1 Bassekabaka 4:29-34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Amagezi ga Sulemaani
29 (A)Katonda n’awa Sulemaani amagezi n’okutegeera kungi nnyo n’obugunjufu bungi, ng’omusenyu oguli ku mabbali g’ennyanja. 30 (B)Amagezi ga Sulemaani gaali mangi nnyo okukira ag’abasajja bonna ab’ebuvanjuba[a], ate n’okusinga ago ag’e Misiri. 31 (C)Yali mugezi okukira abantu bonna, era n’okukira Esani Omwezulaki, ne Kemani, ne Kalukoli ne Daluda batabani ba Makoli, era erinnya lye ne lyatiikirira mu mawanga gonna ageetoolodde. 32 (D)Yagera engero enkumi ssatu, n’ennyimba ze zaali lukumi mu ttaano. 33 Yayogera ku bulamu bwe bimera, okuva ku muvule gwa Lebanooni okutuuka ku ezobu amera ku bbugwe. Ate era yayogera ne ku nsolo n’ennyonyi, n’ebyewalula n’ebyennyanja. 34 (E)Era abantu bangi okuva mu mawanga gonna ne bajjanga okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, nga batumiddwa bakabaka okuva mu nsi yonna, abaali bawulidde ku magezi ge.
Read full chapterFootnotes
- 4:30 Ekitundu eky’Obuvanjuba kitegeeza amawanga g’Abawalabu abaabeeranga mu buvanjuba bwa Bufirisuuti
Engero 10:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Engero za Sulemaani
10 (A)Engero za Sulemaani:
Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe;
naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.
Engero 25:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Engero Endala Eza Sulemaani
25 (A)Zino nazo ngero za Sulemaani abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baakoppolola.
Read full chapter
Omubuulizi 1:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Obutaliimu bw’Amagezi g’Abantu
1 (A)Ebigambo by’Omubuulizi, mutabani wa Dawudi kabaka mu Yerusaalemi.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.