Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Ebyomumirembe 6-7

(A)Mu kiseera ekyo Sulemaani n’ayogera nti, “Mukama eyagamba nti Alituula mu kizikiza ekikutte; (B)nkuzimbidde yeekaalu ey’ekitiibwa, ekifo ky’onoobeerangamu emirembe gyonna.”

Awo kabaka n’akyuka n’atunuulira ekibiina kyonna ekya Isirayiri ekyali kiyimiridde awo, n’abasabira omukisa. N’ayogera nti,

“Yeebazibwe Mukama Katonda wa Isirayiri, atuukiriza n’omukono gwe ekyo kye yasuubiza n’akamwa ke eri Dawudi kitange, ng’agamba nti,

“ ‘Okuva ku lunaku lwe naggya abantu bange mu nsi y’e Misiri, tewali kibuga kye nnalonda mu bika byonna ebya Isirayiri okuzimba mu eyeekaalu olw’erinnya lyange, wadde omuntu yenna okuba omukulembeze w’abantu bange Isirayiri. (C)Naye kaakano nnonze Yerusaalemi okubeeramu Erinnya lyange, era nnonze Dawudi okufuga abantu bange Isirayiri.’ 

(D)“Kitange Dawudi yali akiteeseteese mu mutima gwe okuzimbira Erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu. Naye Mukama n’agamba kitange Dawudi nti, ‘Newaakubadde nga kyali mu mutima gwo okuzimbira Erinnya lyange eyeekaalu, era wakola bulungi okuba nakyo mu mutima gwo, naye si ggwe olizimba yeekaalu eyo, wabula mutabani wo, ow’omubiri gwo n’omusaayi gwo; y’alizimbira Erinnya lyange eyeekaalu.’ 

10 “Kaakano, Mukama atuukirizza kye yasuubiza. Nsikidde Dawudi kitange, era ntudde ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde Erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu. 11 (E)Era omwo mwe ntadde essanduuko, omuli endagaano eya Mukama ggye yakola n’abantu ba Isirayiri.”

Okusaba kwa Sulemaani okw’Okuwonga Eyeekaalu

12 Awo Sulemaani n’ayimirira mu maaso g’ekyoto kya Mukama mu maaso g’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, n’ayimusa emikono gye. 13 (F)Yali akoze ekituuti eky’ekikomo, ekyali mita bbiri ne desimoolo ssatu obuwanvu n’obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu, n’obugulumivu mita emu ne desimoolo ssatu, era ng’akitadde wakati mu luggya olw’ebweru era kye yali ayimiriddeko. N’afukamira mu maaso g’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, n’ayimusa emikono gye eri eggulu. 14 (G)N’ayogera nti,

“Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri tewali Katonda akufaanana mu ggulu newaakubadde ku nsi, atuukiriza endagaano ye ey’okwagala eri abaddu be abatambulira mu maaso ge n’emitima gyabwe gyonna. 15 (H)Otuukirizza ekyo kye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, kubanga wasuubiza n’akamwa ko, era okituukirizza n’omukono gwo leero.

16 (I)“Kaakano Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, tuukiriza ebyo bye wasuubiza Dawudi kitange bwe wayogera nti, ‘Tolirema kufuna musika mu maaso gange kutuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, ab’ezzadde lyo bwe baneegenderezanga okutambuliranga mu maaso gange ng’etteeka lyange bwe liri, nga ggwe bw’otambulidde mu maaso gange.’ 17 Kale nno, Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri ekigambo kyo kye wasuubiza Dawudi omuddu wo kituukirire.

18 (J)“Naye ddala Katonda alituula n’abantu ku nsi? Laba, eggulu n’eggulu erisinga okuba erya waggulu toligyamu, kale ate olwo yeekaalu gye nzimbye gy’oyinza okugyamu? 19 Wuliriza okusaba kw’omuddu wo n’okwegayirira kwe, Ayi Mukama Katonda wange, owulire okusaba kw’omuddu wo kwasaba gy’oli. 20 (K)Amaaso go gatunuulirenga eyeekaalu eno emisana n’ekiro, ekifo kye wayogerako nti oliteeka omwo Erinnya lyo, era owulire okusaba kw’omuddu wo eri ekifo kino. 21 (L)Wulira kaakano okwegayirira kw’omuddu wo n’okw’abantu bo Isirayiri, bwe banaabanga basaba nga batunuulidde ekifo kino; owulirenga okuva mu kifo eyo gy’obeera, era bw’owuliranga, osonyiwenga.

22 (M)“Omuntu bw’anaayonoonanga ku muliraanwa we, ne kimugwanira okulayira, era n’ajja n’alayira mu maaso g’ekyoto mu yeekaalu eno, 23 (N)owulirenga okuva mu ggulu, obeeko ky’okola. Osalenga omusango wakati w’abaddu bo osasulenga gwe gusinze, ng’ebikolwa bye bwe bimusaanira. Oyatulenga atalina musango, era omusasulenga ng’obutuukirivu bwe, bwe bunaabanga.

24 (O)“Abantu bo Isirayiri bwe banaabanga bawanguddwa omulabe olw’obutali butuukirivu bwabwe, naye ne bakyuka ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne beegayiririra mu maaso go mu yeekaalu eno, 25 kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu, osonyiwe ekibi ky’abantu bo Isirayiri era obakomyewo mu nsi gye wabawa bo ne bajjajjaabwe.

26 (P)“Eggulu bwe linaggalwangawo ne wataba nkuba, kubanga boonoonye gy’oli, naye ne basaba nga batunuulidde ekifo kino, ne baatula erinnya lyo, ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe ekibaweezesezza ekibonerezo, 27 (Q)kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu, osonyiwe ekibi ky’abaddu bo, abantu bo Isirayiri, obayigirize ekkubo eggolokofu, lye bateekwa okutambulirangamu, era obaweereze enkuba ku nsi gye wawa abantu bo, obusika bwo.

28 (R)“Bwe wanaagwangawo enjala oba kawumpuli mu nsi, oba ne wabaawo okugengewala oba obukuku, oba enzige oba ebisaanyi, oba abalabe baabwe ne babazingiriza mu bibuga byabwe wadde ne bw’anaabanga kawumpuli ow’engeri etya, oba bulwadde bwa ngeri ki, 29 ne wabaawo okusaba oba okwegayirira okw’engeri zonna okukoleddwa omuntu yenna, oba abantu bo bonna Isirayiri, nga buli omu ategedde endwadde ye, n’obuyinike bwe, era ng’ayanjulurizza engalo ze eri yeekaalu eno, 30 (S)kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu gy’obeera osonyiwe, era osasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe wekka gw’omanyi emitima gy’abaana b’abantu; 31 (T)balyoke bakutyenga, era batambulirenga mu makubo go ennaku zonna ze banaabeeranga mu nsi gye wawa bajjajjaffe.

32 (U)“Era mu ngeri y’emu, bwe wanaabangawo munnaggwanga atali wa ku bantu bo Isirayiri, ng’ava mu nsi ey’ewala, olw’erinnya lyo ekkulu, n’olw’omukono gwo ogw’amaanyi, n’omukono gwo ogugoloddwa, bw’anajjanga n’asaba ng’atunuulidde eyeekaalu eno, 33 (V)kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu gy’obeera, okolere omunnaggwanga oyo kyonna ky’anaakusabanga; abantu bonna ab’omu nsi balyoke bamanye erinnya lyo era bakutye, ng’abantu bo Isirayiri bwe bakola, era bategeere nti ennyumba eno gye nzimbye etuumiddwa Erinnya lyo.

34 (W)“Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe, yonna gy’onoobasindikanga, ne basaba nga batunuulidde ekibuga kino ky’olonze ne yeekaalu gye nzimbidde Erinnya lyo, 35 kale owulirenga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe, ng’osinziira mu ggulu, obaddiremu.

36 (X)“Bwe banaakolanga ebisobyo, kubanga tewaliwo muntu atasobya, n’obasunguwalira, n’obawaayo eri omulabe, ne batwalibwa nga basibe mu nsi ey’ewala oba ey’okumpi, 37 (Y)oluvannyuma ne beenenya mu mutima nga bali mu nsi gye bali abasibe, ne bakwegayiririra mu nsi ey’okusibibwa kwabwe nga boogera nti, ‘Twayonoona, twakola eby’obubambavu, era twagira ekyejo,’ 38 era bwe beenenyanga n’omutima gwabwe gwonna n’emmeeme yaabwe yonna mu nsi ey’okusibibwa kwabwe gye baatwalibwa, ne basaba nga batunuulidde ensi gye wawa bajjajjaabwe, n’eri ekibuga kye walonda, n’eri eyeekaalu gye nazimba ku lw’Erinnya lyo, 39 kale, owulirenga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe, ng’osinziira mu ggulu, ekifo gy’obeera obaddiremu, era osonyiwe abantu bo abakwonoonye.

40 (Z)“Kaakano Katonda wange, amaaso go gazibukenga, n’amatu go gawulirenga okusaba okunaaweerwangayo mu kifo kino.

41 (AA)“Era kaakano, Ayi Mukama Katonda golokoka, okke mu kifo kyo
    eky’okuwummulirangamu, ggwe n’essanduuko ey’amaanyi go.
Bakabona bo Ayi Mukama Katonda, bambazibwe obulokozi,
    era n’abatukuvu bo basanyukire obulungi bwo.
42 (AB)Ayi Mukama Katonda, tokyusa maaso go okuva ku oyo gwe wafukako amafuta.
    Ojjukire ekisa kye walaga Dawudi omuddu wo.”

Okuwongebwa kwa Yeekaalu

(AC)Awo Sulemaani bwe yamaliriza esaala ye, omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka era n’ekitiibwa kya Mukama ne kijjula eyeekaalu. (AD)Bakabona ne batayinza kuyingira mu yeekaalu ya Mukama kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula eyeekaalu ya Mukama. (AE)Awo Abayisirayiri bonna bwe baalaba omuliro nga gukka, n’ekitiibwa kya Mukama nga kiri ku yeekaalu, ne bavuunama ku lubalaza ng’amaaso gaabwe gatunudde wansi ne basinza era ne beebaza Mukama nga boogera nti,

“Mulungi,
    era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

Awo kabaka n’abantu bonna, ne baweerayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama. Kabaka Sulemaani n’awaayo ssaddaaka ey’ente ezawera emitwalo ebiri, n’endiga n’embuzi emitwalo kkumi n’ebiri. Awo kabaka n’abantu bonna ne bawonga eyeekaalu ya Mukama. (AF)Bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe, n’Abaleevi nabo mu bifo byabwe nga bakutte ebivuga bya Mukama, kabaka Dawudi bye yali akoze olw’okutenderezanga Mukama, buli lwe yeebazanga Mukama ng’agamba nti, “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Ku luuyi olwaddirira Abaleevi, bakabona ne bafuuwa amakondeere, Isirayiri yenna n’ayimirira.

Sulemaani n’atukuza oluggya olwa wakati olwali mu maaso ga yeekaalu ya Mukama, era eyo n’aweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n’amasavu ag’ebiweebwayo olw’emirembe kubanga ku kyoto eky’ekikomo kye yali akoze kwali tekugyako biweebwayo byokebwa n’ebiweebwayo ebyobutta, n’ebitundu n’amasavu. (AG)Era mu kiseera kyekimu Sulemaani n’akuuma embaga eyo okumala ennaku musanvu, ne Isirayiri yenna wamu naye, n’ekibiina ekinene ennyo okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga ak’e Misiri. (AH)Ku lunaku olw’omunaana ne bakuba olukuŋŋaana, kubanga baali bajjagulizza okuwongebwa kw’ekyoto ennaku musanvu, n’embaga ennaku endala musanvu. 10 Ku lunaku olw’amakumi abiri mu esatu olw’omwezi ogw’omusanvu, Kabaka Sulemaani n’asindika abantu baddeyo ewaabwe, era ne bagenda nga basanyufu era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw’obulungi bwa Mukama bwe yalaga Dawudi ne Sulemaani n’abantu be Isirayiri.

Mukama Alabikira Sulemaani Omulundi Ogwokubiri

11 Awo Sulemaani bwe yamaliriza eyeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwa kabaka, era ng’amalirizza n’ebyo byonna bye yali ateeseteese mu mutima gwe okukola mu yeekaalu ya Mukama ne mu lubiri lwa kabaka, 12 (AI)Mukama n’amulabikira mu kiro n’amugamba nti,

“Mpulidde okusaba kwo, era neerobozza gye ndi ekifo kino okuba eyeekaalu ey’okuweerangamu ssaddaaka.

13 (AJ)“Bwe nnaggalangawo eggulu enkuba n’etatonnya, oba ne ndagira enzige okulya ensi oba ne nsindikira abantu bange kawumpuli, 14 (AK)abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe. 15 (AL)Era amaaso gange ganaazibukanga, n’amatu gange ganaawuliranga esaala ezinaawebwangayo mu kifo kino. 16 (AM)Nnonze era neewongedde yeekaalu eno, Erinnya lyange libeerenga omwo ennaku zonna. Amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga omwo ekiseera kyonna.

17 (AN)“Bw’onootambuliranga mu maaso gange nga Dawudi kitaawo bwe yakola, n’okola bye nkulagira byonna, n’okuuma ebiragiro byange n’amateeka gange, 18 (AO)ndinyweza entebe ey’obwakabaka bwo, nga bwe nalagaana ne Dawudi kitaawo bwe nayogera nti, ‘Tolirema kuba na musika alifuga Isirayiri.’ 

19 (AP)“Naye bwe munaakyuka ne muva ku mateeka gange n’ebiragiro byange bye mbawadde, ne mugenda okuweereza bakatonda abalala ne mubasinza, 20 (AQ)ndisiguukulula Isirayiri okuva mu nsi yange, gye mbawadde, era sirifaayo na ku yeekaalu eno gye neewongera olw’Erinnya lyange. Ndigifuula ekisekererwa era ekinyoomebwa mu mawanga gonna. 21 (AR)Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikiridde nnyo, abaliyitawo bonna balyewuunya, nga boogera nti, ‘Lwaki Mukama akoze ekifaanana bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’ 22 Abantu baliddamu nti, ‘Kubanga baava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala, nga babasinza era nga babaweereza, kyavudde abaleetako emitawaana gino gyonna, ginnamuzisa.’ ”

Zabbuli 136

136 (A)Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
(B)Mwebaze Katonda wa bakatonda bonna,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Mwebaze Mukama w’abafuzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(C)Oyo yekka akola ebyamagero ebikulu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
(D)Oyo eyakola eggulu mu kutegeera kwe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
(E)Oyo eyabamba ensi ku mazzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
(F)Oyo eyakola ebyaka ebinene,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
(G)Enjuba yagikola okufuganga emisana,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Omwezi n’emmunyeenye yabikola okufuganga ekiro,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

10 (H)Oyo eyatta ababereberye b’Abamisiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
11 (I)N’aggya Isirayiri mu Misiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
12 (J)Yabaggyamu n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

13 (K)Oyo eyayawulamu amazzi g’Ennyanja Emyufu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
14 (L)N’ayisa abaana ba Isirayiri wakati waayo,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
15 (M)Naye n’asaanyaawo Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emyufu;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

16 (N)Oyo eyakulembera abantu be mu ddungu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

17 (O)Ye yafufuggaza bakabaka abaatiikirivu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
18 (P)N’atta bakabaka ab’amaanyi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
19 (Q)Ye yatta ne Sikoni, kabaka w’Abamoli,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
20 Era ye yatta ne Ogi kabaka wa Basani,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
21 (R)N’awaayo ensi yaabwe okuba obutaka,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
22 Okuba obutaka bwa Isirayiri omuddu we,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

23 (S)Oyo eyatujjukira nga tuweddemu ensa,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
24 (T)N’atuwonya abalabe baffe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
25 (U)Oyo awa abantu n’ebiramu byonna ekyokulya,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

26 Kale mwebaze Katonda w’eggulu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.