Chronological
Akazi Kabaka wa Yuda
28 (A)Akazi yali wa myaka amakumi abiri we yaliira obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. Naye obutafaanana nga jjajjaawe Dawudi, yakola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama. 2 (B)N’atambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isirayiri, n’okukola n’akola ebifaananyi ebisaanuuse ebyakozesebwanga mu kusinza Baali. 3 (C)N’ayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, n’awaayo batabani be okuba ebiweebwayo ebyokebwa, ng’agoberera emizizo gy’abannaggwanga, Mukama be yagoba mu maaso g’Abayisirayiri. 4 N’awangayo ssaddaaka wamu n’okwoterezanga obubaane mu bifo ebigulumivu, ne ku ntikko z’ensozi, ne wansi wa buli muti omubisi.
5 (D)Mukama Katonda we kyeyava amuwaayo mu mukono gwa kabaka w’e Busuuli, eyamuwangula n’atwala abantu ba Yuda bangi nga basibe, n’abaleeta e Ddamasiko.
Ate era yaweebwayo ne mu mukono gwa kabaka wa Isirayiri, eyaleeta ku bantu ba Yuda ebisago ebinene. 6 (E)Peka mutabani wa Lemaliya yatta abaserikale ba Yuda emitwalo kkumi n’ebiri mu lunaku lumu, kubanga baali bavudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. 7 Ne Zikuli, omusajja omulwanyi omuzira owa Efulayimu n’atta Maaseya mutabani wa kabaka, ne Azulikamu omukulu w’olubiri ne Erukaana omukungu, addirira kabaka. 8 (F)Abayisirayiri ne bawamba abakyala, n’abaana aboobulenzi, n’aboobuwala, emitwalo amakumi abiri ku baganda baabwe, ne babatwala nga basibe e Samaliya, ate ne babatwalako n’omunyago mungi.
9 (G)Awo Odedi nnabbi wa Mukama eyali eyo n’agenda okusisinkana eggye eryali lijja e Samaliya, n’abagamba nti, “Laba, kubanga Mukama Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira Yuda, kyeyava abawaayo mu mukono gwammwe, kyokka mubasse n’ekiruyi n’okutuuka ne kituuka mu ggulu. 10 (H)Kaakano, abasajja n’abakazi aba Yuda ne Yerusaalemi mumaliridde, okubafuula abaddu bammwe. Naye bwe mmwekebera, temulina kye mwali musobezza Mukama Katonda wammwe? 11 (I)Kale nno, mumpulirize, muleke baganda bammwe be muwambye baddeyo ewaabwe, kubanga Mukama abasunguwalidde mmwe.”
12 Awo abamu ku bakadde ba Efulayimu, Azaliya mutabani wa Yokanaani, ne Berakiya mutabani wa Mesiremosi, ne Yekizukiya mutabani wa Sallumu, ne Amasa mutabani wa Kadalayi, ne bayimirira okuziyiza abo abaali bava mu lutalo. 13 Ne babagamba nti, “Temujja kuleeta basibe abo wano, kubanga mujja kutuleetako omusango eri Mukama nga mwongereza ku kibi ne ku musango bye tulina. Omusango gwaffe munene, n’obusungu bwe buli ku Isirayiri.”
14 Awo abaserikale ne basumulula abasibe, n’omunyago ne baguwaayo mu maaso g’abakungu n’ekibiina kyonna. 15 (J)Ne balonda abasajja abaatwala abasibe ne baggya engoye mu munyago ne bambaza abo bonna abaali obwereere, ne babawa engoye endala, n’engatto, ne babawa emmere n’ekyokunywa, ne babanyiga n’ebiwundu. N’abaali abanafu ennyo bonna ne babasitulira ku ndogoyi, ne babazzaayo eri baganda baabwe e Yeriko, ekibuga eky’enkindu, bo ne bakomawo e Samaliya.
16 (K)Awo mu biro ebyo kabaka Akazi n’asaba kabaka w’e Bwasuli amuyambe, 17 (L)kubanga Abayedomu baali bazeemu okulumba Yuda, ne batwala abantu mu busibe. 18 (M)Mu kiseera kyekimu Abafirisuuti baali balumbye ebibuga eby’omu nsenyi n’eby’omu bukiikaddyo obwa Yuda, nga bawambye Besusemesi, ne Ayalooni, ne Gederosi, ne Soko, ne Timuna, ne Gimuzo n’ebyalo ebyali byetoolodde ebibuga ebyo, era ng’omwo mwe babeera. 19 (N)Mukama yakkakkanya nnyo Yuda olw’ebibi n’obutali bwesigwa bwa Akazi kabaka wa Isirayiri eri Mukama, Akazi bye yakola mu Yuda. 20 (O)Tirugazupiruneseri kabaka w’e Bwasuli n’ajja gy’ali, n’amucocca mu kifo eky’okumuyamba. 21 Akazi n’aggya ebimu ku bintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama, ne ku ebyo ebyali mu lubiri lwa kabaka, ne ku bya balangira n’abiwa kabaka w’e Bwasuli; naye ekyo ne kitamuyamba.
22 (P)Mu kiseera ekyo kabaka Akazi we yalabira ennyo ennaku, yeeyongera obutaba mwesigwa eri Mukama. 23 (Q)N’awangayo ssaddaaka eri bakatonda b’e Ddamasiko, abaali bamuwangudde, kubanga yalowooza nti, “Engeri bakatonda ba bakabaka b’e Busuuli bwe babayambye, nnaawaayo ssaddaaka gye bali, nange bannyambe.” Naye okwo kwe kwali okuzikirira kwe n’okwa Isirayiri yenna.
24 (R)Akazi n’akuŋŋaanya ebintu eby’omu yeekaalu ya Katonda, n’abiggyamu, n’aggalawo enzigi za yeekaalu ya Mukama, ne yeezimbira ebyoto mu buli nsonda mu Yerusaalemi. 25 Mu buli kibuga kya Yuda n’azimbamu ebifo ebigulumivu okuwerangayo ssaddaaka eri bakatonda abalala, n’asunguwaza Mukama Katonda wa bajjajjaabe.
26 Ebyafaayo ebirala eby’omu mulembe gwe n’empisa ze zonna, okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri. 27 (S)Akazi n’afa n’aziikibwa mu kibuga kya Yerusaalemi, naye si mu masiro ga bassekabaka ba Isirayiri. Keezeekiya mutabani we n’amusikira.
Akazi Kabaka wa Yuda
16 (A)Mu mwaka ogw’ekkumi n’omusanvu ogw’obufuzi bwa Peka mutabani wa Lemaliya, Akazi[a] mutabani wa Yosamu kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga. 2 (B)Akazi yali wa myaka amakumi abiri we yatandikira okufuga, era n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. N’akola ebibi mu maaso ga Mukama Katonda we, obutafaanana nga jjajjaawe Dawudi. 3 (C)N’atambulira mu ngeri za bassekabaka ba Isirayiri, era n’okuwaayo n’awaayo mutabani we ng’ekiweebwayo, ng’agoberera eby’emizizo eby’amawanga Mukama ge yali agobye mu maaso g’Abayisirayiri. 4 (D)N’awangayo ssaddaaka, era n’ayoterezanga n’obubaane ku bifo ebigulumivu, ku nsozi waggulu, ne wansi wa buli muti.
5 (E)Lezini kabaka wa Busuuli ne Peka, mutabani wa Lemaliya kabaka wa Isirayiri ne bambuka okulumba Yerusaalemi ne bazingiza Akazi, naye ne batayinza kumuwangula. 6 (F)Mu kiseera kye kimu, Lezini kabaka wa Busuuli n’agoba abasajja ba Yuda okuva mu Erasi n’akiddiza Abasuuli, era gye babeera ne leero.
7 (G)Awo Akazi n’atuma ababaka eri Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli, okumugamba nti, “Ndi muddu wo era mutabani wo, nkwegayiridde jjangu ondokole okuva mu mukono gwa kabaka wa Busuuli; n’okuva mu mukono gwa kabaka wa Isirayiri abannumbye[b].” 8 (H)Akazi n’aggya effeeza ne zaabu ebyabeeranga mu yeekaalu ya Mukama, ne mu mawanika ag’omu lubiri lwa kabaka, n’agiweereza ng’ekirabo eri kabaka w’e Bwasuli. 9 (I)Awo kabaka w’e Bwasuli n’awulira okwegayirira kwe, n’alumba Ddamasiko, n’akiwamba, n’abantu abaabeerangamu n’abaweereza mu buwaŋŋanguse e Kiri, era n’okutta n’atta Lezini.
10 (J)Awo kabaka Akazi n’agenda e Ddamasiko okusisinkana Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli, era eyo n’alabayo ekyoto ekyali mu Ddamasiko. Amangwago kabaka Akazi n’aweereza Uliya kabona ekifaananyi ky’ekyoto ekyo, n’engeri gye kiteekwa okuzimbibwa. 11 Awo Uliya kabona n’azimba ekyoto, ng’ebiragiro bya kabaka Akazi bye yaweereza okuva e Ddamasiko bwe byali, era n’agimaliriza nga kabaka Akazi tannava Ddamasiko. 12 (K)Kabaka bwe yakomawo okuva e Ddamasiko, n’alaba ekyoto, n’akisemberera era ku kyo n’aweerako ssaddaaka. 13 (L)N’aweerayo ssaddaaka ey’ekyokebwa ne ssaddaaka ey’obutta n’ayiwako ne ssaddaaka ey’ekyokunywa, era n’amansirako omusaayi ogw’ebiweebwayo olw’emirembe ku kyoto. 14 (M)N’aggyawo ekyoto eky’ekikomo ekyabeeranga mu maaso ga Mukama mu yeekaalu wakati w’ekyoto kye ne yeekaalu ya Mukama, n’akiteeka ku luuyi olw’obukiikaddyo obw’ekyoto kye.
15 (N)Awo kabaka Akazi n’alagira Uliya kabona nti, “Ku kyoto ekinene, weerayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’enkya n’ekiweebwayo eky’obutta eky’akawungeezi, eky’okuwaayo ekyokebwa ekya kabaka, n’ekyokuwaayo kye eky’obutta, n’ekyokuwaayo ekyokebwa eky’abantu ab’omu nsi, n’ekiweebwayo kyabwe eky’obutta, n’ekiweebwayo kyabwe ekyokunywa. Omansire ku kyoto omusaayi gwonna ogw’ebiweebwayo ebyokebwa, n’omusaayi gwonna ogwa ssaddaaka. Wabula ekyoto eky’ekikomo kinaabeeranga kyange nga kya kwebuuzaako.” 16 Uliya kabona n’akola byonna, nga kabaka Akazi bwe yamulagira.
17 (O)Kabaka Akazi n’atemako emigo gye biyimirirwako, ne bensani n’aziggya kwe zaabeeranga, ate n’aggya n’ennyanja okuva ku nte ennume ez’ekikomo, eza giwaniriranga, n’agiteeka ku mayinja amaliire. 18 (P)N’aggyawo n’ekyabikkanga ku kkubo erya ssabbiiti eryali lizimbiddwa okumpi ne yeekaalu, ate era n’aggyawo n’ekkubo erya kabaka ery’ebweru wa yeekaalu ya Mukama, olwa kabaka w’e Bwasuli.
19 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu bufuzi Akazi, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 20 Awo Akazi n’afa n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Keezeekiya mutabani we n’amusikira okuba kabaka.
Koseya, Kabaka eyasembayo owa Isirayiri
17 (Q)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri ogw’obufuzi bwa Akazi kabaka wa Yuda, Koseya mutabani wa Era n’afuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, n’afugira emyaka mwenda. 2 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, naye tebyenkana nga bassekabaka ba Isirayiri bye baakola.
3 (R)Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n’amulumba, Koseya n’afuuka muddu we era n’amuwanga obusuulu. 4 Naye oluvannyuma kabaka w’e Bwasuli n’akizuula nga Koseya yali amuliddemu olukwe, kubanga yali atumye ababaka ewa So kabaka w’e Misiri, ate nga takyaweereza busuulu ewa kabaka w’e Bwasuli, nga bwe yakolanga buli mwaka. Salumaneseri kyeyava amukwata n’amuteeka mu kkomera. 5 (S)Awo kabaka w’e Bwasuli n’alumba ensi yonna, n’atuuka e Samaliya, n’akizingiriza emyaka esatu. 6 (T)Mu mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya, kabaka w’e Bwasuli n’awamba Samaliya, n’atwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse[c] e Bwasuli, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga ogw’e Gozani, ne mu bibuga eby’Abameedi.
Isirayiri Batwalibwa mu Buwaŋŋanguse olw’Ekibi
7 (U)Bino byonna byabaawo kubanga Abayisirayiri bayonoona mu maaso ga Mukama Katonda waabwe, eyali abaggye mu Misiri okuva mu mukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Baasinzanga bakatonda abalala, 8 (V)ne bagobereranga empisa za baamawanga Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe. Era bagobereranga n’emizizo bassekabaka ba Isirayiri gye baali bataddewo. 9 (W)Abayisirayiri ne bakolanga mu nkizo ebyo ebitaali birungi mu maaso ga Mukama. Ne bazimba ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna, okuviira ddala ku minaala omwabeeranga abakuumi okutuuka ku kibuga ekiriko bbugwe. 10 (X)Ne beesimbira empagi ez’amayinja n’eza Baasera, ku buli kasozi akawanvu, ne wansi wa buli muti. 11 Ne bookera obubaane ku buli kifo ekigulumivu ng’amawanga gali Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe bwe gaakolanga. Ne bakola ebintu eby’ekivve ne basunguwaza Mukama. 12 (Y)Ne basinza ebifaananyi, ate nga Mukama yali abalagidde nti, “Temukolanga ekyo.” 13 (Z)Mukama n’alabula Isirayiri ne Yuda ng’akozesa bannabbi n’abalabi nti, “Mukyuke muve mu bibi byammwe, mukuume amateeka gange n’ebiragiro byange, ng’etteeka bwe liri lye nalagira bajjajjammwe, lye nabaweereza nga nkozesa abaddu bange bannabbi.”
14 (AA)Naye ne batawuliriza, ne baba bakakanyavu nga bajjajjaabwe bwe baali, abateesiga Mukama Katonda waabwe. 15 (AB)Ne banyooma ebiragiro n’endagaano gye yali akoze ne bajjajjaabwe, n’okulabula kwe yali abawadde. Ne bagoberera bakatonda abataliimu, ate nabo ne bafuuka ebitagasa. Ne bakola ng’amawanga agaali gabeetoolodde bwe gaakolanga, newaakubadde nga Mukama yali abalabudde nti, “Temukolanga ebyo bye bakola.” Ne bakola byonna Mukama bye yali abagaanye okukola.
16 (AC)Ne bava ku mateeka ga Mukama Katonda waabwe gonna, ne baweesa ebifaananyi by’ennyana bibiri, n’empagi ey’Asera, ne basinza n’eggye lyonna ery’omu ggulu era ne basinzanga ne Baali. 17 (AD)Ne bawaayo abaana baabwe aboobulenzi n’aboobuwala ng’ebiweebwayo mu muliro, ne bakola eby’obufumu n’eby’obulogo, ne beetunda okukola ebibi mu maaso ga Mukama, okumusunguwaza.
18 Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isirayiri, n’abagoba mu maaso ge, n’alekawo ekika kya Yuda kyokka.[d] 19 (AE)Kyokka ne Yuda ne batakuuma mateeka ga Mukama Katonda waabwe, naye ne bagoberera empisa za Isirayiri. 20 (AF)Mukama kyeyava aleka ezzadde lyonna erya Isirayiri, n’ababonereza, n’abawaayo mu mikono gy’abanyazi, n’okubagoba n’abagobera ddala okuva mu maaso ge.
21 (AG)Bwe yayawula Isirayiri ku nnyumba ya Dawudi, ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati kabaka waabwe. Yerobowaamu n’aleetera Isirayiri okuviira ddala ku mukama, n’abayonoonyesa n’okusingawo. 22 Abaana ba Isirayiri ne batambulira mu bibi byonna Yerobowaamu bye yakola, ne batabirekaayo, 23 okutuusa Mukama lwe yabaggyira ddala okuva mu maaso ge, nga bwe yali abalabudde ng’ayita mu baddu be bannabbi. Awo Abayisirayiri ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse mu nsi eya Bwasuli, gye bali ne kaakano.
Abayisirayiri Babeera awamu n’Abasuuli
24 (AH)Awo kabaka w’e Bwasuli n’akuŋŋaanya abantu okuva e Babulooni, Kusa, Ava, Kamasi ne Sefavayimu, n’abaleeta mu bibuga bya Samaliya, Abayisirayiri mwe baabeeranga, Samaliya ne bakitwalira ddala era ne babeera mu bibuga byakyo. 25 (AI)Ku ntandikwa bwe babeeramu ne batasinza Mukama, kyeyava abasindikira empologoma[e] ne zitta abamu ku bo. 26 Kabaka w’e Bwasuli n’ategeezebwa nti, “Amawanga ge watwala n’obateeka mu bibuga bya Samaliya tebamanyi tteeka lya Katonda w’ensi eyo,[f] kyeyavudde abasindikira empologoma okubatta, kubanga tebamanyi Katonda w’ensi kye yeetaaga.”
27 Amangwago kabaka w’e Bwasuli n’alagira nti, “Mutumeyo omu ku bakabona be mwawamba okuva mu Samaliya agende abeere eyo, ayigirize abantu amateeka ga Katonda w’ensi eyo.” 28 Awo omu ku bakabona eyali awaŋŋangusibbwa okuva mu Samaliya n’agenda n’abeera e Beseri, n’abayigiriza bwe kibagwanira okusinza Mukama.
29 (AJ)Newaakubadde nga kabona yagendayo, buli ggwanga beekolera bakatonda baabwe, ne babateeka mu masabo Abasamaliya ge baali bazimbye ku bifo ebigulumivu mu bibuga byabwe. 30 Abasajja ab’e Babulooni ne bakola Sukkosubenosi, abasajja ab’e Kuusi ne bakola Nengali, abasajja ab’e Kamasi ne bakola Asima: 31 (AK)Abavi ne bakola Nibukazi ne Talutaki, Abasefavayimu ne bookera abaana baabwe mu muliro, nga babawaayo ng’ebiweebwayo eri Adulammereki ne Anammereki, bakatonda ba Sefavayimu. 32 (AL)Baasinzanga Mukama, naye ne balonda n’abantu ab’engeri zonna okuva mu bokka ne bokka okuba bakabona, ab’ebifo ebigulumivu, abaabaweerangayo ssaddaaka mu masabo ag’ebifo ebigulumivu. 33 Ne basinzanga Mukama, naye nga bwe baweereza ne bakatonda baabwe, ng’empisa ez’amawanga gye baali bavudde bwe zalinga.
34 (AM)Ne leero bakyeyisa mu ngeri y’emu. Tebasinza Mukama so tebagoberera biragiro n’amateeka Mukama bye yalagira bazzukulu ba Yakobo, gwe yatuuma Isirayiri. 35 (AN)Mukama bwe yakola endagaano n’Abayisirayiri, yabalagira nti, “Temusinzanga bakatonda balala, so temubavuunamiranga so temubaweerezanga, wadde okuwaayo ssaddaaka gye bali. 36 (AO)Mwekuumenga okugobereranga ebiragiro n’amateeka, n’etteeka, n’ekiragiro bye yabawandiikira. Temusinzanga bakatonda abalala. 37 (AP)Naye musinzanga Mukama eyabaggya mu Misiri n’amaanyi amangi n’omukono gwe, gwe yagolola. Oyo ggwe munavuunamiranga era ne muwaayo ssaddaaka eri ye. 38 (AQ)Temwerabiranga endagaano gye nakola nammwe, era temusinzanga bakatonda abalala. 39 Wabula musinzanga Mukama Katonda wammwe, kubanga y’anaabalokolanga mu mukono gw’abalabe bammwe bonna.”
40 Naye ne batawuliriza, ne beeyongeranga mu mpisa zaabwe ez’edda. 41 (AR)Newaakubadde ng’amawanga ago baasinzanga Mukama, kyokka beeyongeranga okusinza bakatonda baabwe. Ne leero abaana baabwe ne bazzukulu baabwe bakola nga bajjajjaabwe bwe baakolanga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.