Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Bible in 90 Days

An intensive Bible reading plan that walks through the entire Bible in 90 days.
Duration: 88 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Omubuulizi 3 - Oluyimba 8

Buli Kintu Kirina Ekiseera Kyakyo

(A)Buli kintu kirina ekiseera kyakyo,
    na buli ekikolebwa wansi w’eggulu kirina ekiseera kyakyo.

    Waliwo ekiseera eky’okuzaalibwa n’ekiseera eky’okufa;
    ekiseera eky’okusimba ate n’ekiseera eky’okukungula ebyo ebyasimbibwa;
    ekiseera eky’okutta n’ekiseera eky’okuwonya;
    ekiseera eky’okumenya n’ekiseera eky’okuzimba;
    ekiseera eky’okukaabiramu n’ekiseera eky’okusekeramu;
    ekiseera eky’okukungubaga n’ekiseera eky’okuzina;
    ekiseera eky’okusaasaanyizaamu amayinja, n’ekiseera eky’okugakuŋŋaanyizaamu;
    ekiseera eky’okugwiramu mu kifuba n’ekiseera eky’okukyewaliramu;
    waliwo ekiseera eky’okunoonyezaamu n’ekiseera eky’okulekeraawo okunoonya;
    ekiseera eky’okukuumiramu ekintu n’ekiseera eky’okukisuuliramu;
    (B)n’ekiseera eky’okuyulizaamu n’ekiseera eky’okuddabiririzaamu;
    ekiseera eky’okusirikiramu n’ekiseera eky’okwogereramu;
    waliwo ekiseera eky’okwagaliramu n’ekiseera eky’okukyayiramu;
    ekiseera eky’entalo n’ekiseera eky’eddembe.

(C)Ddala omuntu kiki ky’afuna mu kutegana kwe? 10 (D)Ndabye omugugu Katonda gw’atadde ku bantu. 11 (E)Buli kimu yakikola nga kirungi mu kiseera kyakyo. Kyokka newaakubadde nga Katonda yateeka mu mitima gy’abantu okutegeera obulamu obutaggwaawo, omuntu tayinza kuteebereza mulimu gwa Katonda gwonna, we gutandikira oba we gukoma. 12 Mmanyi nga tewali kisingira bantu kusanyuka na kukola bulungi nga balamu. 13 (F)Buli muntu alyoke alye, anywe afune okwesiima olw’ebyo ebiva mu kutegana kwe, kubanga ekyo kirabo kya Katonda. 14 (G)Mmanyi nga buli Katonda ky’akola kya lubeerera; tekyongerwako, era tewali kikijjibwako. Katonda yakikola bw’atyo, abantu balyoke bamutye.

15 (H)Ekyo ekiriwo ky’amala dda okubaawo;
    n’ekyo ekinaaberawo kyabaawo dda;
    era Katonda alagira ebyali bibaddewo, ne byongera okubaawo.

16 Ate era nalaba nga wansi w’enjuba,

mu kifo ky’okusala amazima waliwo kusaliriza;
    ne mu kifo ky’obutuukirivu waliwo bwonoonyi.

17 (I)Ne njogera munda yange nti,

“Katonda aliramula
    abatuukirivu n’aboonoonyi;
kubanga yateekawo ekiseera ekya buli kimu;
    era na buli mulimu.”

18 (J)Ne ndowooza nti, “Katonda agezesa abaana b’abantu era bajjukire nti nsolo busolo. 19 (K)Kubanga ekituuka ku baana b’abantu kye kituuka ne ku nsolo; omuntu afa, n’ensolo n’efa. Bonna bassa omukka gwe gumu; omuntu talina nkizo ku nsolo. Byonna butaliimu. 20 (L)Bonna bagenda mu kifo kye kimu, bonna bava mu nfuufu era mu nfuufu mwe badda. 21 (M)Ani amanyi obanga omwoyo gw’omuntu gwambuka waggulu, ogw’ensolo gwo ne gukka mu ttaka?”

22 (N)Bwe ntyo nalaba nga tewali kisinga muntu kusanyukira mulimu gwe, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. Anti tewali asobola kumukomyawo alabe ebyo ebiribaawo oluvannyuma lwe.

Amaziga g’Abanyigirizibwa

(O)Ate nalaba okunnyigirizibwa kwonna okukolebwa wansi w’enjuba.

Ate laba, amaziga gaabo abanyigirizibwa,
    era nga tebalina wakugabasangulako!
Ababanyigiriza baalina obuyinza,
    kyokka nga tewali asobola kubagambako.
(P)Ne ndowooza ku abo abaafa,
nga baali ba mukisa okusinga
    abo abakyali abalamu;
(Q)naye abasinga abo,
    y’oyo atannaba kuzaalibwa,
atannalaba bibi
    obukolebwa wansi w’enjuba.

(R)Awo ne ndaba ng’okutegana, n’okutuukiriza mu bikolebwa, kuva mu kukwatirwa obuggya muliraanwa. Na kino butaliimu na kugoberera mpewo.

(S)Omusirusiru awumba emikono gye,
    ne yeezikiriza yekka.
(T)Kirungi okuba n’emirembe emijjuvu
    okusinga okujjula okubonaabona
    n’okugoberera empewo.

Ate era ne ndaba obutaliimu wansi w’enjuba:

(U)nalaba omuntu ng’ali bwannamunigina,
    nga talina mwana wabulenzi wadde muganda we, naye ng’ategana okukamala, nga tamatira na bugagga bwe,
    ne yeebuuza nti, “Nteganira ani
    ne neefiiriza essanyu?
Kino nakyo butaliimu,
    era tekiriiko kye kigasa.”

Ababiri basinga omu,
    kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe.
10 Kubanga singa omu agwa,
    munne amuyimusa.
Naye zimusanze oyo ali obw’omu,
    bw’agwa tabaako amuyimusa.
11 Ababiri bwe bagalamira bombi awamu babuguma;
    naye oyo ali obw’omu, ayinza atya okubuguma?
12 Omu awangulwa mangu,
    kyokka ababiri bayinza okwerwanako.
Kubanga omuguwa ogw’emiyondo esatu tegukutuka mangu.

13 Omuvubuka omwavu nga mugezi, akira kabaka amusinga emyaka nga musirusiru, atafaayo ku kubuulirirwa. 14 Omuvubuka ayinza okuba ng’avudde mu kkomera n’alya obwakabaka, oba okulya obwakabaka ng’abadde mwavu. 15 Nalaba abalamu bonna abatambula wansi w’enjuba nga bagoberera omuvubuka oyo ow’okulya obwakabaka. 16 Abantu be yafuganga baali bangi nnyo. Naye abo abajja oluvannyuma lwe tebaamusiima. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.

Mutye Katonda

Weekuume ng’oyingira mu nnyumba ya Katonda; okumusemberera n’okumuwuliriza, kisinga okuwaayo ssaddaaka ng’ez’abasirusiru abatamanyi nga bakola ebibi.

(V)Toyanguyirizanga na kamwa ko okwogera ekigambo,
    wadde omutima gwo ogwanguyiriza,
    okwogera ekigambo mu maaso ga Katonda.
Katonda ali mu ggulu
    ng’ate ggwe oli ku nsi;
    kale ebigambo byo bibeerenga bitono.
(W)Ng’okutawaana ennyo bwe kuleetera omuntu ebirooto,
    n’ebigambo by’omusirusiru bwe bityo bwe biba nga bingi.

(X)Bwe weeyamanga obweyamo eri Katonda tolwanga kubutuukiriza, kubanga tasanyukira basirusiru. Tuukirizanga obweyamo bwo. (Y)Obuteyama kisinga okweyama n’ototuukiriza kye weeyamye. Akamwa ko kaleme ku kwonoonyesa, n’ogamba oyo atumiddwa gy’oli nti, “Nakola kisobyo okweyama.” Kale lwaki weeretako okusunguwalirwa Katonda olw’ebigambo byo, n’azikiriza emirimu gy’emikono gyo? (Z)Ebirooto entoko n’ebigambo ebingi temuli makulu; noolwekyo otyanga Katonda.

Obugagga ku Bwabwo Bwokka Butaliimu Bwereere

(AA)Bw’olabanga ng’omwavu anyigirizibwa mu ssaza, amazima n’obwenkanya nga tewali, teweewuunyanga! Kubanga omukungu waalyo alinako amusinga, ate nga bombi balina ababatwala. Bonna balya ku bibala bya nsi eyo; kabaka yennyini mu nnimiro zaayo mw’afuna.

10 Oyo alulunkanira ensimbi, tasobola kuba na nsimbi zimumala;
    wadde oyo alulunkanira obugagga n’amagoba:
    na kino nakyo butaliimu.

11 Ebintu nga bwe byeyongera obungi,
    n’ababirya gye bakoma okweyongera.
Kale nnyini byo agasibwa ki,
    okuggyako okusanyusa amaaso ge?

12 (AB)Otulo tuwoomera omupakasi
    ne bw’aba agabana bitono oba bingi.
Naye obugagga bw’omugagga obuyitiridde,
    tebumuganya kwebaka.

Okukola n’Essanyu

13 (AC)Waliwo ekibi ekinene kye nalaba wansi w’enjuba:

nannyini bugagga abuterekera mu kwerumya,
14     ebyembi bw’ebigwawo eby’obugagga ebyo bibula,
kale bw’aba ne mutabani
    tewabaawo mutabani we ky’asigaza.
15 (AD)Omuntu nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina n’ajja mu nsi nga talina kintu,
    bw’atyo bw’aliddayo nga mwereere ng’ava mu nsi.
Tewali ky’aggya mu mirimu gye,
    wadde kyayinza okugenda nakyo mu mukono gwe.

16 (AE)Na kino kya bulumi bwereere:

nga bwe yajja era bw’atyo bw’aligenda;
    mugaso ki gwe yafuna mu kugoberera empewo?
17 Era yamala obulamu bwe bwonna mu kizikiza ne mu buyinike,
    ne mu kweraliikirira, ne mu bulumi ne mu kunyiiga.

18 (AF)Ne ndyoka ntegeera nti kituufu omuntu okulya n’okunywa n’okulaba nga yeyagalira mu kutakabana ne mu kukola kwe wansi w’enjuba, mu nnaku ze entono Katonda z’amuwadde, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. 19 (AG)Ate Katonda bw’awa omuntu obugagga, n’ebintu n’amusobozesa okubyeyagaliramu, n’okutegeera omugabo gwe n’okusanyukira by’akoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda. 20 (AH)Emirundi giba mitono gy’alowoolezaamu ekiseera ky’obulamu ky’amaze, kubanga Katonda ajjuza omutima gw’omuntu oyo essanyu.

Obutaliimu bw’Obugagga n’Ettiibwatiibwa

Waliwo ekibi ekirala kye ndabye wansi w’enjuba era kibuutikidde abantu. (AI)Katonda awa omuntu obugagga, n’amuwa ebintu ebingi awamu n’ekitiibwa, na buli mutima gwe kye gwetaaga n’akifuna; naye Katonda n’amumma okubisanyukiramu, kyokka omugwira n’ajja n’abisanyukiramu. Kino butaliimu era kya bubalagaze!

(AJ)Omuntu ayinza okuba n’abaana kikumi, n’awangaala; bw’atasanyukira mu bugagga bwe, era n’ataziikwa mu kitiibwa, ne bw’aba ng’awangadde nnyo, omwana afiira mu lubuto ng’agenda okuzaalibwa amusingira wala. Omwana oyo ajja nga taliiko ky’amanyi n’agendera mu butamanya era n’erinnya lye ne libulira mu butamanya. Newaakubadde talabye njuba, wadde okubaako ky’amanya, kyokka awummula bulungi okusinga omusajja oyo: omusajja oyo ne bw’awangaala emyaka enkumi bbiri, naye n’atasanyukira mu bya bugagga bwe. Bombi tebalaga mu kifo kye kimu?

(AK)Buli muntu ateganira mumwa gwe,
    naye tasobola kukkuta by’alina.
(AL)Kale omuntu omugezi asinga oyo omusirusiru?
Omwavu bw’amanya okwefuga mu maaso g’abalala,
    agasibwa ki?
(AM)Amaaso kye galaba
    kisinga olufulube lw’ebirowoozo.
Era na kino nakyo butaliimu,
    na kugoberera mpewo.

10 Buli ekibaawo ky’ateekebwateekebwa dda,
    n’omuntu kyali kyamanyibwa,
tewali muntu ayinza kulwana n’oyo amusinza amaanyi,
    n’amusobola.
11 Ebigambo gye bikoma obungi,
    gye bikoma n’obutabaamu makulu;
    kale ekyo kigasa kitya omuntu?

12 (AN)Kale ani amanyi ekirungi eri omuntu, mu nnaku ezo entono z’amala mu bulamu bwe obutaliimu, obuli ng’ekisiikirize? Ani wansi w’enjuba ayinza okutegeeza ekirimubaako ng’avudde mu bulamu buno?

Okulondawo Ekisinga Obulungi

(AO)Obwatiikirivu bw’erinnya eddungi businga eby’akawoowo ebirungi;
    n’olunaku olw’okufa lusinga olwo olw’okuzaalirwako.
(AP)Kirungi okulaga mu nnyumba ey’abakungubaga
    okusinga okulaga mu nnyumba ey’ebyassava.
Kubanga buli omu wa kufa,
    ekyo kiteekwa okuba ku mutima gwa buli muntu.
(AQ)Okunakuwala kusinga okuseka,
    kubanga amaaso amanakuwavu gazzaamu omutima amaanyi.
(AR)Omutima gw’omugezi guba wamu n’abo abali mu nnaku;
    naye ogw’omusirusiru guba mu kusanyuka.
(AS)Kirungi okussaayo omwoyo ku kunenya kw’omuntu ow’amagezi
    okusinga okuwuliriza ennyimba z’abasirusiru.
(AT)Okuseka kw’abasirusiru
    kuli ng’okutulikatulika kw’amaggwa agali mu muliro gw’entamu[a];
    na kino nakyo butaliimu.

(AU)Kya mazima, okunyigirizibwa kufuula ow’amagezi okuba omusirusiru,
    n’enguzi efaafaaganya okutegeera.

(AV)Enkomerero y’ekintu esinga entandikwa yaakyo,
    n’omugumiikiriza asinga ow’amalala.
(AW)Tosunguwalanga mangu nga waliwo akusokaasoka,
    kubanga obusungu bubeera munda y’abasirusiru.

10 Teweebuuzanga nti, “Lwaki ennaku ziri ez’edda zisinga zino?”
    Kubanga si kya magezi okwebuuza ekibuuzo ng’ekyo.

11 (AX)Amagezi kintu kirungi, okufaanana ng’eky’obugagga ky’obusika,
    era kigasa abo abakyalaba enjuba.
12 Amagezi kiwummulo,
    ng’ensimbi bwe ziri ekiwummulo,
naye enkizo y’okumanya y’eno:
    amagezi gakuuma obulamu bw’oyo agalina.

13 (AY)Lowooza ku Katonda ky’akoze:

ani ayinza okugolola ekyo ekyakyama Katonda kye yakola?
14 Ebiseera bwe biba ebirungi, sanyuka;
    naye bwe biba ebibi, kirowoozeeko;
Katonda eyakola ekimu
    era ye yakola ne kinnaakyo.
Noolwekyo omuntu tayinza kuzuula kirimubaako
    mu nnaku ze ez’omu maaso.

15 (AZ)Mu bulamu bwange buno obutaliimu ndabye bino byombi:

omutuukirivu azikiririra mu butuukirivu bwe,
    n’omukozi w’ebibi n’awangaalira mu bibi bye.
16 Teweefuulanga mutuukirivu ayitiridde
    wadde okwefuula ow’amagezi ow’ekitalo;
    oleme okwezikiriza.
17 (BA)Tobanga mwonoonyi kakuzzi
    wadde okuba omusirusiru;
    oleme okufa ng’ekiseera kyo tekinnatuuka.
18 (BB)Ekyo kirungi okiyige, na kiri oleme kukibuusa maaso,
    kubanga oyo atya Katonda abyewala okubiyitiriza.

19 (BC)Ow’amagezi ne bw’aba omu mu kibuga,
    aba w’amaanyi okusinga abakulembeze ekkumi ab’omu kibuga ekyo.

20 (BD)Ddala ku nsi tekuli muntu mutuukirivu,
    atakola bibi.

21 (BE)Towulirizanga buli kigambo, bantu kye boogera,
    si kulwa ng’owulira omuweereza wo ng’akukolimira,
22 kubanga naawe okimanyidde ddala mu mutima gwo,
    ng’emirundi mingi okolimidde abalala.

23 (BF)Ebyo byonna nabyekenneenya n’amagezi ne ŋŋamba nti,

“Mmaliridde okuba omugezi,”
    wabula kino kyandi wala.
24 (BG)Amagezi ne bwe gaba ga kikula ki, gali wala nnyo era tegalojjeka,
    kale ani ayinza okugavumbula?
25 (BH)Bwe ntyo ne nkyusa omutima gwange nnoonye okutegeera,
    nekkanye, era nnoonyereze amagezi ndowooze ne ku bintu nga bwe biri,
n’okutegeera obusirusiru bw’okukola ebibi:
    n’eddalu ery’obusirusiru.

26 (BI)Ekintu kye nalaba eky’obulabe ekisinga okufa,
    ye mukazi alina omutima ogusendasenda,
era ogusikiriza,
    era emikono gye gisiba ng’enjegere.
Oyo ayagala Katonda, y’awona omukazi oyo,
    kyokka ye omwonoonyi talema kugwa mu mutego gwe.

27 (BJ)Omubuulizi agamba nti, “Laba, kino kyenvumbudde:

“Okugatta ekintu ku kinnaakyo, okuzuula enkola y’ebintu,
28     (BK)bwe nnali nga nkyanoonyereza
    nabulako kye nzuula,
okuggyako okulaba omusajja omwesimbu omu mu basajja lukumi,
    kyokka mu bakazi bonna ssaalabamu n’omu atuukiridde.
29 Wabula kino kyokka kye nalaba:
    Katonda yatonda omuntu nga mugolokofu,
    naye abantu ne beenoonyeza ebintu ebirala bingi.”

Obuwulize eri Abakulembeze

Ani afaanana omuntu omugezi
    amanyi okunnyonnyola buli kintu?
Amagezi gaakaayakanyisa obwenyi bw’omuntu,
    ne gakyusa emitaafu gyamu.

Nkugamba nti gondera ekiragiro kya kabaka, kubanga walayira[b] mu maaso ga Katonda. (BL)Toyanguyiriza kuva mu maaso ga kabaka. Kyokka ensonga bw’ebanga etali ntuufu, tobanga ku ludda lumuwakanya, kubanga ye akola buli ky’ayagala. (BM)Kubanga ekigambo kya kabaka kisukkuluma byonna; kale ani ayinza okumubuuza nti, “Okola ki ekyo?”

Oyo agondera ekiragiro kye talituukibwako kabi,
    omutima ogw’amagezi gulimanya ekiseera ekisaana okukoleramu ekintu gundi, n’engeri ey’okukolamu ekintu ekyo.
(BN)Kubanga waliwo ekiseera ekituufu n’enkola esaana ku buli kintu,
    newaakubadde ng’obuyinike bw’omuntu bumuzitoowerera okukamala.

Nga bwe watali muntu amanyi binaabaawo,
    kale ani ayinza okumutegeeza ebinajja?
Tewali muntu alina buyinza kufuga mpewo;
    bwe kityo tewali n’omu alina buyinza ku lunaku lwa kufa kwe.
Ng’omuntu bw’aweebwa ebiragiro mu biseera eby’olutalo,
    bwe kityo n’obutali butuukirivu bwe buduumira abo ababutambuliramu.

Ebyo byonna bye nalaba bwe nagezaako okwekenneenya buli kintu ekikolebwa wansi w’enjuba. Waliwo ekiseera omufuzi buli lw’abinika baafuga, kyokka nga yeerumya yekka. 10 (BO)Ndabye abantu abakozi b’ebibi nga baziikibwa, abo abaawaanibwanga mu kibuga nga bazze mu kifo ekitukuvu. Na kino nakyo butaliimu.

11 Omuntu bw’asalirwa omusango n’atabonererezebwawo, emitima gy’ababi gijjula kuteekateeka kukola bubi. 12 (BP)Newaakubadde ng’omuntu omubi azza emisango kikumi, ate n’awangaala, nkimanyi ng’abatuukirivu, abo abatya Katonda bijja kubagendera bulungi. 13 (BQ)Naye olwokubanga abakozi b’ebibi tebatya Katonda, tebiyinza kubagendera bulungi, era n’ennaku zaabwe zinaayitanga mangu ng’ekisiikirize.

14 (BR)Waliwo ekintu ekirala ekiraga obutaliimu ekiri ku nsi: abantu abatuukirivu batukibwako ebyo ebisaanira ababi, ate abatali batuukirivu ne batuukibwako ebyo ebigwanira abatuukirivu. Kino nakyo nkiyita butaliimu. 15 (BS)Bwe ntyo nteesa nti omuntu yeyagalire mu bulamu: kubanga wansi w’enjuba tewali kisinga, wabula omuntu okulya n’okunywa n’okweyagala. Kale essanyu linaamuwerekeranga mu mirimu gye, ennaku zonna ez’obulamu bwe Katonda bw’amuwadde wansi w’enjuba.

16 (BT)Bwe nanoonyereza amagezi ne neetegereza okutegana kw’omuntu ku nsi kuno, nga teyeebaka emisana n’ekiro. 17 (BU)Ne ndaba ebyo byonna Katonda by’akoze, nga tewali n’omu ayinza kutegeera Katonda by’akola wansi w’enjuba, omuntu ne bw’agezaako ennyo okukinoonyereza tayinza kukivumbula. Newaakubadde omuntu omugezi yeefuula nti akimanyi, tayinza kukitegeera.

Ekkubo Bonna lye Bakwata

(BV)Awo ne ndowooza ku ebyo, ne nzuula ng’omutuukirivu n’omugezi bye bakola biri mu mukono gwa Katonda; naye tewali muntu n’omu amanyi obanga kwagalibwa oba kukyayibwa bye bimulindiridde. (BW)Omutuukirivu n’omwonoonyi, omulungi n’omubi, omuyonjo n’omujama, abo abawaayo ssaddaaka n’abo abatagiwaayo bonna gye bagenda y’emu.

Nga bwe kiri eri omuntu omulungi,
    era bwe kiri n’eri omwonoonyi;
Nga bwe kiri eri abo abalayira,
    era bwe kiri n’eri abo abatya okulayira.

(BX)Bonna ekibalindiridde kimu; kano ke kabi akabeera wansi w’enjuba. Ate emitima gy’abantu mu bulamu buno giraluse gijjudde ebibi, bayaayaanira buli kimu; n’oluvannyuma ne bakka emagombe eri bannaabwe. Naye omuntu omulamu aba n’essuubi, wadde embwa ennamu esinga empologoma enfu!

(BY)Kubanga buli kiramu kimanya nga kya kufa,
    naye abafu tebaliiko kye bamanyi:
tebakyagasa
    wadde okujjukirwa.
(BZ)Okwagala kwabwe, n’obukyayi bwabwe,
    n’obuggya bwabwe nga bizikiridde;
nga tebakyetaba mu ebyo byonna
    ebikolebwa wansi w’enjuba.

(CA)Genda olye emmere yo ng’osanyuka, onywe ne wayini wo nga weeyagala; kubanga Katonda asiimye ky’okola. (CB)Yambalanga engoye ennyonjo[c], era weesiigenga n’ebyakaloosa. (CC)Ssanyukanga ne mukyala wo gw’oyagala ennaku zo zonna, mu bulamu buno obutaliimu, Katonda bw’akuwadde wansi w’enjuba, kubanga ekyo gwe mugabo gwo mu kutegana kwo kw’oteganamu wansi w’enjuba. 10 (CD)Buli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole n’amaanyi go gonna; kubanga teri mulimu wadde okulowooza, oba okutegeera wadde amagezi emagombe gy’olaga.

11 (CE)Ate nalaba nga wansi w’enjuba,

ng’ow’embiro ennyingi si y’awangula mu mpaka,
    era ne kirimaanyi si y’awangula olutalo,
ng’ate bakalimagezi bonna si be baatiikirira;
    wabula ng’omukisa gukwata bukwasi oyo
    aba aliwo mu kifo ekituufu ne mu kiseera ekituufu.

12 (CF)Kubanga omuntu tamanya kinaamubaako.

Ng’ekyenyanja bwe kikwatibwa mu muyonjo,
    oba ennyonyi nga bw’egwa ku mutego,
n’abaana b’omuntu bwe batyo bwe beesanga mu biseera eby’akabi,
    ebibatuukako nga tebabyetegekedde.

13 (CG)Era ekirala kye nalaba ekyampuniikiriza ennyo kye kino: 14 waaliwo akabuga nga kalimu abantu batono ddala, kabaka ow’amaanyi n’ajja n’akazingiza n’akazimbako ekigo ekinene. 15 (CH)Mu kabuga ako mwalimu omusajja omugezi, omwavu, ng’amanyi eky’okukola okuwonya akabuga ako, bw’atyo mu magezi ge ne kanunulwa. Naye nno ne wabulawo amujjukira. 16 (CI)Awo ne ndaba nti newaakubadde ng’amagezi gasinga amaanyi, naye ow’amagezi bw’aba omwavu, anyoomebwa, ne ky’ayogera tekissibwako mwoyo.

17 Naye ne bwe kiba kityo, ebigambo eby’ekimpowooze ebiva mu kamwa k’omugezi bissibwako omwoyo,
    okusinga okuleekaana kw’omufuzi w’abasirusiru.
18 (CJ)Amagezi gasinga ebyokulwanyisa mu lutalo,
    naye omwonoonyi omu azikiriza ebirungi bingi.

Omugezi n’Omusirusiru

10 (CK)Nga ensowera enfu bwe zoonoona akaloosa akawunya obulungi,
    bwe katyo akasobyo akatono bwe koonoona amagezi n’ekitiibwa.
Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumukozesa ekituufu,
    naye ogw’omusirusiru gumutwala kukola bitasaana.
(CL)Ne bw’aba ng’atambula,
    amanyibwa nga talina magezi,
    era buli amulaba agamba nti musirusiru.
(CM)Mukama wo bw’akunyiigiranga,
    tomulaganga busungu;
    okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi.

Ekibi ekirala kye nalaba,
    kye kikwata ku nsobi y’omufuzi:
(CN)nalaba ng’abasirusiru baweebwa ebifo ebisava,
    naye ng’abagagga bo baweebwa ebyo ebya wansi.
(CO)Ate nalaba ng’abaddu beebagala embalaasi,
    songa abalangira batambuza bigere ng’abaddu.

(CP)Asima ekinnya alikigwamu,
    n’oyo amenya ekisenge omusota gulimubojja.
(CQ)Oyo ayasa amayinja gamulumya,
    n’oyo ayasa enku zimulumya.

10 Embazzi bwe tebaako bwogi,
    n’etewagalwa,
agitemya ateekwa okufuba ennyo,
    naye obumanyirivu bwe buwangula.

11 (CR)Omusota bwe guluma nga tegunnakola bya bufuusa,
    omufuusa talina kyafunamu.

12 (CS)Ebigambo ebiva mu kamwa k’omuntu ow’amagezi bya muwendo nnyo eri abo ababiwulira,
    naye akamwa k’omusirusiru kamusuula mu ntata.
13 Entandikwa y’ebigambo bye nga temuli nsa,
    ne ku nkomerero yaabyo biba mususa.
14     (CT)Omusirusiru asavuwaza ebigambo.

Tewali amanyi birijja,
    kale ani asobola okumubuulira ebiribaawo oluvannyuma lwe?

15 Omusirusiru aterebuka mangu olw’ekitamugendedde bulungi,
    n’abulwa n’ekkubo erimutwala mu kibuga.

16 (CU)Zikusanze gw’ensi kabaka bw’aba nga yali muddu,
    nga n’abalangira bakeera kwetamiirira!
17 (CV)Olina omukisa gw’ensi kabaka wo bw’aba nga wa lulyo lulangira,
    ate nga n’abalangira bo bamanyi ekiseera eky’okuliiramu,
    olw’okufuna amaanyi so si lwa kutamiira.

18 (CW)Obugayaavu buleetera akasolya k’ennyumba okutonnya,
    n’emikono egitayagala kukola gireetera ennyumba okutonnya.

19 (CX)Ekijjulo kikolebwa lwa kusanyuka,
    ne wayini yeeyagaza obulamu,
    naye ensimbi y’esobola byonna.

20 (CY)Tokolimira kabaka mu mutima gwo
    newaakubadde okukolimira omugagga mu kisenge kyo,
kubanga ennyonyi ey’omu bbanga eyinza okwetikka ebigambo byo
    nga biwandiikiddwa ku biwaawaatiro byayo n’ebibatuusaako.

Bw’ogaba Katonda Akuddizaawo

11 (CZ)Siganga emmere yo ng’enkuba etonnya,
    kubanga ebbanga lyayo bwe lirituuka olikungula.
Gabiranga musanvu weewaawo munaana,
    kubanga mu biseera eby’oluvannyuma oyinza okubeera mu kwetaaga.

Ebire bwe bijjula amazzi,
    bitonnyesa enkuba ku nsi;
n’omuti bwe gugwa nga gwolekedde obukiikaddyo oba obukiikakkono,
    mu kifo mwe gugwa mwe gulibeera.
Oyo alabirira embuyaga talisiga;
    n’oyo atunuulira ebire talikungula.

(DA)Nga bw’otosobola kutegeera kkubo mpewo,
    oba omubiri nga bwe guzimbibwa ku mwana ali mu lubuto;
bw’otyo bw’otosobola kutegeera Katonda
    Omutonzi wa byonna by’akola.

(DB)Ku makya siga ensigo zo,
    n’akawungeezi toddiriza mukono gwo;
kubanga tomanyi eziryala,
    zino oba ziri,
    oba zombi ziriba nnungi.
(DC)Ekitangaala kirungi,
    era okulaba ku musana kisanyusa.
(DD)Kale omuntu bw’awangaala emyaka emingi,
    agisanyukirengamu gyonna,
naye ajjukirenga nti waliwo ennaku ez’ekizikiza
    nnyingi ezijja.
    Ebyo byonna ebijja butaliimu.

(DE)Omuvubuka sanyukiranga mu buvubuka bwo,
    n’omutima gwo gusanyukenga mu nnaku ez’obuvubuka bwo;
tambulira mu makubo g’omutima gwo
    ne mu kulaba kw’amaaso go.
Naye manya nga mu byonna,
    Katonda agenda kukusalira omusango.
10 (DF)Noolwekyo ggyawo okweraliikirira mu mutima
    era weggyeko emitawaana mu ggwe,
    kubanga obuvubuka n’amaanyi gaabwe butaliimu.

Ennaku ze Tumala ku Nsi

12 (DG)Jjukiranga omutonzi wo mu nnaku ez’obuvubuka bwo,
ng’ennaku embi tezinnakutuukako
    n’emyaka nga teginnasembera,
    mw’olyogerera nti, “Sizisanyukira”;
ng’enjuba n’obutangaavu,
    omwezi n’emmunyeenye nga tebinnafuuka kizikiza;
    nga n’ebire biweddemu enkuba;
abakuumi b’enju mwe balikankanira,
    n’abasajja ab’amaanyi mwe bakutamizibwa,
nga n’abo abasa baleseeyo okusa, kubanga batono,
    n’abo abalingiza mu butuli nga tebakyalaba;
(DH)nga n’enzigi ez’olekedde enguudo zigaddwawo,
    n’eddoboozi ly’okusa nga livumbedde;
ng’abasajja bagolokoka olw’eddoboozi ly’ennyonyi,
    naye nga ennyimba zaabwe zivumbedde;
(DI)nga batya buli kiwanvu
    n’akabi akali mu nguudo,
ng’omubira gumulisizza,
    ng’enseenene yeewalula era nga tewakyali alimu keetaaga kino oba kiri.
Omuntu n’agenda mu nnyumba ye gy’alimala ekiseera ekiwanvu
    n’abakungubazi ne babuna enguudo.

Jjukira omutonzi wo ng’omuguwa gwa ffeeza tegunnakutuka
    oba ebbakuli eya zaabu nga tennayatika,
ng’ensuwa tennayatikira ku luzzi
    obanga ne nnamuziga tennamenyekera ku luzzi,
(DJ)ng’enfuufu edda mu ttaka mwe yava,
    n’omwoyo ne gudda eri Katonda eyaguwa omuntu.

(DK)Obutaliimu! Obutaliimu! Omubuulizi bw’agamba,
    “Buli kintu butaliimu.”

Ebikomererayo

(DL)Omubuulizi teyali mugezi kyokka, wabula yayigiriza n’abantu eby’amagezi. Yalowooza n’anoonyereza n’ayiiyaayo engero nnyingi. 10 (DM)Omubuulizi yanoonyereza n’afuna ebigambo ebituufu byennyini, ne bye yawandiika byali byesimbu era nga bya mazima.

11 (DN)Ebigambo by’abantu abagezi biri ng’emiwunda, engero zino ezakuŋŋaanyizibwa omusumba omu ziri ng’emisumaali egyakomererwa ne ginywezebwa ennyo. 12 (DO)Mwana wange weekuume ekintu kyonna ekyongerwako.

Okuwandiika ebitabo ebingi tekukoma, n’okuyiga okungi kukooya omubiri.

13 (DP)Kale byonna biwuliddwa;
    eno y’enkomerero yaabyo:
Tyanga Katonda okwatenga amateeka ge,
    kubanga ekyo omuntu ky’agwanira okukola.
14 (DQ)Kubanga Katonda alisala omusango olwa buli kikolwa;
    ekyo ekyakwekebwa,
    nga kirungi oba nga kibi.

(DR)Oluyimba lwa Sulemaani olusinga ennyimba zonna.

Omwagalwa

(DS)Leka annywegere n’emimwa gye
    kubanga okwagala kwo kusinga envinnyo,
(DT)n’amafuta go gawunya akaloosa akalungi;
    erinnya lyo liri ng’amafuta agattululwa,
    era abawala kyebava bakwagala.
(DU)Baako ne gy’ontwala, yanguwa!
    Kabaka ansembezezza kumpi nnyo antutte mu bisenge bye.

Abemikwano

Tunaasanyuka ne tukujagulizaamu;
    era tunaatendereza okwagala kwo okusinga envinnyo.

Omwagalwa

Nga batuufu okukwegomba!

(DV)Ndi muddugavu, ndi mulungi,
    Mmwe abawala ba Yerusaalemi
muli ng’eweema ez’e Kedali,[d]
    era ng’entimbe za Sulemaani.
(DW)Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu,
    olw’okuba omusana gunjokezza.
Batabani ba mmange baansunguwalira;
    ne bandagira okukuuma ennimiro ez’emizabbibu.
    Ennimiro yange ngigayaaliridde.
(DX)Ntegeeza ggwe gwe njagala, gy’oliisiza ekisibo kyo,
    ne gy’owumuliza endiga zo mu ssaawa ez’omu ttuntu.
Lwaki mbeera ng’omukazi eyeebisse amaaso
    nga nninaanye ebisibo eby’abanywanyi bo?

Abemikwano

(DY)Bw’oba nga tomanyi, ggwe omukyala asinga bonna obulungi,
    goberera ekkubo endiga lye zikutte,
ogende oliisize embuzi zo ento,
    okumpi n’eweema z’abasumba.

Owoomukwano

(DZ)Omwagalwa wange,
    nkugeraageranya n’embalaasi esika amagaali ga Falaawo.
10 (EA)Amatama go galabika bulungi ng’oyambadde ebikomo eby’oku matu,
    n’ensingo yo nerabika bulungi ng’erimu eby’omu bulago eby’omuwendo.
11 Tunaakukolera eby’oku matu ebya zaabu,
    nga birina amapeesa aga ffeeza.

Omwagalwa

12 (EB)Kabaka bwe yali ng’atudde ku mmeeza ye,
    akawoowo kange ne kamuwunyira bulungi.
13 Muganzi wange ali ng’ensawo eya kaloosa aka mooli[e] gye ndi,
    ng’awummulidde mu kifuba kyange.
14 (EC)Muganzi wange ali ng’ekiganda eky’ebimuli ebya kofera[f]
    ebivudde mu nnimiro ez’emizabbibu ez’e Engedi.[g]

Owoomukwano

15 (ED)Laba, oli mubalagavu, omwagalwa wange
    oli mubalagavu olabika bulungi.
    Amaaso go mayiba.

Omwagalwa

16 Olabika bulungi muganzi wange,
    era onsanyusa.
    Ekitanda kyaffe kya muddo muto.

Owoomukwano

17 (EE)Emikiikiro gy’ennyumba yaffe mivule,
    n’enzooba zaffe nkanaga.
(EF)Ndi kimuli kya looza ekya Saloni,[h]
    eddanga ery’omu biwonvu.

Owoomukwano

Ng’eddanga mu maggwa,
    gwe njagala ennyo bw’ali bw’atyo mu baweereza abakazi.

Omwagalwa

(EG)Ng’omucungwa mu miti egy’omu kibira,
    aŋŋanza bw’ali bw’atyo mu bavubuka.
Neesiima okutuula mu kisiikirize kye,
    n’ekibala kye kimpomera.
(EH)Yantwala ku kijjulo,
    n’okwagala kwe ne ku mmaamira.
(EI)Munzizeemu amaanyi n’ezabbibu enkalu,
    mumbuddeebudde n’emicungwa
    kubanga okwagala kunzirisizza.
(EJ)Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange,
    n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambatira.
(EK)Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira,
    ng’empeewo n’enjaza ez’omu ttale,
temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala
    okutuusa nga kweyagalidde.

(EL)Wuliriza omwagalwa wange,
    Laba, ajja
ng’abuukirabuukira ku nsozi,
    ng’azinira ku busozi.
(EM)Omwagalwa wange ali ng’empeewo oba ennangaazi ento.
    Laba ayimiridde emabega w’olukomera lwaffe,
Alingiza mu madirisa,
    alabikira mu mulimu ogulukibwa ogw’omu ddirisa.
10 Omwagalwa wange yaŋŋamba nti,
    “Golokoka, Owoomukwano,
    omulungi wange, ojje tugende,
11 kubanga laba ttoggo aweddeko,
    n’enkuba eweddeyo.
12 Ebimuli bimulisizza,
    n’ebiro eby’okuyimba bituuse,
era n’okukaaba kw’amayiba
    kuwulirwa mu nsi.
13 (EN)Omutiini[i] gubala ettiini zaagwo,
    n’emizabbibu gimulisizza ne gibunya akawoowo kaagyo.
Golokoka Owoomukwano,
    omulungi wange ojje tugende.”

Owoomukwano

14 (EO)Ggwe ejjiba lyange, eribeera mu njatika ez’omu njazi,
    mu bwekwekero obw’amayinja,
ndaga amaaso go,
    ka mpulire eddoboozi lyo,
kubanga eddoboozi lyo ddungi nnyo,
    n’amaaso go gasanyusa.
15 (EP)Tukwatire ebibe,
    obube obutono,
obwonoona ennimiro ez’emizabbibu,
    kubanga ennimiro zaffe ez’emizabbibu zimulisizza.

Omwagalwa

16 (EQ)Muganzi wange, wange nzekka, era nange ndi wuwe;
    aliisiza ekisibo kye mu malanga,
17 (ER)okutuusa obudde nga bukedde
    n’ebisiikirize nga biddukidde ddala;
okyuke omwagalwa wange obe ng’empeewo
    oba ennangaazi ento ku busozi obw’e Beseri.
(ES)Ekiro kyonna nga ndi ku kitanda kyange,
    nalindirira emmeeme yange gw’eyagala,
    ne munoonya naye saamulaba.
Nnaagolokoka ne ntambulatambulako mu kibuga,
    mu nguudo ne mu bifo ebigazi;
nanoonya emmeeme yange gw’eyagala,
    ne nnindirira naye saamulaba.
(ET)Abakuumi b’ekibuga
    abaali balawuna mu kibuga, ne bansisinkana, ne mbabuuza nti,
    “Mundabidde ku oyo emmeeme yange gw’eyagala?”
(EU)Twali twakayisiŋŋanya,
    ne ndaba oyo emmeeme yange gw’eyagala.
Ne munnywegera ne simuganya kugenda,
    okutuusa lwe namuleeta mu nnyumba ya mmange,
    ne mutwala mu kisenge ky’oyo eyanzaala.
(EV)Mbakuutira mmwe abawala ba Yerusaalemi,
    ng’empeewo n’enjaza ez’oku ttale,
temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala
    okutuusa nga kwesiimidde.

(EW)Ani oyo ajja ng’ava mu ddungu,
    afaanana ng’empagi ey’omukka,
asaabye ebyakaloosa ebya mooli n’omugavu,
    okuva mu byakaloosa byonna eby’omusuubuzi?
(EX)Laba, kye kigaali kya Sulemaani,
    ekiwerekeddwako abasajja ab’amaanyi nga nkaaga,
    abalwanyi abazira abasingayo mu Isirayiri,
(EY)bonna balina ebitala,
    era bamanyirivu mu kulwana;
buli omu n’ekitala kye mu kiwato kye,
    nga beetegekedde entiisa ey’ekiro.
Kabaka Sulemaani yeekolera ekigaali
    eky’emiti egy’omu Lebanooni.
10 Empagi zaakyo yazisiigako ffeeza,
    ne wansi waakyo nga wa zaabu,
n’entebe yaamu ng’eriko olugoye lwa ffulungu;
    ne munda nga mwaliire bulungi n’okwagala,
    okw’abawala ba Yerusaalemi.
11 (EZ)Mufulume, mmwe abawala ba Sayuuni,
    mulabe ku Kabaka Sulemaani ng’ayambadde engule,
    engule nnyina gye yamutikkira
ku lunaku olw’embaga ye,
    ku lunaku omutima gwe kwe gwasanyukira.

Owoomukwano

(FA)Ng’olabika bulungi, gwe njagala, laba ondabikidde bulungi.
    Amaaso go mayiba mu lugoye mw’ogabisse.
Enviiri zo ziri ng’eggana ly’embuzi
    eziserengeta okuva ku lusozi Gireyaadi.
(FB)Amannyo go gali ng’ekisibo ky’endiga nga kye zijje zisalibweko ebyoya,
    nga ziva okunaazibwa.
Buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo,
    so tewali eri yokka.
(FC)Emimwa gyo giri ng’ewuzi ey’olugoye olutwakaavu;
    n’akamwa ko kandabikira bulungi.
Amatama go mu lugoye lw’ogabisseeko
    gali ng’ekitundu ky’ekkomamawanga.[j]
(FD)Ensingo yo eri ng’omulongooti gwa Dawudi,
    ogwatereezebwa obulungi;
ne ku gwo nga kuliko engabo lukumi,
    zonna nga ngabo z’abasajja abalwanyi.
(FE)Amabeere go gombi gali ng’abaana b’empeewo,
    ab’empeewo, nga balongo,
    abaliira mu malanga.
(FF)Okutuusa obudde nga bukedde,
    n’ebisiikirize nga biweddewo,
ndigenda ku lusozi olunene olwa mooli
    ne ku kasozi ak’omugavu.
(FG)Ng’olabika bulungi wenna, omwagalwa wange,
    toliiko bbala na limu.

(FH)Jjangu tuve mu Lebanooni, omugole wange,
    jjangu tuve mu Lebanooni.
Lengera okuva ku ntikko ya Amana,
    n’okuva ku ntikko ya Seniri ne ku ntikko ya Kerumooni,
n’okuva mu mpuku ey’empologoma,
    ne ku nsozi ez’engo.
(FI)Osenzesenze omutima gwange,
    mwannyinaze, omugole wange;
otutte omutima gwange, ne munye y’eriiso lyo gy’onkubye,
    n’omukuufu ogumu ogw’omu bulago bwo.
10 (FJ)Ng’okwagala kwo kulungi mwannyinaze, omugole wange,
    okwagala kwo nga kusinga nnyo envinnyo,
    n’akawoowo ak’amafuta go kasinga eby’akawoowo eby’engeri zonna obulungi.
11 (FK)Emimwa gyo gitonnya obuwoomi ng’ebisenge eby’omubisi gw’enjuki, omugole wange;
    amata n’omubisi gw’enjuki biri wansi w’olulimi lwo.
    Akaloosa ak’ebyambalo byo kali ng’akawoowo ak’e Lebanooni.
12 (FL)Oli nnimiro eyasimbibwa, mwannyinaze, omugole wange,
    era oli luzzi olwasibibwa[k], ensulo eyateekebwako akabonero.
13 (FM)Ebimera byo nnimiro ya mikomamawanga,
    erina ebibala byonna eby’omuwendo,
    ne kofera n’emiti egy’omugavu
14     (FN)n’omugavu ne kalikomu,
    ne kalamo ne kinamoni,
    n’emiti egy’ebika by’omugavu byonna,
    ne mooli ne alowe,
    wamu n’eby’akawoowo byonna ebisinga obulungi.
15 Oli nsulo ya nnimiro,
    oluzzi olw’amazzi amalamu,
    olukulukuta okuva mu Lebanooni.[l]

Omwagalwa

16 (FO)Zuukuka gwe empewo ey’obukiikakkono,
    naawe empewo ey’obukiikaddyo jjangu.[m]
Mukuntire ku nnimiro yange,
    akaloosa, kaayo akalungi kasaasaane wonna,
Muleke muganzi wange ajje mu nnimiro ye,
    alye ebibala byamu eby’omuwendo.

Owoomukwano

(FP)Nzize mu nnimiro yange mwannyinaze, omugole wange;
    nkuŋŋaanyiza mooli yange n’eby’akawoowo byange.
Ndidde ebisenge byange eby’omubisi gw’enjuki gwange ne nywa n’omubisi gwange,
    Nywedde wayini wange n’amata gange.

Abemikwano

Abemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana.

Omwagalwa

(FQ)Nnali ngalamidde, ng’omutima gwange guwulira.
    Ne mpulira muganzi wange ng’akonkona, n’ayogera nti,
“Nziguliraawo mwannyinaze, Owoomukwano, ejjiba lyange,
    owe wange ataliiko bbala,
kubanga omutwe gwange gutobye omusulo,
    n’enviiri zange zibisiwadde olw’obunnyogovu.”
Nziggyeko ekkooti yange,
    nnaagyambala ntya nate?
Nanaabye ebigere,
    nnaddayo ntya mu ttaka gye binaddugalira?
Muganzi wange bwe yakwata ku munyolo,
    omutima gwange ne gubuukabuuka.
(FR)Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange,
    emikono gyange nga gitonnya mooli,
n’engalo zange nga zikulukuta mooli,
    ku minyolo gy’ekufulu.
(FS)Ne ŋŋenda okuggulirawo muganzi wange,
    naye muganzi wange ng’avuddewo,
    yeetambulidde.
Omutima gwange gwasanyuka bwe nnawulira eddoboozi lye.
    Ne munoonya naye n’ambula, ne mukoowoola naye nga taddamu.
(FT)Abakuumi baansanga
    bwe baali nga balawuna mu kibuga;
baankuba, ne bandeetako ebinuubule,
    ne batwala n’ekyambalo kyange,
    abasajja abo abakuuma bbugwe.
(FU)Mmwe abawala ba Yerusaalemi,
    mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange,
mumutegeeze ng’okwagala kwange
    gy’ali bwe kunzita.

Abemikwano

(FV)Owange, kiki muganzi wo ky’alina
    kyasinza abalungi abalala ggwe omukazi akira abalala obulungi?
Kiki muganzi wo kyasinza abalala
    n’okutukuutira n’otukuutira bw’otyo?

Omwagalwa

10 (FW)Muganzi wange alabika bulungi nnyo era mumyufu,
    atabula ne mu bantu omutwalo.
11 Omutwe gwe gwa zaabu ennongoose ennyo;
    n’enviiri ze zirimu amayengo,
    era nzirugavu nga nnamuŋŋoona.
12 (FX)Amaaso ge gali ng’amayiba
    ku mabbali g’emigga egy’amazzi,
agaanaazibwa n’amata,
    ne gaba ng’amayinja ag’omuwendo omungi.
13 (FY)Amatama ge gali ng’emisiri egy’obuwoowo,
    obuleeta akaloosa akalungi.
Emimwa gye giri ng’amalanga
    agakulukuta mooli.
14 (FZ)Emikono gye giri ng’emitayimbwa egya zaabu
    egiteekebwamu amayinja ag’omuwendo.
Omubiri gwe guli ng’amasanga
    amayooyote agatoneddwa ne safiro.
15 (GA)Amagulu ge gali ng’empagi ez’amayinja aganyirira
    ezisimbibwa mu zaabu ennungi.
Mu ndabika afaanana Lebanooni
    omulungi ng’emivule gyayo.
16 (GB)Enjogera ye mpomerevu,
    weewaawo awamu n’ebyo byonna ayagalibwa.
Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange;
    mmwe abawala ba Yerusaalemi.

Abemikwano

(GC)Muganzi wo alaze wa,
    ggwe akira abakyala bonna obulungi?
Muganzi wo yakutte lya wa
    tumukunoonyezeeko?

Omwagalwa

(GD)Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye,
    mu misiri egy’ebirime ebyakaloosa,
okulabirira ennimiro ye
    n’okunoga amalanga.
(GE)Muganzi wange, wange, nange ndi wuwe;
    anoonyeza mu malanga.

Owoomukwano

(GF)Oli mubalagavu nga Tiruza,[n]
    omwagalwa wange, omulungi nga Yerusaalemi,
    era ow’ekitiibwa ng’eggye eririna ebendera.
(GG)Tontunuulira nnyo
    kubanga amaaso go gantawanya.
Enviiri zo ziri ng’ekisibo eky’embuzi,
    eziserengeta okuva e Gireyaadi.
(GH)Amannyo go gali ng’ekisibo eky’endiga
    eziva okunaazibwa;
buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo,
    so tewali eri yokka.
(GI)Obwenyi bwo bw’obisse mu lugoye,
    buli ng’ebitundu by’amakomamawanga.
(GJ)Ne bwe walibeerawo bakabaka abakazi nkaaga,
    n’abazaana kinaana,
    n’abawala embeerera abatamanyiddwa muwendo,
(GK)ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ow’enjawulo,
    mwana muwala eyazaalibwa yekka, ayagalibwa ennyo nnyina
    okusinga abalala, y’ansingira mu bonna.
Abawala baamulaba ne bamuyita wa mukisa;
    bakabaka abakazi n’abazaana baamutenda.

Abemikwano

10 Ani ono alabika ng’emmambya,
    omulungi ng’omwezi, atangalijja ng’enjuba,
    alina ekitiibwa ng’eky’emunnyeenye?

Owoomukwano

11 (GL)Naserengeta mu nnimiro ey’emiti egy’ensigo okwetegereza
    okumulisa okw’ebimera eby’omu kiwonvu,
okulaba omuzabbibu obanga gwamulisa,
    n’okulaba emikomamawanga oba nga gyamera.
12 Bwe nnali nkyali awo
    emmeeme yange n’egenda eri amagaali ag’obwakabaka ag’omu bantu bange.

Abemikwano

13 (GM)Komawo, Komawo, ggwe Omusulamu;
    komawo, komawo tukutunuleko.

Owoomukwano

Lwaki mutunuulira Omusulamu
    ng’abali ku mazina ga Makanayimu?
(GN)Ebigere byo nga birabika bulungi mu ngatto,
    ggwe omumbejja!
Amagulu go gali ng’amayinja ag’omuwendo,
    omulimu gw’omuweesi omukalabakalaba.
Ekkundi lyo kibya kyekulungirivu,
    ekitaggwaamu nvinnyo entabule obulungi.
Ekiwato kyo ntuumu ya ŋŋaano
    eyeetooloddwa amalanga.
(GO)Amabeere go gali ng’abaana b’empeewo,
    abalongo.
(GP)Ensingo yo eri ng’omunaala ogw’amasanga.
Amaaso go gali ng’ebidiba eby’omu Kesuboni
    ebiri ku mulyango ogw’e Basulabbimu.
Ennyindo yo eri ng’omulongooti ogw’e Lebanooni
    ogwolekera Ddamasiko.
(GQ)Omutwe gwo gukuwoomera ng’olusozi Kalumeeri,
    n’enviiri zo ziranga emiguwa egy’effulungu;
    Kabaka asendebwasendebwa ebintu byakwo.
(GR)Ng’olabika bulungi, ng’osanyusa
    ggwe omwagalwa n’obulungi bwo.
(GS)Oli muwanvu ng’olukindu,
    n’amabeere go gali ng’ebirimba eby’ebibala byakwo.
(GT)Nayogera nti, “Ndirinnya olukindu,
    era ndikwata ebibala byalwo.”
Amabeere go gabeere ng’ebirimba eby’oku muzabbibu,
    n’akawoowo ak’omu kamwa ko ng’ebibala eby’omucungwa
    (GU)n’akamwa ko nga nvinnyo esinga obulungi.

Omwagalwa

Ne wayini amirwe bulungi muganzi wange,
    ng’akulukuta mpola mpola ku mimwa gy’abo abeebase.
10 (GV)Ndi wa muganzi wange,
    era naye anjagala nnyo.
11 Jjangu, muganzi wange tugende ebweru w’ekibuga,
    tusuleko mu byalo.
12 (GW)Tukeere tugende mu nnimiro z’emizabbibu,
    tulabe obanga emizabbibu gimulisizza,
obanga n’ebimuli byagwo byanjuluzza,
    obanga n’emikomamawanga gimulisizza,
    era eyo gye nnaakulagira okwagala kwange.
13 (GX)Amadudayimu[o] gawunya akawoowo,
    ne ku miryango gyaffe waliwo ebibala ebisinga obulungi,
Ebyakanogebwa awamu n’ebikadde,
    bye nkuterekedde muganzi wange.
Singa wali muganda wange eyakuzibwa mmange
    era eyayonka amabeere ga mmange,
nandikusanze ebweru
    nandikunywegedde
    ne wataba n’omu annyooma.
(GY)Nandikukulembedde
    ne nkuleeta mu nnyumba ya mmange,
    oyo eyangigiriza.
Nandikuwadde wayini okunywa ng’alimu ebyakaloosa,
    omubisi ogw’amakomamawanga gange.
(GZ)Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange
    n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambaatira.
(HA)Mmwe abawala ba Yerusaalemi mbakuutira,
    temusiikuula newaakubadde okuzuukusa okwagala
    okutuusa ng’ekiseera ekituufu kituuse.

Abemikwano

(HB)Ani oyo gwe tulengera ng’ava mu ddungu
    nga yeesigamye muganzi we?

Omwagalwa

Nakuzuukusa ng’oli wansi w’omuti ogw’omucungwa.
    Eyo maama wo gye yafunira olubuto era eyo
    maama wo gye yakuzaalira mu bulumi obungi.
(HC)Nteeka ng’akabonero ku mutima gwo,
    era ng’akabonero ku mukono gwo,
kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa,
    obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe.
Kwaka ng’ennimi ez’omuliro,
    omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo.
(HD)Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala
    n’emigga tegiyinza kukumalawo.
Singa omuntu awaayo
    obugagga bwe bwonna obw’ennyumba ye okufuna okwagala,
    asekererwa nnyo.

Abemikwano

Tulina muto waffe
    atannamera mabeere,
naye tulikola tutya
    bw’alituuka okwogerezebwa?
Singa abadde bbugwe
    twandimuzimbyeko eminaala egya ffeeza,
singa abadde luggi
    twandimuggalidde na mivule.

Omwagalwa

10 Ndi bbugwe
    era n’amabeere gange gali ng’ekitikkiro,
noolwekyo mu maaso ge,
    mmufuukidde aleeta emirembe.
11 (HE)Sulemaani yalina ennimiro y’emizabbibu e Baaluka Kamooni,
    n’agisigira abalimi.
Buli omu ku bo yamusalira
    ebitundu bya ffeeza lukumi.
12 (HF)Ennimiro yange ey’emizabbibu, yange,
    ebitundu olukumi bibyo ggwe Sulemaani,
    ebitundu ebikumi bibiri by’abo abalabirira ennimiro.

Owoomukwano

13 Ggwe abeera mu nnimiro
    ne mikwano gyo nga weebali,
    ka mpulire eddoboozi lyo.

Omwagalwa

14 (HG)Yanguwa okuvaayo eyo,
    odduke mangu ng’empeewo
oba ng’ennangaazi ento,
    oddukire ku nsozi ezijjudde ebyakaloosa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.