatu.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi.
58 (A)Ddala mwogera eby’amazima oba musirika busirisi?
Abaana b’abantu mubasalira emisango mu bwenkanya?
2 (B)Nedda, mutegeka ebitali bya bwenkanya mu mitima gyammwe;
era bye mukola bireeta obwegugungo mu nsi.
3 Abakola ebibi bakyama nga baakazaalibwa,
bava mu lubuto nga balina ekibi, era bakula boogera bya bulimba.
4 (C)Balina obusagwa ng’obw’omusota;
bali ng’enswera etawulira ezibikira amatu gaayo;
5 n’etawulira na luyimba lwa mukugu
agisendasenda okugikwata.
6 (D)Ayi Katonda, menya amannyo gaabwe;
owangulemu amannyo g’empologoma zino, Ayi Mukama.
7 (E)Leka babule ng’amazzi agakulukuta ne gagenda.
Bwe banaanuula omutego, leka obusaale bwabwe bwe balasa bufufuggale.
8 (F)Babe ng’ekkovu erisaanuukira mu lugendo lwalyo.
Babe ng’omwana azaaliddwa ng’afudde, ataliraba ku njuba!
9 (G)Nga n’entamu tennabuguma,
alibayerawo n’obusungu obungi nga kibuyaga ow’amaanyi ennyo.
10 (H)Omutuukirivu alisanyuka ng’alabye bamuwalanidde eggwanga,
olwo n’ebigere bye ne bisaabaana omusaayi ogw’abakola ebibi.
11 (I)Awo abantu bonna balyogera nti,
“Ddala, abatuukirivu balwanirirwa.
Ddala waliwo Katonda alamula mu bwenkanya ku nsi.”
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi, Sawulo bwe yatuma bakuume enju ya Dawudi bamutte.
59 (J)Ayi Katonda wange, mponya abalabe bange;
onnwanirire, abantu bwe bangolokokerako.
2 (K)Omponye abakola ebitali bya butuukirivu,
era ondokole mu batemu.
3 (L)Laba banneekwekeredde nga banteega okunzita.
Abasajja ab’amaanyi abakambwe banneekobera, Ayi Mukama,
so nga soonoonye wadde okubaako ne kye nsobezza.
4 (M)Sirina kye nsobezza, naye bateekateeka okunnumba.
Tunuulira obuzibu bwange, osituke, onnyambe.
5 (N)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri,
golokoka obonereze amawanga gonna;
abo bonna abasala enkwe tobasaasira.
6 (O)Bakomawo buli kiro,
nga babolooga ng’embwa,
ne batambulatambula mu kibuga.
7 (P)Laba, bwe bavuma!
Ebigambo biwamatuka mu kamwa kaabwe ng’ebitala,
nga boogera nti, “Ani atuwulira?”
8 (Q)Naye ggwe, Ayi Mukama, obasekerera,
era amawanga ago gonna oganyooma.
9 (R)Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakwesiganga
era nnaakutenderezanga, kubanga ggwe kigo kyange ekinywevu. 10 Katonda wange anjagala
anankulemberanga,
ne ndyoka neeyagalira ku balabe bange.
11 (S)Tobatta, Ayi Mukama, engabo yaffe,
abantu bange baleme kwerabira;
mu buyinza bwo obungi, baleke batangetange;
n’oluvannyuma obakkakkanyize ddala.
12 (T)Amalala gaabwe n’ebyonoono ebiva mu kamwa kaabwe,
n’ebigambo by’oku mimwa gyabwe
leka byonna bibatege ng’omutego.
Kubanga bakolima era ne boogera eby’obulimba.
13 (U)Bamaleewo n’ekiruyi kyo,
bamalirewo ddala;
amawanga gonna galyoke gategeere
nga Katonda wa Yakobo y’afuga ensi yonna.
14 Bakomawo nga buwungedde
nga babolooga ng’embwa,
ne batambulatambula mu kibuga.
15 (V)Banoonya emmere buli wantu mu kibuga,
ne bawowoggana bwe batakkuta.
16 (W)Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go;
mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo;
kubanga ggwe kigo kyange,
era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.
17 Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza;
kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.
Obusungu bwa Mukama Ku Isirayiri
8 Mukama yaweereza obubaka obukwata ku Yakobo,[a]
ku birituuka ku Isirayiri.
9 (A)Era abantu bonna balibumanya,
Efulayimu n’abantu b’omu Samaliya
aboogera n’amalala
n’omutima omukakanyavu,
10 nti, “Amatoffaali gagudde wansi
naye tulizimbya amayinja amateme,
emisukamooli gitemeddwawo
naye tulizzaawo emivule.”
11 (B)Mukama Katonda kyaliva awa abalabe ba Lezini amaanyi bamulumbe;
alibakumaakuma bamulumbe.
12 (C)Abasuuli balisinziira mu buvanjuba, n’Abafirisuuti bave ebugwanjuba,
balyoke basaanyeewo Isirayiri n’akamwa akaasamye.
Newaakubadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo
era omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
13 (D)Kubanga abantu tebakyuse kudda
wadde okunoonya Mukama Katonda ow’Eggye eyabakuba.
14 (E)Bw’atyo Mukama Katonda kyaliva asala ku Isirayiri, omutwe n’omukira,
ettabi n’olukindu mu lunaku lumu.
15 (F)Omutwe be bakadde n’abantu ab’ekitiibwa,
n’omukira be bannabbi abayigiriza eby’obulimba.
16 (G)Kubanga abakulembera abantu bano bababuzaabuuza,
n’abo abakulemberwa babuzibwabuzibwa.
17 (H)Noolwekyo, Mukama tajja kusanyukira bavubuka,
wadde okukwatirwa ekisa abo abataliiko ba kitaabwe wadde bannamwandu;
kubanga buli omu mukozi wa bibi,
era buli kamwa konna kogera eby’obuwemu.
Olwa bino byonna, obusungu bwa Mukama tebunakyusibwa kubavaako,
era omukono gwe gukyagoloddwa.
18 (I)Ddala ekibi kyokya ng’omuliro;
gumalawo emyeramannyo n’obusaana.
Era gukoleeza eby’omu kibira,
omukka ne gunyooka ne gutumbiira waggulu.
19 (J)Olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
ensi eggiiridde ddala,
era n’abantu bali ng’enku ez’okukuma omuliro,
tewali muntu alekawo muganda we.
20 (K)Balimalawo eby’oku mukono ogwa ddyo,
naye balisigala bayala;
balirya n’eby’oku kkono,
naye tebalikkuta.
Buli omu alirya ku mubiri gw’ezzadde lye.
21 (L)Manase alirya Efulayimu ne Efulayimu n’alya Manase
ate bombi ne balya Yuda.
Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo,
era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
10 (M)Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya,
n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza,
2 (N)okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde;
era n’okunyaga ku bantu bange abaavu ebyabwe,
ne bafuula bannamwandu omunyago gwabwe,
n’abatalina ba kitaabwe omuyiggo gwabwe!
3 (O)Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango
ne mu kuzikirira okuliva ewala?
Muliddukira w’ani alibayamba?
Obugagga bwammwe mulibuleka wa?
4 (P)Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe
oba okuba mu abo abattiddwa.
Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo,
era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
Okufuga olulimi
3 Abooluganda, abayigiriza tebasaanye kubeera bangi mu mmwe, kubanga mukimanyi nga ffe tulisalirwa omusango munene okusinga abalala. 2 (A)Ffenna tusobya mu ngeri nnyingi. Omuntu yenna atasobya mu kwogera, aba muntu eyatuukirira, asobola okufuga omubiri gwe gwonna.
3 (B)Tuyinza okufuga embalaasi ne tugikozesa kye twagala olw’ebyuma bye tuba tutadde mu kamwa kaayo. 4 Era n’enkasi entono esobola okukyusa ekyombo ekinene ennyo n’ekiraza omugoba waakyo gy’ayagala, newaakubadde ng’empewo ekisindika ebeera ya maanyi mangi. 5 (C)N’olulimi bwe lutyo, newaakubadde nga kantu katono, lwenyumiriza nnyo. Akaliro akatono kasobola okukoleeza ekibira ekinene ne kiggya. 6 (D)Olulimi nalwo muliro. Lujjudde obutali butuukirivu bungi okusinga ebitundu ebirala eby’omubiri gwaffe. Lwo omuliro luguggya mu ggeyeena, ne lulyoka lukoleeza omubiri gw’omuntu gwonna ne gwaka ng’oluyiira okumutuusa mu kuzikirira.
7 Abantu, ebisolo ebya buli ngeri n’ennyonyi, n’ebyekulula, era n’eby’omu nnyanja basobola okubiyigiriza ne babifuga, 8 (E)naye tewali muntu n’omu asobola kufuga lulimi. Terufugika era lubi nnyo, lujjudde obutwa obuttirawo.
9 (F)Olulimi tulukozesa okutendereza Mukama era Kitaffe, ate era lwe tukolimiza abantu abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. 10 Mu kamwa ke kamu ne muvaamu okutendereza n’okukolima. Abooluganda, kino si bwe kyandibadde bwe kityo! 11 Ensulo y’emu eyinza okuvaamu amazzi agawoomerera n’agakaawa? 12 (G)Abooluganda omutiini guyinza okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? Bw’etyo n’ensulo y’emu teyinza kuvaamu mazzi ga munnyo na gawoomerera.
Amagezi agava mu ggulu
13 (H)Ani alina amagezi n’okutegeera mu mmwe? Kale abiragirenga mu mpisa ze ennungi ng’akola ebikolwa eby’obwetoowaze eby’amagezi. 14 (I)Bwe muba n’omutima omukyayi ogujjudde n’obuggya, era nga mwefaako mwekka, temusaanidde kwewaana na kulimba nga mukontana n’amazima. 15 (J)Kubanga amagezi ng’ago tegava eri Katonda mu ggulu wabula ga ku nsi, era si ga mwoyo wazira ga Setaani. 16 Kubanga buli awabeera obuggya n’okwefaako wekka, wabeerawo okutabukatabuka era n’ebikolwa ebirala ebibi byonna.
17 (K)Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi. 18 (L)Era ekibala eky’obutuukirivu kiva mu abo abakolerera emirembe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.