M’Cheyne Bible Reading Plan
Okutukuza Atali Mulongoofu
19 Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, 2 (A)“Kino kye kiragiro eky’etteeka Mukama ky’alagidde: Gamba abaana ba Isirayiri bakuleetere ente enduusi eya lukunyu eteriiko kamogo wadde ekikyamu kyonna, era nga tesibibwangamu kikoligo. 3 (B)Ogiwanga Eriyazaali kabona; eneetwalibwanga ebweru w’olusiisira n’ettirwa mu maaso ge. 4 (C)Eriyazaali anaddiranga ku musaayi gwayo n’olunwe lwe n’agumansira okwolekera obwenyi bwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu emirundi musanvu. 5 (D)Ente eyo eneeyokerwanga mu maaso ge; ne bookya eddiba lyayo, n’ennyama yaayo, n’omusaayi gwayo n’obusa bwayo. 6 (E)Kabona anaddiranga omuti omwerezi, n’ezobu n’olugoye olumyufu n’abisuula wakati mu nte eyokebwa. 7 (F)Ebyo nga biwedde kabona anaayozanga ebyambalo bye n’anaaba omubiri gwe n’amazzi. Anaddangayo mu lusiisira, naye anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 8 N’omusajja anaayokyanga ente eyo, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe n’amazzi, era naye anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
9 (G)“Omusajja omulongoofu anaayoolanga evvu ly’ente, anaaliteekanga mu kifo ekirongoofu ebweru w’olusiisira. Linaalabirirwanga abaana ba Isirayiri ne balikozesanga mu mazzi ag’okwerongoosa; kwe kulongoosebwa okw’okuggibwako ekibi. 10 Omuntu oyo anaayoolanga evvu ly’ente, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, era naye taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Eryo linaabanga etteeka ery’emirembe n’emirembe eri abaana ba Isirayiri n’eri bannamawanga abanaatuulanga mu bo.
11 (H)“Buli anaakwatanga ku mulambo ogw’omuntu yenna, anaabanga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu. 12 (I)Kinaamusaaniranga okwerongoosa n’amazzi ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu, olwo n’alyoka abeera omulongoofu. Naye bw’ateerongoosenga ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu, taabenga mulongoofu. 13 (J)Buli anaakwatanga ku mulambo gw’omuntu n’ateelongoosa, anaabanga ayonoonye ennyumba ya Mukama Katonda. Omuntu oyo anaagobwanga mu Isirayiri. Kubanga teyamansirwako mazzi agalongoosa, anaabeeranga atali mulongoofu; obutali bulongoofu bwe bunaamusigalangako.
14 “Lino lye tteeka erikwata ku muntu anaafiiranga mu weema: Buli anaayingiranga mu weema omwo n’oyo anaabanga agirimu banaabanga abatali balongoofu okumala ennaku musanvu. 15 Buli kintu ekiterekwamu ekyasaamiridde ekitaliiko kisaanikira tekiibenga kirongoofu.
16 (K)“Omuntu yenna ng’abadde ali ebweru mu kyererezi, n’akwata ku muntu attiddwa n’ekitala oba olumbe gwe lusse, oba omuntu yenna anaakwatanga ku ggumba ly’omuntu oba ku malaalo, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu.
17 (L)“Nga mukola ku muntu atali mulongoofu, munaatoolanga ku vvu ery’oku kiweebwayo olw’ekibi ne muliteeka mu bbakuli ne muliyiwako amazzi amalungi. 18 (M)Omusajja omulongoofu anaddiranga ezobu n’aginnyika mu mazzi, n’agamansira ku weema ne ku bintu byamu byonna ne ku bantu bonna abanaabanga balimu. Era anaamansiranga ne ku muntu anaabanga akutte ku ggumba ery’omuntu, ne ku malaalo, ne ku muntu attiddwa, ne ku oyo afudde olumbe. 19 (N)Omusajja omulongoofu anaamansiranga ku oyo atali mulongoofu ku lunaku olwokusatu ne ku lw’omusanvu, ne ku lunaku olw’omusanvu anaabanga amulongoosezza. Omuntu oyo alongoosebwa anaayozanga engoye ze mu mazzi, n’okunaaba n’anaaba yenna; era akawungeezi ako anaabeeranga mulongoofu.
Ekibonerezo eky’Obuteerongoosa
20 “Naye omuntu atali mulongoofu bw’ateerongoosenga anaagobwanga mu banne bonna, n’asalibwa ku kibiina kyabwe, kubanga anaabeeranga ayonoonye awatukuvu wa Mukama Katonda. Amazzi agalongoosa nga tegamumansiddwako, taabeerenga mulongoofu. 21 Eryo linaabanga tteeka lyabwe lya mirembe gyonna. Oyo anaamansiranga amazzi ag’obulongoofu, naye anaayozanga engoye ze, n’oyo anaakwatanga ku mazzi ag’okulongoosa anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 22 (O)Buli kintu atali mulongoofu ky’akwatako, kinaabanga ekitali kirongoofu; na buli anaakikwatangako anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.”
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Abafirisuuti bwe baamukwatira mu Gaasi.
56 (A)Onsaasire, Ayi Katonda, kubanga abalabe bange banjigganya;
buli lunaku bannumba n’amaanyi.
2 (B)Abalabe bange bannondoola,
bangi bannwanyisa nga bajjudde amalala.
3 (C)Buli lwe ntya,
neesiga ggwe.
4 (D)Nditendereza Katonda ne nyweerera mu kigambo kye,
ye Katonda gwe neesiga; siityenga.
Abantu obuntu bagenda kunkolako ki?
5 (E)Olunaku lwonna bye njogera babifuulafuula;
ebbanga lyonna baba basala nkwe kunkola kabi.
6 (F)Beekobaana ne bateesa,
banneekwekerera ne bawuliriza enswagiro zange;
nga bannindirira banzite.
7 (G)Tobakkiriza kudduka ne bawona;
mu busungu bwo, Ayi Katonda, osuule amawanga.
8 (H)Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi;
amaziga gange gateeke mu ccupa yo!
Wagawandiika.
9 (I)Bwe nkukoowoola,
abalabe bange nga badduka.
Kino nkimanyi kubanga Katonda ali ku ludda lwange.
10 Katonda gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;
Mukama gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;
11 Katonda oyo gwe neesiga, siityenga.
Abantu bayinza kunkolako ki?
12 (J)Ndituukiriza obweyamo bwange gy’oli, Ayi Katonda;
ndikuleetera ebirabo eby’okukwebaza.
13 (K)Kubanga emmeeme yange ogiwonyezza okufa.
Ebigere byange tobiwonyezza okwesittala;
ne ndyoka ntambulira mu maaso ga Katonda
mu musana nga ndi mulamu?
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka Sawulo, n’alaga mu mpuku.
57 (L)Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire,
kubanga neesiga ggwe.
Nzija kwekweka mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo
okutuusa okuzikirira bwe kulikoma.
2 (M)Nkoowoola Katonda Ali Waggulu Ennyo,
Katonda atuukiriza bye yantegekera.
3 (N)Alisinzira mu ggulu n’andokola,
n’amponya abo abampalana.
Katonda anandaganga obwesigwa bwe n’okwagala kwe okutaggwaawo.
4 (O)Mbeera wakati mu mpologoma,
nsula mu bisolo ebirya abaana b’abantu.
Amannyo g’abalabe bange gali ng’amafumu n’obusaale.
Ennimi zaabwe ziri ng’ebitala ebyogi.
5 (P)Ayi Katonda, ogulumizibwenga okusinga eggulu;
n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
6 (Q)Baatega ekitimba mu kkubo lyange,
ne ntya nnyo;
ne basimamu obunnya,
ate bo bennyini ne babugwamu.
7 (R)Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda,
omutima gwange munywevu.
Nnaakutenderezanga n’ennyimba.
8 (S)Zuukuka, ggwe omwoyo gwange!
Zuukuka ggwe ennanga ey’enkoba, naawe entongooli,
ndyoke nnyimbe okukeesa obudde.
9 Ayi Mukama, ndikwebaza mu mawanga;
ndiyimba nga nkutendereza mu bantu.
10 (T)Kubanga okwagala kwo kungi nnyo, kutuuka ne ku ggulu;
n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.
11 (U)Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okusinga eggulu;
n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
Mukama Akozesa Bwasuli Okubonereza Isirayiri
8 (A)Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Kwata ekipande ekinene okiwandiikeko n’ekkalaamu nti: Kya Makerusalalukasubazi.” 2 (B)Ne ndyoka neeyitira abajulirwa abeesigwa, Uliya kabona, ne Zekkaliya omwana wa Yeberekiya.
3 Ne ŋŋenda eri nnabbi omukazi, n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. Mukama Katonda n’alyoka agamba nti, “Mmutuume erinnya Makerusalalukasubazi. 4 (C)Kubanga omwana nga tannamanya kugamba nti, ‘Taata’, oba ‘Maama’, obugagga bw’e Ddamasiko n’omunyago gwe Samaliya birinyagibwa kabaka w’e Bwasuli.”
5 Mukama Katonda n’addamu n’ayogera nange nti,
6 (D)“Kubanga abantu bano bagaanye
amazzi g’e Sirowa agakulukuta empolampola,[a]
ne bajaguza olwa Lezini
ne mutabani wa Lemaliya,
7 (E)kale nno Mukama anaatera okubaleetako
amazzi ag’Omugga, ag’amaanyi era amayitirivu,
ye kabaka w’e Bwasuli n’ekitiibwa kye kyonna;
galisukka ensalosalo zonna,
ne ganjaala ku ttale lyonna.
8 (F)Era galyeyongera ne ganjaala mu Yuda,
galyanjaala ne gamuyitamu gakome ne mu bulago,
n’emikutu gyago gyegolole okujjuza ensi yo,
ggwe Emmanweri.”
9 (G)Muyimbe ennyimba z’entalo mmwe amawanga naye mwekaabire.
Mutege amatu mmwe mwenna ab’ensi ezeewala;
mwenyweze naye mwekaabire;
mwenyweze naye mwekaabire.
10 (H)Muteese enkola yammwe, naye yakugwa butaka,
mwogere ekigambo naye tekirituukirira.
11 (I)Kubanga Mukama Katonda yayogera nange ng’antaddeko omukono gwe ogw’amaanyi, ng’andabula nneme okugoberera ekkubo ly’abantu bano, ng’aŋŋamba nti,
12 (J)“Ebintu byonna abantu bano bye bayita enkwe,
temubiyita nkwe,
era temutya bye batya,
wadde okutekemuka[b] omutima.
13 (K)Naye mujjukire nti nze Mukama Katonda ow’Eggye, nze Mutukuvu,
nze gwe muba mutya,
era gwe muba mwekengera.
14 (L)Olw’obutukuvu eri ennyumba zombi eza Isirayiri
aliba ejjinja era olwazi kwe bagwa,
era alibeera omutego era ekyambika eri ab’omu Yerusaalemi.
15 (M)Era bangi abaliryesittalako,
bagwe, bamenyeke,
bategebwe bakwatibwe.”
16 (N)Nyweza obujulirwa
okakase amateeka mu bayigirizwa bange.
17 (O)Nange nnaalindirira Mukama Katonda
akwese amaaso ge okuva ku nnyumba ya Yakobo,
mmunoonye n’essuubi.
18 (P)Laba, nze n’abaana Mukama Katonda bampadde tuli bubonero n’ebyewuunyo mu Isirayiri obuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, abeera ku lusozi Sayuuni.
19 (Q)Abantu bwe babagamba nti mwebuuze ku abo abaliko emizimu, n’abasamize abakaaba ng’ennyonyi era abajoboja, eggwanga tekirigwanira kwebuuza ku Katonda waalyo? Lwaki ebikwata ku balamu mubibuuza abafu? 20 (R)Tudde eri amateeka n’obujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera. 21 (S)Era baliyita mu nsi nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala; era enjala bweriyitirira okubaluma ne banyiiga era nga batunudde waggulu balikolimira kabaka ne Katonda waabwe. 22 (T)Era bwe balitunula ku nsi baliraba nnaku na kizikiza, n’entiisa ey’okubonaabona basuulibwe mu kizikiza ekikutte zigizigi.
Omulokozi Atuzaaliddwa
9 (U)Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali mu kubonaabona. Edda yatoowaza ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, naye mu kiseera ekijja aliwa Ggaliraaya ekitiibwa, ensi ey’abamawanga emitala wa Yoludaani, awali ekkubo erigenda ku nnyanja.
2 (V)Abantu abaatambuliranga mu kizikiza
balabye ekitangaala eky’amaanyi,
abo abaatuulanga mu nsi ey’ekizikiza ekingi,
omusana gubaakidde.
3 Oyazizza eggwanga,
obongedde essanyu,
basanyukira mu maaso go ng’abantu bwe basanyuka mu biseera eby’amakungula,
ng’abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago.[c]
4 (W)Nga ku lunaku Abamidiyaani lwe baawangulwa,
omenye ekikoligo ekyamuzitoowereranga,
n’ekiti eky’oku kibegabega kye,
n’oluga lw’oyo amunyigiriza.
5 (X)Kubanga buli ngatto ya mulwanyi ekozesebwa mu lutalo
na buli kyambalo ekibunye omusaayi,
biriba bya kwokebwa,
bye birikozesebwa okukoleeza omuliro.
6 (Y)Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe,
omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe,
n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye.
N’erinnya lye aliyitibwa nti,
Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna,
Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.
7 (Z)Okufuga kwe n’emirembe
biryeyongeranga obutakoma.
Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe,
n’okubuwanirira n’obwenkanya n’obutuukirivu
okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
Obumalirivu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
bulikituukiriza ekyo.
Obutabaamu kyekubiira
2 (A)Abooluganda, mmwe abakkiririza mu Mukama waffe Yesu Kristo, Mukama ow’ekitiibwa, temusosolanga mu bantu. 2 Kubanga singa omuntu omu ajja mu kuŋŋaaniro lyammwe, ng’ayambadde engoye ez’omuwendo omunene, ng’anaanise n’empeta eza zaabu ku ngalo ze, mu kiseera kye kimu ne wajjawo n’omusajja omwavu ng’ali mu ngoye ezisensusesensuse, 3 ne mwaniriza omugagga, ne mumugamba nti, “Tuulira wano kyokka ne mugamba omwavu nti ggwe oyinza okuyimirira wali, oba si ekyo tuula wano wansi w’akatebe kwe nteeka ebigere byange,” 4 (B)kale muba temwesosoddeemu mwekka na mwekka nga mukyamizibwa ebirowoozo byammwe ebibi?
5 (C)Mumpulirize, abooluganda abaagalwa, Katonda teyalonda abo ensi b’eyita abaavu, okuba abagagga mu kukkiriza, era okuba abasika ab’obwakabaka obw’omu ggulu, Katonda bwe yasuubiza abo abamwagala? 6 (D)Naye munyooma omwavu. Abagagga si be babanyigiriza ne babatwala ne mu mbuga z’amateeka? 7 Era si be banyoomoola erinnya eddungi lye muyitibwa?
8 (E)Kiba kirungi nnyo era kya kitiibwa bwe mugondera etteeka eriri mu Kyawandiikibwa erigamba nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” 9 (F)Naye bwe musosola mu bantu muba mukoze kibi, n’etteeka libasingisa omusango ng’aboonoonyi. 10 (G)Era omuntu akwata amateeka gonna, naye n’asobyako erimu, omusango gumusinga mu ngeri y’emu ng’oli asobezza amateeka gonna. 11 (H)Kubanga Katonda eyagamba nti, “Toyendanga,” era y’omu eyagamba nti, “Tottanga.” Noolwekyo singa toyenda, naye n’otta oba mumenyi wa mateeka gonna.
12 (I)Noolwekyo mwogere era mukole ng’amateeka ag’eddembe bwe gali naye nga mumanyi nti tunaatera okulamulwa. 13 (J)Kubanga abo abatalina kisa, nabo tebalikwatirwa kisa. Ekisa kiwangula omusango.
Okukkiriza n’ebikolwa ebirungi
14 (K)Abooluganda, kibagasa ki okugamba nti mulina okukkiriza kyokka ng’okukkiriza kwammwe temukwoleka mu bikolwa? Mulowooza ng’okukkiriza ng’okwo kugenda kubalokola? 15 (L)Singa muganda wo oba mwannyoko takyalina kyakwambala wadde ekyokulya, 16 (M)naye omu ku mmwe n’amugamba nti, “Genda mirembe, obugume, era olye bulungi”, naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki? 17 Noolwekyo n’okukkiriza bwe kutyo; bwe kutabaako bikolwa kuba kufu.
18 (N)Naye omuntu ayinza okugamba nti, “Ggwe olina okukkiriza nange nnina ebikolwa; ndaga okukkiriza kwo okutaliiko bikolwa, nange nkulage ebikolwa byange nga bwe bikakasa okukkiriza kwange.” 19 (O)Okukkiriza obukkiriza nti waliwo Katonda omu yekka, kirungi. Naye ne baddayimooni nabo bakkiriza n’okukankana ne bakankana!
20 (P)Musirusiru ggwe! Oliyiga ddi ng’okukkiriza okutaliiko bikolwa tekuliiko kye kugasa? 21 (Q)Jjajjaffe Ibulayimu teyaweebwa obutuukirivu olw’ekikolwa kye yakola, bwe yawaayo omwana we lsaaka, afiire ku kyoto? 22 (R)Mulaba nga Ibulayimu bwe yalina okukkiriza, era okukkiriza kwe ne kutuukirizibwa olw’ebikolwa bye, 23 (S)n’ekyawandiikibwa ne kituukirizibwa ekigamba nti, “Ibulayimu yakkiriza Katonda, ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, era n’ayitibwa mukwano gwa Katonda.” 24 Kaakano mutegedde ng’omuntu asiimibwa Katonda olw’ebyo by’akola, so si lwa kukkiriza kyokka.
25 (T)Ekyokulabirako ekirala kye kya Lakabu, eyali malaaya. Teyaweebwa butuukirivu lwa kikolwa eky’okusembeza ababaka, n’oluvannyuma n’abasiibulira mu kkubo eddala nga baddayo, okubawonya? 26 (U)Ng’omubiri bwe guba omufu omwoyo bwe gutagubeeramu, n’okukkiriza bwe kutyo kuba kufu bwe kuteeyolekera mu bikolwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.