Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ebyabaleevi 19-21

Obutukuvu n’Enneeyisa y’Omuntu

19 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa (A)ategeeze ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri abagambe nti, “Mubeerenga batukuvu, kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu.

(B)“Buli omu mu mmwe assengamu nnyina ne kitaawe ekitiibwa; era mukuumenga Ssabbiiti zange. Nze Mukama Katonda wammwe.

(C)“Temulaganga mu bitali Katonda, era temwekoleranga bakatonda abaweese mu kyuma ekisaanuuse. Nze Mukama Katonda wammwe.

“Bwe munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo olw’emirembe, mukiwengayo mu butuufu kiryoke kikkirizibwe. Kinaalibwanga ku lunaku olwo lwe kinaaweebwangayo oba enkeera; ekinaabanga kisigaddewo okutuusa ku lunaku olwokusatu kinaazikiribwanga mu muliro. Singa kiriibwa ku lunaku olwokusatu tekiibenga kirongoofu, era tekikkirizibwenga, ne buli anaakiryangako anaabanga azzizza omusango; kubanga anaabeeranga aweebudde ekintu kya Mukama ekitukuvu; omuntu oyo anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne.

(D)“Bw’okungulanga ekyengera eky’omu ttaka lyo, tokunguliranga ddala ebibala byonna eby’omu nnimiro yo okutuuka ku nkomerero zaayo, oba okukuŋŋaanya obubala obutonotono obunaabanga bugudde wansi ng’okungula. 10 Ennimiro yo ey’emizabbibu togimalirangamu ddala bibala byonna, n’ebyo ebibanga bigudde wansi tobikuŋŋaanyanga. Obirekeranga abaavu ne bannamawanga. Nze Mukama Katonda wammwe.

11 (E)“Tobbanga.

“Tokumpanyanga.

“Temulimbagananga.

12 (F)“Tokozesanga linnya lyange ng’olayira ebitaliimu nsa, n’ovumisa erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama.

13 (G)“Muliraanwa wo tomujooganga so tomunyagangako bibye.

“Tosulanga na mpeera ya mupakasi wo n’omala nayo ekiro kyonna okutuusa enkya nga tonnagimusasula.

14 (H)“Omuggavu w’amatu tomukolimiranga, so n’omuzibe w’amaaso tomuteganga nkonge w’anaayita, naye otyanga Katonda wo. Nze Mukama.

15 (I)“Tosalirizanga ng’olamula; tobanga na kyekubiira ku ludda lw’omwavu wadde okwekubiira ku ludda lw’ow’ekitiibwa, banno obasalirangawo mu bwenkanya.

16 (J)“Togendanga ng’osaasaanya eŋŋambo mu banno.

“Tokolanga kintu kyonna ku munno ekiyinza okumuleetera okufiirwa obulamu bwe. Nze Mukama.

Etteeka ku Kwagala

17 (K)“Muganda wo tomukyawanga mu mutima gwo. Naye munno ng’asobezza, omunenyanga, si kulwa nga naawe ogwa mu kibi nga ye.

18 (L)“Towalananga ggwanga oba okusiba ekiruyi ku mwoyo eri munno yenna ow’omu nsi yo, naye yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Nze Mukama.

19 (M)“Okwatanga amateeka gange.

“Tokkirizanga nsolo za ngeri ndala kuzaazisa mu nsolo zo.

“Mu nnimiro yo tosimbangamu nsigo za ngeri bbiri.

“Toyambalanga kyambalo eky’olugoye olw’ebiwero eby’engeri ebbiri.

20 “Omusajja bw’aneebakanga n’omuddu omukazi n’amusobyako, naye ng’omukazi oyo tannaweebwa ddembe lye, kyokka ng’aliko omusajja amwogereza, wanaabangawo okuwozesebwa n’ebibonerezo, naye tebattibwenga, kubanga omukazi anaabanga tannaweebwa ddembe lye. 21 (N)Naye omusajja anaaleetanga endiga ennume ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga ky’ekiweebwayo kye eri Mukama eky’omusango. 22 Kabona anaakozesanga endiga ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango okutangiririra omusajja oyo eri Mukama; era ekibi kye ky’anaabanga akoze kinaamusonyiyibwanga.

23 “Bwe muyingiranga mu nsi ne musimba emiti egya buli ngeri egy’ebibala ebyokulya, mukitegeere nti ebibala byagyo biriba ng’ebiwereddwa. Biriwerebwa okumala emyaka esatu; tebijjanga kuliibwanga. 24 (O)Mu mwaka ogwokuna ebibala byako byonna binaabanga bitukuvu, nga kye kiweebwayo eri Mukama eky’okumutendereza. 25 Naye mu mwaka ogwokutaano munaayinzanga okulya ku bibala byako. Mu ngeri eno ebibala byako bigenda kweyongeranga nnyo. Nze Mukama Katonda wammwe.

26 (P)“Tolyanga nnyama yonna nga teweddeemu musaayi;

“so tokolanga bya ddogo wadde eby’okulagula.

27 (Q)“Enviiri ez’oku mabbali g’omutwe gwo tozisalangako; n’ekirevu kyo tokikomolanga.

28 “Toweesalanga misale ku mubiri gwo olw’okujjukira abaafa oba okwesalako enjola. Nze Mukama.

29 (R)“Tofuulanga mwana wo omuwala ekivume ng’omufudde omwenzi, kubanga kirireetera abantu mu nsi yo okufuuka abenzi, n’ensi n’ejjula okwonoona.

30 (S)“Mukuumanga Ssabbiiti zange era mussangamu ekitiibwa ekifo kyange ekitukuvu. Nze Mukama.

31 (T)“Temwebuuzanga ku basamize oba okukyukiranga abalogo, kubanga bagenda kubaleetera okwonooneka. Nze Mukama Katonda wammwe.

32 (U)“Ositukiranga ow’envi, n’omukadde omussangamu ekitiibwa, era ne Katonda wo omutyanga. Nze Mukama.

33 “Omugwira bw’abeeranga omutuuze mu nsi yammwe, temumuyisanga bubi. 34 (V)Omugwira atuula mu mmwe mumuyisenga ng’omuzaaliranwa ow’omu nsi yammwe. Mumwagalenga nga bwe mweyagala, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi y’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.

35 “Temubangamu kyekubiira nga mupima obuwanvu, oba obuzito, oba obungi bw’ebintu. 36 (W)Mubanga ne minzaani entuufu, n’amayinja agapima obuzito amatuufu, n’ekipima ebikalu (efa) ekituufu, n’ekipima ebiyiikayiika ng’amazzi (ini) ekituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri.

37 “Munaakwatanga amateeka gange gonna, n’ebiragiro byange byonna, okubitambulirangako. Nze Mukama.”

Ebibonerezo olw’Ekibi

20 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri bw’oti nti, Omuyisirayiri yenna, oba omunnaggwanga atuula mu Isirayiri, bw’anaawangayo omwana we ng’ekiweebwayo eri Moleki, kitaawe w’omwana oyo ajjanga kuttibwa. Abantu ab’omu kitundu ekyo mw’abeera banaamukubanga amayinja. (X)Nange kennyini, omuntu oyo nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mmugaana okukolagananga ne banne, kubanga awaddeyo omu ku baana be ng’ekiweebwayo eri Moleki, n’ayonoona Awatukuvu wange era n’avumisa erinnya lyange ettukuvu. (Y)Era abantu ab’omu kitundu ekyo mw’abeera, bwe banaamuzibiranga ku liiso, omuntu oyo awaddeyo omwana we eri Moleki, ne batamutta, omuntu oyo nnaamunyiigiranga, ne ku b’omu nnyumba ye, ne mbagoba ne mbagaana okukolagananga ne bannaabwe, ye ne banne abakolaganye naye mu kukuba obwamalaaya ne Moleki.

(Z)“ ‘Omuntu bw’anaakolagananga n’abasamize, n’abalogo, n’akuba nabo obwamalaaya, nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mugaana okukolagana ne banne.

(AA)“ ‘Noolwekyo mwetukuze mubeerenga batukuvu, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe. (AB)Mukwatenga amateeka gange, mugagobererenga. Nze Mukama abatukuza.

(AC)“ ‘Omuntu yenna anaakolimiranga kitaawe oba nnyina wa kuttibwanga. Noolwekyo akolimidde kitaawe oba nnyina, omusaayi gwe gunaabanga ku mutwe gwe.

10 (AD)“ ‘Omusajja bwanaayendanga ku muka omusajja, bombi, omusajja ayenze n’omukazi gw’ayenzeeko banattibwanga.

11 (AE)“ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne muka kitaawe, anaabanga aweebudde kitaawe. Bombi omusajja n’omukazi banattibwanga; omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.

12 (AF)“ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne muka mutabani we, bombi banattibwanga. Kubanga bombi banaabanga bakoze ebyambyone; omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.

13 (AG)“ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne musajja munne nga bwe yandyebase n’omukazi, bombi banaabanga bakoze eky’ekivve; era banattibwanga, n’omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.

14 (AH)“ ‘Omusajja bw’anaawasanga omukazi ate n’atwalirako ne nnyina, ekyo kya kivve. Ye n’abakazi bombi banaayokebwanga mu muliro, bwe mutyo ekyonoono ekyo ne mukyegobako.

15 (AI)“ ‘Omusajja bw’anaakolanga eby’ensonyi ku nsolo, anattibwanga, era n’ensolo munaagittanga.

16 “ ‘Omukazi bw’anaasembereranga ensolo alyoke akole nayo eby’ensonyi, mumuttanga n’ensolo ne mugitta. Omukazi anattibwanga n’ensolo nettibwa; omusaayi gw’omukazi gunaabanga ku mutwe gwe, n’ogw’ensolo gunaabanga ku mutwe gwayo.

17 (AJ)“ ‘Omusajja bw’anaawasanga mwannyina, oba nga mwanamuwala wa kitaawe, oba nga mwanamuwala wa nnyina, ne beebaka bombi, kinaabanga kya buwemu. Bombi banaagobwanga mu bannaabwe ne babagaana okukolagananga nabo. Kubanga omusajja oyo anaabanga aweebudde mwannyina, era y’aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwonna olw’ekibi ekyo.

18 (AK)“ ‘Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi mu biseera by’omukazi, ebya buli mwezi ng’empisa y’abakazi bw’eba, anaabanga abikudde ensulo y’omusaayi gw’omukazi oyo, era n’omukazi anaabanga yeebikudde. Bombi banaagobwanga mu bannaabwe ne babagaana okukolagananga nabo.

19 (AL)“ ‘Teweebakanga na mukazi muganda wa nnyoko oba ne mwannyina wa kitaawo n’okola naye eby’ensonyi, kubanga ekyo kiweebuula owooluganda ow’okumpi. Mwembi munaavunaanyizibwanga olw’ekyonoono kyammwe ekyo.

20 (AM)“ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne muka kitaawe omuto oba ne muka kojjaawe, anaabanga aweebudde bakadde be abo. Omusajja oyo n’omukazi oyo be baneetikkanga obuvunaanyizibwa obw’ekibi ekyo, era balifa nga tebalina baana.

21 (AN)“ ‘Omusajja bw’anaawasanga muka muganda we, kinaabanga ekikolwa ekitali kirongoofu, kubanga aweebudde muganda we. Tebalizaala baana.

Ekiragiro eky’Okubeeranga Abatukuvu

22 (AO)“ ‘Kale nno, mukwatenga amateeka gange gonna n’ebiragiro byange byonna, era mubikolerengako, ensi mwe mbatwala okutuulanga eryoke ereme kubasesema. 23 (AP)Era temugobereranga mpisa ez’amawanga ge ŋŋenda ngoba mu nsi eyo; kubanga baakola ebintu ebyo byonna, noolwekyo mbakyawa nnyo. 24 (AQ)Naye nabategeeza nti, “Mulisikira ensi yaabwe, era ndigibawa ne mugirya, ye nsi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.” Nze Mukama Katonda wammwe eyabaawula ku mawanga amalala.

25 (AR)“ ‘Noolwekyo mujjanga kwawulamu ensolo ennongoofu n’etali nnongoofu, n’ennyonyi ennongoofu n’etali nnongoofu. Temufuukanga abatali balongoofu olw’ensolo oba ennyonyi, oba ebiramu byonna ebitambula ku ttaka, bye mmaze okwawulako ne mbibategeeza nti si birongoofu. 26 (AS)Kibasaanira okubeeranga abatukuvu gye ndi, kubanga Nze, Mukama, ndi mutukuvu, era mbaawudde ku mawanga amalala mubeerenga ggwanga lyange.

27 (AT)“ ‘Omusajja oba omukazi mu mmwe anaabeeranga omusamize oba omulogo, wa kuttibwanga. Mubakubanga amayinja; era omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.’ ”

Obutukuvu bw’Obwakabona

21 (AU)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Yogera ne bakabona, batabani ba Alooni, obagambe nti tewabanga omuntu eyeeretako obutali bulongoofu olw’okukwata ku mufu mu bantu be, wabula ng’amulinako oluganda olw’okumpi. Gamba nga nnyina, oba kitaawe, oba mutabani we, oba muwala we, oba muganda we, oba mwannyina embeerera atamanyi musajja, gw’alinako obuvunaanyizibwa kubanga tabeerangako na bba, kubanga ayinza okwereetako obutali bulongoofu. Kabona nga bw’ali omukulembeze, tekimusaanira kwereetako obutali bulongoofu wakati mu bantu be. (AV)Bakabona tebamwangako nviiri ku mitwe gyabwe, wadde okumwako ebirevu byabwe, oba okusala emisale ku mibiri gyabwe. (AW)Kibasaanira okubeeranga abatukuvu eri Katonda waabwe balemenga okuleetera erinnya lya Katonda waabwe obutali bulongoofu. Kubanga be batuusa ebiweebwayo ebyokebwa mu muliro eri Mukama, ye mmere ya Katonda waabwe, noolwekyo kibasaanira okubeeranga abatukuvu. (AX)Tebawasanga mukazi malaaya oba atali mulongoofu, oba oyo agobeddwa ewa bba; kubanga bakabona batukuvu eri Katonda waabwe. (AY)Mubayisenga ng’abatukuvu, kubanga be bawaayo emmere eya Katonda wammwe. Mubayisenga ng’abatukuvu; kubanga Nze Mukama atukuza mmwe, ndi mutukuvu. (AZ)Era omwana omuwala owa kabona bw’anaakubanga obwamalaaya, bw’atyo ne yeereetako obutali bulongoofu, anaabeeranga aleetedde kitaawe obutali bulongoofu; anaayokebwanga mu muliro.

10 (BA)“Kabona Asinga Obukulu, nga ye mukulembeze mu baganda be, era nga ye yafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ku mutwe gwe, era nga yayawulibwa ayambalenga ebyambalo by’Obwakabona, tasaanira kusumululanga nviiri ze ku mutwe gwe n’azita, wadde okuyuzanga ebyambalo bye. 11 (BB)Tayingiranga mu kifo omuli omulambo, aleme kwereetako obutali bulongoofu. Omulambo ne bwe gunaabanga ogwa kitaawe oba ogwa nnyina. 12 (BC)Era n’ekifo kya Mukama ekitukuvu taakivengamu oba okukireetako obutali bulongoofu, kubanga yayawulibwa bwe yafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ga Katonda we. Nze Mukama Katonda. 13 (BD)Anaawasanga omukazi mbeerera atamanyanga musajja. 14 Tawasanga nnamwandu, oba omukazi bba gwe yagoba, oba omukazi eyeereeseeko obutali bulongoofu olw’okukuba obwamalaaya; naye anaawasanga omukazi embeerera ng’amuggya mu bantu be; 15 aleme okuleetera ezzadde lye obutali bulongoofu wakati mu bantu be. Kubanga Nze Mukama Katonda amutukuza.”

Bakabona Abaliko Akamogo

16 Awo Mukama n’agamba Musa nti, 17 (BE)“Tegeeza Alooni nti mu zadde lye, okuyita mu mirembe gyonna, bwe munaabangamu omuntu aliko akamogo ku mubiri gwe taasemberenga kuwaayo emmere ya Katonda we. 18 (BF)Kubanga tewaabengawo muntu yenna aliko akamogo ku mubiri gwe anaasemberanga. Gamba: omuzibe w’amaaso, oba omulema, oba eyakyama ennyindo, oba eyakulako ekintu ekyasukkirira obuwanvu; 19 oba omuntu alina ekigere ekyagongobala, oba omukono ogwalemala, 20 (BG)oba ow’ebbango, oba nakalanga, oba atalaba bulungi, oba ng’omubiri gwe gumusiiwa yeetakulatakula, oba ng’alina amabwa agakulukuta, oba nga yayabika enjagi. 21 Tewaabengawo wa mu zadde lya Alooni kabona ng’aliko akamogo anakkirizibwanga okusembera okuleeta ebiweebwayo eri Mukama Katonda, ebyokebwa mu muliro. Kubanga aliko akamogo; tekiimusaanirenga kusembera n’okuwaayo ekiweebwayo eri Katonda we. 22 (BH)Anaayinzanga okulya ku mmere entukuvu ennyo eya Katonda we; 23 naye olwokubanga aliko akamogo ku mubiri gwe, taasaanirenga kusemberera ggigi, oba okulaga okumpi n’ekyoto, n’aleetera ebifo byange ebitukuvu obutali bulongoofu. Kubanga Nze Mukama Katonda abitukuza.”

24 Bw’atyo Musa n’ategeeza Alooni ne batabani be, awamu n’abaana bonna aba Isirayiri ebigambo ebyo byonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.