Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ezeekyeri 9-12

Okuttibwa kw’Abasinza bakatonda abalala

Awo ne mpulira ng’akoowoola n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Muleete abakuumi b’ekibuga wano, buli omu n’ekyokulwanyisa kye mu mukono gwe.” (A)Ne ndaba abasajja mukaaga nga bava ku luuyi olw’omulyango ogw’engulu, ogutunudde mu bukiikakkono, buli omu ng’akutte ekissi mu ngalo ze; nga ku bo kuliko omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu. Ne bayingira ne bayimirira ku mabbali g’ekyoto eky’ekikomo.

(B)Awo ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri ne kiva mu bakerubi mwe kyali, ne kidda ku mulyango gwa yeekaalu. Mukama n’ayita omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu, (C)n’amugamba nti, “Genda ng’oyitaayita mu kibuga kyonna ekya Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by’abeesisiwadde era abanakuwadde olw’ebintu byonna eby’ekivve ebikolebwa wakati mu kyo.”

(D)Abalala n’abagamba, nga mpuliriza nti, “Mumugoberere muyiteeyite mu kibuga mutte, nga temusaasira newaakubadde okulaga ekisa. (E)Mutte abasajja abakadde, abavubuka n’abawala, n’abakyala n’abaana abato, naye temukwata ku aliko akabonero. Mutandikire mu watukuvu wange.” Ne batandikira ku bakadde abaali mu maaso ga yeekaalu.

N’abagamba nti, “Eyeekaalu mugyonoone, mujjuze empya abattibwa, mugende!” Ne bafuluma ne bagenda nga batta mu kibuga kyonna. (F)Bwe baali nga batta ne bandeka awo nzekka, ne nvuunama wansi, ne nkaaba nga njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, olizikiriza ekitundu kya Isirayiri ekyasigalawo kyonna mu busungu bw’ofuse ku Yerusaalemi?”

(G)N’anziramu nti, “Ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri ne Yuda kisusse nnyo; ensi ejjudde okuyiwa omusaayi, n’ekibuga kijjudde obutali bwenkanya. Boogera nti, ‘Mukama yayabulira ensi, era Mukama takyalaba.’ 10 (H)Kyendiva nema okubatunuulira n’eriiso erisaasira newaakubadde okubalaga ekisa, naye ndileeta akabi ku mitwe gyabwe olw’ebikolwa byabwe ebibi.”

11 Awo omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu n’akomyawo obubaka eri Mukama nti, “Nkoze nga bwe walagidde.”

Ekitiibwa kya Mukama Kiva mu Yeekaalu

10 (I)Ne ntunula, laba, ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka eya safiro nga kiri waggulu w’ekibangirizi w’emitwe gya bakerubi. (J)Mukama n’agamba omusajja ayambadde linena nti, “Genda wakati wa zinnamuziga wansi wa bakerubi, otoole amanda mu mukono gwo okuva wakati mu bakerubi, ogasaasaanye mu kibuga.” N’ayitawo nga ntunula.

Bakerubi baali bayimiridde ku luuyi olw’Obukiikaddyo obwa yeekaalu; omusajja bwe yayingira ekire ne kijjula mu luggya olw’omunda. (K)Awo ekitiibwa kya Mukama ne kyambuka okuva waggulu wa bakerubi ne kidda mu mulyango gwa yeekaalu. Ekire ne kijjula mu yeekaalu, n’oluggya ne lujjula okumasamasa okw’ekitiibwa kya Mukama. (L)N’okuwuuma kw’ebiwaawaatiro bya bakerubi ne kuwulikika wala mu luggya olw’ebweru, ng’eddoboozi lya Mukama ow’Eggye bwe liwulikika ng’ayogedde.

Mukama bwe yalagira omusajja ayambadde linena nti, “Toola omuliro okuva mu zinnamuziga, wakati mu bakerubi,” omusajja n’ayingira n’ayimirira ku mabbali ga nnamuziga emu. Awo omu ku bakerubi n’agolola omukono gwe eri omuliro ogwali wakati wa bakerubi, n’addira ogumu ku gwo, n’aguteeka mu ngalo ez’omusajja ayambadde linena, eyagutwala n’afuluma. (M)Wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi waalabika ng’awaali emikono gy’omuntu.

(N)Ne ndaba zinnamuziga nnya ku mabbali ga bakerubi buli nnamuziga ng’eriraanye kerubi, zinnamuziga nga ziyakaayakana ng’ejjinja erya berulo. 10 Mu ndabika nga zifaanagana, nnamuziga emu ng’eri ng’etudde mu ginnaayo. 11 Mu kuseeseetuka, zaaseeseetukanga mu njuyi nnya bakerubi gye baatunulanga, era zinnamuziga z’omu maaso gye zaayiringitiranga, n’endala zonna gye zaayiringitiranga. 12 (O)Omubiri gwabwe gwonna, n’emigongo gyabwe, n’emikono gyabwe, n’ebiwaawaatiro byabwe, ne zinnamuziga, nga zijjudde amaaso enjuuyi zonna. 13 Ne mpulira zinnamuziga nga ziyitibwa “ezeetooloola eziwulukuka.” 14 (P)Buli emu ku zo yalina obwenyi buna: obwenyi obw’olubereberye bwali bwa kerubi, obwokubiri nga bwa musajja, obwokusatu nga bwa mpologoma, obwokuna nga bwa mpungu.

15 (Q)Awo bakerubi ne basituka. Bye biramu bye nalaba ku mabbali g’omugga Kebali. 16 Bakerubi bwe baaseeseetukanga, zinnamuziga ezaali ku mabbali ne ziseeseetukira wamu nabo; bakerubi bwe baayanjuluzanga ebiwaawaatiro byabwe okusituka okuva ku ttaka, zinnamuziga nazo tezaavanga ku lusegere. 17 (R)Bakerubi bwe baayimiriranga, nazo ne ziyimirira; bakerubi bwe baasitukanga, nnamuziga ne zisitukira wamu nabo, kubanga omwoyo ow’ebiramu yali mu zo.

18 (S)Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiva ku mulyango gwa yeekaalu ne kiyimirira waggulu wa bakerubi. 19 (T)Ne ndaba bakerubi nga bayanjuluza ebiwaawaatiro byabwe, ne basituka okuva ku ttaka, ne zinnamuziga nazo ne zigendera ku mabbali gaabwe. Ne bayimirira awayingirirwa ku luggi olw’ebuvanjuba olwa yeekaalu ya Mukama, n’ekitiibwa kya Katonda owa Isirayiri nga kiri waggulu waabwe.

20 (U)Era ebyo bye biramu bye nalaba wansi wa Katonda wa Isirayiri ku mugga Kebali, olwo ne ntegeera nga bakerubi. 21 (V)Buli omu yalina obwenyi buna n’ebiwaawaatiro bina, ne wansi w’ebiwaawaatiro byabwe nga waliyo ebyali ng’emikono gy’omuntu. 22 Obwenyi bwabwe bwanfaananira nga buli bwe nalaba ku mugga Kebali. Buli omu n’atambula n’agenda mu maaso.

Abakulembeze ba Isirayiri Basalirwa Omusango

11 (W)Awo Omwoyo n’ansitula n’antwala ku luggi olw’ebuvanjuba olw’ennyumba ya Mukama. Ku mulyango awo waaliwo abasajja amakumi abiri mu bataano wakati mu bo nga mwe muli Yaazaniya mutabani wa Azuli ne Peratiya mutabani wa Benaya, abakulembeze b’abantu. Mukama n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, bano be basajja abeekobaana okukola ebitali bya butuukirivu era abawabya ekibuga kino. (X)Boogera nti, ‘Ekiseera tekituuse tuzimbe amayumba? Ekibuga kino ye ntamu, ffe nnyama.’ (Y)Kyonoova obawa obunnabbi; era yogera ggwe omwana w’omuntu.”

(Z)Awo Omwoyo wa Mukama n’anzikako, n’aŋŋamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Bwe mutyo bwe mwogera, ggwe ennyumba ya Isirayiri, naye mmanyi ebirowoozo byammwe. (AA)Musse abantu bangi mu kibuga kino, ne mujjuza enguudo zaakyo abafu.

(AB)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Emirambo gye musuddemu ye nnyama, n’ekibuga kino ye ntamu, naye ndikibagobamu. (AC)Mutya ekitala, era ekitala kye ndibaleetako, bw’ayogera Mukama Katonda. (AD)Ndibagoba mu kibuga, ne mbawaayo mu mukono gwa bannamawanga ne bababonereza. 10 (AE)Muligwa n’ekitala, era ndibasalira omusango ku nsalo ya Isirayiri, ne mumanya nga nze Mukama. 11 (AF)Ekibuga kino tekiriba ntamu yammwe, era nammwe temuliba nnyama yaakyo. Ndibasalira omusango ku nsalo ya Isirayiri. 12 (AG)Mulitegeera nga nze Mukama, kubanga temugoberedde biragiro byange newaakubadde amateeka gange, naye mukoze ng’amawanga amalala agabeetoolodde bwe gakola.”

13 (AH)Awo bwe nnali nkyayogera ebyobunnabbi, Peratiya mutabani wa Benaya n’afa. Ne ngwa bugazi wansi ne nkaaba n’eddoboozi ddene, nga njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, olimalirawo ddala ekitundu kya Isirayiri ekyasigalawo?”

14 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 15 (AI)“Omwana w’omuntu, baganda bo, baganda bo ab’enda yo n’ennyumba yonna eya Isirayiri, beebo abantu ab’omu Yerusaalemi be baayogerako nti, ‘Bali wala ne Mukama, era ensi eno yatuweebwa okuba omugabo gwaffe.’ ”

Abayisirayiri Basuubizibwa Okuddayo

16 (AJ)“Kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Newaakubadde nga nabasindika mu mawanga ne mbasaasaanya mu nsi nnyingi, naye mbalabiriridde mu nsi gye baagenda.’ 17 (AK)Era kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ndibakuŋŋaanya okuva mu mawanga ne mbaggya mu nsi gye mwasaasaanyizibwa, ne mbaddiza ensi ya Isirayiri.’

18 (AL)“Bwe balikomawo, baliggyamu ebitali bya butuukirivu byonna n’eby’emizizo ebirimu byonna. 19 (AM)Ndibawa omutima gumu ne mbateekamu omwoyo omuggya; ndibaggyamu omutima ogw’ejjinja, ne mbawa omutima ogw’ennyama. 20 (AN)Oluvannyuma baligoberera ebiragiro byange, ne bagenderera okukuuma amateeka gange, era baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe. 21 (AO)Naye abo abanaagoberera ebitali bya butuukirivu n’eby’emizizo, ndibaleetako ebyo bye baakola ku mitwe gyabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.”

22 (AP)Awo bakerubi, ne zinnamuziga nga ziri ku mabbali gaabwe ne bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, ng’ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri kibali waggulu. 23 (AQ)Ekitiibwa kya Mukama ne kiva wakati mu kibuga ne kiyimirira waggulu w’olusozi oluli ku luuyi olw’ebuvanjuba w’ekibuga. 24 (AR)Omwoyo n’ansitula mu kwolesebwa okw’Omwoyo wa Katonda n’antwala mu Bukaludaaya eri abaawaŋŋangusibwa. 25 (AS)Awo okwolesebwa kwe nafuna ne nkuvaako, ne ntegeeza abaawaŋŋangusibwa byonna Mukama bye yali andaze.

12 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, (AT)“Omwana w’omuntu obeera mu bantu abajeemu. Balina amaaso okulaba, naye tebalaba, balina n’amatu okuwulira naye tebawulira, kubanga bantu bajeemu.

(AU)“Noolwekyo omwana w’omuntu, sibako ebibyo ogende mu buwaŋŋanguse, ate kikole misana, nga balaba ogende mu kifo ekirala. Oboolyawo balitegeera, newaakubadde nga nnyumba njeemu. (AV)Fulumya ebibyo by’otwala mu buwaŋŋanguse emisana, nga balaba. Ate akawungeezi, ofulume nga balaba, ogende ng’abo abagenda mu buwaŋŋanguse. Botola ekituli mu bbugwe oyiseemu ebibyo, nga balaba. (AW)Biteeke ku kibegabega kyo nga balaba, obifulumye obudde nga buwungeera. Bikka ku maaso oleme okulaba ensi, kubanga nkufudde akabonero eri ennyumba ya Isirayiri.”

(AX)Ne nkola nga bwe ndagiddwa. Emisana, ne nfulumya ebintu byange nga neetegese okugenda mu buwaŋŋanguse. Akawungeezi ne nkuba ekituli mu bbugwe n’engalo zange, ne nfulumya ebyange nga mbitadde ku kibegabega kyange nga balaba, obudde nga buwungedde, enjuba ng’ebuliddeyo.

Ku makya, ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, (AY)“Omwana w’omuntu, ennyumba ya Isirayiri enjeemu teyakubuuza nti, ‘Okola ki ekyo?’

10 “Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, obubaka buno bukwata ku mufuzi ali mu Yerusaalemi, n’abantu ba Isirayiri bonna abaliyo.’ 11 (AZ)Bagambe nti, ‘Ndi kabonero gye muli.’

“Nga bwe nkoze, nabo bwe balikibakola. Baliwaŋŋangusibwa ne batwalibwa nga bawambe.

12 (BA)“Omufuzi ali mu bo aliteeka ebintu bye ku kibegabega kye agende ng’obudde buwungedde, enjuba ng’ebuliddeyo, balibotola ekituli mu bbugwe ayitemu agende. Alibikka amaaso ge, aleme kulaba nsi. 13 (BB)Ndimwanjuliriza ekitimba kyange, akwatibwe mu mutego gwange. Ndimutwala e Babulooni, mu nsi ey’Abakaludaaya, naye taligiraba, era eyo gy’alifiira. 14 (BC)Ndisaasaanyiza eri empewo zonna, bonna abamwetoolodde, abakozi be n’eggye lye lyonna era ndibawondera n’ekitala ekisowoddwa.

15 “Balimanya nga nze Mukama bwe ndibasaasaanya mu mawanga, ne mbabunya mu nsi. 16 (BD)Kyokka ndirekawo batono ku bo abaliwona ekitala, n’abaliwona enjala n’abaliwona kawumpuli, balyoke bejjuse olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo, nga bali eyo mu mawanga. Olwo balitegeera nga nze Mukama.”

17 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 18 (BE)“Omwana w’omuntu, lya emmere yo ng’okankana, era nnywa amazzi go ng’ojugumira.” 19 (BF)Tegeeza abantu ab’omu nsi nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku abo ababeera mu Yerusaalemi ne mu nsi ya Isirayiri nti, Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirira, banywe n’amazzi gaabwe nga batya, kubanga ensi yaabwe erinyagibwa mu buli kintu ekirimu, olw’obukambwe bw’abo bonna ababeera eyo. 20 (BG)Ebibuga ebituulwamu birizikirizibwa, n’ensi n’efuuka amatongo, mulyoke mumanye nga nze Mukama.”

21 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 22 (BH)“Omwana w’omuntu, makulu ki agali mu lugero olukwata ku nsi ya Isirayiri, olugamba nti, ‘Ennaku ziggwaayo naye teri kwolesebwa kutuukirira?’ 23 (BI)Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ŋŋenda kukomya olugero luno, era tebaliddayo nate kulwogera, mu Isirayiri.’ Bagambe nti, ‘Ebiro binaatera okutuuka, okwolesebwa kwonna lwe kulituukirira. 24 (BJ)Tewaliba nate kwolesebwa kwa bulimba newaakubadde obunnabbi obusavuwaze mu bantu ba Isirayiri. 25 (BK)Naye nze Mukama ndyogera kye ndisiima, era kirituukirira amangu ddala. Mu nnaku zo ggwe ennyumba enjeemu, ndyogera ekigambo era ndikituukiriza, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

26 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 27 (BL)“Omwana w’omuntu, laba, ennyumba ya Isirayiri egamba nti, ‘Okwolesebwa kwalaba kw’amyaka mingi okuva ne kaakano, era ayogera obunnabbi obulibaawo mu bbanga ery’ewala.’

28 “Noolwekyo bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, tewalibaawo nate kigambo kyange na kimu ekirirwisibwa, buli kye njogera kirituukirira, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.