Okuva 17:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Nange nzija kukwesooka mu maaso nyimirire ku lwazi e Kolebu, onookuba olwazi ne muvaamu amazzi abantu banywe.” Musa n’akola bw’atyo nga n’abakulembeze ba Isirayiri balaba.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 8:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Eyakukulemberanga n’akuyisanga mu ddungu eddene era ezzibu ennyo eritiisa, ekkalu omutali tuzzi, nga libunye emisota emikambwe egy’obusagwa, n’enjaba. Eyakuggyira amazzi mu lwazi.
Read full chapter
Zabbuli 78:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 Yaggya ensulo mu lwazi,
n’akulukusa amazzi ng’emigga.
Isaaya 48:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Kubanga beeyita ab’ekibuga ekitukuvu,
abeesiga Katonda wa Isirayiri,
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
1 Abakkolinso 10:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)era bonna baanywanga ekyokunywa kye kimu eky’omwoyo, kubanga bonna baanywanga mu lwazi olw’omwoyo olwabagobereranga era olwazi olwo yali Kristo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.