Add parallel Print Page Options

25 (A)Awo omu ku baserikale be abakulu nga mukulu wa kibinja erinnya lye Peka mutabani wa Lemaliya, ne yeekobaana n’abasajja abalala amakumi ataano Abagireyaadi ne battira Pekakiya wamu ne Alugobu, ne Aliye mu kigo eky’omu lubiri e Samaliya. Peka n’atta Pekakiya, n’alya obwakabaka.

Read full chapter

Peka Kabaka wa Isirayiri

27 (A)Mu mwaka ogw’amakumi ataano mu ebiri ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Peka mutabani wa Lemaliya n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka amakumi abiri.

Read full chapter

(A)Abayisirayiri ne bawamba abakyala, n’abaana aboobulenzi, n’aboobuwala, emitwalo amakumi abiri ku baganda baabwe, ne babatwala nga basibe e Samaliya, ate ne babatwalako n’omunyago mungi.

Read full chapter

21     (A)Manase alirya Efulayimu ne Efulayimu n’alya Manase
    ate bombi ne balya Yuda.

Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo,
    era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.

Read full chapter

13 (A)Olwo obuggya bwa Efulayimu bulyoke buggweewo,
    n’abo abateganya Yuda balizikirizibwa.
Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya
    wadde Yuda okubeera omulabe wa Efulayimu.

Read full chapter