Chronological
1 (A)Okwolesebwa kwa Isaaya, mutabani wa Amozi, kwe yafuna okukwata ku Yuda ne Yerusaalemi mu bufuzi bwa Uzziya, ne Yosamu, ne Akazi ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda.
Eggwanga Ejjeemu
2 (B)Wulira ggwe eggulu, mpuliriza ggwe ensi,
kubanga bw’ati Mukama bw’ayogera nti,
“Nayonsa ne ndera abaana
naye ne banjeemera.
3 (C)Ente emanya nannyini yo
n’endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo,
naye Isirayiri tammanyi,
abantu bange tebantegeera.”
4 (D)Woowe! Eggwanga erijjudde ebibi,
abantu abajjudde obutali butuukirivu,
ezzadde eryabakola ebibi,
abaana aboonoonyi!
Balese Mukama
banyoomye Omutukuvu wa Isirayiri,
basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega.
5 (E)Lwaki mweyongera okujeema?
Mwagala mwongere okubonerezebwa?
Omutwe gwonna mulwadde,
n’omutima gwonna gunafuye.
6 (F)Okuva mu mala g’ekigere okutuuka ku mutwe
temuli bulamu
wabula ebiwundu, n’okuzimba,
n’amabwa agatiiriika amasira
agatanyigibwanga, okusibibwa,
wadde okuteekebwako eddagala.
7 (G)Ensi yammwe esigadde matongo,
ebibuga byammwe byokeddwa omuliro,
nga nammwe bennyini mulaba.
Bannamawanga[a] balidde ensi yammwe,
era ezise kubanga bannaggwanga bagisudde.
8 (H)Omuwala wa Sayuuni alekeddwa
ng’ensiisira esigadde mu nnimiro y’emizabbibu,
ng’ekiwummulirwamu mu nnimiro y’emyungu[b],
ng’ekibuga ekizingiziddwa.
9 (I)Singa Mukama ow’Eggye
teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo
twandibadde nga Sodomu,
twandifuuse nga Ggomola.
10 (J)Muwulirize ekigambo kya Katonda
mmwe abafuzi ba Sodomu!
Musseeyo omwoyo eri okuyigiriza kwa Katonda waffe
mmwe abantu b’e Ggomola!
11 (K)“Ssaddaaka enkumu ze munsalira
zingasa ki?
Nkooye endiga ennume
enjokye eziweebwayo,
so sisanyukira musaayi gwa nte,
newaakubadde ogw’abaana b’endiga, newaakubadde ogw’embuzi ennume,” bw’ayogera Mukama.
12 (L)Bwe mujja mu maaso gange,
ani aba abayise
ne mujja okulinnyirira empya zange?
13 (M)Mulekeraawo okuleeta ssaddaaka zammwe ezitaliimu;
obubaane bwammwe bwa muzizo gye ndi.
Omwezi Ogubonese ne Ssabbiiti n’enkuŋŋaana zammwe
zijjudde obutali butuukirivu.
14 (N)Emyezi gyammwe Egibonese n’embaga zammwe ez’ennaku entukuvu,
emmeeme yange ebikyaye,
binfuukidde omugugu,
nkooye okubigumiikiriza.
15 (O)Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe
nnaabakwekanga amaaso gange,
era ne bwe munaasabanga ennyo
siiwulirenga
kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi.
16 (P)Munaabe, mwetukuze
muggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi,
mulekeraawo okukola ebibi.
17 (Q)Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima,
mudduukirirenga abajoogebwa,
musalenga omusango gw’atalina kitaawe,
muwolerezenga bannamwandu.
18 (R)“Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,”
bw’ayogera Mukama;
“ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu
binaafuuka byeru ng’omuzira,
ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu,
binaatukula ng’ebyoya by’endiga.
19 (S)Bwe munaagondanga ne muwulira,
munaalyanga ebirungi eby’ensi;
20 (T)naye bwe munaagaananga ne mujeemanga
ekitala kinaabalyanga,”
kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
21 (U)Laba ekibuga ekyesigwa
bwe kifuuse ng’omwenzi!
Oyo eyasalanga emisango mu bwenkanya!
Obutuukirivu bwatuulanga mu ye,
naye kaakano batemu bennyini nnyini!
22 Effeeza yo efuuse masengere,
wayini wo afuuse wa lujjulungu.
23 (V)Abafuzi bo bajeemu,
mikwano gya babbi,
bonna bawoomerwa enguzi,
era banoonya kuweebwa birabo;
tebayamba batalina ba kitaabwe,
so n’ensonga za bannamwandu tebazifaako.
24 (W)Noolwekyo kyava ayogera Mukama, Mukama ow’Eggye,
ow’amaanyi owa Isirayiri nti,
“Ndifuka obusungu ku balabe bange,
era ne nesasuza abo abankyawa.
25 (X)Era ndikukwatamu n’omukono gwange,
ne nnoongoosereza ddala amasengere go gonna
ne nkuggyamu ebitali birungi byonna.
26 (Y)Era ndikomyawo abalamuzi bo ng’olubereberye
n’abo abakuwa amagezi, nga bwe kyali okusooka.
Olwo olyoke oyitibwe
ekibuga eky’obutuukirivu,
ekibuga ekyesigwa.”
27 (Z)Sayuuni alinunulibwa lwa bwenkanya,
n’abantu baamu abalyenenya mu butuukirivu.
28 (AA)Naye abeewaggula n’abakozi b’ebibi balizikirizibwa wamu,
n’abo abava ku Mukama Katonda, balimalibwawo.
29 (AB)“Kubanga mulikwatibwa ensonyi olw’emiti
mwe mwenyumiririzanga,
n’olw’ennimiro
ze mweroboza.
30 Kubanga mulibeera ng’omuvule oguwotoka
era ng’ennimiro etaliimu mazzi.
31 (AC)N’omusajja ow’amaanyi alifuuka ng’enfuuzi,
n’omulimu gwe ng’akasasi akavudde ku lyanda,
era byombi biriggiira wamu
so tewaliba azikiza omuliro ogwo.”
Olusozi lwa Mukama
2 (AD)Kuno kwe kwolesebwa Isaaya omwana wa Amozi kwe yalaba ku Yuda ne Yerusaalemi.
2 (AE)Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma
olusozi okuli ennyumba ya Mukama Katonda
lulinywezebwa lusinge ensozi zonna okugulumira,
luliyimusibwa lusukke ku ndala zonna,
era amawanga gonna galilwolekera.
3 (AF)Abantu bangi balijja bagambe nti,
Mujje twambuke tulinnye ku lusozi lwa Mukama,
mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo,
alyoke atuyigirize amakubo ge,
tulyoke tutambulire mu mateeka ge.
Kubanga Mukama aliteeka amateeka ng’asinziira mu Sayuuni,
era mu Yerusaalemi abayigirize ekigambo kye.
4 (AG)Alisala enkaayana z’amawanga,
aliramula emisango gy’abantu bangi,
era ebitala byabwe balibiwesaamu enkumbi,
n’amafumu gaabwe bagaweeseemu ebiwabyo.
Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,
so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
Mukama Ayita Ennyumba Ya Yakobo Okwenenya
5 (AH)Ggwe ennyumba ya Yakobo,
mujje tutambulire mu kitangaala kya Mukama Katonda.
6 (AI)Wayabulira abantu bo
ab’ennyumba ya Yakobo,
kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba,
n’obulaguzi obuli nga obw’omu Bafirisuuti,
era basizza kimu ne bannamawanga.
7 (AJ)Ensi yaabwe ejjudde effeeza ne zaabu,
n’obugagga bwabwe tebuliiko kkomo:
ensi yaabwe ejjudde embalaasi,
era erimu n’amagaali g’embalaasi mangi nnyo.
8 (AK)Ensi yaabwe ejjudde bakatonda ababumbe,
basinza omulimu gw’emikono gyabwe bo,
engalo zaabwe gwe zeekolera.
9 (AL)Kale omuntu wa kukkakkanyizibwa,
omuntu wa kussibwa wansi.
Mukama, tobasonyiwa!
10 (AM)Mugende mwekweke mu njazi,
mwekweke mu binnya wansi mu ttaka,
nga mudduka entiisa ya Mukama Katonda,
nga mudduka entiisa y’ekitiibwa ky’obukulu bwe.
11 (AN)Olunaku lujja okweyisa kw’omuntu
n’amalala ge lwe birizikirizibwa,
era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku olwo.
12 (AO)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku lw’ategese
eri abo bonna ab’amalala era abeewanise,
eri ebyo byonna eby’egulumiza ebijjudde
okwemanya n’okwewulira.
13 (AP)Alizikiriza emiti gy’omu Lebanooni,[c] emiwanvu emigulumivu,
n’emivule gyonna egya Basani.
14 (AQ)Era n’ensozi zonna empanvu,
n’obusozi bwonna obugulumivu.
15 (AR)Na buli mulongooti gwonna omuwanvu,
na buli bbugwe gwe bakomese.
16 (AS)Alizikiriza emmeeri zonna ez’e Talusiisi,
n’ebifaananyi byonna ebisiige eby’omuwendo omungi.
17 (AT)Era okwegulumiza kw’abantu kulijemulukuka,
n’amalala g’abantu galissibwa;
era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku lunaku olwo.
18 (AU)N’ebifaananyi bye basinza birizikiririzibwa ddala ku olwo.
19 (AV)Abantu balidduka ne beekweka mu mpuku mu mayinja,
ne mu binnya mu ttaka,
nga badduka entiisa
n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,
bwaliyimuka okukankanya ensi n’amaanyi.
20 (AW)Ku lunaku olwo abantu balisuulira ddala
bakatonda baabwe abakole mu ffeeza, n’abakole mu zaabu,
be beekolera nga ba kusinzanga,
ne babakanyuga eri emmese n’eri ebinyira.
21 (AX)Balidduka ne beekukuma mu mpuku
ez’amayinja amaatifu
nga badduka entiisa
n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,
bwaliyimuka okukankanya ensi.
22 (AY)Mulekeraawo okwesiga omuntu
alina omukka obukka mu nnyindo ze.
Kiki ennyo kyali?
Yerusaalemi ne Yuda Bisalirwa Omusango
3 (AZ)Laba kaakano, Mukama,
Mukama Katonda ow’Eggye,
aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda
ekibeesiguza ne kwe banyweredde,
ekibeesiguza kyonna k’ebeere mmere, ka gabe mazzi.
2 (BA)Omusajja ow’amaanyi, n’omusajja omulwanyi omuzira,
omulamuzi, ne nnabbi,
n’omulaguzi, n’omukadde.
3 Omuduumizi akulira ekibinja ky’amakumi ataano,
n’omuwi w’amagezi, omulogo, omufuusa omugezigezi.
4 “Era ndifuula abalenzi obulenzi okuba abafuzi baabwe,
n’abaana obwana balibafuga.”
5 (BB)Era abantu balijooga bannaabwe,
buli muntu anyigirize munne, ne muliraanwa anyigirize muliraanwa we.
Abato baliyisa mu bakulu amaaso
n’oyo omuntu ataliiko bw’ali ajooge omuntu ow’ekitiibwa.
6 Ekiseera kirituuka
omusajja agambe muganda we nti,
“Ggwe alina ku ngoye ba omukulembeze waffe,
n’ebizibu bino ggwe oba obyetikka!”
7 (BC)Naye ku olwo lwennyini aliddamu nti,
“Si nze n’aba ow’okubawonya,
mu nnyumba yange temuli mmere, wadde ebyambalo.
Temumpa kukulembera bantu!”
8 (BD)Kubanga Yerusaalemi kizikiridde
ne Yuda agudde!
Kubanga ebigambo byabwe byonna n’ebikolwa biwakanya Mukama Katonda,
bityoboola ekitiibwa kye.
9 (BE)Engeri gye batunulamu eragira ddala nga bwe balina omusango,
era boolesa ekibi kyabwe nga Sodomu[d]
awatali kukweka n’akatono.
Zibasanze!
Kubanga bo bennyini be beereeteedde okuzikirira.
10 (BF)Gamba abatuukirivu nti bo tebaabeeko mutawaana,
kubanga baakuwoomerwa ebibala by’ebikolwa byabwe.
11 (BG)Zisanze abakozi b’ebivve! Banaatuuka mu kuzikirira!
Balisasulibwa emikono gyabwe kye gikoze.
12 (BH)Abantu bange banyigirizibwa abaana abato,
abakazi kaakano be babafuga.
Woowe! Abantu bange bakyamizibwa abakulembeze baabwe
era babatabulatabula okubaggya mu kkubo ettuufu.
13 (BI)Mukama Katonda ali mu kifo kye mu mbuga,
ayimiridde okusalira abantu be omusango.
14 (BJ)Mukama Katonda asala omusango
gw’abakadde n’abakulembeze b’abantu be.
“Mmwe mwayonoona ennimiro yange ey’emizabbibu.
Ebyanyagibwa ku baavu biri mu nnyumba zammwe.
15 (BK)Lwaki mulinnyirira abantu bange,
lwaki mutulugunya abaavu?” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.
16 (BL)Mukama Katonda agamba nti,
“Abakazi b’omu Sayuuni[e] beemanyi,
era batambula balalambazza ensingo
nga batunuza bukaba.
Batambula basiira
nga bavuza obukomo bw’oku magulu gaabwe.
17 Mukama kyaliva aleeta amabwa ku mitwe gy’abakazi ba Sayuuni,
ne gifuuka gya biwalaata.”
18 (BM)Olunaku lujja Mukama lwaliggya ku bakazi b’omu Yerusaalemi ebintu byonna ebibaleetera amalala, ebikomo by’oku magulu, ebitambaala ebibikka ku mitwe, n’obukuufiira, 19 ebyokumatu, ebyambalwa mu bulago, n’obutimba bw’omu maaso, 20 (BN)ebyokumitwe, ebyokumikono, ebyomukiwato, 21 empeta ez’oku ngalo n’ez’omu nnyindo, 22 engoye ennungi, n’eminagiro, n’amaganduula, n’obusawo, 23 n’endabirwamu, n’engoye ez’obutimba, n’eza linena, n’ebitambaala eby’oku mitwe ebinaanikiddwa n’amayinja ag’omuwendo, n’engoye ezibabikka.
24 (BO)Mu kifo ky’akaloosa walibaawo kuwunya kivundu,
awandibadde enkoba ennungi wabeewo biguwa,
n’awaali enviiri ennongoose obulungi wabeewo kiwalaata,
mu kifo ky’engoye babeere mu nziina,
n’awaali obulungi waddewo obulambe.
25 (BP)Abasajja bo balittibwa kitala,
abalwanyi bo abazira bagwire mu lutalo.
26 (BQ)N’enzigi za Sayuuni zirikaaba ne zikungubaga
era ekibuga kyennyini kiriba ng’omukazi alekeddwa obwereere ng’atudde mu ttaka.
4 (BR)Ekiseera ekyo bwe kirituuka abakazi musanvu balyekwata omusajja omu nga boogera nti,
Tuyitibwenga erinnya lyo,
otuggyeko ekivume.
Tunenoonyezanga emmere yaffe era twenoonyeze n’ebyokwambala.
Yerusaalemi Kizzibwa Obuggya
2 (BS)Ku lunaku luli ettabi lya Mukama Katonda liriba ddungi era lya kitiibwa, era n’ebibala by’ensi biryeyagaza nnyo Abayisirayiri abaasigalawo. 3 (BT)Era buli alisigala mu Sayuuni na buli alisigala mu Yerusaalemi aliyitibwa mutukuvu, buli muntu alibalirwa mu balamu mu Yerusaalemi. 4 (BU)Mukama aliggyawo obutali butuukirivu bw’abakazi ba Sayuuni, era n’omwoyo ogusala ensonga n’omwoyo ogwokya, alisangulawo amatondo g’omusaayi mu Yerusaalemi. 5 (BV)Olwo Mukama Katonda atondewo ekire mu budde obw’emisana, n’omukka n’okumasaamasa ng’omuliro ogwaka ekiro ku kifo kyonna eky’olusozi Sayuuni ne ku bantu bonna abakuŋŋaaniddeko; kubanga ku byonna era wonna kunaaba kubikkiddwako ekitiibwa kya Katonda. 6 (BW)Era kiribeera ekibikka n’ekisiikirize ekiziyiza ebbugumu ly’emisana, era ekiddukiro omwewogomebwa kibuyaga n’enkuba.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.