Bible in 90 Days
135 (A)Mutendereze Mukama.
Mutendereze erinnya lya Mukama.
Mumutendereze mmwe abaddu ba Mukama;
2 (B)mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama,
mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.
3 (C)Mutendereze Mukama, kubanga Mukama mulungi;
mutendereze erinnya lye kubanga ekyo kisanyusa.
4 (D)Kubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe;
ye Isirayiri gwe yeeroboza okuba eky’omuwendo.
5 (E)Mmanyi nga Mukama mukulu wa kitiibwa,
era nga Mukama oyo y’asinga bakatonda bonna.
6 (F)Mukama kyonna ky’asiima ky’akola,
mu ggulu ne ku nsi;
mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
7 (G)Alagira ebire ne byekuluumulula okuva ku nkomerero y’ensi;
atonnyesa enkuba erimu okumyansa,
n’asumulula empewo okuva mu mawanika ge.
8 (H)Ye yakuba ababereberye ab’e Misiri;
ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo.
9 (I)Ye yaweereza obubonero n’ebyewuunyo wakati wo, ggwe Misiri,
eri Falaawo n’abaweereza be bonna.
10 (J)Ye yakuba amawanga amangi,
n’atta bakabaka ab’amaanyi era be bano,
11 (K)Sikoni kabaka w’Abamoli,
ne Ogi kabaka w’e Basani
ne bakabaka bonna ab’e Kanani.
12 (L)Ensi yaabwe n’agiwaayo ng’obusika,
okuba obusika bw’abantu be Isirayiri.
13 (M)Ayi Mukama, erinnya lyo lya lubeerera,
era n’obukulu bwo bumanyibwa emirembe gyonna.
14 (N)Kubanga Katonda aliggyako abantu be omusango,
era alisaasira abaweereza be.
15 Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza,
ebyakolebwa n’emikono gy’abantu mu ffeeza ne zaabu,
16 birina emimwa, naye tebyogera;
birina amaaso, naye tebiraba;
17 birina amatu naye tebiwulira;
so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka.
18 Ababikola balibifaanana;
na buli abyesiga alibifaanana.
19 Ayi ennyumba ya Isirayiri mutendereze Mukama;
mmwe ennyumba ya Alooni mutendereze Mukama.
20 Mmwe ennyumba ya Leevi mutendereze Mukama;
mmwe abatya Mukama mutendereze Mukama.
21 (O)Mukama ali mu Sayuuni yeebazibwe;
yeebazibwe oyo abeera mu Yerusaalemi.
Mutendereze Mukama.
136 (P)Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 (Q)Mwebaze Katonda wa bakatonda bonna,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
3 Mwebaze Mukama w’abafuzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
4 (R)Oyo yekka akola ebyamagero ebikulu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
5 (S)Oyo eyakola eggulu mu kutegeera kwe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
6 (T)Oyo eyabamba ensi ku mazzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
7 (U)Oyo eyakola ebyaka ebinene,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
8 (V)Enjuba yagikola okufuganga emisana,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
9 Omwezi n’emmunyeenye yabikola okufuganga ekiro,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
10 (W)Oyo eyatta ababereberye b’Abamisiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
11 (X)N’aggya Isirayiri mu Misiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
12 (Y)Yabaggyamu n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
13 (Z)Oyo eyayawulamu amazzi g’Ennyanja Emyufu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
14 (AA)N’ayisa abaana ba Isirayiri wakati waayo,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
15 (AB)Naye n’asaanyaawo Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emyufu;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
16 (AC)Oyo eyakulembera abantu be mu ddungu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
17 (AD)Ye yafufuggaza bakabaka abaatiikirivu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
18 (AE)N’atta bakabaka ab’amaanyi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
19 (AF)Ye yatta ne Sikoni, kabaka w’Abamoli,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
20 Era ye yatta ne Ogi kabaka wa Basani,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
21 (AG)N’awaayo ensi yaabwe okuba obutaka,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
22 Okuba obutaka bwa Isirayiri omuddu we,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
23 (AH)Oyo eyatujjukira nga tuweddemu ensa,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
24 (AI)N’atuwonya abalabe baffe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
25 (AJ)Oyo awa abantu n’ebiramu byonna ekyokulya,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
26 Kale mwebaze Katonda w’eggulu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
137 (AK)Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni,
ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.
2 Ne tuwanika ennanga zaffe
ku miti egyali awo.
3 (AL)Abaatunyaga ne batulagira okuyimba,
abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka;
nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”
4 Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama
mu nsi eteri yaffe?
5 Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi,
omukono gwange ogwa ddyo gukale!
6 (AM)Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange
singa nkwerabira,
ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako
okusinga ebintu ebirala byonna.
7 (AN)Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola,[a]
ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa;
ne baleekaana nti, “Kisuule,
kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”
8 (AO)Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa,
yeesiimye oyo alikusasula ebyo
nga naawe bye watukola.
9 (AP)Yeesiimye oyo aliddira abaana bo
n’ababetentera[b] ku lwazi.
Zabbuli Ya Dawudi.
138 (AQ)Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;
ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
2 (AR)Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,
ne ntendereza erinnya lyo
olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;
kubanga wagulumiza ekigambo kyo
n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
3 Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;
n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.
4 (AS)Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,
nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
5 Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;
kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.
6 (AT)Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,
naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
7 (AU)Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,
naye ggwe okuuma obulamu bwange;
ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,
era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
8 (AV)Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;
kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.
Tolekulira ebyo bye watonda.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
139 (AW)Ayi Mukama, okebedde omutima gwange,
n’otegeera byonna ebiri munda yange.
2 (AX)Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;
era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
3 (AY)Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange.
Omanyi amakubo gange gonna.
4 (AZ)Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,
okimanya nga sinnaba na kukyogera.
5 (BA)Ondi mu maaso n’emabega,
era ontaddeko omukono gwo.
6 (BB)Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde,
era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.
7 (BC)Nnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali?
Oba nnaagenda wa ggwe gy’otoli?
8 (BD)Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli;
bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli.
9 Bwe nneebagala empewo ez’oku makya ne zintwala
ne mbeera mu bitundu by’ennyanja ebisinga okuba ewala;
10 (BE)era n’eyo omukono gwo gunannuŋŋamya,
omukono gwo ogwa ddyo gunannywezanga.
11 Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire,
n’obudde obw’emisana bwe ndimu bufuuke ekiro.”
12 (BF)Naye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza,
ekiro kyakaayakana ng’emisana;
kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.
13 (BG)Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
14 (BH)Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
emirimu gyo gya kyewuunyo;
era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
15 (BI)Wammanya nga ntondebwa,
bwe nakolerwa mu kyama;
bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
16 Wandaba nga si natondebwa.
Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera
zawandiikibwa mu kitabo kyo.
17 (BJ)By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda!
Omuwendo gwabyo munene!
18 Singa ngezaako okubibala
bisinga omusenyu obungi.
Ne bwe ngolokoka mu makya
oba okyandowoozaako.
19 (BK)Abakola ebibi batte, Ayi Katonda;
abasajja abassi b’abantu banveeko.
20 (BL)Abantu abo bakwogerako bibi;
bakwegulumiririzaako mu butategeera bwabwe.
21 (BM)Abakukyawa, Ayi Mukama, nange mbakyawa;
abo abakwegulumiririzaako bansunguwaza.
22 Mbakyayira ddala nnyo,
era mbayita balabe bange.
23 (BN)Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange.
Ngezesa omanye ebirowoozo byange.
24 (BO)Olabe obanga mu nze mulimu engeri yonna enkyamu;
era onkulembere mu kkubo erintuusa mu bulamu obutaggwaawo.
Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
140 (BP)Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama,
omponye abantu abakambwe;
2 (BQ)abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;
abanoonya entalo buli kiseera.
3 (BR)Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;
ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.
4 (BS)Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;
omponye abantu abakambwe
abateesa okunkyamya.
5 (BT)Abantu ab’amalala banteze omutego;
banjuluzza ekitimba kyabwe;
ne batega emitego mu kkubo lyange.
6 (BU)Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”
Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
7 (BV)Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,
ggwe engabo yange mu lutalo.
8 (BW)Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,
era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;
baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.
9 (BX)Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe
zibeekyusizeeko baboneebone.
10 (BY)Amanda agaaka omuliro gabagwire;
basuulibwe mu muliro,
bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.
11 (BZ)Tokkiriza balimba kweyongera bungi;
abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.
12 (CA)Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.
13 (CB)Abatuukirivu banaakutenderezanga,
era w’oli we banaabeeranga.
Zabbuli Ya Dawudi.
141 (CC)Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi!
Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola.
2 (CD)Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go,
n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi.
3 Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange,
era bwe njogera onkomeko.
4 (CE)Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi,
n’okwemalira mu bikolwa ebibi;
nneme okwetaba n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu,
wadde okulya ku mmere yaabwe.
5 (CF)Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa;
muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange;
sijja kugagaana.
Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde n’ebikolwa byabwe.
6 Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango,
olwo ne balyoka bayiga nti ebigambo byange bya mazima.
7 (CG)Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike,
n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe.”
8 (CH)Naye nze amaaso ngatadde ku ggwe, Ayi Mukama Katonda;
mu ggwe mwe neekwese, tondeka nga sirina anambeera!
9 (CI)Nkuuma omponye omutego gwe banteze,
n’ebitimba by’abo abakola ebitali bya butuukirivu.
10 (CJ)Ebitimba bye banteze abakola ebibi abo bonna, baleke babigwemu, kyokka nze mpone.
Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.
142 (CK)Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;
neegayirira Mukama ansaasire.
2 (CL)Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,
ne mmwanjulira ebinteganya byonna.
3 (CM)Omwoyo gwange bwe gunnennyika,
gw’omanyi eky’okunkolera.
Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
4 (CN)Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;
sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.
5 (CO)Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,
nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,
ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”
6 (CP)Owulire okukaaba kwange,
kubanga njeezebwa nnyo!
Mponya abanjigganya,
kubanga bansinza nnyo amaanyi.
7 (CQ)Nziggya mu kkomera,
ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo.
Abatuukirivu balinneetooloola,
ng’onkoledde ebyekisa ekingi ebingi.
Zabbuli Ya Dawudi.
143 (CR)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
wulira okwegayirira kwange!
Ggwe omwesigwa
era omutuukirivu jjangu ombeere.
2 (CS)Tonsalira musango,
kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
3 Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi;
anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
4 (CT)Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi,
n’omutima gwange gwennyise.
5 (CU)Nzijukira ennaku ez’edda,
ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna,
ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
6 (CV)Ngolola emikono gyange gy’oli,
ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.
7 (CW)Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama,
kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi.
Tonkisa maaso go,
nneme okufaanana ng’abafu.
8 (CX)Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo;
kubanga ggwe gwe neesiga.
Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu,
kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
9 (CY)Mponya, Ayi Mukama, abalabe bange,
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
10 (CZ)Njigiriza okukola by’oyagala,
kubanga ggwe Katonda wange!
Omwoyo wo omulungi ankulembere,
antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.
11 (DA)Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume,
mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.
12 (DB)Omalewo abalabe bange olw’okwagala kwo,
ozikirize n’abanjigganya bonna,
kubanga nze ndi muddu wo.
Zabbuli ya Dawudi.
144 (DC)Atenderezebwe Mukama, olwazi lwange,
atendeka emikono gyange okulwana,
era ateekerateekera engalo zange olutalo.
2 (DD)Mukama anjagala ye Katonda wange era kye kiddukiro kyange,
ge maanyi gange amangi era ye mulokozi wange.
Ye ngabo yange mwe neekweka.
Awangula amawanga n’agassa wansi w’ebigere byange.
3 (DE)Ayi Mukama, omuntu kye ki ggwe okumufaako,
oba omwana w’omuntu, ggwe okumulowoozaako?
4 (DF)Omuntu ali nga mukka.
Ennaku ze ziri ng’ekisiikirize ekiyita obuyisi.
5 (DG)Yawula mu ggulu lyo, Ayi Mukama, okke!
Kwata ku nsozi zinyooke omukka!
6 (DH)Myansa abalabe basaasaane,
era lasa obusaale bwo obazikirize.
7 (DI)Ogolole omukono gwo ng’osinziira waggulu ennyo,
omponye,
onzigye mu mazzi amangi,
era onzigye mu mikono gya bannamawanga;
8 (DJ)ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
abalayira nti kya mazima, so nga bulimba bwereere.
9 (DK)Ayi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya;
nnaakukubiranga ennanga ey’enkoba ekkumi,
10 (DL)ggwe awa bakabaka obuwanguzi;
amponya, nze omuddu wo Dawudi, ekitala ekyogi.
11 (DM)Ndokola, omponye onzigye
mu mukono gwa bannamawanga bano
ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
era omukono gwabwe ogwa ddyo gwa bulimba.
12 (DN)Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama,
babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi,
ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda
okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.
13 Amawanika gaffe gajjule ebibala
ebya buli ngeri.
Endiga zaffe zizaale
enkumi n’obukumi zijjule amalundiro gaffe.
14 Ente zaffe ziwalule ebizito.
Ebisenge by’ekibuga bireme kumenyebwa.
Waleme kubaawo kukaaba
n’okwaziirana kwonna mu nguudo ez’omu bibuga byaffe.
15 (DO)Abantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye!
Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.
Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza.
145 (DP)Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;
era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
2 (DQ)Nnaakutenderezanga buli lunaku;
era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.
3 (DR)Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
n’obukulu bwe tebwogerekeka.
4 (DS)Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,
era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
5 (DT)Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,
era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
6 (DU)Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,
nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
7 (DV)Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;
era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.
8 (DW)Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.
9 (DX)Mukama mulungi eri buli muntu,
era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 (DY)Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
era banaatendanga amaanyi go.
12 (DZ)Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 (EA)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.
Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 (EB)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
era ayimusa bonna abagwa.
15 (EC)Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 (ED)Oyanjuluza engalo zo,
ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.
17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
era ayagala byonna bye yatonda.
18 (EE)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 (EF)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 (EG)Mukama akuuma bonna abamwagala,
naye abakola ebibi alibazikiriza.
21 (EH)Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,
era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu
emirembe n’emirembe.
146 (EI)Tendereza Mukama!
Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!
2 (EJ)Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;
nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.
3 (EK)Teweesiganga bafuzi,
wadde abantu obuntu omutali buyambi.
4 (EL)Kubanga bafa ne bakka emagombe;
ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.
5 (EM)Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;
ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,
6 (EN)eyakola eggulu n’ensi
n’ennyanja ne byonna ebirimu,
era omwesigwa emirembe gyonna.
7 (EO)Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,
n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.
Mukama asumulula abasibe.
8 (EP)Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,
era awanirira abazitoowereddwa.
Mukama ayagala abatuukirivu.
9 (EQ)Mukama alabirira bannamawanga,
era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;
naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.
10 (ER)Mukama anaafuganga emirembe gyonna,
Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.
Mutendereze Mukama!
147 (ES)Mutendereze Mukama!
Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe;
kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.
2 (ET)Mukama azimba Yerusaalemi;
era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse.
3 Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese,
era ajjanjaba ebiwundu byabwe.
4 (EU)Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye;
era buli emu n’agituuma erinnya.
5 (EV)Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka,
n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.
6 (EW)Mukama awanirira abawombeefu,
naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.
7 (EX)Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza;
mumukubire entongooli ezivuga obulungi.
8 (EY)Mukama abikka eggulu n’ebire,
ensi agitonnyeseza enkuba,
n’ameza omuddo ne gukula ku nsozi.
9 (EZ)Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.
10 (FA)Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi,
wadde mu magulu g’omuntu,
11 wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa,
era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.
12 Tendereza Mukama ggwe Yerusaalemi,
tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni,
13 kubanga ebisiba enzigi zo, ye abinyweza,
n’abantu bo abasulamu n’abawa omukisa.
14 (FB)Aleeta emirembe ku nsalo zo;
n’akukkusa eŋŋaano esinga obulungi.
15 (FC)Aweereza ekiragiro kye ku nsi;
ekigambo kye ne kibuna mangu.
16 (FD)Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ng’ebyoya by’endiga enjeru,
n’omusulo ogukutte n’agusaasaanya ng’evvu.
17 Omuzira agukanyuga ng’obuyinjayinja;
bw’aleeta obutiti ani ayinza okubusobola?
18 (FE)Mukama aweereza ekigambo kye, omuzira ne gusaanuuka;
n’akunsa empewo, amazzi ne gakulukuta.
19 (FF)Yategeeza Yakobo ekigambo kye;
Isirayiri n’amanya amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye.
20 (FG)Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo;
amawanga amalala tegamanyi mateeka ge.
Mutendereze Mukama!
148 Mutendereze Mukama!
Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,
mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.
2 (FH)Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,
mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.
3 Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,
nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.
4 (FI)Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,
naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.
5 (FJ)Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!
Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
6 (FK)Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,
n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.
7 (FL)Mumutendereze nga musinziira ku nsi,
mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,
8 (FM)mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,
naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,
9 (FN)mmwe agasozi n’obusozi,
emiti egy’ebibala n’emivule;
10 ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,
ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,
11 bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,
abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,
12 abavubuka abalenzi n’abawala;
abantu abakulu n’abaana abato.
13 (FO)Bitendereze erinnya lya Mukama,
kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;
ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.
14 (FP)Abantu be abawadde amaanyi,
era agulumizizza abatukuvu be,
be bantu be Isirayiri abakolagana naye.
Mutendereze Mukama.
149 (FQ)Mutendereze Mukama!
Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu.
2 (FR)Isirayiri asanyukirenga eyamutonda;
n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe!
3 (FS)Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina,
bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa.
4 (FT)Kubanga Mukama asanyukira abantu be,
n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi.
5 (FU)Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino;
bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu.
6 (FV)Batenderezenga Katonda waabwe,
bakwate ekitala eky’obwogi obubiri,
7 bawoolere eggwanga,
babonereze n’amawanga,
8 bateeke bakabaka baago mu njegere,
n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma,
9 (FW)babasalire omusango ogwabawandiikirwa.
Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna.
Mutendereze Mukama.
150 (FX)Mutendereze Mukama!
Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu;
mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi.
2 (FY)Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge;
mumutendereze olw’obukulu bwe obusukkiridde.
3 (FZ)Mumutendereze n’eddoboozi ery’ekkondeere,
mumutendereze n’ennanga ey’enkoba n’endere.
4 (GA)Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina;
mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere!
5 (GB)Mumutendereze nga mukuba ebitaasa;
mumutendereze n’ebitaasa ebivuga ennyo!
6 (GC)Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama!
Mutendereze Mukama.
1 (GD)Engero za Sulemaani, mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri.
2 Yaziwandiika okuyigiriza abantu okuba n’amagezi n’okuyiga,
era n’okutegeera ebigambo eby’obulabufu; eby’obulamu eby’amagezi n’empisa.
3 Sulemaani yayagala abantu okuba n’empisa, n’obulamu obw’amagezi,
okukolanga ebituufu, n’okubeera abenkanya n’okugobereranga ensonga;
4 (GE)okuyigiriza amagezi abatalina bumanyirivu,
n’abavubuka okufuna okumanya n’okutegeera.
5 (GF)N’abantu ab’amagezi nabo bwe bawulira beeyongere okuyiga
n’abategeevu beeyongere okubangulwa.
6 (GG)Era engero zino zaawandiikibwa okutegeera engero,
enjogera n’ebikokyo.
7 (GH)Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,
naye abasirusiru banyooma amagezi n’okulagirirwa.
Amagezi eri Abavubuka
8 (GI)Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo,
era tolekanga kukuutira kwa maama wo;
9 (GJ)bijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa,
n’emikuufu mu bulago bwo.
10 (GK)Mwana wange abakozi b’ebibi bwe bakusendasendanga,
tokkirizanga.
11 (GL)Bwe bakugambanga nti, “Tugende ffenna twesanyuse,
tunyage, tubbe n’okutta;
tokkirizanga;
12 (GM)ng’entaana bw’emira abantu, naffe tubamire tutyo nga bakyali balamu,
era nga balamba, ng’abagenda mu bunnya obuwanvu;
13 nga twefunira eby’obugagga bye tutakoleredde,
ne tujjuza amayumba gaffe obugagga obubbe;
14 ng’ababi batuyita tubeegatteko,
tugabane kyenkanyi ebibbe n’ebinyage.”
15 (GN)Mwana wange totambuliranga wamu nabo,
era ekigere kyo kiziyize okukwatanga ekkubo lyabwe:
16 (GO)Kubanga ebigere byabwe bidduka bunnambiro okukola ebibi,
era kibanguyira okuyiwa omusaayi.
17 Nga kuba kumala biseera okutega omutego,
ng’ekinyonyi ky’oyagala okukwata kikulaba,
18 naye abantu ng’abo baba beetega bokka,
baba beetega omutego ogunaabakwasa bo bennyini.
19 (GP)Bwe lityo bwe libeera ekkubo lya buli muntu anoonya okugaggawalira mu bukyamu.
Obugagga obw’engeri eyo busaanyaawo obulamu bw’abo ababufuna.
Okulabula Eri Abanyooma Amagezi
20 (GQ)Amagezi galeekaanira waggulu mu nguudo;
gayimusa amaloboozi gaago, mu bifo ebigazi eby’omu bibuga.
21 Ne galeekaanira waggulu, mu kifo enguudo ennene we zisisinkanira,
era gasinzira mu miryango gy’ekibuga ne googera:
22 (GR)Mulituusa ddi mmwe ab’amagezi amatono obutayagala kweyongera kuyiga by’amagezi,
nammwe ab’amalala okunyoomanga eby’amagezi n’abasirusiru okukyawanga okumanya?
23 Kale singa muwuliriza okunenya kwange,
laba, ndifuka omutima gwange
n’ebirowoozo byange mu mmwe.
24 (GS)Kubanga na bayita ne mugaana okuwuliriza,
ne ngolola omukono ne wataba n’omu afaayo,
25 era ne mutafaayo ku magezi ge nabawa,
era ne mugaana okubuulirira kwange kwonna,
26 (GT)kale nange ndibasekerera nga muli mu nnaku,
era mbakudaalire ng’entiisa ebagwiridde.
27 Entiisa bw’eribajjira ng’omuyaga omungi,
ennaku n’okubonaabona, okulumwa n’obubalagaze,
28 (GU)kale balinkoowoola, naye siriyitaba;
balinnoonya obutaweera naye ne batandaba.
29 (GV)Kubanga baakyawa okuyigirizibwa, n’okumanya,
era ne bamalirira obutatya Mukama.
30 (GW)Ne bagaana okuwuliriza amagezi gange;
ne banyooma okunenya kwange kwonna.
31 (GX)Kyebaliva balya ebibala eby’ekkubo lyabwe ebbi,
era ne bajjula ebibala eby’enkwe zaabwe.
32 (GY)Obusirusiru bulitta ab’amagezi amatono
n’obutafaayo bulizikiriza abasirusiru,
33 (GZ)naye buli ampuliriza anaabeeranga mirembe,
ng’agumye nga talina kutya kwonna.
Empeera y’Okunoonya Amagezi
2 Mwana wange, bw’onookwatanga ebigambo byange,
n’otereka ebiragiro byange mu bulamu bwo,
2 (HA)era n’ossaayo omwoyo eri amagezi,
era n’ossa omutima gwo eri okutegeera,
3 ddala ddala singa oyaayaanira okumanya
era n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,
4 (HB)bw’onooganoonyanga nga ffeeza,
era n’oganoonyanga ng’ekyobugagga ekyakwekebwa,
5 (HC)awo w’olitegeerera okutya Mukama,
era n’ovumbula okumanya Katonda.
6 (HD)Kubanga Mukama awa amagezi;
era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.
7 (HE)Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi,
era aba ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.
8 (HF)Abatambuliza mu makubo ag’obwenkanya,
era bw’atyo Mukama akuuma ekkubo ly’abatukuvu be.
9 Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya;
weewaawo buli kkubo eddungi.
10 (HG)Kubanga amagezi galiyingira mu mutima gwo,
n’okumanya kulisanyusa omwoyo gwo.
11 (HH)Okwesalirawo obulungi kunaakulabiriranga
n’okutegeera kunaakukuumanga:
12 Amagezi ganaakuwonyanga ekkubo ly’omubi,
n’abantu aboogera eby’obugwagwa,
13 (HI)abaleka amakubo ag’obutuukirivu
ne batambulira mu makubo ag’ekizikiza,
14 (HJ)abasanyukira okukola ebikolwa ebibi,
abanyumirwa eby’obusirusiru,
15 (HK)abantu abo be b’amakubo amakyamu,
era abakujjukujju mu ngeri zaabwe.
16 (HL)Amagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi,
n’okukuwonya ebigambo bye ebisendasenda,
17 (HM)eyaleka bba ow’omu buvubuka bwe
era eyeerabira endagaano gye yakola mu maaso ga Katonda we.
18 (HN)Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa,
n’amakubo ge galaga eri abafu.
19 (HO)Tewali n’omu agenda ewuwe adda
wadde okufunirayo amakubo g’obulamu.
20 Kale tambuliranga mu kkubo ly’abo abatya Katonda
era onywerere mu makubo g’abatuukirivu.
21 (HP)Kubanga abatuukirivu balituula mu nsi,
era abo abagolokofu baligisigalamu.
22 (HQ)Naye abakozi b’ebibi balifiirwa ebirungi eby’ensi,
n’abatali beesigwa balizikirizibwa.
Emikisa Egiva mu kuba n’amagezi
3 (HR)Mwana wange, teweerabiranga bintu bye nakuyigiriza,
era okuumanga ebiragiro byange mu mutima gwo,
2 (HS)kubanga bijja kuwangaaza obulamu bwo ku nsi,
era bikukulaakulanye.
3 (HT)Amazima n’ekisa tobyerabiranga;
byesibe mu bulago bwo,
obiwandiike ku mutima gwo.
4 (HU)Bw’otyo bw’onoofuna okuganja n’okusiimibwa
eri Katonda n’eri abantu.
5 (HV)Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna,
so teweesigamanga ku magezi go gokka.
6 (HW)Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna,
naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula.
7 (HX)Amagezi go tegakusigulanga,
naye otyanga Mukama, era weewale okukola ebibi.
8 (HY)Onoofunanga obulamu mu mubiri gwo
n’amagumba go ne gadda buggya.
Amagezi n’Obugagga
9 (HZ)Mukama mugulumizenga n’eby’obugagga byo; n’ebibala ebisooka eby’ebintu byo byonna eby’omu nnimiro yo,
10 (IA)olwo amaterekero go lwe ganajjulanga ebintu enkumu,
era n’amasenero go ne gajjula ne gabooga omwenge omusu.
11 (IB)Mwana wange tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama,
n’okunenya kwe kulemenga okukukooya,
12 (IC)kubanga Mukama anenya oyo gw’ayagala,
nga kitaawe w’omwana bw’anenya mutabani we gwe yeenyumiririzaamu.
13 Aweereddwa omukisa oyo afuna amagezi,
omuntu oyo afuna okutegeera,
14 (ID)kubanga amagezi gasinga ffeeza
era galimu amagoba okusinga zaabu.
15 (IE)Amagezi ga muwendo mungi okusinga amayinja ag’omuwendo omungi:
era tewali kyegombebwa kiyinza kugeraageranyizibwa nago.
16 (IF)Mu mukono gwago ogwa ddyo mwe muli obuwanguzi;
ne mu mukono gwago ogwa kkono ne mubaamu obugagga n’ekitiibwa.
17 (IG)Mu magezi mulimu essanyu,
era n’amakubo gaago ga mirembe.
18 (IH)Amagezi muti gwa bulamu eri abo abagakwata ne baganyweza;
abo abagakwata ne baganyweza baliweebwa omukisa.
19 (II)Amagezi, Mukama ge yakozesa okuteekawo emisingi gy’ensi;
n’okutegeera kwe yakozesa okuteekawo eggulu;
20 n’okumanya kwe, kwe yakozesa okwawula obuziba bw’ennyanja,
era n’ebire ne bivaamu omusulo.
Ab’amagezi Baweebwa Ekitiibwa
21 (IJ)Mwana wange, beeranga n’okuteesa okulungi n’okusalawo ebisaana,
ebyo biremenga okukuvaako,
22 (IK)binaabeeranga obulamu eri emmeeme yo,
era ekyokwambala ekirungi ekinaawoomesanga obulago bwo.
23 (IL)Bw’otyo bw’onootambulanga nga onyweredde mu kkubo lyo,
era ekigere kyo tekijjanga kwesittala.
24 (IM)Bw’onoogalamiranga toobenga na kutya,
weewaawo bw’oneebakanga otulo tunaakuwoomeranga.
25 Totyanga kabenje kootomanyiridde,
wadde okuzikirira okujjira abakozi b’ebibi,
26 (IN)Kubanga Mukama y’anaabeeranga obwesigwa bwo,
era anaalabiriranga ekigere kyo ne kitakwatibwa mu mutego.
27 Tommanga birungi abo be bisaanira
bwe kibeera mu buyinza bwo okukikola.
28 (IO)Togambanga muliraanwa wo nti,
“Genda, onodda enkya ne nkuwa,”
ate nga kye yeetaaga okirina.
29 Totegekanga kukola bulabe ku muliraanwa wo,
atudde emirembe ng’akwesiga.
30 Tovunaananga muntu n’omu awatali nsonga
nga talina kabi k’akukoze.
31 (IP)Tokwatirwanga obuggya omuntu ayigganya abalala,
era tokolanga nga ye bw’akola,
32 (IQ)kubanga omuntu omugwagwa wa muzizo eri Mukama,
naye abo abagolokofu abalinamu obwesige.
33 (IR)Ekikolimo kya Mukama kiri ku nnyumba y’ababi,
naye awa omukisa ennyumba y’abatuukirivu.
34 (IS)Ddala ddala, Mukama anyooma abanyoomi,
naye abeetoowaza abawa ekisa.
35 Ab’amagezi balisikira ekitiibwa,
naye abasirusiru baliswazibwa.
Amagezi ge gali ku Ntikko
4 (IT)Muwulirize baana bange okuyigiriza kwange ng’okwa kitammwe,
era musseeyo omwoyo mufune okutegeera.
2 Kubanga mbawa okuyigiriza okulungi;
temulekanga biragiro byange.
3 Bwe nnali omuvubuka nga ndi ne kitange,
omwana omu yekka omwagalwa, owa mmange,
4 (IU)yanjigiriza n’aŋŋamba nti, “Ebigambo byange bikuumenga ku mutima gwo,
kuuma ebiragiro byange obeere mulamu.
5 (IV)Funa amagezi; funa okutegeera,
teweerabiranga era tovanga ku bigambo bya mu kamwa kange.
6 (IW)Togalekanga, nago ganaakukuumanga,
gaagale nago ganaakulabiriranga.
7 (IX)Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu;
noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera.
8 (IY)Amagezi gagulumize, nago gajja kukuyimusa,
gaanirize, nago gajja kukuweesa ekitiibwa.
9 (IZ)Amagezi gajja kukutikkira engule ey’ekisa,
era gakuwe n’engule ey’ekitiibwa.”
Enjawulo wakati w’Ab’amagezi n’Abagwenyufu
10 (JA)Wuliriza ggwe, mutabani, era okkirize ebigambo byange
olyoke owangaalire ku nsi n’essanyu eringi.
11 (JB)Nkuluŋŋamya mu kkubo ery’amagezi,
ne nkukulembera mu makubo ag’obutuukirivu.
12 (JC)Bw’onootambulanga, ekigere kyo kireme okuziyizibwa;
era bw’onoddukanga, tojjanga kwesittala.
13 (JD)Nywerezanga ddala okuyigirizibwa, tokutanga:
kukuumenga kubanga bwe bulamu bwo.
14 (JE)Toyingiranga mu kkubo ly’abakozi b’ebibi,
wadde okutambulira mu kkubo ly’abantu aboonoonyi.
15 Lyewalenga, tolitambulirangamu,
liveeko okwate ekkubo lyo.
16 (JF)Kubanga abakozi b’ebibi tebayinza kwebaka okuggyako nga bakoze ebibi,
era otulo tubabulira ddala bwe baba tebalina gwe bakozeeko bulabe.
17 Okukola ebibi y’emmere yaabwe,
n’okukozesa eryanyi kye kyokunywa kyabwe.
18 (JG)Ekkubo ly’abatuukirivu liri ng’enjuba eyakavaayo,
eyeeyongera okwaka okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.
19 (JH)Naye ekkubo ly’ababi liri ng’ekizikiza ekikutte,
tebamanyi kibaleetera kwesittala.
20 (JI)Mutabani wange wuliriza n’obwegendereza ebigambo byange;
osseeyo omwoyo eri bye nkutegeeza;
21 (JJ)ebigambo bino tebikuvangako,
bikuumire ddala mu mutima gwo,
22 (JK)kubanga bya bulamu eri abo ababifuna,
era biwonya omubiri gwabwe gwonna.
23 (JL)Ekisinga byonna kuuma omutima gwo,
kubanga y’ensulo y’obulamu bwo.
24 Weewalire ddala eby’obubambavu
era n’okwogera ebya swakaba.
25 Amaaso go gatunulenga butereevu,
era otunulenga n’obumalirivu eyo gy’olaga.
26 (JM)Ttereeza bulungi amakubo go;
okwate amakubo ageesigika gokka.
27 (JN)Tokyamanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono;
ebigere byo byewalenga ekkubo ekyamu.
Okulabula ku Bwenzi
5 (JO)Mutabani, ossangayo omwoyo eri ebiragiro byange,
era owulirizanga bulungi ebigambo byange eby’amagezi,
2 olyoke oyige okusalawo okw’amagezi,
era akamwa ko kavengamu eby’obutegevu.
3 (JP)Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki,
n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;
4 (JQ)naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa
era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.
5 (JR)Ebigere bye bituuka mu kufa,
ebisinde bye biraga emagombe.
6 (JS)Tafaayo ku kkubo lya bulamu,
amakubo ge gaakyamakyama dda, naye nga takimanyi.
7 (JT)Kaakano, batabani bange mumpulirize,
temuvanga ku bigambo bya kamwa kange.
8 (JU)Mwewalenga omukazi oyo
era temusembereranga luggi lwa nnyumba ye;
9 si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe,
n’okumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima,
10 ate si kulwa nga b’otolina ky’obamanyiiko bakwavuwaza,
n’amaanyi go n’ogamalira ku maka g’omulala.
11 Ku nkomerero y’obulamu bwo olisinda,
ennyama yo n’omubiri gwo nga biweddewo.
12 (JV)Oligamba nti, “Nga nakyawa okulabulwa,
n’omutima gwange ne gukyawa okunenyezebwa,
13 era ne sigondera ddoboozi ly’abasomesa bange,
wadde okussaayo omwoyo eri abo abampanga amagezi.
14 Ntuuse ku njegoyego z’okuzikirira
nga ndi wakati mu kuŋŋaaniro ly’ekibiina.”
Obuvunaanyizibwa n’Essanyu mu Bufumbo
15 Onoonywanga amazzi ag’omu kidiba kyo,
n’amazzi agava mu luzzi lwo goonoonywanga.
16 Ensulo zo zisaanye okukulukutira mu nguudo,
n’enzizi zo mu bifo ebigazi eby’omu kibuga?
17 Leka bibeere bibyo wekka,
bireme kugabanibwako b’otomanyiiko n’akamu.
18 (JW)Kale leka ensulo yo ebeere n’omukisa,
era osanyuke ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo.
19 (JX)Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa,
leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.
20 Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi,
n’ogwa mu kifuba ky’omukazi w’omusajja omulala?
21 (JY)Kubanga Mukama alaba amakubo g’omuntu gonna,
era n’akebera n’amakubo ge gonna.
22 (JZ)Ebikolwa by’omukozi w’ebibi bimufuukira omutego,
era emiguwa gy’ebikolwa bye ebibi girimusibira ddala.
23 (KA)Alifa, kubanga yagaana okwekuuma,
era alizikirira olw’obusirusiru bwe obungi.
Okulabula ku Butamanya n’Obusirusiru
6 (KB)Mutabani obanga weeyimirira muliraanwa wo,
ne weeyama okuyamba omuntu gw’otomanyi, oli mu katyabaga.
2 Obanga weesibye n’ebigambo ggwe kennyini bye wayogera,
ng’ebigambo by’omu kamwa ko bikusibye,
3 kino mwana wange ky’oba okola okusobola okwewonya,
kubanga kaakano oli mu buyinza bwa muliraanwa wo:
Yanguwa, ogende weetoowaze,
weegayirire muliraanwa wo.
4 (KC)Amaaso go togaganya kwebaka,
wadde ebikowe byo okubongoota.
5 (KD)Onunule obulamu bwo ng’empeewo bw’edduka okuva mu ngalo z’omuyizzi,
era ng’ekinyonyi, bwe kiva mu mutego gw’omutezi.
6 (KE)Yigira ku biwuka, mugayaavu ggwe;
fumiitiriza engeri gye bikolamu obiyigireko.
7 Tebirina mukulembeze,
mukungu oba mufuzi yenna abikulembera,
8 (KF)kyokka byekuŋŋaanyiza emmere mu biseera eby’amakungula,
ne bitereka emmere mu biseera ebituufu mu mwaka.
9 (KG)Olituusa ddi okwebaka mugayaavu ggwe?
Oligolokoka ddi n’ova mu tulo two?
10 (KH)Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,
n’okufunya emikono okuwummulako,
11 (KI)obwavu bulikutuukako ng’omutemu,
era n’obwetaavu ng’omutemu.
Okulabula eri Omuntu Omutabuzitabuzi
12 Omuntu ataliiko ky’agasa, omusajja omubi
agenda ayogera ebigambo ebitabulatabula,
13 (KJ)agenda atemyatemya ku liiso,
nga bw’akuba ebigere
ate nga bw’asongasonga olunwe,
14 (KK)olw’omutima omukyamu, ateekateeka okukola ebibi,
bulijjo aleeta obutakkaanya mu bantu!
15 (KL)Noolwekyo okuzikirira kulimujjira mbagirawo,
mu kaseera buseera alibetentebwa awatali kuwona.
Okulabula ku Bibi Omusanvu
16 Waliwo ebintu mukaaga Mukama by’akyawa,
weewaawo musanvu eby’omuzizo gy’ali.
17 (KM)Amaaso ag’amalala,
emimwa egirimba,
okuttira abantu obwereere;
18 (KN)omutima ogutegeka okukola ebibi,
ebigere ebyanguwa okukola ebibi,
19 (KO)obujulizi obw’obulimba,
n’omuntu aleeta obutakkaanya mu booluganda.
Okulabula Ku Bwenzi
20 (KP)Mwana wange nyweza ebiragiro bya kitaawo,
era togayaalirira kuyigiriza kwa maama wo.
21 (KQ)Bisibenga ku mutima gwo ennaku zonna
era obisibe binywerere mu bulago bwo.
22 Bijja kukuluŋŋamyanga buli gy’onoolaganga,
ne bw’onoobanga weebase binaakukuumanga,
ate ng’ozuukuse binaabanga naawe.
23 (KR)Kubanga amateeka ttabaaza,
era n’okuyigiriza kitangaala,
okukulabula olw’okukuluŋŋamya,
ly’ekkubo ery’obulamu,
24 (KS)okukuwonya omukazi ow’ebibi,
okukuggya mu kunyumiikiriza kw’omukazi omwenzi.
25 Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo,
wadde okumukkiriza okukuwamba n’amaaso ge,
26 (KT)kubanga malaaya akussa ku muwendo ogugula omugaati,
era omukazi omwenzi anoonya kuzikiririza ddala bulamu bwo.
27 Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye,
ebyambalo bye ne bitaggya?
28 Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya,
ebigere bye ne bitasiriira?
29 (KU)Bwe kityo bwe kiri eri omusajja agenda ne muka muliraanwa we,
buli akwata ku mukazi ng’oyo talirema kubonerezebwa olw’ekibi kye.
30 Abantu tebasekerera muntu bw’abba,
olw’okwewonya enjala.
31 (KV)Naye bwe bamukwata aba alina okuwa engassi ya mirundi musanvu;
ne bwe kiba nga kimumalako ebintu bye byonna eby’omu nju ye.
32 (KW)Naye buli ayenda ku mukazi talina magezi;
kubanga azikiririza ddala emmeeme ye ye.
33 (KX)Alifuna ebiwundu n’okunyoomebwa;
n’obuswavu tebulimusangulibwako.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.