Chronological
Abatuuze Abapya aba Yerusaalemi
11 (A)Abakulembeze b’abantu ne babeeranga mu Yerusaalemi, abantu abalala ne bakuba akalulu okulonda omuntu omu ku buli bantu kkumi okugenda okubeera mu Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu; omwenda bo ne basigala mu byalo byabwe. 2 Abantu ne beebaza abo bonna abeewaayo okubeera mu Yerusaalemi.
3 (B)Bano be bakungu b’amasaza abaasenga mu Yerusaalemi: Abayisirayiri abamu, nga mwe muli bakabona n’Abaleevi, n’abaweereza ab’omu yeekaalu, ne bazzukulu ba baddu ba Sulemaani; buli omu yabeeranga ku ttaka lye mu kibanja kye. 4 (C)Mu Yerusaalemi mwabeerangamu abamu ku bazzukulu ba Yuda, n’abamu ku bantu abaava mu Benyamini.
Bazzukulu ba Yuda abaasenga eyo be bano:
Ataya mutabani wa Uzziya, muzzukulu wa Zekkaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Sefatiya, muzzukulu wa Makalaleri, ow’omu lulyo lwa Pereezi;
5 ne Maaseya mutabani wa Baluki, muzzukulu wa Kolukoze, muzzukulu wa Kazaya, muzzukulu wa Adaya, muzzukulu wa Yoyalibu, muzzukulu wa Zekkaliya, ow’omu lulyo lwa Siiro.
6 Bazzukulu ba Pereezi abaasenga mu Yerusaalemi baawerera ddala abasajja ebikumi bina mu nkaaga mu munaana (468), abaali abalwanyi abazira.
7 Bazzukulu ba Benyamini abaasenga eyo be bano:
Sallu mutabani wa Mesullamu, muzzukulu wa Yowedi, muzzukulu wa Pedaya, muzzukulu wa Kolaya, muzzukulu wa Maaseya, muzzukulu wa Isiyeri, muzzukulu wa Yesaya; 8 n’abagoberezi be Gabbayi ne Sallayi, bonna ne bawera abasajja lwenda mu abiri mu munaana (928). 9 Yoweeri mutabani wa Zikuli ye yali omulabirizi waabwe, ne Yuda mutabani wa Kassenuwa nga ye mukulu w’Ekitundu Ekyokubiri eky’ekibuga.
10 Bakabona baali:
Yedaya mutabani wa Yoyalibu, ne Yakini, 11 (D)ne Seraya mutabani wa Kirukiya, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Merayoosi, muzzukulu wa Akitubu, alabirira ennyumba ya Katonda, 12 ne baganda baabwe abaakolanga emirimu mu yeekaalu, be basajja lunaana mu abiri mu babiri (822); Adaya mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Peraliya, muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Zekkaliya, muzzukulu wa Pasukuli, muzzukulu wa Malukiya, 13 ne baganda be, abaali abakulu b’ennyumba; abasajja ebikumi bibiri mu ana mu babiri (242); Amasusaayi mutabani wa Azaleri, muzzukulu wa Azayi, muzzukulu wa Mesiremoosi, muzzukulu wa Immeri, 14 ne baganda be, abaali abalwanyi abazira; abasajja kikumi mu abiri mu munaana (128). Omukulu waabwe ye yali Zabudyeri mutabani wa Kaggedolimu.
15 Abaleevi baali:
Semaaya mutabani wa Kassubu, muzzukulu wa Azulikamu, muzzukulu wa Kasabiya, muzzukulu wa Bunni;
16 (E)Sabbesayi ne Yozabadi, abakulu b’Abaleevi, abaavunaanyizibwanga emirimu egy’ebweru egy’ennyumba ya Katonda;
17 (F)Mattaniya mutabani wa Mikka, muzzukulu wa Zabudi muzzukulu wa Asafu, eyakulemberanga okwebaza mu kiseera eky’okusaba;
Bakubukiya omumyuka we mu baganda be;
ne Abuda mutabani wa Sammuwa, muzzukulu wa Galali, ate muzzukulu wa Yedusuni.
18 (G)Abaleevi abaabeeranga mu kibuga ekitukuvu bonna awamu, baali ebikumi bibiri mu kinaana mu bana (284).
19 Abakuumi b’emiryango baali:
Akkubu, ne Talumoni ne baganda baabwe; abaakuumanga emiryango nga bawera abasajja kikumi mu nsanvu mu babiri (172).
20 Abayisirayiri abalala bonna, awamu ne bakabona, n’Abaleevi, baabeeranga mu byalo byonna ebya Yuda, buli muntu ng’ali ku butaka bwe.
21 (H)Naye abaweereza ba yeekaalu baabeeranga ku lusozi Oferi, era Zika ne Gisupa be baali abakulu baabwe.
22 (I)Omukulu w’Abaleevi mu Yerusaalemi yali Uzzi mutabani wa Baani, muzzukulu wa Kasabiya, muzzukulu wa Mattaniya, era muzzukulu wa Mikka. Ate era Uzzi yali omu ku bazzukulu ba Asafu, abaakulemberanga okuyimba mu nnyumba ya Katonda. 23 (J)Abayimbi baakoleranga ku biragiro bya kabaka, nga buli lunaku bwe lwetaaganga.
24 (K)Pesakiya mutabani wa Mesezaberi, omu ku bazzukulu ba Zeera mutabani wa Yuda, ye yali omusigire wa Kabaka, ku nsonga zonna ez’abantu.
25 (L)Abantu abamu aba Yuda baabeeranga mu Kirasualuba n’ebyalo ebikyetoolodde, n’abalala mu Diboni n’ebyalo ebikyetoolodde, n’abalala mu Yekabuzeeri n’ebyalo ebikyetoolodde, 26 (M)n’abalala mu Yesuwa, n’abalala mu Molada n’abalala mu Besupereti, 27 (N)n’abalala mu Kazalusuwali, n’abalala mu Beeruseba n’ebyalo ebikyetoolodde, 28 (O)n’abalala mu Zikulagi, n’abalala mu Mekona n’ebyalo ebikyetoolodde 29 (P)n’abalala mu Enulimmoni, n’abalala mu Zola, n’abalala mu Yalamusi, 30 (Q)n’abalala mu Zonowa, n’abalala mu Adulamu n’ebyalo ebikyetoolodde, n’abalala mu Lakisi n’ennimiro ezikyetoolodde, n’abalala mu Azeka n’ebyalo ebikyetoolodde. Ne basiisira okuva e Beeruseba okutuuka ku kiwonvu kya Kinomu.
31 (R)Bazzukulu ba Benyamini abaava e Geba baabeeranga mu Mikumasi, ne mu Ayiya, ne mu Beseri n’ebyalo ebikyetoolodde, 32 (S)ne mu Anasosi, ne mu Nobu, ne mu Ananiya, 33 (T)ne mu Kazoli, ne mu Laama, ne mu Gittayimu, 34 (U)ne mu Kadidi, ne mu Zeboyimu, ne mu Neballati, 35 (V)ne mu Loodi ne mu Ono, ne mu kiwonvu kya babumbi.
36 Abamu ku b’omu bibinja by’Abaleevi aba Yuda, ne beegatta ku b’omu Benyamini.
Bakabona n’Abaleevi
12 (W)Bano be bakabona n’Abaleevi abaakomawo ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa:
Seraya, ne Yeremiya, ne Ezera,[a]
2 ne Amaliya, ne Malluki, ne Kattusi,
3 ne Sekaniya, ne Lekumu, ne Meremoosi,
4 (X)ne Iddo, ne Ginnesoyi, ne Abiya,
5 ne Miyamini, ne Maadiya, ne Biruga,
6 (Y)ne Semaaya, ne Yoyalibu, ne Yedaya,
7 ne Sallu, ne Amoki, ne Kirukiya ne Yedaya.
Abo be baali abakulembeze ba bakabona ne baganda baabwe mu biro bya Yesuwa.
8 (Z)Abaleevi baali: Yesuwa, ne Binnuyi, ne Kadumyeri, ne Serebiya, ne Yuda ne Mattaniya awamu ne baganda be, abaakulemberanga ennyimba ez’okwebaza mu kusinza. 9 Bakubukiya ne Unni ne baganda baabwe bo, baayimiriranga nga baboolekedde mu biseera eby’okusinza.
10 (AA)Yesuwa yali kitaawe wa Yoyakimu,
ate Yoyakimu nga ye kitaawe wa Eriyasibu,
ne Eriyasibu nga ye kitaawe wa Yoyaada,
11 Yoyaada nga ye kitaawe wa Yonasaani,
ate Yonasaani nga ye kitaawe wa Yadduwa.
12 Mu biro bya Yoyakimu, bano be baali abakulu b’ennyumba za bakabona:
eya Seraya, yali Meraya;
eya Yeremiya, yali Kananiya;
13 eya Ezera, yali Mesullamu,
eya Amaliya, yali Yekokanani;
14 eya Malluki, yali Yonasaani;
eya Sebaniya, yali Yusufu;
15 eya Kalimu, yali Aduna;
eya Merayoosi, yali Kerukayi;
16 (AB)eya Iddo, yali Zekkaliya;
eya Ginnesoni, yali Mesullamu;
17 eya Abiya, yali Zikuli;
eya Miniyamini ne Mowadiya, yali Pirutayi;
18 eya Biruga, yali Sammuwa;
eya Semaaya, yali Yekonasaani;
19 eya Yoyalibu, yali Mattenayi;
eya Yedaya, yali Uzzi;
20 eya Sallayi, yali Kallayi;
eya Amoki, yali Eberi;
21 eya Kirukiya, yali Kasabiya;
n’eya Yedaya, yali Nesaneeri.
22 Abakulu b’ennyumba z’Abaleevi abaakola mu biro bya Eriyasibu, ne Yoyada, ne Yokanaani ne Yadduwa, awamu ne bakabona, baawandiikibwa mu mirembe gya Daliyo Omuperusi. 23 Abakulu b’enju abaava mu bazzukulu ba Leevi okutuuka ku mulembe gwa Yokanaani mutabani wa Eriyasibu, ne bawandiikibwa mu bitabo eby’ebyafaayo. 24 (AC)Abakulembeze b’Abaleevi baali: Kasabiya, ne Serebiya, ne Yesuwa mutabani wa Kadumyeri, n’abaabayambangako nga baboolekedde, nga batendereza era nga beebaza, ng’ekibinja ekimu kiddamu ekirala kye biyimba, nga Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.
25 Mattaniya, ne Bakubukiya, ne Obadiya, ne Mesullamu, ne Talumoni, ne Akkubu be baakuumanga amawanika g’oku miryango. 26 Baaweerereza mu biro bya Yoyakimu mutabani wa Yesuwa, mutabani wa Yozadaki, ne mu biro bya Nekkemiya owessaza, ne Ezera kabona era omuwandiisi.
Okutukuza Bbugwe wa Yerusaalemi
27 (AD)Awo okutukuza kwa bbugwe wa Yerusaalemi bwe kwatuuka, ne banoonya Abaleevi okuva gye baabeeranga, ne baleetebwa e Yerusaalemi okujaguza nga bwe bayimba n’okukuba ebitaasa n’entongooli n’ennanga. 28 (AE)Abayimbi nabo ne bajja okuva mu bitundu ebyetoolodde Yerusaalemi, nga bava mu byalo by’Abanetofa, 29 n’okuva mu Besugirugaali, n’okuva mu bitundu by’e Geba n’e Azumavesi; abayimbi baali beefunidde ebyalo okwetooloola Yerusaalemi. 30 (AF)Bakabona n’Abaleevi bwe baamala okwetukuza olw’emikolo egyo, ne balyoka batukuza abantu, n’emiryango ne bbugwe.
31 (AG)Ne ndyoka ntwala abakulembeze ba Yuda waggulu ku bbugwe, ne ndagira n’ebibinja bibiri eby’abayimbi okwebaza. Ekimu kyalaga waggulu wa bbugwe ku mukono ogwa ddyo, n’ekirala ne kiraga ku Mulyango gw’Obusa. 32 Kosaaya ne kimu kyakubiri eky’abakulembeze ba Yuda ne babagoberera, 33 nga bali wamu ne Azaliya, ne Ezera, ne Mesullamu, 34 (AH)ne Yuda, ne Benyamini, ne Semaaya, ne Yeremiya, 35 (AI)ne bakabona abamu nga bakutte amakondeere, ne Zekkaliya mutabani wa Yonasaani, muzzukulu wa Semaaya, muzzukulu wa Mikaaya, muzzukulu wa Zakkuli, muzzukulu wa Asafu; 36 (AJ)ne banne abaamuyambangako nga be bano: Semaaya, ne Azuleeri, ne Miralayi, ne Giralayi, ne Maayi, ne Nesaneeri, ne Yuda, ne Kanani, nga balina ebivuga ebyalagirwa Dawudi omusajja wa Katonda, era Ezera omuwandiisi, ye yabakulemberangamu. 37 (AK)Bwe baatuuka ku Mulyango gw’Oluzzi, ne bambuka amadaala g’Ekibuga kya Dawudi okutuukira ddala ku bbugwe; ne bayita ku lubiri lwa Dawudi ne batuuka ku Mulyango ogw’Amazzi, oguli ku luuyi olw’ebuvanjuba.
38 (AL)Ekibinja ekyokubiri eky’abayimbi, ne kiraga ku luuyi olwolekedde luli bali gye baali balaze. Nze ne kimu kyakubiri eky’abantu ne tubagoberera okutuukira ddala waggulu ku bbugwe, ne tuyita ku Munaala gw’Ebikoomi ne tutuuka ku Bbugwe Omugazi, 39 (AM)ne ku Mulyango gwa Efulayimu, ne ku Mulyango gwa Yesana, ne ku Mulyango gw’Ebyennyanja, n’okutuuka ku Munaala gwa Kananeri, ne ku Munaala gw’Ekikumi, n’okutuukira ddala ku Mulyango gw’Endiga, ne tuyimirira ku Mulyango gw’Abambowa.
40 Ebibinja byombi eby’abayimbi ne batuula mu bifo byabwe mu nnyumba ya Katonda; nange ne kimu kyakubiri eky’abakulembeze ne tutuula, 41 awamu ne bakabona bano: Eriyakimu, ne Maaseya, ne Miniyamini, ne Mikaaya, ne Eriwenayi, ne Zekkaliya, ne Kananiya nga balina amakondeere; 42 Maaseya, ne Semaaya, ne Eriyazaali, ne Uzzi, ne Yekokanani, ne Malukiya, ne Eramu, ne Ezera nabo baaliwo. Abayimbi ne bayimba, Yekulakiya nga ye mukulu waabwe. 43 Ku lunaku olwo, ne bawaayo ssaddaaka nnyingi nnyo nnyini, nga batendereza kubanga Katonda yali abawadde essanyu lingi nnyo nnyini. Abakazi n’abaana nabo ne basanyukira wamu nabo, era okujaguza okwo mu Yerusaalemi ne kuwulirwa mu bifo eby’ewala.
44 (AN)Mu kiseera ekyo, abantu ne balondebwa okulabiriranga amawanika omwaterekebwanga ebyaleetebwanga, nga mwe muli ebibala ebibereberye, ne kimu kya kkumi, nga bireetebwa okuva mu bibanja ebyetoolodde ebibuga, nga bwe kyalagibwa mu Mateeka, ne biweebwa bakabona n’Abaleevi. Yuda baali basanyufu olw’obuweereza bwa bakabona awamu n’obw’Abaleevi. 45 (AO)Bakabona n’Abaleevi ne bakwata embaga ya Katonda waabwe era ne bagitukuza, n’abayimbi awamu n’abakuumi ba wankaaki nabo ne bakola bwe batyo, ng’ekiragiro kya Dawudi ne Sulemaani mutabani we bwe kyali. 46 (AP)Mu biro eby’edda, mu biseera bya Dawudi ne Asafu, waabangawo abakulu b’abayimbi, ate nga waliwo n’ennyimba ezaayimbibwanga okutendereza Katonda. 47 (AQ)Noolwekyo mu biro bya Zerubbaberi ne mu biro bya Nekkemiya, Isirayiri kyeyava ewaayo ebibinja by’abayimbi n’abakuumi ba wankaaki. Ne balonda n’ekibinja ky’Abaleevi abalala, n’Abaleevi nabo ne balondayo ekibinja ekyava mu bazzukulu ba Alooni.
Enkyukakyuka za Nekkemiya Ezasembayo
13 (AR)Ku lunaku olwo, Ekitabo kya Musa ne kisomebwa ng’abantu bawulira, ne bazuula nga kyawandiikibwa nti tewabanga Omwamoni newaakubadde Omumowaabu akkirizibwanga okuyingira mu kuŋŋaaniro lya Katonda, 2 (AS)kubanga tebaayaniriza Bayisirayiri na mmere newaakubadde amazzi, wabula baagulirira Balamu akolimire Abayisirayiri. Kyokka Katonda waffe yafuula ekikolimo okuba omukisa. 3 (AT)Abantu bwe baawulira etteeka eryo, ne bagoba bannaggwanga bonna mu Isirayiri.
4 (AU)Ebyo nga tebinnabaawo, Eriyasibu omu ku bakabona, yali aweereddwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga amawanika g’ennyumba ya Katonda waffe, kyokka nga mukwano nnyo wa Tobiya. 5 (AV)Eriyasibu yali awadde Tobiya ekimu ku bisenge ebigazi omwali muterekebwa ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’omugavu, n’ebintu ebikozesebwa mu kusinza, ne kimu kya kkumi eky’emmere ey’empeke, ne wayini omuggya, awamu n’omuzigo ogwaweebwanga Abaleevi, n’abayimbi, n’abakuumi ba wankaaki, n’ebyo ebyaweebwanga bakabona.
6 (AW)Kyokka ebyo byonna bwe byali bikolebwa, ssaali mu Yerusaalemi, kubanga mu mwaka ogw’amakumi asatu mu ebiri ogw’obufuzi bwa Alutagizerugizi kabaka w’e Babulooni, nnali nzizeeyo eri kabaka. Oluvannyuma lw’ebbanga, ne nsaba kabaka, 7 (AX)ne nkomawo e Yerusaalemi, ne manyisibwa ekibi Eriyasibu kye yali akoze, bwe yawa Tobiya ekisenge mu mpya z’ennyumba ya Katonda. 8 (AY)Ne nyiiga nnyo era ne nkasuka ebintu bya Tobiya byonna ebweru, okubiggya mu kisenge. 9 (AZ)Ne ndagira ebisenge bitukuzibwe, n’oluvannyuma ebintu ebyabeeranga mu nnyumba ya Katonda, n’emmere ey’empeke, n’omugavu ne biddizibwamu.
10 (BA)Ne ntegeezebwa ng’emigabo gy’Abaleevi nagyo gyali tegibaweerebbwa, era nga n’Abaleevi bonna awamu n’abayimbi baali bazzeeyo mu bibanja byabwe. 11 (BB)Kyenava nnenya abakungu ne mbabuuza nti, “Lwaki ennyumba ya Katonda terabiriddwa?” Bonna ne mbayita ne mbagamba bakomewo mu bifo mwe baabeeranga.
12 (BC)Yuda yenna ne baleeta ekimu eky’ekkumi eky’emmere ey’empeke ne wayini omuggya n’omuzigo, ne babiteeka mu mawanika. 13 (BD)Ne nnonda Seremiya omu ku bakabona, ne Zadooki omuwandiisi, ne Pedaya omu ku Baleevi balabirirenga amawanika. Ne nnonda ne Kanani mutabani wa Zakkuli, mutabani wa Mattaniya okubayambangako; baali basajja beesimbu.
14 (BE)Ozinjukirenga Ayi Katonda wange olw’ekikolwa ekyo, oleme okusangulawo ebyo byonna bye nakolera ennyumba ya Katonda wange, n’okuweereza kwe naweereza n’obwesigwa.
15 (BF)Mu biro ebyo, ne ndaba abasajja mu Yuda, nga basogola omwenge ku Ssabbiiti, era nga baleeta emmere ey’empeke awamu ne wayini, n’emizabbibu, n’ettiini, n’emigugu emirala egya buli ngeri, nga babitisse endogoyi. Bino baali babiyingiza mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. Kyenava mbalabula obutatunda mmere ku lunaku olwo. 16 (BG)Abantu b’e Ttuulo abaatuulanga mu Yerusaalemi, baaleetanga ebyennyanja n’ebyamaguzi eby’engeri ez’enjawulo, nga babitunza abantu ba Yuda mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. 17 Nanenya abakulembeze ba Yuda ne mbagamba nti, “Kiki kino eky’ekivve kye mukola nga mwonoona olunaku lwa Ssabbiiti? 18 (BH)Bajjajjammwe tebaakola bintu bye bimu, Katonda waffe n’alyoka aleeta ekikangabwa kino kyonna ku ffe ne ku kibuga kyaffe kino? Kaakano mwongera kusiikula kiruyi kirala eri Isirayiri nga mwonoona Ssabbiiti?”
19 (BI)Awo ebisiikirize ebya kawungeezi bwe byali bitandise okugwa ku miryango gya Yerusaalemi, nga Ssabbiiti tennatuuka, ne ndagira emiryango okuggalwa era gireme okuggulwa okutuusa nga Ssabbiiti eweddeko. Nateeka abamu ku basajja bange ku miryango, waleme kubaawo mugugu guyingizibwa wadde ogufulumizibwa ku Ssabbiiti. 20 Omulundi gumu oba ebiri, abasuubuzi n’abatundanga ebintu eby’engeri zonna baasula ebweru w’ekibuga Yerusaalemi. 21 Kyokka ne mbalabula nga mbagamba nti, “Lwaki musula awo ku bbugwe? Bwe munaddamu okukikola nzija kubabonereza.” Okuva ku olwo tebaddayo kujja ku Ssabbiiti. 22 (BJ)Ne ndyoka ndagira Abaleevi okwetukuza bagende bakuume emiryango, okusobola okukuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu.
Onzijukire olwa kino nakyo Ayi Katonda wange, era ondage ekisa okusinziira ku kwagala kwo okungi.
23 (BK)Ate era mu nnaku ezo, ne ndaba abasajja ba Yuda abaali bawasizza abakazi okuva mu Asudodi, ne Amoni, ne Mowaabu. 24 Kimu kyakubiri ku baana baabwe baali boogera olulimi lw’Abasudodi, oba olumu ku nnimi z’abantu abalala. 25 (BL)Ne mbanenya ne mbakolimira. Ne nkubako abamu ku basajja abo Abayudaaya, ne mbakuunyuulako enviiri. Ne mbalayiza mu linnya lya Katonda nga mbagamba nti, “Temuwangayo bawala bammwe kufumbirwa batabani baabwe, wadde bawala baabwe okufumbirwa batabani bammwe, oba mmwe mwennyini. 26 (BM)Okufumbiriganwa okw’engeri eyo, si kwe kwaleetera Sulemaani kabaka wa Isirayiri okwonoona? Mu mawanga gonna, tewaali kabaka nga ye. Yali ayagalibwa nnyo Katonda, era Katonda yamufuula kabaka wa Isirayiri yonna, kyokka abakazi bannaggwanga amalala, baamuwabya, n’akola ebibi. 27 (BN)Ate tuwulira nga mukoze ebintu bino ebibi bwe bityo. Temuba beesigwa eri Katonda waffe bwe muwasa abakazi bannamawanga.”
28 (BO)Omu ku batabani ba Yekoyaada, mutabani wa Eriyasibu kabona omukulu yali mukoddomi wa Sanubalaati Omukoloni. Ne mmugoba we ndi.
29 (BP)Bajjukire, Ayi Katonda wange, kubanga baayonoona omulimu gw’obwakabona n’endagaano y’obwakabona ne ey’Abaleevi.
30 (BQ)Ne ntukuza bakabona awamu n’Abaleevi okuva mu buli kintu kyonna ekitali kitukuvu, buli omu ne mmuwa emirimu egy’okukola. 31 (BR)Ne nteekawo enkola ey’abantu okuwaayo enku mu biseera ebigereke, era n’ebibala ebibereberye.
Onzijukire n’okwagala kwo Ayi Katonda wange.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.