Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 65-67

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.

65 (A)Osaanira okutenderezebwanga, Ayi Katonda, ali mu Sayuuni;
    tunaatuukiririzanga obweyamo bwaffe gy’oli.
(B)Ayi ggwe awulira okusaba kw’abantu bo,
    abantu bonna banajjanga gy’oli olw’ebibi byabwe.
(C)Ebibi byaffe bwe byatusukkirira,
    n’otutangiririra.
(D)Alina omukisa oyo gw’olonda
    n’omusembeza okumpi naawe, abeerenga mu mpya zo.
Tunaamalibwanga ebirungi eby’omu nnyumba yo;
    eby’omu Yeekaalu yo entukuvu.

(E)Otwanukula n’ebikolwa byo eby’obutuukirivu eby’entiisa n’otulokola,
    Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
ggwe ssuubi ly’abo abali mu nsi yonna n’abo bonna
    abali ewala mu nnyanja zonna,
(F)ggwe, eyakola ensozi n’obuyinza bwo,
    n’ozinyweza n’amaanyi go,
(G)ggwe, asirisa okusiikuuka kw’ennyanja,
    n’okkakkanya okwetabula kw’amayengo gaayo,
    era ggw’okkakkanya okwegugunga kw’amawanga.
Abo bonna ababeera ewala balaba ne batya ebyewuunyo byo;
    ne bakuyimbira ennyimba ez’essanyu
    okuva ku makya okutuusa akawungeezi.

(H)Ensi ogirabirira n’ogifukirira
    n’egimuka nnyo.
Emigga gya Katonda gijjudde amazzi,
    okuwa abantu emmere ey’empeke,
    kubanga bw’otyo bwe wakiteekateeka.
10 Otonnyesa enkuba mu nnimiro,
    n’ojjuza ebitaba byamu;
n’ogonza ettaka,
    ebibala by’omu nsi n’obiwa omukisa.
11 Ofundikira omwaka n’amakungula amangi,
    ebigaali ne bigenda nga byetisse ebibala nga bikubyeko.
12 (I)Ebifo awali omuddo mu ddungu bijjula amazzi,
    n’obusozi ne bulabika bulungi nga bweyagala.
13 (J)Amalundiro gajjula ebisibo,
    n’ebiwonvu ne bijjula emmere ey’empeke.
    Ensi yonna eyimba mu ddoboozi ery’omwanguka ng’ejjudde essanyu.

Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.

66 (K)Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
    (L)Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye.
    Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
(M)Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa!
    Olw’amaanyi go amangi
    abalabe bo bakujeemulukukira.
(N)Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira,
    bakutendereza,
    bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”

(O)Mujje mulabe Katonda ky’akoze;
    mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu!
(P)Ennyanja yagifuula olukalu.
    Abantu baasomoka omugga n’ebigere nga temuli mazzi,
    kyetuva tujaguza.
(Q)Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna;
    amaaso ge agasimba ku mawanga,
    ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera.

(R)Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga;
    eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna.
(S)Oyo y’atukuumye ne tuba balamu,
    n’ataganya bigere byaffe kuseerera.
10 (T)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza,
    n’otulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro.
11 (U)Watuteeka mu kkomera,
    n’otutikka emigugu.
12 (V)Waleka abantu ne batulinnyirira;
    ne tuyita mu muliro ne mu mazzi,
    n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima.

13 (W)Nnaayambukanga mu yeekaalu yo n’ebiweebwayo ebyokebwa,
    ntuukirize obweyamo bwange gy’oli,
14 nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza;
    akamwa kange kye kaayogera bwe nnali mu kabi.
15 (X)Nnaawaayo gy’oli ssaddaaka ez’ensolo ensava,
    mpeeyo ne ssaddaaka ey’endiga ennume;
    mpeeyo ente ennume n’embuzi.

16 (Y)Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda,
    mbategeeze ebyo by’ankoledde.
17 Namukaabirira n’akamwa kange,
    ne mutendereza n’olulimi lwange.
18 (Z)Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange,
    Mukama teyandimpulirizza;
19 (AA)ddala ddala Katonda yampuliriza era n’awulira eddoboozi lyange nga nsaba.
20 (AB)Katonda atenderezebwenga,
    atagobye kusaba kwange,
    wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo!

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba.

67 (AC)Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa,
    era otwakize amaaso go.
(AD)Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi,
    n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.

Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
    abantu bonna bakutenderezenga.
(AE)Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu.
    Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya,
    n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
    abantu bonna bakutenderezenga.

(AF)Ensi erireeta amakungula gaayo;
    era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
(AG)Katonda anaatuwanga omukisa;
    n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga.

Zabbuli 69-70

Ya Mukulu wa Bayimbi. Mu ddoboozi ery’Amalanga. Zabbuli ya Dawudi.

69 (A)Ondokole, Ayi Katonda,
    kubanga amazzi gandi mu bulago.
(B)Ntubira mu bitosi
    nga sirina we nnywereza kigere.
Ntuuse ebuziba
    n’amataba gansaanikira.
(C)Ndajanye ne nkoowa,
    n’emimiro ginkaze.
Amaaso ganzizeeko ekifu gakooye
    olw’okutunula enkaliriza nga nnindirira Katonda wange.
(D)Abo abankyayira obwereere
    bangi okusinga enviiri ez’oku mutwe gwange;
abalabe bange bangi
    abannoonya okunzita awatali nsonga;
ne mpalirizibwa mbaddizeewo
    ekyo kye sibbanga.

(E)Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange,
    n’okusobya kwange tekukukwekeddwa.

Sisaana kuswaza
    abo abakwesiga,
    Ayi Mukama, Mukama ow’Eggye.
Abo abakunoonya
    baleme kuswazibwa ku lwange,
    Ayi Katonda wa Isirayiri.
(F)Ngumiikirizza okuvumwa ku lulwo,
    n’amaaso gange ne gajjula ensonyi.
(G)Nfuuse nga omugwira eri baganda bange,
    munnaggwanga eri abaana ba mmange.
(H)Nzijudde obuggya olw’ennyumba yo,
    n’abo abakuvuma bavuma nze.
10 (I)Bwe nkaaba ne nsiiba,
    ekyo nakyo ne kinvumisa.
11 (J)Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.
12 (K)Abo abatuula ku mulyango gw’ekibuga banduulira,
    era nfuuse luyimba lw’abatamiivu.

13 (L)Naye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe,
    mu kiseera eky’ekisa kyo.
Olw’okwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda,
    ondokole nga bwe wasuubiza.
14 (M)Onnyinyulule mu ttosi
    nneme okutubira;
omponye abankyawa,
    onzigye mu mazzi amangi;
15 (N)amataba galeme okumbuutikira
    n’obuziba okunsanyaawo,
    n’ennyanja ereme okummira.

16 (O)Onnyanukule, Ayi Mukama olw’obulungi bw’okwagala kwo;
    onkyukire olw’okusaasira kwo okungi.
17 (P)Tokisa muddu wo maaso go; yanguwa okunziramu,
    kubanga ndi mu kabi.
18 (Q)Onsemberere onziruukirire,
    onnunule mu balabe bange.

19 (R)Omanyi bwe nsekererwa, ne bwe nswazibwa ne bwe siteekebwamu kitiibwa,
    era n’abalabe bange bonna obamanyi.
20 (S)Okusekererwa kunkutudde omutima
    era kummazeemu amaanyi.
Nanoonya okusaasirwa ne kumbula,
    n’ow’okumpooyawooya naye nga simulaba.
21 (T)Mu kifo ky’emmere bampa mususa,
    era bwe nalumwa ennyonta bampa nkaatu.

22 Emmere yaabwe gye bategese okulya ebafuukire ekyambika,
    n’embaga zaabwe ez’ebiweebwayo zibafuukire omutego.
23 (U)Amaaso gaabwe gazibe baleme okulaba,
    n’emigongo gyabwe gyewetenga ennaku zonna.
24 (V)Bayiweeko ekiruyi kyo,
    obamalewo n’obusungu obw’amaanyi go obungi.
25 (W)Ebifo byabwe bifuuke bifulukwa,
    waleme kubaawo n’omu abeera mu weema zaabwe.
26 (X)Kubanga bayigganya oyo gw’ofumise,
    ne boogera ku bulumi bw’oyo gw’olumizza.
27 (Y)Bavunaane omusango kina gumu,
    era tobaganya kugabana ku bulokozi bwo.
28 (Z)Bawanduukululwe mu kitabo ky’obulamu;
    baleme kulabika ku lukalala lw’abatuukirivu.

29 (AA)Ndi mu bulumi era mu nnaku;
    obulokozi bwo, Ayi Katonda, bunkuume.
30 (AB)Nnaatenderezanga erinnya lya Katonda nga nnyimba;
    nnaamugulumizanga n’okwebaza.
31 (AC)Kino kinaasanyusanga Mukama okusinga okumuwa ente ennume,
    oba okumuwa seddume n’amayembe gaayo, n’ebigere byayo.
32 (AD)Abaavu banaakirabanga ne basanyuka;
    mmwe abanoonya Katonda omutima gwammwe ne gubeera omulamu.
33 (AE)Kubanga Mukama awulira abo abali mu kwetaaga,
    era ababe ne bwe baba mu busibe, tabanyooma.

34 (AF)Kale eggulu n’ensi bimutenderezenga
    awamu n’ennyanja zonna n’ebyo ebizirimu.
35 (AG)Kubanga Katonda alirokola Sayuuni,
    n’ebibuga bya Yuda n’abizimba buggya,
abantu ne babibeerangamu nga byabwe.
36     (AH)Abaana b’abaweereza be balikisikira;
    n’abo abaagala erinnya lya Mukama omwo mmwe banaabeeranga.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.

70 (AI)Ayi Katonda oyanguwa okundokole.
    Ayi Mukama oyanguwe okumbeera.

(AJ)Abo abannoonya okunzita
    batabulwetabulwe;
abo abannoonya okunzikiriza,
    bagobebwe nga baswadde.
Abagamba nti, “Kasonso,”
    badduke nga bajjudde ensonyi.
Naye bonna abakunoonya
    basanyukenga bajagulizenga mu ggwe.
Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,
    “Katonda agulumizibwenga!”

(AK)Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga;
    oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda.
Ggwe onnyamba era ggwe ondokola,
    Ayi Mukama, tolwa!

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.