Add parallel Print Page Options

41 (A)ebyandeetera okubalaga obukambwe ne mbasindika ne mu nsi z’abalabe baabwe, era amalala g’emitima gyabwe egitali mikomole bwe galikkakkana ne bakkiriza okukola ebibonerezo olw’ebyonoono byabwe,

Read full chapter

37 (A)oluvannyuma ne beenenya mu mutima nga bali mu nsi gye bali abasibe, ne bakwegayiririra mu nsi ey’okusibibwa kwabwe nga boogera nti, ‘Twayonoona, twakola eby’obubambavu, era twagira ekyejo,’

Read full chapter

10 Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.

Read full chapter

11 (A)Mutunuulire Mukama n’amaanyi ge;
    munoonye amaaso ge ennaku zonna.

Read full chapter

(A)Omubi aleke ekkubo lye,
    n’atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye.
Leka adde eri Mukama naye anaamusaasira, adde eri Katonda waffe
    kubanga anaamusonyiyira ddala.

Read full chapter

(A)Temuba nga bajjajjammwe, bannabbi ab’edda be baakoowoolanga nti, ‘Muve mu makubo gammwe amabi, n’ebikolwa byammwe ebikyamu.’ Naye tebampuliriza wadde okuŋŋondera, bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

27 (A)kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu, osonyiwe ekibi ky’abaddu bo, abantu bo Isirayiri, obayigirize ekkubo eggolokofu, lye bateekwa okutambulirangamu, era obaweereze enkuba ku nsi gye wawa abantu bo, obusika bwo.

Read full chapter

20 (A)Mukama n’awulira okusaba kwa Keezeekiya, n’atabazikiriza.

Read full chapter

26 (A)Omwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, Mukama bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa.

Read full chapter

18 (A)Nalaba by’akola, naye ndimuwonya.
    Ndimuluŋŋamya ne muddiza emirembe era ne mbeesabeesa abo abakungubaga.

Read full chapter