Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ezeekyeri 34-36

Abasumba n’Endiga

34 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, (A)“Omwana w’omuntu, yogera ebyobunnabbi eri abasumba ba Isirayiri, obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abasumba ba Isirayiri abeefaako bokka. Abasumba tebasaanye kuliisa ndiga? (B)Mulya amasavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ensolo ensava, naye temufaayo ku bisibo. (C)Ennafu temuzizzaamu maanyi, so n’endwadde temuzijjanjabye, so n’ezirumizibbwa temusibye biwundu byazo, so n’ezibuze temuzikomezzaawo, naye muzifuze n’amaanyi. (D)Kyezaava zisaasaana, kubanga tezaalina musumba, ne ziba kya kulya eri ensolo enkambwe zonna ez’omu nsiko. (E)Endiga zange zaasaasaana, ne zibuna ku nsozi zonna na ku buli kasozi akawanvu, ne zisaasaana okubuna ensi yonna, ne zibulwako azinoonya wadde okuzibuuliriza.

“ ‘Noolwekyo mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama: Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, olw’endiga zange okufuuka omuyiggo, n’ekyokulya eri ensolo enkambwe zonna, kubanga tezirina musumba, ate era n’abasumba ne batazinoonya, naye ne beefaako bokka, ne bataliisa ndiga zange, kale mmwe abasumba muwulire ekigambo kya Mukama. 10 (F)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nnina ensonga ku basumba, era ndibavunaana olw’ekisibo kyange. Ndibaggyako okulabirira endiga mulekeraawo okuzifuula ekyokulya. Ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe, zireme okuba ekyokulya kyabwe.

11 “ ‘Era bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nze kennyini ndinoonya endiga zange ne nzirabirira. 12 (G)Ng’omusumba bw’alabirira ekisibo kye ng’ezimu ku ndiga zisaasaanye okumuvaako, bwe ntyo bwe ndizirabirira. Ndiziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw’ebire olw’ekizikiza. 13 (H)Ndiziggya mu mawanga ne nzikuŋŋaanya mu nsi gye zaasaasaanira ne nzikomyawo mu nsi yaazo. Ndiziriisiza ku nsozi za Isirayiri okumpi n’enzizi ne mu bifo byonna ebibeerwamu mu nsi. 14 (I)Ndizirabiririra mu ddundiro eddungi ne ku ntikko z’ensozi za Isirayiri we zirirundirwa. Eyo gye zirigalamira mu ddundiro eddungi era gye ziririira omuddo omugimu ku nsozi za Isirayiri. 15 (J)Nze kennyini ndirabirira endiga zange, ne nzigalamiza wansi mirembe, bw’ayogera Mukama Katonda. 16 (K)Ndinoonya ezaabula, ne nkomyawo ezaawaba. Ndigyanjaba ezaalumizibwa, ne ŋŋumya ennafu, naye ensava era ez’amaanyi ndizizikiriza. Ndirunda ekisibo mu bwenkanya.

17 (L)“ ‘Nammwe ekisibo kyange, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndisala omusango wakati w’endiga emu ne ginnaayo ne wakati w’endiga ennume n’embuzi. 18 Tekibamala okulya omuddo? Kale ate lwaki mulinnyirira ogusigaddewo mu ddundiro, nga n’okunywa mwanywa amazzi amayonjo, naye ne musiikuula agaasigalawo n’ebigere byammwe! 19 Olwo endiga zange zirye bye mwalinnyirira n’okunywa zinywe amazzi ge mwasiikuula n’ebigere byammwe?

20 “ ‘Mukama Katonda kyava abagamba nti, Laba, nze kennyini ndisala omusango wakati w’endiga ensava n’endiga enkovvu. 21 (M)Kubanga mwewaana nga muyimusa ebifuba ne musindikiriza ennafu zonna ne muzitomera n’amayembe gammwe okutuusa lwe muzifulumya ebweru, 22 (N)ndiwonyawo ekisibo kyange so teziriba nate muyiggo. Ndisala omusango mu bwenkanya wakati w’endiga n’endiga. 23 (O)Ndiziwa omusumba omu, omuweereza wange Dawudi, alizirunda; alizirabirira era aliba musumba waabwe. 24 (P)Nze Mukama ndiba Katonda waabwe, n’omuddu wange Dawudi aliba mulangira mu bo. Nze Mukama njogedde.

25 (Q)“ ‘Ndikola endagaano yange ezisuubiza emirembe, era ndigoba mu nsi ensolo enkambwe, zibeerenga mu ddungu era zeebakenga mu bibira mirembe nga tezirumbibwa. 26 (R)Ndiziwa omukisa wamu n’ebifo ebyetoolodde akasozi kange, era ndibatonnyeseza enkuba mu ntuuko yaayo; walibaawo enkuba ey’omukisa. 27 (S)Emiti egy’omu ttale girireeta ebibala byagyo, n’ettaka lirimeza ebimera byalyo, era n’abantu balituula mirembe mu nsi yaabwe. Balimanya nga nze Mukama bwe ndimenya ebisiba eby’ekikoligo kyabwe ne mbawonya mu mukono gwabwo abaabafuula abaddu. 28 (T)Teziriba munyago nate eri amawanga, so n’ensolo enkambwe tezirizitaagulataagula. Zirituula mirembe so tewaliba muntu n’omu azitiisatiisa. 29 (U)Ndiziwa ensi emanyiddwa olw’ebirime byayo, zireme okulumwa enjala nate mu nsi newaakubadde okunyoomebwa amawanga. 30 (V)Era zirimanya nga nze Mukama Katonda waazo, ndi wamu nazo, era nga zo, ennyumba ya Isirayiri, bantu bange, bw’ayogera Mukama Katonda. 31 (W)Mmwe ndiga zange, endiga ez’eddundiro lyange, muli bantu bange, era nze ndi Katonda wammwe, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Obunnabbi ku Edomu

35 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tunuulira olusozi Seyiri owe obunnabbi, (X)oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nkulinako ensonga, olusozi Seyiri, era ndikugolererako omukono gwange ne nkufuula amatongo. (Y)Ndifuula ebibuga byo okuba ebifulukwa era olifuuka matongo, omanye nga nze Mukama.’

(Z)“ ‘Kubanga wasiba ekiruyi eky’edda n’owaayo Abayisirayiri okuttibwa mu biro mwe baalabira ennaku, mu biro eby’okubonerezebwa kwabwe okwenkomerero, (AA)nga bwe ndi omulamu, kyendiva mbawaayo muttiŋŋane era okuttiŋŋana kulibalondoola, bw’ayogera Mukama Katonda. Kubanga temwakyawa kuyiwa musaayi, okuyiwa omusaayi kyekuliva kubalondoola. Ndifuula olusozi Seyiri okuba amatongo, ne nsalako abo bonna abajja n’abagenda. (AB)Ndijjuza ensozi zo abafu, n’abattiddwa ekitala baligwa ku busozi bwo, ne mu biwonvu byo, ne mu migga gyo. (AC)Ndikufuula matongo emirembe gyonna, so tewaliba alibeera mu bibuga byo, olyoke omanye nga nze Mukama.

10 (AD)“ ‘Mwalowooza nga amawanga ga Yuda ne Isirayiri gammwe, era ne mulowooza okugeetwalira. Naye nze ndi Mukama waabwe, 11 (AE)era nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda nti, ndibabonereza olw’obusungu n’obuggya bye mwabalaga nga mubakyawa, balyoke bammanye, mmwe bwe ndibasalira omusango. 12 (AF)Oluvannyuma olimanya nga nze Mukama mpulidde byonna eby’obunyoomi bye wayogera eri ensozi za Isirayiri. Nagamba nti, “Bafuuse matongo, era baweereddwayo gye tuli okubamalawo.” 13 (AG)Wanneewanirako, n’oteekuma, kyokka ne nkuwulira. 14 (AH)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ensi yonna bw’eriba esanyuka, gwe ndikufuula matongo. 15 (AI)Olw’okuba nga wasanyuka, omugabo gw’ennyumba ya Isirayiri bwe gwafuuka amatongo nange bwe ntyo bwe ndikukola. Ggwe olusozi Seyiri ne Edomu yonna mulifuuka matongo, mulyoke mumanye nga nze Mukama.’ ”

Obunnabbi eri Ensozi za Isirayiri

36 “Omwana w’omuntu, yogera obunnabbi eri ensozi za Isirayiri, ogambe nti, Mmwe ensozi za Isirayiri, muwulire ekigambo kya Mukama. (AJ)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, omulabe yayogera nti, ‘Otyo, ensozi ez’edda kaakano zaffe.’ (AK)Kyemwava muwa obunnabbi ne mwogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga baabacocca ne babayigganya enjuuyi zonna amawanga amalala ne gabeetwalira, era ne mufuuka eky’okwogerwako era ne baboogerako eby’obulimba, (AL)kyemunaava muwulira ekigambo kya Mukama Katonda mmwe ensozi za Isirayiri: Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti eri ensozi n’obusozi, n’eri enzizi n’ebiwonvu, n’eri ebifulukwa n’ebibuga ebyafuuka amatongo ebyanyagibwa ne bifuuka eby’okusekererwa eri amawanga gonna okwetooloola (AM)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Njogerera mu busungu bwange obungi eri amawanga amalala n’eri Edomu yonna, abajjula okusanyuka n’ettima mu mitima gyabwe, ne baddira ensi yange ne bagifuula eyaabwe banyage obugagga bwayo.’ (AN)Kyonoova owa obunnabbi eri ensi ya Isirayiri n’oyogera eri ensozi n’obusozi, n’eri enzizi n’ebiwonvu nti, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Njogera nga nzijudde obuggya n’obusungu kubanga mwasekererwa nnyo amawanga. Mukama Katonda kyava ayogera nti, Ndayira nti amawanga agabeetoolodde nago galisekererwa.

(AO)“ ‘Naye mmwe ensozi za Isirayiri mulireeta amatabi gammwe ne mubalira abantu bange Isirayiri ebibala byammwe kubanga banaatera okudda ewaabwe. Mbalumirwa era ndibatunuulira n’ekisa, era abalimi balikabala ettaka lyammwe ne basigamu ensigo, 10 (AP)era ndibaaza mmwe, ennyumba yonna eya Isirayiri. Ebibuga birituulwamu, n’ebyali ebifulukwa biriddaabirizibwa. 11 (AQ)Ndyaza abantu n’ensolo, era abantu balyeyongera n’ensolo ne zeeyongera. Ndibazzaayo mu bifo byammwe eby’edda, era ndibakolera ebirungi ebisingawo ku bye nabakolera, mulyoke mumanye nga nze Mukama. 12 (AR)Ndikkiriza abantu bange, Isirayiri babatambulireko, era balibeddiza, nammwe muliba mugabo gwabwe nga temukyaddamu kubaggyako baana baabwe.

13 (AS)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga abantu baboogerako nti, “Musaanyaawo abantu ne mumalawo ezzadde lye ggwanga lyammwe,” 14 kyemuliva mutaddayo kusaanyaawo bantu newaakubadde okubamalako ezzadde ly’eggwanga lyo, bw’ayogera Mukama Katonda. 15 (AT)Toliwulira nate okusekererwa kw’amawanga newaakubadde okunyoomebwa wadde eggwanga lyo okugwa, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

16 Nate ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 17 (AU)“Omwana w’omuntu, abantu ba Isirayiri bwe baaberanga mu nsi yaabwe, baagyonoona olw’empisa zaabwe n’ebikolwa byabwe, era n’ebikolwa byabwe byali ng’obutali bulongoofu obw’omukazi mu biseera bye. 18 (AV)Olw’omusaayi gwe baayiwa mu nsi, ate n’olw’okusinza bakatonda abalala kwe beeyonoonyesa, kyennava mbayiwako ekiruyi kyange. 19 (AW)Naye mbasaasaanyiza mu mawanga, ne basaasaana mu nsi. Era nabasalira omusango ng’empisa zaabwe n’ebikolwa byabwe bwe byali. 20 (AX)Buli gye baagendanga mu mawanga baaswazanga erinnya lyange ettukuvu, kubanga kyayogerwanga nti, ‘Bano bantu ba Mukama, naye baagobebwa mu nsi ye.’ 21 (AY)Nafaayo ku linnya lyange ettukuvu, ennyumba ya Isirayiri lye yaswaza mu mawanga gye baagenda.

22 (AZ)“Kale nno gamba ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Ggwe ennyumba ya Isirayiri bino sibikola ku lulwo, naye ku lw’erinnya lyange ettukuvu lye mwavumisa mu mawanga gye mwagenda. 23 (BA)Ndiraga obutukuvu bw’erinnya lyange ekkulu, eryavumisibwa mu mawanga, erinnya lye mwavumisa mu bo, era amawanga galimanya nga nze Mukama, bw’ayogera Mukama Katonda, bwe ndyolesa obutukuvu bwange mu mmwe mu maaso gaabwe.

24 (BB)“ ‘Ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi zonna ne mbakomyawo mu nsi yammwe. 25 (BC)Ndibamaansirako amazzi amayonjo, era ndibaggyako obutali bulongoofu bwammwe bwonna n’okuva ku bakatonda abalala bonna, ne mbafuula abalongoofu. 26 (BD)Ndibawa omutima omuggya era ne nteeka n’omwoyo omuggya mu mmwe. Ndibaggyamu omutima ogw’ejjinja ne mbawa omutima ogw’ennyama. 27 (BE)Era ndibawa Omwoyo wange alibakubiriza okugoberera ebiragiro byange n’okukuuma obulungi amateeka gange. 28 (BF)Mulibeera mu nsi gye nawa bajjajjammwe, nammwe mulibeera bantu bange, nange ne mbeera Katonda wammwe. 29 (BG)Ndibalokola mu butali bulongoofu bwammwe bwonna, era nditumya emmere ey’empeke ne ngyaza nnyo muleme okulumwa enjala. 30 (BH)Ndyaza ebibala eby’oku miti n’ebimera eby’omu nnimiro, nga temukyasekererwa nate mu mawanga olw’enjala. 31 (BI)Olwo mulijjukira amakubo gammwe amabi n’ebikolwa byammwe ebitali birungi, era mulyetamwa olw’ebibi byammwe n’olw’ebikolwa byammwe eby’emizizo. 32 (BJ)Mukimanye ng’ebyo sibikola ku lwammwe, bw’ayogera Mukama Katonda. Muswale olw’ebikolwa byammwe, mmwe ennyumba ya Isirayiri.

33 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Ku lunaku lwe ndibanaalizaako ebibi byammwe byonna, abantu balidda mu bibuga byammwe n’ebifulukwa biriddaabirizibwa. 34 Ensi eyazika eririmibwa, ereme kuba nga bwe yali mu maaso gaabo bonna abaagiyitangamu. 35 (BK)Balyogera nti, “Ensi eno eyali ezise, kaakano efuuse ng’ennimiro Adeni, n’ebifulukwa n’ebibuga ebyali bifuuse amatongo, kaakano mulimu ababibeeramu, era biriko ne bbugwe.” 36 (BL)Olwo n’amawanga agaasigalawo agabeetoolodde galimanya nga nze Mukama, naddaabiriza ebyayonoonebwa, n’ennimiro n’ebyali bizise. Nze Mukama nkyogedde, era ndikituukiriza.’

37 “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Nate ndiwuliriza ennyumba ya Isirayiri ne mbakolera kino, era ndyaza abantu baabwe babeere bangi ng’ekisibo ky’endiga. 38 (BM)Balyala ng’ebisibo eby’endiga ez’okuweebwayo e Yerusaalemi ku mbaga ezaalagirwa, era n’ebibuga ebyali amatongo ndibijjuza ebibinja by’abantu. Kale balimanya nga nze Mukama.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.