M’Cheyne Bible Reading Plan
Abiya Kabaka wa Yuda
13 Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu, Abiya n’afuuka kabaka wa Yuda, 2 (A)era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka esatu. Erinnya lya nnyina yali Mikaaya muwala wa Uliyeri ow’e Gibea. 3 Ne waba olutalo wakati wa Abiya ne Yerobowaamu. Abiya n’agenda mu lutalo ng’alina eggye lya basajja emitwalo amakumi ana, ate Yerobowaamu ng’alina abasajja emitwalo kinaana. 4 (B)Awo Abiya n’ayimirira ku Lusozi Zemalayimu mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, n’ayogera nti, “Yerobowaamu ne Isirayiri yenna, mumpulirize! 5 (C)Temumanyi nga Mukama Katonda wa Isirayiri, yagabula obwakabaka bwa Isirayiri eri Dawudi ne zadde lye emirembe gyonna olw’endagaano ey’omunnyo? 6 (D)Naye Yerobowaamu mutabani wa Nebati, omuddu wa Sulemaani mutabani wa Dawudi, n’amugolokokerako n’amujeemera. 7 (E)Era waaliwo abasajja abalalulalu abamu abeegatta ku Yerobowaamu ne bajeemera Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani bwe yali omuto, nga talina kyayinza kusalawo, nga n’amaanyi ag’okubaziyiza tagalina.
8 (F)“Kaakano mulowooza nti muyinza okwaŋŋanga obwakabaka bwa Mukama obuli mu mikono gy’abazzukulu ba Dawudi, kubanga muli ekibiina kinene, abalina n’ennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda bammwe abalala? 9 (G)Mwagoba bakabona ba Mukama, batabani ba Alooni, n’Abaleevi, ne mussaawo bakabona abammwe ng’amawanga ag’omu nsi endala bwe gakola. Buli aleeta ente ennume ento n’endiga ennume musanvu ayinza okwewaayo okufuuka kabona wa bakatonda abalala.
10 “Naye ffe, Mukama ye Katonda waffe, era tetumuvangako. Bakabona abaweereza Mukama, batabani ba Alooni, era bayambibwako Abaleevi. 11 (H)Buli nkya na buli kawungeezi bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’obubaane obwa kawoowo eri Mukama, ne bategeka n’emigaati egy’okulaga ku mmeeza eya zaabu omwereere, ne bakoleeza n’ettaala eziri ku bikondo ebya zaabu buli kawungeezi. Tugondera Mukama Katonda waffe nga tukola bye yatukuutira, naye mmwe mwamuvaako. 12 (I)Laba, Katonda ali naffe, era ye mukulembeze waffe, era ne bakabona be banaafuuwa amakondeere mu maloboozi ag’olutalo, okuggulawo okulwana nammwe. Abasajja Abayisirayiri temulwanyisa Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, temujja kuwangula.”
13 (J)Naye mu kiseera kye kimu Yerobowaamu yali asindise abaserikale be okutaayiza emabega ne mu maaso ga Yuda. 14 (K)Laba Yuda bwe baakyuka ne balaba nga balumbiddwa okuva mu maaso n’emabega, ne bakaabira Mukama, ne bakabona ne bafuuwa amakondeere. 15 (L)Awo abasajja ba Yuda olwa wowogganira waggulu n’eddoboozi ery’olutalo, Katonda n’awangula Yerobowaamu ne Isirayiri yenna mu maaso ga Abiya ne Yuda. 16 (M)Abayisirayiri ne badduka okuva mu maaso ga Yuda, naye Mukama n’abawaayo mu mukono gwa Yuda. 17 Abiya n’abasajja be ne batta bangi nnyo ku Bayisirayiri, ne waba emitwalo amakumi ataano ku abo abaafa. 18 (N)Mu kiseera ekyo abasajja Abayisirayiri ne bawangulwa; abasajja ba Yuda ne baba bawanguzi kubanga beesiga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe.
19 Abiya n’agoba Yerobowaamu, n’amutwalako Beseri, ne Yesana, ne Efulooni wamu n’ebyalo ebiriraanye ebibuga ebyo. 20 Yerobowaamu n’ataddamu nate kuba na buyinza mu mirembe gya Abiya, Mukama n’alwaza Yerobowaamu n’afa.
21 Awo Abiya n’aba w’amaanyi n’awasa abakazi kkumi na bana, n’abeera n’abaana aboobulenzi amakumi abiri mu babiri n’abaana aboobuwala kkumi na mukaaga.
22 Ebyafaayo ebirala ebyomumirembe gya Abiya, ne bye yakola ne bye yayogera, byawandiikibwa mu ngero za nnabbi Iddo.
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Saadi
3 (A)(B) “Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Saadi wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda n’emmunyeenye omusanvu nti, Mmanyi ebikolwa byo, ng’olina erinnya eriraga nti oli mulamu so nga oli mufu. 2 Kale weegendereze onyweze ebikyasigaddewo ebitannafa. Kubanga mu by’okola sinnalabamu by’otuukiriza mu maaso ga Katonda wange. 3 (C)Kale jjukira bye wayigirizibwa ne bye wawulira obikwate era weenenye. Bw’otegendereze ndijja mangu ng’omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy’oli.
4 (D)Naye waliwo abamu mu Saadi abatonotono abatayonoonanga byambalo byabwe, balitambula nange nga bambadde engoye enjeru, kubanga basaanidde. 5 (E)Na buli awangula alyambazibwa engoye enjeru nga bali, era sirisangula linnya lye mu kitabo ky’obulamu, naye ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne bamalayika be nti oyo muntu wange. 6 (F)Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Firaderufiya
7 (G)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Firaderufiya wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera oyo Omutukuvu era ow’amazima era alina ekisumuluzo kya Dawudi aggulawo ne wataba aggalawo, n’okuggalawo ne wataba aggulawo.
8 (H)Mmanyi ebikolwa byo. Laba nkugguliddewo oluggi, omuntu yenna lw’atayinza kuggala; kubanga olina amaanyi matono, okuumye ekigambo kyange n’oteegaana linnya lyange, 9 (I)laba nnyinza okuwaayo abamu ku abo ab’omu kuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya; laba ndibaleeta okuvuunama ku bigere byammwe bategeere nti mbaagala. 10 (J)Olwokubanga wakwata ekigambo kyange eky’okugumiikiriza, nange ndikuwonya ekiseera eky’okugezesebwa ekinaatera okujja.
11 (K)Nzija mangu! Nnyweza ky’olina waleme kubaawo akutwalako ngule yo. 12 (L)Awangula ndimufuula empagi mu Yeekaalu ya Katonda wange, mw’ataliva emirembe gyonna, era ndimuwandiikako erinnya lya Katonda wange, n’erinnya ly’ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva mu ggulu eri Katonda wange n’erinnya lyange eriggya. 13 Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Lawodikiya
14 (M)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Lawodikiya wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera oyo Amiina, omujulirwa, omwesigwa, ow’amazima, omukulu w’abaliwo, n’abalibaawo emirembe gyonna, era ensibuko y’ebitonde bya Katonda.
15 (N)Mmanyi ebikolwa byo: toyokya so tonnyogoga, nandiyagadde obe ng’oyokya oba ng’onnyogoga. 16 Naye olwokubanga oli wa kibuguumirize toyokya so tonnyogoga, kinaandetera okukuwandula okuva mu kamwa kange. 17 (O)Olwokubanga ogamba nti, ‘Ndi mugagga era nnina ebintu bingi, sso siriiko kye neetaaga. Sirina kimbulako!’ Sso n’otomanya ng’oli munaku asaasirwa, omwavu, omuzibe w’amaaso era ali obwereere. 18 (P)Nkuwa amagezi onguleko ebya zaabu, eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale. Era onguleko ebyambalo ebyeru, obyambale, owone ensonyi ez’okuyita obwereere; onguleko n’omuzigo osiige ku maaso go, osobole okulaba.
19 (Q)Buli gwe njagala mmunenya era mmukangavvula; kale nyiikira okwenenya. 20 (R)Laba nnyimiridde ku luggi era nkonkona. Buli awulira eddoboozi lyange n’aggulawo, nnaayingira omumwe ne tuliira wamu ffembi.
21 (S)Buli awangula ndimukkiriza okutuula ng’anninaanye, ku ntebe yange ey’obwakabaka, nga nange bwe nawangula ne ntuula ne Kitange ku ntebe ye. 22 (T)Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.”
Okukoowoola olw’Okuddaabiriza Ennyumba ya Mukama
1 (A)Mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’omukaaga, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi okutegeeza Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nti:
2 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’eggye nti, “Abantu bano boogera nti, ‘Ekiseera tekinnatuuka okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.’ ”
3 (B)Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nga kyogera nti; 4 (C)“Kino kye kiseera mmwe okubeera mu nnyumba zammwe enkole obulungi, naye ennyumba eyo n’erekebwa nga kifulukwa?”
5 (D)Kale nno bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe. 6 (E)Musimbye bingi naye ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye ennyonta tebaggwaako; mwambala naye temubuguma; mukolera empeera naye ze mukoze muziteeka mu nsawo ejjudde ebituli.”
7 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe. 8 (F)Mwambuke mu nsozi muleeteyo embaawo muzimbe ennyumba ngisanyukire, ngulumizibwe,” bw’ayogera Mukama. 9 (G)“Mwasuubira bingi, naye mulaba bwe muvuddemu ebitono. Bye mwaleeta eka, nabifuumuula. Mumanyi ensonga? bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Kubanga buli muntu afa ku nnyumba ye naye ennyumba yange mugigayaaliridde. 10 (H)Eggulu kyerivudde liziyizibwa okuleeta omusulo, n’ettaka n’okuleeta ne litaleeta bibala byalyo. 11 (I)Nasindika ekyeya ku nnimiro ne ku nsozi, ku mmere ey’empeke ne ku wayini omuggya, ku mafuta ne ku buli bibala eby’ettaka, ku bantu ne ku nsolo, ne ku mirimu gyonna egy’engalo.”
12 (J)Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, ye yali kabona asinga obukulu, n’abantu bonna abaasigalawo ne bagondera eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, n’obubaka bwa nnabbi Kaggayi, kubanga Mukama Katonda waabwe ye yamutuma. Abantu ne batya Mukama.
13 (K)Awo Kaggayi omubaka wa Mukama n’ategeeza abantu obubaka obwava eri Mukama nti, “Ndi wamu nammwe,” bw’ayogera Mukama. 14 (L)Awo Mukama n’akubiriza omutima gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, n’omutima gwa Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu, n’emitima egy’abantu bonna abaasigalawo, ne bajja ne batandika omulimu ku nnyumba ya Mukama ow’Eggye, Katonda waabwe, 15 (M)ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi ogw’omukaaga mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo.
2 (A)Awo bwe waayitawo ennaku bbiri ne wabaawo embaga ey’obugole mu Kaana eky’e Ggaliraaya ne nnyina Yesu yaliyo. 2 Yesu awamu n’abayigirizwa be nabo baayitibwa. 3 Wayini bwe yaggwaawo, nnyina Yesu n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Tebakyalina wayini.”
4 (B)Yesu n’amuddamu nti, “Maama ndeka, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.”
5 (C)Nnyina Yesu n’agamba abaweereza nti, “Kyonna ky’abagamba kye muba mukola.”
6 (D)Waaliwo amasuwa amanene mukaaga agaategekebwa olw’omukolo gw’Abayudaaya ogw’okwetukuza, buli limu nga lirimu lita kikumi oba kikumi mu ataano.
7 Yesu n’agamba abaweereza nti, “Amasuwa mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuza okutuuka ku migo. 8 Awo n’abagamba nti, “Kale musene mutwalire omukulu w’abagabuzi.”
Ne basena ne bamutwalira. 9 (E)Omukulu w’abagabuzi bwe yalega ku mazzi agafuuse wayini, nga tamanyi gy’avudde, so nga bo abaweereza baali bamanyi, n’ayita omugole omusajja 10 n’amugamba nti, “Bulijjo omuntu asooka kugabula wayini omuka, n’oluvannyuma ng’abagenyi be banywedde nnyo, tebakyafaayo olwo n’alyoka agabula ogutali muka nnyo. Naye ggwe wayini omuka gw’osembezzaayo!”
11 (F)Ekyamagero kino, Yesu kye yasookerako okukola mu lwatu mu Kaana eky’e Ggaliraaya, ng’alaga ekitiibwa kye. Abayigirizwa be bwe baakiraba ne bamukkiriza. 12 (G)Embaga bwe yaggwa Yesu n’adda e Kaperunawumu n’abayigirizwa be n’amalayo ennaku ntono ng’ali eyo ne nnyina ne baganda be.
Yesu Alongoosa Yeekaalu
13 (H)Embaga y’Abayudaaya ey’Okuyitako bwe yali eneetera okutuuka Yesu n’ayambuka e Yerusaalemi. 14 N’asanga mu Yeekaalu abaali batunda ente n’endiga n’amayiba era n’abali bawaanyisa ensimbi. 15 Awo Yesu n’addira emiguwa n’agifunyaafunya ne giba ng’embooko n’agobawo endiga n’ente, n’asaasaanya n’ensimbi ez’abaali bawaanyisa, n’avuunika n’emmeeza zaabwe. 16 (I)N’akyukira abaali batunda amayiba n’abagamba nti, “Bino mubiggye wo. Temufuula Nnyumba ya Kitange katale[a].” 17 (J)Awo abayigirizwa ne bajjukira Ekyawandiikibwa ekigamba nti, “Obuggya bw’Ennyumba yo, Ayi Mukama, bulindya.”
18 (K)Awo Abayudaaya ne bamubuuza nti, “Kabonero ki k’otulaga nti olina obuyinza okukola bino?”
19 (L)Yesu kwe kuddamu nti, “Mumenyeewo Yeekaalu eno ngizzeewo mu nnaku ssatu.”
20 Ne bamuddamu nti, “Kiki ky’otegeeza? Yeekaalu eno yatwalira ddala emyaka amakumi ana mu mukaaga okuzimba oyinza otya okugizimbira ennaku essatu?” 21 (M)Kyokka Yeekaalu gye yali ayogerako gwe mubiri gwe. 22 (N)Yesu bwe yamala okuzuukira abayigirizwa ne bajjukira nti kino kye yali ayogerako. Ne bakkiriza ebyawandiikibwa n’ebigambo Yesu bye yayogerako.
23 (O)Awo Yesu bwe yali mu Yerusaalemi mu kiseera eky’Embaga ey’Okuyitako, bangi baalaba obubonero bwe yali akola ne bakkiriza erinnya lye. 24 Kyokka Yesu teyabeesiga, kubanga amanyi abantu bonna, 25 (P)kubanga yamanya bw’afaanana, nga teyeetaaga kubuulirwa muntu kyali.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.