Chronological
Okusaba kw’oyo ali mu buyinike ng’ayigganyizibwa nga yeeyongedde okunafuwa, n’afukumula byonna ebimuli ku mutima mu maaso ga Mukama.
102 (A)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
okkirize okukoowoola kwange kutuuke gy’oli.
2 (B)Tonneekweka
mu biseera eby’obuyinike bwange.
Ntegera okutu kwo
onnyanukule mangu bwe nkukoowoola!
3 (C)Kubanga ennaku zange zifuumuuka ng’omukka,
n’amagumba gange gaaka ng’amanda.
4 (D)Omutima gwange gulinnyirirwa ng’omuddo, era guwotose;
neerabira n’okulya emmere yange.
5 Olw’okwaziirana kwange okunene,
nzenna nfuuse ŋŋumbagumba.
6 (E)Ndi ng’ekiwuugulu eky’omu ddungu,
era ng’ekiwuugulu eky’omu nsiko.
7 (F)Nsula ntunula,
nga ndi ng’ekinyonyi ekitudde kyokka ku kasolya k’ennyumba.
8 Abalabe bange banvuma olunaku lwonna;
abo abanduulira bakozesa linnya lyange nga bakolima.
9 (G)Kubanga ndya evvu ng’alya emmere,
n’amaziga gange ne geegattika mu kyokunywa kyange.
10 (H)Olw’obusungu n’okunyiiga kwo;
onneegobyeko n’onsuula eyo.
11 (I)Ennaku zange ziri ng’ekisiikirize ky’olweggulo nga buziba;
mpotoka ng’omuddo.
12 (J)Naye ggwe, Ayi Mukama, obeera mu ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe;
erinnya lyo linajjukirwanga ab’omu mirembe gyonna.
13 (K)Olisituka n’osaasira Sayuuni,
kino kye kiseera okulaga Sayuuni omukwano;
ekiseera kye wateekateeka kituuse.
14 Kubanga amayinja gaakyo abaweereza bo bagaagala nnyo,
n’enfuufu y’omu kibuga ekyo ebakwasa ekisa.
15 (L)Amawanga gonna ganaatyanga erinnya lya Mukama;
ne bakabaka bonna ab’ensi banaakankananga olw’ekitiibwa kyo.
16 (M)Kubanga Mukama alizimba Sayuuni buto,
era n’alabika mu kitiibwa kye.
17 (N)Alyanukula okusaba kw’abanaku;
talinyooma kwegayirira kwabwe.
18 (O)Bino leka biwandiikirwe ab’omu mirembe egirijja,
abantu abatannatondebwa bwe balibisoma balyoke batendereze Mukama.
19 (P)Bategeere nti Mukama yatunula wansi ng’asinziira waggulu mu kifo kye ekitukuvu;
Mukama yasinzira mu ggulu n’atunuulira ensi,
20 (Q)okuwulira okusinda kw’abasibe,
n’okusumulula abo abasaliddwa ogw’okufa.
21 (R)Erinnya lya Mukama, liryoke litenderezebwe mu Sayuuni,
bamutenderezenga mu Yerusaalemi;
22 abantu nga bakuŋŋaanye, awamu n’obwakabaka,
okusinza Mukama.
23 Mukama ammazeemu amaanyi nga nkyali muvubuka;
akendeezezza ku nnaku z’obulamu bwange.
24 (S)Ne ndyoka mmukaabira nti,
“Ayi Katonda wange, tontwala nga nkyali mu makkati g’emyaka gy’obulamu bwange,
ggw’abeera omulamu emirembe gyonna.
25 (T)Ku ntandikwa wassaawo omusingi gw’ensi;
n’eggulu gy’emirimu gy’emikono gyo.
26 (U)Byonna biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera.
Byonna birikaddiwa ng’ebyambalo.
Olibikyusa ng’ebyambalo, ne bisuulibwa.
27 (V)Naye ggwe tokyuka oli wa lubeerera
n’emyaka gyo tegirikoma.
28 (W)Abaana b’abaweereza bo baliba mu ddembe;
ne bazzukulu baabwe banaabeeranga w’oli nga tebalina kye batya.”
Zabbuli Ya Dawudi.
103 (X)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;
ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.
2 Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange,
era teweerabiranga birungi bye byonna.
3 (Y)Asonyiwa ebibi byo byonna,
n’awonya n’endwadde zo zonna.
4 Anunula obulamu bwo emagombe, n’akusaasira
era n’akwagala n’okwagala okutaggwaawo.
5 (Z)Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala;
obuvubuka bwo ne budda buggya ng’empungu.[a]
6 Mukama asala mu butuukirivu ne mu bwenkanya,
ensonga z’abo bonna abajoogebwa.
7 (AA)Yamanyisa Musa ebyo by’ayagala,
n’alaga abaana ba Isirayiri ebikolwa bye.
8 (AB)Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira,
tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.
9 (AC)Taasibenga busungu ku mwoyo,
era tasunguwala kumala bbanga lyonna.
10 (AD)Tatukola ng’okwonoona kwaffe bwe kuli,
wadde okutusasula ng’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
11 (AE)Ng’eggulu bwe litumbidde ennyo waggulu w’ensi,
n’okwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya.
12 (AF)Ebibi byaffe abituggyako
n’abitwala wala ng’ebuvanjuba bw’eri ewala okuva ebugwanjuba.
13 (AG)Kitaawe w’abaana nga bw’asaasira abaana be,
ne Mukama bw’atyo bw’asaasira abo abamutya.
14 (AH)Kubanga amanyi nga bwe twakolebwa
era ng’ajjukira nti tuli nfuufu.
15 (AI)Wabula omuntu, ennaku z’obulamu bwe ziri ng’omuddo;
akula n’agimuka ng’ekimuli eky’omu nnimiro;
16 (AJ)empewo ekifuuwa, ne kifa;
nga ne we kyali tewakyajjukirwa.
17 Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo
emirembe gyonna,
n’obulokozi bwe eri abaana b’abaana baabwe.
18 (AK)Be bo abakuuma endagaano ye
ne bajjukira okugondera amateeka ge.
19 (AL)Mukama anywezezza entebe ye ey’obwakabaka mu ggulu,
n’obwakabaka bwe bufuga ensi yonna.
20 (AM)Mwebaze Mukama mmwe bamalayika be,
mmwe ab’amaanyi abakola ky’agamba,
era abagondera ekigambo kye.
21 (AN)Mwebaze Mukama mmwe amaggye ge ag’omu ggulu,
mmwe abaweereza be abakola by’ayagala.
22 (AO)Mwebaze Mukama, mmwe ebitonde bye byonna
ebiri mu matwale ge gonna.
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.
104 (AP)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.
Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo;
ojjudde obukulu n’ekitiibwa.
2 (AQ)Yeebika ekitangaala ng’ayeebikka ekyambalo
n’abamba eggulu ng’eweema,
3 (AR)n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;
ebire abifuula amagaali ge,
ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.
4 (AS)Afuula empewo ababaka be,
n’ennimi z’omuliro ogwaka abaweereza be.
5 (AT)Yassaawo ensi ku misingi gyayo;
teyinza kunyeenyezebwa.
6 (AU)Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;
amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
7 (AV)Bwe wagaboggolera ne gadduka;
bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
8 (AW)gaakulukutira ku nsozi ennene,
ne gakkirira wansi mu biwonvu
mu bifo bye wagategekera.
9 Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,
na kuddayo kubuutikira nsi.
10 (AX)Alagira ensulo ne zisindika amazzi mu biwonvu;
ne gakulukutira wakati w’ensozi.
11 Ne ganywesa ebisolo byonna eby’omu nsiko;
n’endogoyi ne gazimalako ennyonta.
12 (AY)Ebinyonyi eby’omu bbanga bizimba ebisu byabyo ku mabbali g’amazzi,
ne biyimbira mu matabi.
13 (AZ)Afukirira ensozi ennene ng’osinziira waggulu gy’obeera;
ensi n’ekkuta ebibala by’emirimu gyo.
14 (BA)Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente,
n’ebirime abantu bye balima,
balyoke bafune ebyokulya okuva mu ttaka.
15 (BB)Ne wayini okusanyusa omutima gwe,
n’ebizigo okwesiiga awoomye endabika ye,
n’emmere okumuwa obulamu.
16 Emiti gya Mukama gifuna amazzi mangi;
gy’emivule gy’e Lebanooni gye yasimba.
17 (BC)Omwo ebinyonyi mwe bizimba ebisu byabyo;
ne ssekanyolya asula mu miti omwo.
18 (BD)Ku nsozi empanvu eyo embulabuzi ez’omu nsiko gye zibeera;
n’enjazi kye kiddukiro ky’obumyu.
19 (BE)Wakola omwezi okutegeeza ebiro;
n’enjuba bw’egwa n’eraga olunaku.
20 (BF)Oleeta ekizikiza, ne buba ekiro;
olwo ebisolo byonna eby’omu bibira ne biryoka bivaayo.
21 (BG)Empologoma ento zikaabira emmere gye zinaalya;
nga zinoonya ebyokulya okuva eri Katonda.
22 (BH)Enjuba bw’evaayo ne zigenda, n’oluvannyuma
ne zikomawo ne zigalamira mu mpuku zaazo.
23 (BI)Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe,
ne bakola okutuusa akawungeezi.
24 (BJ)Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!
Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;
ensi ejjudde ebitonde byo.
25 (BK)Waliwo ennyanja, nnene era ngazi,
ejjudde ebitonde ebitabalika,
ebintu ebirina obulamu ebinene era n’ebitono.
26 (BL)Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri;
ne galukwata ge wakola mwe gabeera okuzannyiranga omwo.
27 (BM)Ebyo byonna bitunuulira ggwe
okubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse.
28 (BN)Bw’ogibiwa,
nga bigikuŋŋaanya;
bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungi
ne bikkusibwa.
29 (BO)Bw’okweka amaaso go
ne byeraliikirira nnyo;
bw’obiggyamu omukka nga bifa,
nga biddayo mu nfuufu.
30 Bw’oweereza Omwoyo wo,
ne bifuna obulamu obuggya;
olwo ensi n’ogizza buggya.
31 (BP)Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna;
era Mukama asanyukirenga ebyo bye yakola.
32 (BQ)Atunuulira ensi, n’ekankana;
bw’akwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka.
33 (BR)Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna;
nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.
34 (BS)Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga;
kubanga mu Mukama mwe neeyagalira.
35 (BT)Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;
aboonoonyi baleme kulabikirako ddala.
Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange.
Mumutenderezenga Mukama.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.