Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Bible in 90 Days

An intensive Bible reading plan that walks through the entire Bible in 90 days.
Duration: 88 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Lukka 20:20 - Yokaana 5:47

Okuwa Omusolo

20 (A)Ne balinda okutuusa lwe banaafuna akaagaanya babeeko kye bakola. Ne batuma abakessi eri Yesu nga beefudde ng’abantu abalungi abaagala okumanya. Baasuubira nti mu ebyo by’anaddamu, nga bamubuuzizza ebibuuzo ebirimu emitego, munaabaamu kwe banaasinziira okumukwata ne bamuwaayo ewa gavana. 21 (B)Abakessi ne babuuza Yesu nti, “Omuyigiriza, tumanyi nga By’oyogera n’ebyo by’oyigiriza bya mazima, era nga tofaayo ku bigambo eby’abantu obuntu wabula oyigiriza ebyo Katonda by’ayagala. 22 Kyetuva tukubuuza nti kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?”

23 Yesu n’ategeera mangu obukuusa bwabwe, n’abagamba nti, 24 “Mundage ensimbi eya ffeeza. Ekifaananyi kino ekiriko ky’ani? N’erinnya lino ly’ani?” Ne baddamu nti, “Bya Kayisaali.” 25 (C)N’abagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda.” 26 Ne balemwa okumukwasa mu ebyo bye yaddamu ng’abantu bonna bali awo. Bye yaddamu ne bibeewuunyisa nnyo, ne basirika busirisi.

Okuzuukira n’Okuwasa

27 (D)Awo abamu ku Basaddukaayo abatakkiririza mu kuzuukira, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, 28 (E)“Omuyigiriza, amateeka ga Musa gagamba nti ssinga omusajja omufumbo afa nga tazadde baana, muganda we awasenga nnamwandu alyoke afunire muganda we omufu ezzadde. 29 Waaliwo abooluganda musanvu, asinga obukulu n’awasa, kyokka n’afa nga talese mwana. 30 Adda ku mufu n’awasa nnamwandu; kyokka naye n’afa nga tazadde mwana. 31 Okutuusa abooluganda bonna lwe baafa ne baggwaawo nga buli omu awasizza ku nnamwandu oyo, kyokka nga tewali alese mwana. 32 Oluvannyuma n’omukazi naye n’afa. 33 Kale mu kuzuukira omukazi oyo aliba muka ani? Kubanga abooluganda bonna omusanvu yabafumbirwako!”

34 Yesu n’addamu nti, “Obufumbo buli kuno ku nsi, abantu kwe bawasiza era ne bafumbirwa. 35 (F)Naye abo abasaanyizibwa okuzuukira mu bafu bwe batuuka mu ggulu tebawasa wadde okufumbirwa, 36 (G)era tebaddayo kufa nate, kubanga baba nga bamalayika. Era baba baana ba Katonda kubanga baba bazuukizibbwa mu bulamu obuggya, 37 (H)Naye nti abafu bazuukizibwa, ne Musa yannyonnyola bye yalaba ku kisaka, bwe yayita Mukama Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. 38 Kino kitegeeza nti ssi Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu, kubanga bonna balamu gy’ali.” 39 Abamu ku bannyonnyozi b’amateeka ne bagamba nti, “Omuyigiriza, ozzeemu bulungi!” 40 (I)Ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.

Kristo Mwana w’ani?

41 (J)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki Kristo ayitibwa Omwana wa Dawudi? 42 Songa Dawudi amwogerako mu Zabbuli nti,

“ ‘Katonda yagamba Mukama wange nti,
    Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo
43 (K)okutuusa lwe ndifuula abalabe bo
    entebe y’ebigere byo.’

44 Noolwekyo obanga Dawudi amuyita Mukama we, kale ayinza atya okuba omwana we?”

45 Awo abantu bonna nga bawulira, Yesu n’akyukira abayigirizwa be n’abagamba nti, 46 (L)“Mwekuume abannyonnyozi b’amateeka. Baagala nnyo okutambula nga bambadde amaganduula agagenda gakweya, n’abantu okugenda nga babalamusa mu butale, era baagala nnyo okutuula mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro ne ku mbaga! 47 Balimbalimba nga basaba essaala empanvu, ng’eno bwe basala enkwe okunyaga ebintu bya bannamwandu. Noolwekyo bagenda kufuna ekibonerezo ekisingira ddala obunene.”

Okugaba kwa Nnamwandu

21 (M)Awo Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba abantu abagagga nga bateeka ebirabo byabwe mu ggwanika mu Yeekaalu. N’alaba nnamwandu omwavu ng’awaayo busente bubiri. N’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu agabye okusinga bali abagagga bonna. (N)Kubanga bagabye kitono nga bakiggya ku bugagga bwe bafisizzaawo, naye nnamwandu mu bwavu bwe awaddeyo kyonna ky’alina.”

Okuzikirizibwa kwa Yeekaalu

Ne wabaawo aboogera ku bulungi bw’amayinja agaweebwayo eri Katonda okuzimba Yeekaalu. (O)Naye Yesu n’agamba nti, “Ekiseera kijja ebirungi bino byonna bye mutunuulira lwe biribetentulwa ne watasigalawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, eritalisuulibwa wansi.”

Ne bamubuuza nti, “Omuyigiriza, ebyo biribaawo ddi? Ye walibaawo akabonero akaliraga nti biri kumpi okubaawo?”

(P)Yesu n’addamu nti, “Mwekuume muleme kulimbibwalimbibwa. Kubanga bangi balikozesa erinnya lyange, nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo.’ Naye temubakkirizanga. Naye bwe muwuliranga entalo n’obwegugungo, temutyanga. Kubanga entalo ziteekwa okusooka okujja, naye enkomerero terituuka mangwago.”

10 (Q)N’ayongera n’abagamba nti, “Amawanga galirwanagana, n’obwakabaka ne bulwanagana ne bunaabwo. 11 (R)Wagenda kubeerawo musisi ow’amaanyi ennyo, n’enjala ennyingi mu bitundu eby’enjawulo, ne kawumpuli. Walibaawo n’ebyentiisa ate n’obubonero okuva mu ggulu.

12 “Naye bino byonna nga tebinnabaawo balibayigganya, balibakwata. Balibawaayo mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso ga bakabaka ne bagavana, ku lw’erinnya lyange, ne musibibwa ne mu makomera. 13 (S)Kiribaviiramu okufuna omukisa okuba abajulirwa bange. 14 (T)Naye temweraliikiriranga gye muliggya ebigambo eby’okuwoza, 15 (U)Kubanga ŋŋenda kubawa ebigambo n’amagezi ebiriremesa n’abalabe bammwe okubaako n’eky’okuddamu! 16 (V)Muliweebwayo bakadde bammwe, ne baganda bammwe ne mikwano gyammwe, balibawaayo mukwatibwe, era abamu ku mmwe muttibwe. 17 (W)Abantu bonna balibakyawa nga babalanga erinnya lyange. 18 (X)Naye n’oluviiri olumu bwe luti olw’oku mitwe gyammwe terulizikirira. 19 (Y)Kubanga bwe muligumiikiriza muliwonya obulamu bwammwe.”

Okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi

20 (Z)“Bwe mulabanga nga Yerusaalemi kyetooloddwa amaggye, nga mutegeera nga Okuzikirizibwa kw’ekibuga ekyo kutuuse. 21 (AA)Abo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi, abaliba mu Yerusaalemi bakivangamu ne badduka, n’abo abalibeera mu nnimiro tebakomangawo mu kibuga. 22 (AB)Kubanga ebyo bye biriba ebiseera Katonda mwaliwolera eggwanga, n’ebigambo ebiri mu Byawandiikibwa birituukirizibwa. 23 Nga ziribasanga abakazi abaliba embuto n’abayonsa! Kubanga eggwanga liribonaabona, n’abantu baalyo balisunguwalirwa. 24 (AC)Abamu balittibwa n’ekitala ky’omulabe, abalala balikwatibwa ne bawaŋŋangusibwa mu mawanga gonna amalala ag’oku nsi. Yerusaalemi kiriwangulwa bannaggwanga ne bakirinnyirira okutuusa ekiseera kyabwe eky’obuwanguzi lwe kirikoma mu kiseera Katonda ky’aliba ateesezza.”

Okujja kw’Omwana w’Omuntu

25 (AD)“Walibaawo obubonero ku njuba, ne ku mwezi, ne ku mmunyeenye. Wano ku nsi amawanga galibeera mu kunyolwa, olw’ab’amawanga, ng’abantu basamaaliridde olw’ennyanja eziyira n’amayengo ageesiikuula. 26 (AE)Abantu baliggwaamu amaanyi ne bazirika nga batidde nnyo olw’ebirijja ku nsi; kubanga amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa. 27 (AF)Mu kiseera ekyo muliraba Omwana w’Omuntu ng’ajjira mu kire n’obuyinza n’ekitiibwa kingi. 28 (AG)Kale ebintu ebyo bwe bitandikanga muyimiriranga butereevu ne muyimusa amaaso gammwe waggulu! Kubanga okulokolebwa kwammwe nga kusembedde.”

Eky’okuyiga ku muti omutiini

29 Awo Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Mutunuulire omuti omutiini n’emiti emirala gyonna. 30 Bwe mulaba nga gitandise okutojjera, mumanya ng’ebiseera eby’ebbugumu bituuse. 31 (AH)Mu ngeri y’emu bwe muliraba ebintu nga bibaawo, nga mumanya nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi okutuuka.

32 (AI)“Ddala ddala mbagamba nti omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu ebyo byonna bituukiridde. 33 (AJ)Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebigenda kuggwaawo.

34 (AK)“Mwekuume muleme okwemalira mu binyumu n’okutamiira, n’okweraliikirira eby’obulamu, okujja kwange okw’amangu kuleme kubakwasa nga temugenderedde ng’abagudde mu mutego. 35 Kubanga olunaku olwo lulituuka ku buli muntu mu nsi yonna. 36 (AL)Mutunule nga musaba Katonda buli kiseera, abawe amaanyi okubasobozesa okuwona ebintu ebyo byonna, Omwana w’Omuntu bw’alijja mulyoke musobole okuyimirira mu maaso ge.”

37 (AM)Buli lunaku Yesu yayigirizanga mu Yeekaalu, bwe bwawungeeranga n’ava mu kibuga n’asula ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni. 38 (AN)Mu makya abantu bonna ne bajjanga mu Yeekaalu okumuwuliriza.

Yuda Alya mu Yesu Olukwe

22 (AO)Embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa eyitibwa Okuyitako yali esembedde. (AP)Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka baali bakola kaweefube okusala amagezi okutta Yesu, naye nga batya abantu okusasamala. (AQ)Awo Setaani n’ayingira mu Yuda Isukalyoti eyali omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri, (AR)n’agenda eri bakabona abakulu n’abakuumi ba Yeekaalu abakulu, n’ateesa nabo nga bw’anaamuwaayo gye bali. (AS)Ne basanyuka nnyo, era ne bakkiriza okumusasula. Yuda n’akkiriza okuwaayo Yesu, n’anoonya akakisa konna mw’anaamuweerayo gye bali nga tewali kibiina.

Ekyekiro eky’Enkomerero

(AT)Awo olunaku olw’Emigaati Egitazimbulukuswa, okuttirwa omwana gw’endiga ogw’embaga y’Okuyitako, ne lutuuka. (AU)Yesu n’atuma Peetero ne Yokaana n’abagamba nti, “Mugende mututegekere ekyekiro kyaffe eky’okuyitako, tujje tukirye.”

Ne bamubuuza nti, “Oyagala tukitegekere wa?”

10 Yesu n’abaddamu nti, “Munaaba mwakayingira mu kibuga, mujja kulaba omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi ng’atambula. Mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw’anaayingira, 11 mugambe nnyinimu nti, ‘Omuyigiriza atutumye gy’oli ng’agamba nti: Ekisenge ky’abagenyi kiruwa mwe nnaaliira Okuyitako n’abayigirizwa bange?’ 12 Ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu nga kitegekeddwa bulungi. Omwo mwe muba mutegekera.”

13 (AV)Ne balaga mu kibuga, ne basanga buli kimu nga Yesu bwe yabagamba. Ne bateekateeka Okuyitako.

14 (AW)Awo ekiseera ky’okulya bwe kyatuuka, Yesu n’atuula n’abayigirizwa be okulya. 15 (AX)Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ebbanga eryo lyonna mbadde ndowooza nnyo ku Kyekiro kino eky’Okuyitako, nga njagala nkirye nammwe nga sinnaba kubonyaabonyezebwa. 16 (AY)Kubanga mbagamba nti sigenda kuddayo kulya nammwe Okuyitako okutuusa lwe kulituukirizibwa mu bwakabaka bwa Katonda.”

17 Awo Yesu n’addira ekikompe ky’envinnyo, bwe yamala okwebaza Katonda, n’agamba nti, “Mukwate, munyweko mwenna. 18 Kubanga mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa ng’obwakabaka bwa Katonda buzze.”

19 (AZ)Ate n’atoola omugaati, bwe yamala okwebaza Katonda, n’agumenyaamenyamu, n’abagabira ng’agamba nti, “Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe muti nga munzijukira.”

20 (BA)Bwe baamala okulya ekyekiro, n’addira nate ekikompe era mu ngeri y’emu n’akibakwasa ng’agamba nti, “Ekikompe kino ke kabonero ak’endagaano ya Katonda empya ekakasibwa mu musaayi gwange oguyiyibwa ku lwammwe. 21 (BB)Naye muwulire kino. Omuntu agenda okundyamu olukwe atudde wano nange ku mmere. 22 (BC)Kigwanira Omwana w’Omuntu, okufa nga Katonda bwe yateekateeka. Naye zimusanze omuntu oyo amulyamu olukwe.” 23 Awo abayigirizwa ne batandika okwebuuzaganya bokka na bokka nti ani ku bo ayinza okukola ekintu ng’ekyo!

Empaka ku Bukulu

24 (BD)Era ne batandika okuwakana bokka ne bokka, ani asinga ekitiibwa mu bo? 25 Naye Yesu n’abagamba nti, “Bakabaka b’abamawanga bafuga abantu baabwe, n’ab’obuyinza ne babazunza mu kino na kiri, naye abafugibwa tebalina kya kukola wabula okubayita abayambi baabwe. 26 (BE)Naye mu mmwe tekisaanira kuba bwe kityo. Oyo asinga ekitiibwa mu mmwe asaana yeeyisenga ng’asembayo, n’omukulembeze mu mmwe asaana abeere ng’omuweereza wammwe. 27 (BF)Mu nsi muno omukungu y’atula ku mmeeza abaddu be ne bamuweereza. Naye wano mu ffe nze muweereza wammwe. 28 Naye mmwe mubadde wamu nange mu biseera bino eby’okugezesebwa kwange, 29 (BG)era kubanga Kitange ampadde obwakabaka, noolwekyo mbaatulira kati nti mbawadde ekifo 30 (BH)okutuula n’okulya era n’okunywera ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange obwo, era mulituula ku ntebe ne mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri.

31 (BI)“Simooni, Simooni, Setaani asabye okukuwewa ng’eŋŋaano, 32 (BJ)naye ggwe nkusabidde okukkiriza kwo kuleme kukuggwaamu. Era bw’olimala okwenenya, yamba mu kuzimba n’okunyweza okukkiriza kwa baganda bo.”

33 (BK)Awo Peetero n’addamu nti, “Mukama wange, neeteeseteese okusibirwa awamu naawe mu kkomera, era n’okufiira awamu naawe.”

34 Yesu n’amuddamu nti, “Peetero, nkutegeeza nti leero ononneegaana emirundi esatu enkoko nga tennakookolima.”

35 (BL)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Bwe nabatuma okubuulira Enjiri, ne mutatwala nsimbi wadde ensawo, oba omugogo omulala ogw’engatto, mwalina okwetaaga ekintu kyonna?” Ne baddamu nti, “Nedda.”

36 Yesu n’abagamba nti, “Naye kaakano alina ensawo eterekebwamu ensimbi agitwale, n’ensawo ng’ey’omusabiriza bwe mutyo. Atalina kitala, atunde ku ngoye ze akyegulire! 37 (BM)Kubanga mbagamba nti kyetaagisa okutuukirizibwa mu nze ekyawandiikibwa nti, ‘Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka,’ ebinkwatako biteekwa okutuukirira.”

38 Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, wano tulinawo ebitala bibiri!” N’abaddamu nti, “Bimala!”

Yesu asaba ku lusozi olwa Zeyituuni

39 (BN)Awo Yesu n’afuluma mu kibuga awamu n’abayigirizwa be n’akwata ekkubo erigenda ku lusozi olwa Zeyituuni nga bwe yali empisa ye. 40 (BO)Bwe yatuuka eyo n’agamba abayigirizwa be nti, “Musabe Katonda, muleme kuwangulwa kukemebwa.” 41 (BP)Ye n’abavaako akabanga ng’awakasukwa ejjinja, n’afukamira n’asaba nti, 42 (BQ)“Kitange, obanga kwe kusiima kwo ekikompe kino kinzigyeko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula ky’oyagala kye kiba kikolebwa.” 43 (BR)Awo malayika eyava mu ggulu n’ajja n’amugumya. 44 Yali mu kunyolwa kunene nnyo okw’omwoyo, ne yeeyongera okusaba ennyo n’atuuyana n’entuuyo ezamuvaamu ne ziba ng’amatondo g’omusaayi, era ne gatonnya wansi.

45 Bwe yayimuka ng’amaze okusaba n’addayo eri abayigirizwa be, naye n’abasanga nga beebase, olw’ennaku eyali ebakutte. 46 (BS)N’abagamba nti, “Lwaki mwebase? Muzuukuke, musabe, muleme kuwangulwa kukemebwa.”

Yesu Akwatibwa

47 Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera, ekibiina ky’abantu ne batuuka nga Yuda, omu ku bayigirizwa be ekkumi n’ababiri, y’abakulembedde. Yuda n’ajja butereevu awali Yesu, n’amunywegera. 48 Naye Yesu n’amugamba nti, “Yuda, Omwana w’Omuntu omulyamu olukwe ng’omugwa mu kifuba?”

49 (BT)Abayigirizwa abalala bwe baalaba ekyali kigenda okubaawo ne babuuza Yesu nti, “Mukama waffe, tubateme n’ebitala byaffe?” 50 Era omu ku bo n’atemako n’ekitala okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu. 51 Naye Yesu n’abagamba nti, “Temwongera kubalwanyisa.” N’akwata ku kutu kw’omusajja, n’amuwonya!

52 (BU)Yesu kwe kukyukira bakabona abakulu, n’abakulu b’abakuumi ba Yeekaalu, n’abakulembeze b’Abayudaaya abaali bakulembedde ekibiina ky’abantu, n’abagamba nti, “Ndi munyazi, n’okujja ne mujja gye ndi nga mwambalidde ebitala n’emiggo? 53 (BV)Lwaki temwankwatira mu Yeekaalu? Nabeeranga omwo buli lunaku. Naye nammwe eno ye ssaawa yammwe, n’ekizikiza we kiragira obuyinza bwakyo.”

Peetero Yeegaana Yesu

54 (BW)Awo ne bakwata Yesu ne bamutwala mu nnyumba ya Kabona Asinga Obukulu. Peetero n’agoberera nga yeesuddeko akabanga. 55 Bwe baamala okukuma omuliro wakati mu luggya ne batuula okwota; Peetero naye n’atuula wakati mu bo, n’ayota omuliro. 56 Omuwala omuweereza n’amulengera ng’omuliro gumumulisizza, n’amutunuulira enkaliriza, okutuusa lwe yagamba nti, “Omusajja ono yali ne Yesu!”

57 Peetero ne yeegaana nti, “Omukazi, oyo gw’oyogerako nze simumanyi.”

58 Bwe waayitawo akabanga omuntu omulala n’alaba Peetero n’amugamba nti, “Naawe oli omu ku bo.” Peetero ne yeegaana nti, “Nedda, ssebo, si bwe kiri.” 59 (BX)Bwe waali wayiseewo ng’essaawa nnamba, omuntu omu n’ayogera ng’akakasa nti, “Ddala n’ono yali wamu ne Yesu kubanga naye Mugaliraaya.” 60 Peetero n’addamu nti, “Omusajja, by’oyogerako sibimanyi!” Peetero bwe yali akyayogera enkoko n’ekookolima. 61 (BY)Mu kaseera ako Mukama waffe n’akyuka n’atunuulira Peetero. Peetero n’ajjukira Yesu kye yagamba nti, “Enkoko eneeba tennakookolima ononneegaana emirundi esatu.” 62 Awo Peetero n’afuluma okuva mu luggya n’akaaba nnyo amaziga!

Abaserikale Baduulira Yesu

63 Awo abasajja abaali bakuuma Yesu ne batandika okumuduulira n’okumukuba. 64 Ne bamusiba ekitambaala ku maaso ne bamukuba ebikonde, oluvannyuma ne bamubuuza nti, “Nnabbi! yogera ani akukubye?” 65 (BZ)Ne bamuvuma n’ebigambo ebirala bingi.

Yesu mu Maaso g’Olukiiko Olukulu

66 (CA)Enkeera mu makya Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, nga lulimu bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka, n’abakulembeze b’Abayudaaya, ne lutuula. Yesu n’aleetebwa mu maaso g’Olukiiko olwo.

67 Ne bamubuuza nti, “Obanga ggwe Kristo, tubuulire.”

Yesu n’abaddamu nti, “Bwe nnaababuulira temujja kunzikiriza, 68 (CB)ne bwe nnaababuuza ebibuuzo temujja kunnyanukula. 69 (CC)Naye ekiseera kituuse, Nze, Omwana w’Omuntu, okutuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna.”

70 (CD)Bonna ne baleekaana nti, “Kwe kugamba nti ggwe Mwana wa Katonda?”

Yesu n’abaddamu nti, “Nga bwe mugambye bwe ntyo bwe ndi.”

71 Ne bagamba nti, “Ate twetaagira ki obujulizi obulala? Kubanga ffe ffennyini twewuliridde ng’ebigambo bino biva mu kamwa ke.”

Yesu mu Maaso ga Piraato

23 (CE)Awo Olukiiko lwonna ne lusituka, ne batwala Yesu ewa Piraato. (CF)Ne batandika okumuwawaabira nti, “Omuntu ono ajagalaza eggwanga lyaffe, ng’atuziyiza okuwa Kayisaali omusolo, nga yeeyita Kristo, kabaka.” Piraato kwe kubuuza Yesu nti, “Ggwe kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti, “Ggwe okyogedde.”

(CG)Awo Piraato n’akyukira bakabona abakulu n’ekibiina ky’abantu n’abagamba nti, “Siraba musango muntu ono gw’azizza.”

(CH)Naye ne beeyongera okulumiriza nga bagamba nti, “Asasamazza abantu n’okuyigiriza kwe mu Buyudaaya mwonna. Yatandikira Ggaliraaya okutuukira ddala ne wano!”

(CI)Piraato bwe yawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Omuntu ono Mugaliraaya?” (CJ)Bwe yategeera nga Yesu Mugaliraaya, n’amuweereza eri Kerode, kubanga Ggaliraaya kyali kifugibwa Kerode, ate nga Kerode mu kiseera ekyo yali ali mu Yerusaalemi.

(CK)Awo Kerode bwe yalaba Yesu, n’asanyuka nnyo, kubanga yali atutte ekiseera kiwanvu ng’ayagala okulaba Yesu. Era okuva ku ebyo bye yali amuwuliddeko yasuubira ng’ajja kumulaba ng’akolayo ekyamagero. (CL)N’amubuuza ebibuuzo bingi, naye Yesu n’atamuddamu. 10 Mu kiseera ekyo, bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka baali awo mu busungu obungi ne baleekaanira waggulu nga bamulumiriza. 11 (CM)Kerode n’abaserikale be ne batandika okuduulira Yesu, n’okumuvuma. Ne bamwambaza ekyambalo ekinekaaneka, ne bamuzzaayo ewa Piraato. 12 (CN)Ku lunaku olwo lwennyini, Kerode ne Piraato, abaali bakyawaganye, ne bafuuka ba mukwano.

Piraato Asalira Yesu ogw’Okufa

13 Awo Piraato n’akuŋŋaanya bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abantu, 14 (CO)n’abagamba nti, “Mwandeetedde omuntu ono nga mumuwawaabira nti asasamaza abantu bajeeme. Mubuuzizza nnyo era ne neetegereza bulungi ensonga eyo nga nammwe we muli, naye ne nsanga nga talina musango ku ebyo bye mumuwawaabidde. 15 Ne Kerode naye tamulabyeko musango era kyavudde amukomyawo gye tuli. Omuntu ono talina ky’akoze kimusaanyiza kibonerezo kya kufa. 16 (CP)Noolwekyo ŋŋenda mukangavvulamu, ndyoke mmusumulule.”

17 Ku buli mbaga ya Kuyitako, Piraato ng’ateekwa okubateera omusibe omu. 18 (CQ)Ekibiina kyonna ne kireekaana nnyo nti, “Oyo mutte! Otuteere Balaba.” 19 Balaba ono yali asibiddwa lwa kukulembera kasasamalo mu kibuga, era n’olw’obutemu.

20 Piraato olw’okwagala okusumulula Yesu, n’ayongera okwogera nabo. 21 Naye ne beeyongera okuleekaana nti, “Mukomerere ku musaalaba! Mukomerere ku musaalaba!”

22 (CR)Piraato n’ayogera nabo omulundi ogwokusatu nti, “Lwaki? Azzizza musango ki? Sirabye nsonga yonna emusaanyiza kibonerezo kya kufa. Noolwekyo ka mmukangavvule, ndyoke mmusumulule.” 23 Naye ne beeyongera nnyo okuleekaana, n’okuwowoggana nga baagala Yesu akomererwe ku musaalaba. Era okuleekaana kwabwe ne kuwangula.

24 Awo Piraato n’akola nga bwe baayagala. 25 N’asumulula Balaba, gwe baasaba eyali asibiddwa olw’okusasamaza abantu n’olw’obutemu. Naye n’abakwasa Yesu bagende bamukole nga bwe baagala.

Yesu Akomererwa ku Musaalaba

26 (CS)Awo ne bafulumya Yesu okumutwala okumukomerera. Bwe baali bamutwala ne basanga omusajja Omukuleene erinnya lye Simooni, yali ava mu kyalo nga yaakayingira mu kibuga, ne bamuwaliriza okusitula omusaalaba gwa Yesu ku kibegabega kye; n’agusitula n’agutwala ng’atambulira emabega wa Yesu. 27 (CT)Ekibiina kinene ne bagoberera Yesu nga mwe muli n’abakazi abaali bamukaabira nga bwe bakuba ebiwoobe. 28 (CU)Naye Yesu n’abakyukira n’abagamba nti, “Abawala ba Yerusaalemi, temukaabira Nze, wabula mwekaabire era mukaabire n’abaana bammwe. 29 (CV)Kubanga ekiseera kijja abakazi abatalina baana lwe baliyitibwa ab’omukisa ddala.

30 (CW)“ ‘Baligamba ensozi nti, “Mutugweko,”
    n’obusozi nti, “Mutuziike.” ’

31 (CX)Kale, obanga bino babikola ku muti omubisi, naye ku mukalu kiriba kitya?”

32 (CY)Waaliwo n’abasajja abalala babiri, bombi nga bamenyi ba mateeka, abaatwalibwa ne Yesu okuttibwa. 33 Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Ekiwanga, ne bamukomerera awo ku musaalaba, awamu n’abamenyi b’amateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo n’omulala ku ludda olwa kkono. 34 (CZ)Yesu n’agamba nti, “Kitange, basonyiwe, kubanga kye bakola tebakimanyi.” Awo abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.

35 (DA)Ekibiina ne kimutunuulira. Abakulembeze b’Abayudaaya ne bamusekerera nga bagamba nti, “Yalokolanga balala, ka tulabe naye bwe yeerokola, obanga ye Kristo wa Katonda Omulonde we.”

36 (DB)N’abaserikale nabo ne bamuduulira ne bamuwa wayini omukaatuufu, 37 (DC)nga bagamba nti, “Obanga ggwe Kabaka w’Abayudaaya, weerokole!”

38 (DD)Waggulu w’omutwe gwa Yesu ku musaalaba kwateekebwako ekiwandiiko mu bigambo bino nti,

Ono ye Kabaka w’Abayudaaya.

39 (DE)Omu ku bamenyi b’amateeka abaakomererwa naye n’avuma Yesu ng’agamba nti, “Si ggwe Masiya? Kale weerokole era naffe otulokole.” 40 Naye munne bwe baakomererwa n’amunenya, n’amugamba nti, “N’okutya totya Katonda, nga naawe oli ku kibonerezo kye kimu kya kufa? 41 (DF)Ffe tuvunaaniddwa bya nsonga, kubanga ebikolwa byaffe bitusaanyiza kino. Naye ono talina kisobyo kyonna ky’akoze.”

42 (DG)N’alyoka agamba nti, “Yesu, onzijukiranga bw’olijja mu bwakabaka bwo.”

43 (DH)Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda.”

Okufa kwa Yesu

44 (DI)Awo obudde bwe bwatuuka essaawa omukaaga ez’omu ttuntu, enzikiza n’ekwata ku nsi yonna, okutuusa ku ssaawa ey’omwenda, 45 (DJ)kubanga enjuba yalekeraawo okwaka. Amangwago eggigi ly’omu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri. 46 (DK)Awo Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n’afa.

47 (DL)Omuserikale Omuruumi omukulu w’ekitongole eyakulembera abaserikale abaakomerera Yesu, bwe yalaba ebibaddewo, n’atendereza Katonda ng’agamba nti, “Mazima omuntu ono abadde mutuukirivu.” 48 (DM)Abantu bonna abaali bazze okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo ne baddayo ewaabwe nga beekuba mu kifuba nga bajjudde ennaku nnyingi. 49 (DN)Mikwano gya Yesu, awamu n’abakazi abajja naye nga bamugoberera okuviira ddala e Ggaliraaya, baali bayimiridde nga beesuddeko akabanga, nga batunuulira byonna ebibaddewo.

Okuziikibwa kwa Yesu

50 Laba waaliwo omusajja erinnya lye Yusufu, ng’atuula mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, yali musajja mulungi era nga mutuukirivu, 51 (DO)teyakkirizaganya na banne mu ebyo bye baasalawo ku Yesu ne bye baakola. Yali wa mu kibuga Alimasaya eky’omu Buyudaaya. Yali ng’alindirira n’essuubi ddene okulaba obwakabaka bwa Katonda. 52 Omusajja ono n’agenda eri Piraato n’asabayo omulambo gwa Yesu. 53 Bwe yaguggya ku musaalaba, n’aguzinga mu lugoye lwa linena olweru ennyo, n’agugalamiza mu ntaana ey’empuku eyali etemeddwa mu lwazi, era nga teziikibwangamu muntu. 54 (DP)Bino byonna byaliwo ku Lwakutaano, olunaku olw’okweteekerateekerako ng’enkeera ye Ssabbiiti.

55 (DQ)Omulambo gwa Yesu bwe gwali gutwalibwa mu ntaana, abakazi abaava e Ggaliraaya ne bagoberera nga bavaako emabega, ne balaba entaana n’omulambo gwe nga bwe gwagalamizibwamu. 56 (DR)Ne balyoka baddayo eka ne bategeka ebyakaloosa n’amafuta ag’okusiiga omulambo gwa Yesu. Naye ne bawummula ku Ssabbiiti ng’etteeka bwe liragira.

Okuzuukira kwa Mukama Waffe

24 (DS)Awo ku lunaku Lwassande[a], lwe lusooka mu wiiki, mu makya ennyo, abakazi ne baddira ebyakaloosa n’amafuta, bye baali bategese, ne bagenda ku ntaana. Ne basanga ejjinja eryali liggadde omulyango oguyingira mu ntaana, nga liyiringisibbwa okudda wabbali. (DT)Bwe batyo ne bayingira mu ntaana, naye omulambo gwa Mukama waffe Yesu tebaagusangamu. (DU)Ne bayimirira awo nga babuliddwa eky’okukola. Amangwago, abasajja babiri ne balabika mu maaso gaabwe nga bambadde engoye ezimasamasa ng’okumyansa kw’eraddu. Abakazi ne batya nnyo, ne bakutama ne batunula wansi, abasajja ne babagamba nti, “Lwaki omuntu omulamu mumunoonyeza mu ntaana? (DV)Taliiwo wano, azuukidde! Mujjukire bye yabagamba nga muli e Ggaliraaya nti, (DW)‘Omwana w’Omuntu, ateekwa okuweebwayo mu mikono gy’abantu ababi, bamukomerere ku musaalaba, naye nga ku lunaku olwokusatu alizuukira.’ ” (DX)Ne bajjukira ebigambo bye ebyo.

Awo ne bayanguwa mangu ne bagenda, ne bategeeza abayigirizwa ekkumi n’omu n’abalala bonna, ebintu ebyo byonna. Bano be bakazi abaalaga ku ntaana, era ne bategeeza abayigirizwa ebintu ebyo: 10 (DY)Maliyamu Magudaleene, ne Jowaana, ne Maliyamu nnyina Yakobo, n’abalala. Ne bategeeza abatume ebintu ebyo. 11 (DZ)Naye bye baababuulira nga biwulikika ng’ebitaliimu makulu, era tebaabikkiriza. 12 (EA)Kyokka Peetero n’adduka n’alaga ku ntaana, n’akutama n’alingiza n’alaba ng’engoye za linena Yesu mwe yali azingiddwa ziri wabbali zokka nga njereere, n’addayo eka nga yeewuunya.

Ku Luguudo lw’e Emawu

13 (EB)Ku lunaku olwo lwennyini abasajja babiri, abamu ku abo abaagobereranga Yesu, baali batambula nga bagenda mu kabuga akayitibwa Emawu, akaali kilomita nga kkumi na bbiri okuva e Yerusaalemi. 14 Baali bagenda boogera ku kufa kwa Yesu. 15 (EC)Amangwago Yesu yennyini n’abeegattako n’atambula nabo. 16 (ED)Kyokka tebaamutegeera, kubanga ekyo Katonda yali akibakisizza.

17 Yesu n’abagamba nti, “Biki bye munyumyako nga bwe mutambula mu kkubo?”

Ne bayimirira ng’amaaso gaabwe gajjudde ennaku. 18 (EE)Omu ku bo, erinnya lye Kulyoppa n’amuddamu nti, “Oli mugenyi mu Yerusaalemi atamanyi bya kitalo ebyaliwo mu wiiki eyise?”

19 (EF)Yesu n’ababuuza nti, “Biki ebyo?” Ne baddamu nti, “Ebyagwa ku Yesu Omunnazaaleesi eyali omusajja Nnabbi ow’amaanyi mu bye yakolanga ne bye yayogeranga eyakola ebyamagero ebyewuunyisa, era yali Muyigiriza wa kitalo, mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu bonna. 20 (EG)Naye bakabona abakulu n’abakulembeze baffe baamukwata ne bamuwaayo n’asalirwa omusango ogw’okufa, ne bamukomerera ku musaalaba. 21 (EH)Twali tusuubira nti, Ye Kristo anaalokola Isirayiri. 22 (EI)Ebyo nga bikyali awo, nga wayiseewo ennaku ssatu bukyanga bino bibaawo abamu ku bakazi b’ewaffe baatwewuunyisizza. Olwa leero baakedde ku ntaana, 23 naye omulambo gwe tebaagusanzeemu. Bwe baakomyewo baatugambye nti bayolesebbwa ba bamalayika abaabagambye nti mulamu! 24 (EJ)Abamu ku bannaffe abasajja nabo ne bagendayo mangu, nabo ne basanga ng’omulambo gwa Yesu teguliimu mu ntaana, ng’abakazi bwe baagambye.”

25 Yesu n’abagamba nti, “Nga muli bantu basirusiru! Mmwe ab’emitima eminafu egirwawo okukkiriza bannabbi bye baategeeza! 26 (EK)Tekyagwanira Kristo okubonaabona mu bintu byonna n’oluvannyuma alyoke ayingire mu kitiibwa kye?” 27 (EL)N’atandikira ku Musa n’ayitaayita mu bannabbi bonna ng’agenda abannyonnyola Ebyawandiikibwa bye bimwogerako.

28 Bwe baasemberera akabuga we baali bagenda, Yesu n’aba nga eyeeyongerayo, 29 naye ne bamuwaliriza asule ewaabwe kubanga n’obudde bwali buwungedde. N’akkiriza, asigale.

30 (EM)Awo bwe yali ng’alya nabo n’addira omugaati, ne yeebaza n’agumenyamu, n’abawa. 31 (EN)Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka ne bamutegeera! Ate n’ababulako mu kaseera ako! 32 (EO)Ne batandika okwewuunaganya nga bagamba nti, “Emitima gyaffe tegyabuguumiridde bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo ng’atunnyonnyola Ebyawandiikibwa?”

33 Awo ne basituka mangu ne baddayo mu Yerusaalemi, ne basanga abayigirizwa ekkumi n’omu ne bannaabwe abalala nga bakuŋŋaanye, 34 (EP)nga bagamba nti, “Ddala Mukama waffe azuukidde! Alabikidde Peetero!” 35 (EQ)Ne bannyonnyola, nga Yesu bwe yabalabikira nga bali mu kkubo batambula, era nga bwe yategeerekeka gye bali ng’amaze okumenya omugaati.

Yesu alabikira Abayigirizwa be

36 (ER)Awo bwe baali bakyayogera ebyo Yesu n’ayimirira mu makkati gaabwe n’abalamusa nti, “Emirembe gibeere nammwe!” 37 (ES)Naye bonna ne bakankana nga batidde nnyo, nga balowooza nti balaba muzimu! 38 Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki mutidde bwe mutyo? Lwaki mubuusabuusa mu mitima gyammwe? 39 (ET)Mulaba ebibatu byange. Mutunule ne ku bigere byange! Kaakano mutegeere nga ye Nze kennyini. Munkwateko mukakasize ddala nti ssiri muzimu, kubanga omuzimu tegubeera na mubiri na magumba nga Nze bye nnina.”

40 Bwe yali ng’ayogera n’abalaga ebibatu bye n’ebigere bye. 41 Naye nga bakyabuusabuusa kyokka nga balina essanyu era nga basamaaliridde n’alyoka ababuuza nti, “Mulinawo wano ekyokulya?” 42 Ne bamuwa ekitundu ky’ekyennyanja ekyokye, 43 (EU)n’akitoola n’akiriira mu maaso gaabwe nga bamutunuulira!

44 (EV)N’abagamba nti, “Nabategeeza nga nkyali nammwe nti ebintu byonna ebyampandiikibwako mu mateeka ga Musa, ne mu bya bannabbi, ne mu Zabbuli, byali biteekwa okutuukirira.”

45 N’alyoka asumulula emitima gyabwe, ne bategeera ebyawandiikibwa. 46 N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa dda nnyo nti Kristo kimugwanira okubonaabona, n’okufa era ku lunaku olwokusatu azuukire mu bafu. 47 (EW)Era mu linnya lye Enjiri ey’okwenenya n’okusonyiyibwa ebibi eribuulirwa amawanga gonna okutandikira mu Yerusaalemi. 48 (EX)Muli bajulirwa b’ebyo, 49 (EY)Laba mbaweereza ekisuubizo kya Kitange. Mubeere mu kibuga okutuusa lwe mulyambazibwa amaanyi agava mu ggulu.”

Okugenda mu Ggulu

50 (EZ)Awo Yesu n’abakulembera ne balaga e Besaniya. N’ayimusa emikono gye waggulu, n’abawa omukisa. 51 (FA)Bwe yali ng’akyabawa omukisa, n’abavaako, n’asitulibwa, n’atwalibwa mu ggulu. 52 Ne bamusinza, ne baddayo mu Yerusaalemi nga bajjudde essanyu lingi. 53 (FB)Ne babeeranga mu Yeekaalu bulijjo nga batendereza Katonda.

Kigambo

(FC)Kigambo yaliwo ng’ensi tennatondebwa. Kigambo[b] yali ne Katonda, era Kigambo yali Katonda. (FD)Oyo, okuva ku lubereberye yaliwo ne Katonda.

(FE)Ebintu byonna byatondebwa ku lulwe, era tewaliiwo kintu na kimu ekyatondebwa nga taliiwo. (FF)Mu ye mwe mwali obulamu; era obulamu buno ne buba ekitangaala eri abantu. (FG)Omusana ne gwaka mu kizikiza, naye ekizikiza tekyaguyinza.

(FH)Ne walabika omuntu ng’ayitibwa Yokaana, Katonda gwe yatuma, (FI)eyajja okutegeeza abantu ebifa ku musana, bonna bakkirize nga bayita mu ye. Yokaana si ye yali Omusana, wabula ye yatumibwa ategeeze eby’Omusana.

(FJ)Kristo ye yali Omusana, omusana ogw’amazima, ogujja mu nsi, okwakira buli muntu. 10 (FK)Kyokka newaakubadde Kigambo oyo ye yatonda ensi, bwe yajja mu nsi, ensi teyamutegeera. 11 Yajja eri abantu be, naye abantu be ne batamusembeza. 12 (FL)Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye. 13 (FM)Abataazaalibwa musaayi, oba okwagala kw’omubiri, wadde okwagala kw’omuntu, naye abaazaalibwa okwagala kwa Katonda. 14 (FN)Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeera mu ffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng’eky’oyo omu yekka eyava eri kitaffe ng’ajjudde ekisa n’amazima.

15 (FO)Yokaana Omubatiza yamwogerako, ng’alangirira nti, “Ono ye oyo gwe nayogerako nti, ‘Waliwo ajja emabega wange, eyansoka okubaawo, kubanga yaliwo nga sinnabaawo.’ ” 16 (FP)Ku kujjula kwe ffenna kwe twagabana ekisa ekisukiridde ekisa. 17 (FQ)Amateeka gaatuweebwa nga gayita mu Musa, naye Yesu Kristo ye yaaleeta ekisa n’amazima. 18 (FR)Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, okuggyako Omwana we omu yekka, abeera mu kifuba kya kitaffe, oyo ye yatutegeeza byonna ebimufaako.

Yokaana Omubatiza ategeeza nga bw’atali Kristo

19 (FS)Bino bye bigambo Yokaana Omubatiza bye yategeeza abakulembeze b’Abayudaaya bwe baamutumira bakabona n’Abaleevi okuva mu Yerusaalemi ne bamubuuza nti, “Ggwe ani?” 20 (FT)Teyagaana kubaddamu, wabula yayatulira ddala nti, “Si nze Kristo.”

21 (FU)Ne bamubuuza nti, “Kale ggwe ani? Ggwe Eriya?”

Yokaana Omubatiza n’addamu nti, “Nedda, si nze ye.”

Ne bongera okumubuuza nti, “Ggwe Nnabbi ayogerwako?”

N’addamu nti, “Nedda.”

22 Awo ne bamugamba nti, “Abatutumye tunaabagamba nti, Ggwe ani? Weeyita otya?” 23 (FV)N’abaddamu nti,

“Nze ndi ddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’asinziira mu ddungu nti,
‘Mutereeze ekkubo lya Mukama mweteekereteekere okujja kwe, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.’ ”

24 Abaatumibwa baava eri Abafalisaayo. 25 Awo ne babuuza Yokaana nti, “Kale lwaki obatiza, obanga si ggwe Kristo oba Eriya oba nnabbi oli?”

26 Yokaana n’addamu nti, “Nze mbatiza na mazzi, naye waliwo ayimiridde wakati mu mmwe gwe mutamanyi, 27 (FW)anvaako emabega, nze sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.” 28 (FX)Ebyo byali Besaniya, emitala w’omugga Yoludaani, Yokaana Omubatiza gye yabatirizanga.

Yesu Omwana gw’Endiga owa Katonda

29 (FY)Ku lunaku olwaddirira, Yokaana Omubatiza n’alaba Yesu ng’ajja, n’agamba nti, “Mulabe Omwana gw’Endiga owa Katonda aggyawo ebibi by’ensi. 30 (FZ)Ye wuuyo gwe nayogerako, bwe nagamba nti, ‘Waliwo omuntu anvaako emabega ye ansinga obuyinza, kubanga ye yaliwo nga nze sinnabaawo.’ 31 Nange nnali simumanyi, wabula nze najja okubatiza n’amazzi, ndyoke mulage eri abantu ba Isirayiri.”

32 (GA)Awo Yokaana Omubatiza n’abategeeza nga bwe yalaba Mwoyo Mutukuvu ng’akka okuva mu ggulu ng’ali ng’ejjiba n’abeera ku Yesu, 33 (GB)n’abagamba nti, “Nze saamutegeera, kyokka Katonda bwe yantuma okubatiza yaŋŋamba nti, ‘Bw’olabanga Mwoyo Mutukuvu ng’akka n’abeera ku muntu, nga oyo, ye Kristo abatiza ne Mwoyo Mutukuvu.’ 34 (GC)Ekyo nkirabye era nkiweerako obujulirwa nti Ye Mwana wa Katonda.”

Abayigirizwa ba Yesu Abaasooka

35 (GD)Awo ku lunaku olwaddirira nate Yokaana bwe yali ayimiridde n’abayigirizwa be babiri, 36 (GE)Yesu n’ayitawo ng’atambula. Yokaana n’amutunuulira enkaliriza n’agamba nti, “Mulabe Omwana gw’Endiga wa Katonda.”

37 Awo abayigirizwa abo ababiri bwe baawulira ekyo ne bagoberera Yesu. 38 (GF)Yesu bwe yakyuka n’abalaba nga bamugoberera n’ababuuza nti, “Mwagala ki?”

Ne bamuddamu nti, “Labbi” (ekitegeeza nti: “Omuyigiriza”), “obeera wa?”

39 N’abaddamu nti, “Mujje mulabeyo.”

Awo ne bagenda naye gye yali abeera, olunaku olwo ne baluzibiza eyo nga bali naye, obudde bwali ng’essaawa kkumi ez’olweggulo okutuusa akawungeezi.

40 Omu ku abo ababiri abaawulira Yokaana ng’ayogera ne bagoberera Yesu, yali Andereya, muganda wa Simooni Peetero. 41 (GG)Awo Andereya n’agenda anoonya muganda we Simooni n’amugamba nti, “Tulabye Masiya” (amakulu nti Kristo). 42 (GH)Andereya n’atwala Simooni eri Yesu.

Yesu bwe yeetegereza Simooni, n’amugamba nti, “Ggwe Simooni omwana wa Yokaana, kale onooyitibwanga Keefa,” amakulu nti Peetero.

Yesu Ayita Firipo ne Nassanayiri

43 (GI)Ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda e Ggaliraaya, bwe yasanga Firipo n’amugamba nti, “Ngoberera.”

44 (GJ)Firipo yali wa mu kibuga Besusayida ewaabwe wa Andereya ne Peetero. 45 (GK)Firipo bwe yalaba Nassanayiri, n’amugamba nti, “Tulabye Yesu mutabani wa Yusufu ow’e Nazaaleesi, Musa ne bannabbi gwe baawandiikako.”

46 (GL)Nassanayiri n’amuddamu nti, “Mu Nazaaleesi musobola okuvaamu ekintu ekirungi?”

Firipo kwe kumuddamu nti, “Jjangu weerabireko.”

47 (GM)Nassanayiri bwe yali asemberera Yesu, Yesu n’agamba nti, “Laba, Omuyisirayiri wawu ataliimu bukuusa.”

48 Nassanayiri kwe kumuddamu nti, “Ontegedde otya?”

Yesu n’amugamba nti, “Firipo bw’abadde tannakutuukako, nkulabye ng’oli wansi w’omutiini.”

49 (GN)Nassanayiri n’amuddamu nti, “Labbi, oli Mwana wa Katonda, gwe Kabaka wa Isirayiri!”

50 Awo Yesu n’amugamba nti, “Okkiriza kubanga nkugambye nti nkulabye ng’oli wansi w’omutiini? Oliraba n’ebisinga awo obukulu. 51 (GO)Ddala ddala nkugamba nti oliraba eggulu nga libikkuse ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w’Omuntu.”

(GP)Awo bwe waayitawo ennaku bbiri ne wabaawo embaga ey’obugole mu Kaana eky’e Ggaliraaya ne nnyina Yesu yaliyo. Yesu awamu n’abayigirizwa be nabo baayitibwa. Wayini bwe yaggwaawo, nnyina Yesu n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Tebakyalina wayini.”

(GQ)Yesu n’amuddamu nti, “Maama ndeka, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.”

(GR)Nnyina Yesu n’agamba abaweereza nti, “Kyonna ky’abagamba kye muba mukola.”

(GS)Waaliwo amasuwa amanene mukaaga agaategekebwa olw’omukolo gw’Abayudaaya ogw’okwetukuza, buli limu nga lirimu lita kikumi oba kikumi mu ataano.

Yesu n’agamba abaweereza nti, “Amasuwa mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuza okutuuka ku migo. Awo n’abagamba nti, “Kale musene mutwalire omukulu w’abagabuzi.”

Ne basena ne bamutwalira. (GT)Omukulu w’abagabuzi bwe yalega ku mazzi agafuuse wayini, nga tamanyi gy’avudde, so nga bo abaweereza baali bamanyi, n’ayita omugole omusajja 10 n’amugamba nti, “Bulijjo omuntu asooka kugabula wayini omuka, n’oluvannyuma ng’abagenyi be banywedde nnyo, tebakyafaayo olwo n’alyoka agabula ogutali muka nnyo. Naye ggwe wayini omuka gw’osembezzaayo!”

11 (GU)Ekyamagero kino, Yesu kye yasookerako okukola mu lwatu mu Kaana eky’e Ggaliraaya, ng’alaga ekitiibwa kye. Abayigirizwa be bwe baakiraba ne bamukkiriza. 12 (GV)Embaga bwe yaggwa Yesu n’adda e Kaperunawumu n’abayigirizwa be n’amalayo ennaku ntono ng’ali eyo ne nnyina ne baganda be.

Yesu Alongoosa Yeekaalu

13 (GW)Embaga y’Abayudaaya ey’Okuyitako bwe yali eneetera okutuuka Yesu n’ayambuka e Yerusaalemi. 14 N’asanga mu Yeekaalu abaali batunda ente n’endiga n’amayiba era n’abali bawaanyisa ensimbi. 15 Awo Yesu n’addira emiguwa n’agifunyaafunya ne giba ng’embooko n’agobawo endiga n’ente, n’asaasaanya n’ensimbi ez’abaali bawaanyisa, n’avuunika n’emmeeza zaabwe. 16 (GX)N’akyukira abaali batunda amayiba n’abagamba nti, “Bino mubiggye wo. Temufuula Nnyumba ya Kitange katale[c].” 17 (GY)Awo abayigirizwa ne bajjukira Ekyawandiikibwa ekigamba nti, “Obuggya bw’Ennyumba yo, Ayi Mukama, bulindya.”

18 (GZ)Awo Abayudaaya ne bamubuuza nti, “Kabonero ki k’otulaga nti olina obuyinza okukola bino?”

19 (HA)Yesu kwe kuddamu nti, “Mumenyeewo Yeekaalu eno ngizzeewo mu nnaku ssatu.”

20 Ne bamuddamu nti, “Kiki ky’otegeeza? Yeekaalu eno yatwalira ddala emyaka amakumi ana mu mukaaga okuzimba oyinza otya okugizimbira ennaku essatu?” 21 (HB)Kyokka Yeekaalu gye yali ayogerako gwe mubiri gwe. 22 (HC)Yesu bwe yamala okuzuukira abayigirizwa ne bajjukira nti kino kye yali ayogerako. Ne bakkiriza ebyawandiikibwa n’ebigambo Yesu bye yayogerako.

23 (HD)Awo Yesu bwe yali mu Yerusaalemi mu kiseera eky’Embaga ey’Okuyitako, bangi baalaba obubonero bwe yali akola ne bakkiriza erinnya lye. 24 Kyokka Yesu teyabeesiga, kubanga amanyi abantu bonna, 25 (HE)kubanga yamanya bw’afaanana, nga teyeetaaga kubuulirwa muntu kyali.

Yesu ne Nikodemo

(HF)Awo waaliwo omukulembeze w’Abayudaaya erinnya lye Nikodemo, Omufalisaayo, (HG)n’ajja eri Yesu ekiro okwogera naye. N’amugamba nti, “Labbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyava eri Katonda kubanga eby’amagero by’okola tewali ayinza kubikola okuggyako nga Katonda ali wamu naye.”

(HH)Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Omuntu bw’atazaalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.”

Nikodemo n’amuddamu nti, “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw’aba nga muntu mukulu? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogwokubiri, n’azaalibwa?”

(HI)Yesu kwe kumuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa amazzi n’Omwoyo tasobola kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. (HJ)Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri, n’ekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo. Noolwekyo teweewuunya kubanga nkugambye nti kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogwokubiri. Empewo ekuntira gy’eyagala, n’owulira okuwuuma kwayo, naye tomanya gy’eva newaakubadde gyegenda; bw’atyo bw’abeera omuntu yenna azaalibwa Omwoyo.”

(HK)Nikodemo n’amubuuza nti, “Ebyo biyinza bitya okubaawo?”

10 (HL)Yesu n’amuddamu nti, “Ggwe omuyigiriza wa Isirayiri, n’otomanya bintu bino? 11 (HM)Ddala ddala nkugamba nti twogera kye tumanyi, ne tutegeeza kye twalaba, so temukkiriza bujulirwa bwaffe. 12 Naye obanga temukkiriza bwe mbabuulira eby’ensi, kale munaasobola mutya okukkiriza bwe nnaababuulira eby’omu ggulu? 13 (HN)Kubanga tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, okuggyako eyava mu ggulu, ye Mwana w’Omuntu. 14 (HO)Era nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n’Omwana w’Omuntu kimugwanira okuwanikibwa, 15 (HP)buli amukkiriza alyoke afune obulamu obutaggwaawo.

16 (HQ)“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo. 17 (HR)Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye. 18 (HS)Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya ly’Omwana oyo omu yekka owa Katonda. 19 (HT)Era guno gwe musango nti: Omusana guzze mu nsi, kyokka abantu ne baagala ekizikiza okusinga omusana, kubanga ebikolwa byabwe bibi. 20 (HU)Buli akola ebibi akyawa Omusana era tajja eri musana, ebikolwa bye bireme okumanyibwa. 21 Naye buli ajja eri omusana akola eby’amazima, ebikolwa bye bimanyibwe nga byakolerwa mu Katonda.”

Yesu ne Yokaana Omubatiza

22 (HV)Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’abayigirizwa be ne bajja mu nsi y’e Buyudaaya, n’abeera eyo nabo, era n’abatiza. 23 Mu kiseera ekyo ne Yokaana yali abatiriza mu Enoni okumpi ne Salimu, kubanga awo waaliwo amazzi mangi, era ng’abantu bangi bajja okubatizibwa, 24 (HW)olwo nga tannateekebwa mu kkomera. 25 (HX)Ne wabaawo empaka wakati w’abayigirizwa ba Yokaana n’Omuyudaaya ku nsonga ey’okutukuzibwa. 26 (HY)Ne bajja eri Yokaana ne bamugamba nti, “Labbi, omuntu oli gwe wali naye emitala w’omugga Yoludaani, gwe wayogerako, laba abatiza era abantu bonna bagenda gy’ali.”

27 Yokaana n’abaddamu nti, “Omuntu tayinza kuba na kintu okuggyako nga kimuweereddwa okuva mu ggulu. 28 (HZ)Mmwe mwennyini mukimanyi bulungi nga bwe nabagamba nti, ‘Si nze Kristo.’ Nze natumibwa okumukulembera. 29 (IA)Nannyini mugole ye awasizza, naye mukwano nnannyini mugole ayimirira ng’amuwulidde, era asanyukira nnyo eddoboozi ly’oyo awasizza. Noolwekyo essanyu lyange lituukiridde. 30 Kimugwanira ye okugulumizibwa naye nze okutoowazibwa.

31 (IB)“Oyo ava mu ggulu, yafuga byonna. Ow’omu nsi, aba wa mu nsi, era ayogera bya mu nsi. 32 (IC)Ye ategeeza ebyo bye yalaba ne bye yawulira, so tewali akkiriza by’ategeeza. 33 Naye oyo akkiriza by’ategeeza akakasa nti Katonda wa mazima. 34 (ID)Kubanga oyo eyatumwa Katonda ategeeza ebigambo bya Katonda, n’Omwoyo gw’agaba tagerebwa. 35 (IE)Kitaffe ayagala Omwana we era yamukwasa byonna mu mukono gwe. 36 (IF)Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”

Yesu n’Omukazi Omusamaliya

(IG)Awo Yesu bwe yamanya nti Abafalisaayo bategedde nti abantu bangi bafuuse bayigirizwa be, era ng’abatiza bangi okusinga Yokaana, newaakubadde nga Yesu yennyini teyabatiza wabula abayigirizwa be, be baabatizanga, (IH)n’ava e Buyudaaya n’addayo e Ggaliraaya.

Kyali kimugwanira okuyita mu Samaliya. (II)Awo n’atuuka mu kibuga ky’e Samaliya ekiyitibwa Sukali, nga kiri kumpi n’ekibanja Yakobo kye yawa mutabani we Yusufu. Awo we waali oluzzi lwa Yakobo. Yesu yali akooye olw’olugendo lwe yatambula, n’atuula awo ku luzzi. Obudde bwali ng’essaawa mukaaga ez’omu ttuntu.

Awo omukazi Omusamaliya bwe yajja okukima amazzi, Yesu n’amugamba nti, “Mpa ku mazzi nnyweko.” (IJ)Mu kiseera ekyo abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugulayo ku mmere. (IK)Awo omukazi Omusamaliya n’amugamba nti, “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamaliya amazzi okunywa?” Kubanga Abayudaaya nga tebakolagana na Basamaliya. 10 (IL)Yesu n’amuddamu nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, n’oyo akugamba nti mpa nnywe ku mazzi bw’ali ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.”

11 Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, tolina kalobo, n’oluzzi luwanvu nnyo. 12 (IM)Ate n’ekirala, ggwe oli mukulu okusinga jjajjaffe Yakobo eyatuwa oluzzi luno ate nga yanywangamu ye n’abaana be n’ensolo ze?”

13 Yesu n’amuddamu nti, “Buli muntu yenna anywa ku mazzi gano ennyonta eriddamu okumuluma. 14 (IN)Naye buli anywa ku mazzi nze ge ndimuwa, talirumwa nnyonta emirembe gyonna era galifuuka mu ye ensulo etekalira, ne gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”

15 (IO)Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, mpa ku mazzi ago, ennyonta eremenga kunnuma era nneme kujjanga wano kukima mazzi.”

16 Yesu n’amugamba nti, “Genda oyite balo, okomewo.”

17 Omukazi n’amuddamu nti, “Sirina baze!”

Yesu n’amugamba nti, “Oyogedde kituufu nti tolina balo. 18 Kubanga walina babalo bataano, naye oyo gw’olina kaakano si balo. Ekyo oyogedde mazima.”

19 (IP)Omukazi n’agamba Yesu nti, “Ssebo, ndaba ng’oli nnabbi. 20 (IQ)Ku lusozi luno bajjajjaffe kwe baasinzizanga. Naye mmwe mugamba nti, Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.”

21 (IR)Yesu n’amugamba nti, “Mukazi wattu nzikiriza, kubanga ekiseera kijja kye mutalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno wadde mu Yerusaalemi. 22 (IS)Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya. 23 (IT)Naye ekiseera kijja, era kituuse, abo abasinziza mu mazima bwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Kitaffe anoonya abo abamusinza era n’abo abamusinza kibagwanira okumusinzanga mu mwoyo ne mu mazima. 24 (IU)Kubanga Katonda Mwoyo n’abo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.” 25 (IV)Omukazi n’amugamba nti, “Weewaawo, mmanyi nti Masiya, gwe bayita Kristo, ajja. Ye bw’alijja, alitutegeeza ebintu byonna.” 26 (IW)Yesu n’amugamba nti, “Nze nzuuno ayogera naawe.”

27 (IX)Awo mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bakomawo. Ne beewuunya okulaba ng’ayogera n’omukazi. Kyokka ne watabaawo amubuuza nsonga emwogezezza naye wadde bye babadde boogerako. 28 Awo omukazi n’aleka awo ensuwa ye n’agenda mu kibuga n’ategeeza abantu nti, 29 (IY)“Mujje mulabe omuntu antegeezezza buli kye nnali nkoze. Ayinza okuba nga ye Kristo?” 30 Ne bava mu kibuga ne bajja eri Yesu.

31 (IZ)Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali beegayirira Yesu alye ku mmere, nga bagamba nti, “Labbi lya ku mmere.” 32 (JA)N’abaddamu nti, “Nze nnina ekyokulya mmwe kye mutamanyi.”

33 Awo abayigirizwa ne beebuuzaganya nti, “Waliwo omuntu amuleetedde ekyokulya?” 34 (JB)Yesu n’abaddamu nti, “Ekyokulya kyange kwe kukola eyantuma by’ayagala, era n’okutuukiriza omulimu gwe. 35 (JC)Mmwe temugamba nti, ‘Ekyasigaddeyo emyezi ena amakungula gatuuke?’ Kale muyimuse amaaso gammwe, mutunuulire ennimiro! Amakungula gatuuse. 36 (JD)Akungula asasulwa empeera ye era n’akuŋŋaanyiza ebibala mu bulamu obutaggwaawo, olwo asiga n’akungula balyoke basanyukire wamu. 37 (JE)Bwe kityo ekigambo nti, ‘Omu asiga omulala n’akungula,’ kyekiva kiba eky’amazima. 38 Mbatumye mmwe okukungula kye mutaasiga. Abalala be baasiga naye mmwe mugobolodde.”

Abasamaliya bangi bakkiriza

39 (JF)Abasamaliya bangi ab’omu kibuga abaamukkiririzaamu olw’ebyo omukazi bye yabategeeza, ng’abagamba nti, “Antegeezezza buli kye nnali nkoze!” 40 Awo Abasamaliya bwe bajja eri Yesu ne bamwegayirira yeeyongere okubeera nabo, n’abeera nabo ennaku bbiri. 41 Bangi ne bakkiriza olw’ebyo bye yabategeeza. 42 (JG)Awo ne bagamba omukazi nti, “Tumukkiriza si lwa bigambo byo byokka, naye naffe twewuliridde ebigambo bye. Ddala tutegedde nga ye Mulokozi w’ensi.”

Yesu Awonya Mutabani w’Omukungu

43 (JH)Ennaku ezo ebbiri bwe zaggwaako, Yesu n’ava e Samaliya n’alaga e Ggaliraaya. 44 (JI)Ye yennyini yagamba nti, “Nnabbi taweebwa kitiibwa mu nsi gy’asibuka.” 45 (JJ)Awo Abagaliraaya ne bamwaniriza n’essanyu lingi nnyo, kubanga baali bamaze okulaba eby’amagero bye yakolera mu Yerusaalemi bwe baali ku Mbaga ey’Okuyitako.

46 (JK)Yesu n’akomawo mu Kaana eky’e Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi wayini. Waaliyo omukungu wa gavumenti ow’e Kaperunawumu eyalina mutabani we nga mulwadde. 47 (JL)Omukungu bwe yawulira nga Yesu avudde e Buyudaaya azze e Ggaliraaya, n’agenda gy’ali n’amusaba agende amuwonyeze mutabani we eyali okumpi n’okufa.

48 (JM)Yesu n’amugamba nti, “Temusobola kunzikiriza nga temulabye ku bubonero na byamagero?”

49 Omukungu n’amugamba nti, “Mukama wange, nkusaba oserengete ojje ng’omwana wange tannafa!”

50 Awo Yesu n’amugamba nti, “Ggenda mutabani wo awonye!” Omusajja n’akkiriza Yesu ky’amugambye n’agenda.

51 Naye bwe yali ng’akyali mu kkubo abaddu be ne bamusisinkana ne bamutegeeza nti mutabani we awonye. 52 N’ababuuza ekiseera omulenzi we yassuukidde. Ne bamuddamu nti, “Jjo olw’eggulo essaawa nga musanvu omusujja ne gumuwonako!”

53 (JN)Awo Kitaawe w’omulenzi n’ajjukira nga ky’ekiseera ekyo Yesu we yamugambira nti, “Mutabani wo awonye.” Awo omukungu oyo n’ab’enju ye bonna ne bakkiriza.

54 (JO)Kino kye kyamagero ekyokubiri Yesu kye yakola ng’akomyewo e Ggaliraaya ng’avudde e Buyudaaya.

Yesu Awonyeza ku Kidiba

Oluvannyuma Yesu n’addayo e Yerusaalemi abeewo ku emu ku mbaga z’Abayudaaya. (JP)Munda mu Yerusaalemi, okumpi n’Omulyango gw’Endiga waliwo ekidiba ekiyitibwa Besusayida, mu Lwebbulaniya, ekyazimbibwako ebigango bitaano okukyetooloola. Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo: abalema, abazibe b’amaaso, n’abakoozimbye. Kubanga bwe waayitangawo ekiseera malayika wa Mukama n’ajja n’atabula amazzi ago, era omuntu eyasookanga okukka mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa, ng’awonyezebwa. Waaliwo omusajja eyali yaakalwalira emyaka amakumi asatu mu munaana. Yesu bwe yamulaba n’amanya nga bw’amaze ebbanga eddene nga mulwadde, n’amubuuza nti, “Oyagala okuwonyezebwa?”

Omusajja omulwadde n’amuddamu nti, “Ssebo sirina muntu ayinza kunnyamba okunsuula mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa. Buli lwe ngezaako okukkamu we ntukirayo ng’omulala yansoose dda.”

(JQ)Yesu n’amugamba nti, “Situka ozingeko omukeeka gwo otambule.” (JR)Amangwago omusajja n’awonyezebwa. N’azingako omukeeka gwe ne yeetambulira.

Olunaku olwo lwali lwa Ssabbiiti. 10 (JS)Abayudaaya kyebaava bagamba omusajja awonyezebbwa nti, “Toteekwa kwetikka mukeeka gwo ku Ssabbiiti, oba omenye etteeka lya Ssabbiiti.”

11 Ye n’addamu nti, “Omuntu amponyezza y’aŋŋambye nti, ‘Situlawo omukeeka gwo otambule.’ ”

12 Ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo ye ani eyakugambye okusitula omukeeka gwo otambule?”

13 Kyokka omusajja eyawonyezebwa yali tamumanyi, kubanga Yesu yali abulidde mu bantu abangi abaali mu kifo ekyo.

14 (JT)Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’amulaba mu Yeekaalu, n’amugamba nti, “Kaakano oli mulamu, naye toddangamu okwonoona, akabi akasingawo kaleme okukutuukako.” 15 (JU)Omuntu oyo n’agenda n’ategeeza Abayudaaya nti Yesu ye yamuwonya.

16 Okuva olwo Abayudaaya ne batandika okuyigganya Yesu, kubanga yakolanga ebintu ebifaanana ng’ekyo ku Ssabbiiti. 17 (JV)Yesu n’abaddamu nti, “Kitange bulijjo akola, nange nteekwa okukola.” 18 (JW)Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta, kubanga teyakoma ku kya kumenya mateeka ga Ssabbiiti kyokka, naye yeeyita Omwana wa Katonda, ne yeefuula eyenkanaankana ne Katonda.

19 (JX)Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana taliiko ky’akola ku bubwe, wabula ekyo ky’alaba Kitaawe ng’akola. Kubanga ye by’akola n’Omwana by’akola. 20 (JY)Kubanga Kitaawe w’Omwana ayagala Omwana we era amulaga ky’akola, era Omwana ajja kukola ebyamagero bingi ebyewuunyisa okusinga na bino. 21 (JZ)Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’azuukiza abafu, bw’atyo n’Omwana awa obulamu abo baayagala. 22 (KA)Era Kitaawe w’Omwana talina n’omu gw’asalira musango, naye obuyinza obw’okusala emisango gyonna yabuwa Omwana we, 23 (KB)abantu bonna balyoke bassengamu Omwana ekitiibwa nga bwe bassa mu Kitaawe ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, ne Kitaawe eyamutuma tamussaamu kitiibwa.

24 (KC)“Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, n’akkiriza eyantuma, aba n’obulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ng’atuuse mu bulamu. 25 (KD)Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda, era n’abaliwulira baliba balamu. 26 Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’alina obulamu mu ye, bw’atyo bwe yawa Omwana okuba n’obulamu mu ye, 27 (KE)era yamuwa obuyinza okusalira abantu emisango, kubanga ye Mwana w’Omuntu.

28 (KF)“Ekyo tekibeewuunyisa, kubanga ekiseera kijja abafu abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye 29 (KG)ne bavaamu kubanga be baakola ebintu ebirungi, era balifuna obulamu obutaggwaawo, naye abo abaakolanga ebibi balizuukira ne babonerezebwa. 30 (KH)Kyokka Nze siyinza kukola kintu kyonna ku bwange. Kitange nga bw’aŋŋamba bwe nkola, era n’omusango gwe nsala gwa nsonga kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by’ayagala. 31 (KI)Singa nneeyogerako nzekka, bye nneyogerako tebiba bya mazima. 32 (KJ)Waliwo ategeeza gwe ndi, era mmanyi nga bya njogerako bya mazima.

33 (KK)“Mmwe mwatuma ababaka eri Yokaana, era ayogedde eby’amazima. 34 (KL)Ebigambo ebinkakasa tebiva mu muntu, naye ebyo mbyogera mulyoke mulokolebwe. 35 (KM)Oyo ye yali ettaala eyayaka okubaleetera ekitangaala, ne musalawo mubeere mu kitangaala ekyo akaseera katono.

36 (KN)“Naye nnina ebinkakasa okukira ebyo ebya Yokaana, bye byamagero bye nkola, Kitange bye yampa, era bikakasa nti Kitange ye yantuma 37 (KO)ne Kitange yennyini eyantuma akakasa ebinkwatako. Temuwuliranga ku ddoboozi lye wadde okulaba ekifaananyi kye. 38 (KP)N’ekigambo kye tekiri mu mmwe, kubanga temukkiriza oyo gwe yatuma. 39 (KQ)Munoonya mu Byawandiikibwa kubanga mulowooza nti muyinza okubifuniramu obulamu obutaggwaawo. Kyokka Ebyawandiikibwa ebyo bye binjulira. 40 Naye temwagala kujja gye ndi mulyoke mufune obulamu obutaggwaawo.

41 (KR)“Sinoonya kusiimibwa bantu. 42 Naye mmwe mbamanyi temuliimu kwagala kwa Katonda. 43 Nzize mu linnya lya Kitange ne mutannyaniriza. Omulala bw’anajja ku bubwe oyo mujja kumwaniriza. 44 (KS)Kale muyinza mutya okukkiriza nga munoonya kusiimibwa bantu bannammwe, so nga temunoonya kusiimibwa Katonda oyo Omu yekka?

45 (KT)“Naye temulowooza nti ndibawawaabira eri Kitange. Abawawaabira ye Musa, mmwe gwe mulinamu essuubi. 46 (KU)Singa Musa mumukkiriza, nange mwandinzikirizza, kubanga yampandiikako. 47 (KV)Kale obanga temukkiriza bye yawandiika, munakkiriza mutya ebigambo byange?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.