Add parallel Print Page Options

(A)Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga lyogera okuva mu ntebe ey’obwakabaka nti, “Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe.

Read full chapter

(A)Naye ani ayinza okumuzimbira eyeekaalu, nga n’eggulu erya waggulu ddala taligyamu? Noolwekyo nze ani okumuzimbira eyeekaalu, okuggyako okumuzimbira ekifo eky’okwoterezangamu obubaane mu maaso ge?

Read full chapter

(A)Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu;
    Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.
Amaaso ge gatunuulira
    era geetegereza abaana b’abantu.

Read full chapter

22 (A)Katonda atuula ku nsi enneekulungirivu,
    era gy’ali abantu bali ng’amayanzi.
Atimba eggulu ng’olutimbe
    era alibamba ng’eweema ey’okubeeramu.

Read full chapter

66 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,

“Eggulu y’entebe yange kwe nfugira
    n’ensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange,
nnyumba ki gye mulinzimbira?
    Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu?

Read full chapter

49 (A)“ ‘Eggulu y’entebe yange ey’obwakabaka.
    N’ensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange.
Mukama n’agamba nti,
    Ononzimbira nnyumba ya ngeri ki?
    Oba kifo ki mwe ndiwummulira?

Read full chapter