Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okubikkulirwa 17-19

Omukazi eyali Yeebagadde Ekisolo

17 (A)Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu n’ajja n’ayogera nange, n’aŋŋamba nti, “Jjangu nkulage ebigenda okutuuka ku mukazi malaaya omukulu atudde ku mazzi amangi. (B)Bakabaka ab’oku nsi bayenda naye n’abantu ab’oku nsi banywa omwenge ogw’obwenzi bwe ne batamiira.”

(C)Bw’atyo malayika n’antwala mu mwoyo, mu ddungu, ne ndaba omukazi ng’atudde ku kisolo ekimyufu ekyalina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi, okwali kuwandiikiddwa amannya agavvoola Katonda. (D)Omukazi yali ayambadde engoye bbiri olugoye olumyufu n’olwa kakobe era ng’alina n’ebintu ebirala eby’omuwendo, nga zaabu n’amayinja ag’omuwendo, era ng’akutte mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu nga kijjudde eby’omuzizo byonna eby’obwenzi bwe. (E)Ebiwandiiko eby’ekyama byali biwandiikiddwa ku kyenyi kye nga bigamba nti:

Babulooni Ekibuga Ekikulu

Nnyina wa Bamalaaya bonna,

era Nnyina w’Eby’emizizo mu nsi.

(F)Ne ndaba omukazi ng’atamidde omusaayi gw’abatukuvu, awamu n’ogw’abajulirwa abattibwa olwa Yesu.

Bwe namulaba ne neewuunya. (G)Malayika n’ambuuza nti, “Lwaki weewuunya? Nzija kukunnyonnyola ebyama eby’omukazi oyo era n’ekisolo kw’atudde ekirina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi. (H)Ekisolo kye walabye kyaliwo, naye kaakano tekikyaliwo era mu bbanga ttono kiriggyibwa mu bunnya obutakoma kiryoke kizikirizibwe. Abantu abali ku nsi amannya gaabwe nga tegawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu okuva ensi lwe yatondebwa, balyewuunya okulaba ekisolo ekyaliwo, ne kitabeerawo, ate ne kiddamu okubeerawo.

(I)“Kale kyetaaga amagezi n’okutegeera. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu omukazi kw’atudde, era be bakabaka omusanvu. 10 Abataano baagwa, omu y’aliwo kaakano, naye omulala tannajja wabula bw’anajja kimugwanira okubeerawo ekiseera kitono. 11 (J)Ekisolo ekyaliwo, kaakano nga tekikyaliwo, ky’eky’omunaana, kyokka kiri nga biri omusanvu; era nakyo kirizikirizibwa.

12 (K)“Amayembe ekkumi ge walaba be bakabaka ekkumi abatannaweebwa buyinza kufuga; balirondebwa okufugira wamu n’ekisolo okumala essaawa emu. 13 (L)Bonna bassa kimu era baliwa ekisolo ekikambwe, amaanyi n’obuyinza bwabwe. 14 (M)Bano balyegatta wamu okulwanyisa Omwana gw’Endiga, kyokka Omwana gw’Endiga alibawangula kubanga ye Mukama wa bakama era Kabaka wa bakabaka, abali awamu naye be yayita era abalonde be abeesigwa.”

15 (N)Awo malayika n’aŋŋamba nti, “Amazzi ge walaba omukazi omwenzi kw’atudde, be bantu n’ebibinja by’abantu aba buli kika n’aba buli lulimi. 16 (O)Ekisolo n’amayembe ekkumi bye walaba birikyawa omukazi oyo ne bimulumba ne bimulwanyisa, era birimuleka bwereere nga talina ky’ayambadde ne birya omubiri gwe, ne bimwokya n’omuliro. 17 (P)Kubanga Katonda ye yakibiwa bituukirize ebyo bye yasiima okukola, n’okukola n’omwoyo gumu n’okuwa obwakabaka bwabwe ekisolo ekyo okutuusa ekigambo kya Katonda lwe kirituukirira. 18 (Q)Ate omukazi gwe walabye, ky’ekibuga ekikulu ekifuga bakabaka bonna ab’oku nsi.”

Okugwa kwa Babulooni

18 (R)Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu n’obuyinza obungi ennyo era ensi n’eyakaayakana olw’ekitiibwa kye yalina. (S)N’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“Babulooni ekibuga ekikulu kigudde! kigudde!
    Kifuuse empuku ya baddayimooni,
n’ekkomera lya buli mwoyo ogutali mulongoofu,
    n’ekkomera erya buli nnyonyi etali nnongoofu,
    n’ekkomera erya buli kisolo ekitali kirongoofu, ebyakyayibwa.
(T)Kubanga amawanga gonna gaanywa ku mwenge gw’obwenzi bwe.
    Bakabaka ab’omu nsi bonna baayenda naye.
Era abasuubuzi ab’omu nsi yonna
    bagaggawadde olw’obulamu bwe obw’okwejalabya.”

(U)Ne mpulira eddoboozi eddala nga lyogera okuva mu ggulu nga ligamba nti,

“ ‘Mmwe abantu bange muve mu kibuga ekyo’
    muleme kwegatta mu bibi bye,
    muleme kubonerezebwa wamu naye.
(V)Kubanga ebibi bye bingi nnyo, era bituuse ne mu ggulu,
    era Katonda ajjukira obutali butuukirivu bwe.
(W)Mumuyise nga naye bwe yayisa abalala;
    mumubonereze emirundi ebiri olw’ebikolwa bye ebibi.
    Mumuyengere emirundi ebiri mu kikompe kye yagabulirangamu abalala.
(X)Nga bwe yeegulumiza ne yeejalabya,
    bw’otyo bw’oba omubonereza era omunakuwaze,
kubanga ayogera mu mutima gwe nti,
    ‘Ntudde nga kabaka omukazi,
siri nnamwandu,
    era sirina nnaku.’
(Y)Noolwekyo ebibonyoobonyo eby’okufa n’okukaaba n’enjala birimujjira mu lunaku lumu,
    era alizikirizibwa n’omuliro;
kubanga Mukama Katonda
    amusalidde omusango.

(Z)“Bakabaka ab’omu nsi abeegatta naye mu bwenzi bwe ne beejalabya naye, balimukaabira nga bakuba ebiwoobe bwe baliraba omukka oguva mu kifo mw’alyokerwa. 10 (AA)Baliyimirira wala nga bakankana olw’okutya era nga boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“ ‘Zikisanze, Zikisanze Babulooni ekibuga ekyo ekikulu!
    Ekibuga eky’amaanyi,
Kubanga mu ssaawa emu omusango gwakyo gusaliddwa.’

11 (AB)“Abasuubuzi b’omu nsi balimukaabira nga bamukungubagira kubanga nga tewakyali abagulako byamaguzi byabwe. 12 (AC)Ebyamaguzi ebya zaabu, n’ebya ffeeza, n’eby’amayinja ag’omuwendo, ne luulu, n’eby’engoye eza linena, n’eza kakobe, n’eza liiri, n’emyufu era na buli muti gwonna ogwa kaloosa, n’ebintu eby’amasanga, na buli kika eky’emiti egy’omuwendo ennyo, n’ebikomo, n’ebyuma awamu n’amayinja aga mabbo; 13 (AD)n’ebyakaloosa, n’ebinzaali, n’obubaane, n’omuzigo gw’omugavu, n’envinnyo, n’amafuta, n’obuwunga bw’eŋŋaano obulungi; n’ente, n’endiga; n’embalaasi, n’amagaali; n’abaddu n’emyoyo gyabwe.

14 “Ekibala emmeeme yo kye yeegombanga, tekyakirina, byonna eby’omuwendo omungi n’eby’okwejalabya tebikyali bibyo. Bikuvuddeko byonna so toliddayo kubirabako nate emirembe gyonna.” 15 (AE)Bwe batyo abasuubuzi abaagaggawala olw’okubaguza ebintu bino, baliyimirira wala nga nabo batya, olw’okutya okubonaabona kwe, n’okukaaba kwe, n’okunakuwala kwe, 16 (AF)nga bagamba nti,

“ ‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu,
    ekifaanana ng’omukazi ayambadde engoye eza linena omulungi, n’eza kakobe, n’emyufu,
    era ng’ataddemu eby’omu bulago ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo omungi ne luulu.
17 (AG)Mu ssaawa emu obugagga obwenkanaawo bwonna buzikiridde!’

“Era abo bonna abalina emmeeri ez’eby’obusuubuzi awamu n’abagoba baazo, n’abo abazikolamu, baayimirira wala. 18 (AH)Bakaaba nga balaba omukka oguva mu muliro ogumwokya, nga gwambuka, nga bwe bagamba nti, ‘Ekibuga ekiri nga kino kirirabika wa nate?’ 19 (AI)Ne beeyiyira enfuufu ku mitwe gyabwe nga banakuwadde era nga bakaaba nga boogera nti,

“ ‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu!
    Kyabagaggawaza bonna
    abaalina ebyombo ku lubalama lw’ennyanja olw’obugagga obwakirimu,
naye kaakano mu ssaawa emu byonna ebyakirimu bizikiridde.’

20 (AJ)“Kyokka ggwe eggulu ssanyuka olw’okubonerezebwa kwe,
    nammwe abatukuvu
    ne bannabbi n’abatume musanyuke.
Kubanga Katonda amusalidde omusango
    ku lwammwe.”

21 (AK)Awo malayika omu ow’amaanyi n’asitula ejjinja eddene eriri ng’olubengo n’alisuula mu nnyanja nga bw’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“Bwe kityo Babulooni,
    ekibuga ekikulu bwe kirisuulibwa wansi n’amaanyi,
    era tekiriddayo kulabika nate emirembe gyonna.
22 (AL)Mu ggwe temuliwulirwa nate ddoboozi lya bayimbi,
    n’abakubi b’ennanga n’ery’abafuuyi b’endere, n’ery’abafuuyi b’eŋŋombe.
Mu ggwe temulisangibwamu muweesi
    wadde okuweesa okw’engeri yonna,
newaakubadde okuvuga kw’olubengo nga basa
    tekuliwulirwa mu ggwe.
23 (AM)Ekitangaala ky’ettabaaza ng’eyaka
    tekirirabikira mu ggwe nate,
kubanga abasuubuzi be wasuubulanga nabo baamanyika nnyo mu nsi yonna,
    era walimbalimba amawanga gonna n’eby’obulogo bwo.
24 (AN)Era mu Babulooni mwasangibwamu omusaayi gw’abatukuvu n’ogwa bannabbi,
    n’abo bonna abattibwa ku nsi.”

Aleruuya

19 (AO)Oluvannyuma lw’ebyo ne mpulira oluyoogaano lw’abantu abangi mu ggulu nga bagamba nti,

“Aleruuya!
Obulokozi n’ekitiibwa n’amaanyi bya Katonda waffe.
    (AP)Kubanga ensala ye ey’emisango ya mazima era ya butuukirivu.
Yabonereza malaaya omukulu
    eyayonoona ensi n’obwenzi bwe.
Era yawoolera eggwanga ku mwenzi oyo olw’omusaayi gw’abaweereza be.”

(AQ)Ate ne boogera ogwokubiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“Aleruuya!
Omukka ogw’okwokebwa kwe n’omuliro, gunyooka emirembe n’emirembe!”

(AR)Awo ebiramu ebina n’abakadde amakumi abiri mu abana ne basinza Katonda eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka, nga bagamba nti,

“Amiina. Aleruuya.”

(AS)Awo eddoboozi ne liva mu ntebe ey’obwakabaka nga ligamba nti:

“Mumutendereze Katonda waffe,
    mmwe abaddu be mwenna
abamutya
    abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa.”

(AT)Ate ne mpulira oluyoogaano lw’abantu abangi olwawulikika ng’amayengo ag’ennyanja ennene, oba ng’eddoboozi ery’okubwatuka, ne boogera nti,

“Aleruuya,
    kubanga Mukama Katonda waffe Ayinzabyonna y’afuga.
(AU)Ka tusanyuke, tujaguze,
    era tumugulumize,
kubanga ekiseera kituuse eky’embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga,
    era n’omugole we yeeteeseteese.
(AV)Omugole n’ayambazibwa olugoye olwa linena omulungi ennyo,
    olunekaaneka era olusingayo okutukula.”

(Linena omulungi ennyo by’ebikolwa eby’obutuukirivu eby’abatukuvu.)

(AW)Malayika n’aŋŋamba nti, “Wandiika nti balina omukisa abo abayitiddwa ku kijjulo ky’embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga.” N’ayongerako na kino nti, “Katonda yennyini ye yakyogera.”

10 (AX)Ne ndyoka ngwa wansi ku bigere bye okumusinza naye ye n’aŋŋamba nti, “Tokikola! Kubanga nange ndi muddu wa Katonda nga ggwe era ng’abooluganda abalala abanywerera ku ebyo Yesu bye yatumanyisa! Ssinza Katonda. Okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw’obunnabbi.”

Eyeebagadde Embalaasi Enjeru

11 (AY)Ne ndaba eggulu nga libikkuse era laba embalaasi enjeru ng’agyebagadde ayitibwa Omwesigwa era Ow’amazima, asala omusango mu butuukirivu era mulwanyi wa kitalo mu ntalo. 12 (AZ)Amaaso ge gaali ng’olulimi lw’omuliro ogwaka, era nga yeetikkidde engule nnyingi ku mutwe gwe, ng’alina erinnya eriwandiikiddwa, kyokka ye yekka nga y’alimanyi. 13 (BA)Yali ayambadde ekyambalo ekyali kinnyikiddwa mu musaayi era ng’erinnya lye ye Kigambo wa Katonda. 14 (BB)Ab’eggye ery’omu ggulu abaali bambadde engoye eza linena omulungi ennyo enjeru, nabo ne bamugoberera nga beebagadde embalaasi enjeru. 15 (BC)Mu kamwa ke mwavaamu ekitala eky’obwogi eky’okutemesa amawanga. “Alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma.” Alirinnya ku ssogolero ly’omwenge ogw’obusungu bwe, kye kiruyi kya Katonda Ayinzabyonna. 16 (BD)Ku kyambalo kye ne ku kisambi kye kwali kuwandiikiddwako nti:

“Kabaka wa Bakabaka era Mukama wa bakama.”

17 (BE)Awo ne ndaba malayika omu ng’ayimiridde mu njuba ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba ebinyonyi nti, “Mujje mukuŋŋaane ku kijjulo kya Katonda omukulu, 18 (BF)mulye ennyama y’emirambo gya bakabaka, abakulu b’amaggye n’abasajja ab’amaanyi, n’egy’embalaasi n’egy’abo abazeebagala, era n’egy’abantu bonna abaddu n’ab’eddembe, abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa.”

19 (BG)Awo ne ndyoka ndaba ekisolo n’abafuzi ab’omu nsi n’amaggye gaabwe nga bakuŋŋaanye balwanyise oyo eyali yeebagadde embalaasi, awamu n’eggye lye. 20 (BH)Ekisolo ne kiwambibwa awamu ne nnabbi ow’obulimba eyakolanga ebyamagero ng’ekisolo kiraba; bye yakola ng’alimbalimba abo abakkiriza akabonero k’ekisolo era abasinza ekifaananyi kyakyo. Awo ekisolo ne nnabbi ow’obulimba ne basuulibwa nga balamu, mu nnyanja ey’omuliro eyaka ne salufa. 21 (BI)Abaasigalawo ne battibwa n’obwogi bw’ekitala ekyava mu kamwa k’oyo eyeebagadde embalaasi. Ennyonyi zonna ez’omu bbanga ne zirya ne zekkutira emirambo gyabwe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.