Beginning
Ekyeya, Enjala, n’Ekitala
14 Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yerusaalemi ekikwata ku kyeya.
2 (A)“Yuda ekungubaga n’ebibuga byayo bifaafaaganye,
bakaabira ensi,
era omulanga
gusimbuse mu Yerusaalemi.
3 (B)Abakungu batuma abaddu baabwe okuleeta amazzi;
bagenda mu ttanka ez’omu ttaka nga temuli kantu,
bakomawo n’ebintu ebikalu;
ensonyi nga zibakutte
n’essuubi nga libaweddemu;
babikka amaaso gaabwe.
4 (C)Ettaka lyatise
kubanga enkuba tekyatonnya,
abalimi baweddemu amaanyi,
babikka ku mitwe gyabwe.
5 (D)N’empeewo ku ttale ezaala
n’ereka awo omwana gwayo
kubanga tewali muddo.
6 (E)N’ennyumbu ez’omu nsiko ziyimirira ku busozi obukalu
nga ziwejjawejja ng’ebibe,
amaaso gaazo nga tegalaba bulungi
kubanga tezirina kye zirya.”
7 (F)Wadde obutali butuukirivu bwaffe butulumiriza, Ayi Mukama,
baako ky’okola olw’erinnya lyo.
Kubanga tuzze ennyuma emirundi mingi,
tukwonoonye nnyo.
8 (G)Ayi ggwe essuubi lya Isirayiri,
Omulokozi waalyo mu biseera eby’okulabiramu ennaku,
lwaki oli ng’omuyise mu nsi,
ng’omutambuze asula ekiro ekimu?
9 (H)Lwaki oli ng’omuntu gwe baguddeko obugwi,
ng’omulwanyi ataliimu maanyi ganunula?
Ggwe, Ayi Mukama Katonda, oli wakati mu ffe,
era tuyitibwa linnya lyo.
Totuleka.
10 (I)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku bantu be nti,
“Baagala nnyo okubula,
tebaziyiza bigere byabwe.
Noolwekyo Mukama tabakkiriza
era kaakano wakujjukira obutali butuukirivu bwabwe
era ababonereze olw’ebibi byabwe.”
11 (J)Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Tosabira bantu bano kubeera bulungi. 12 (K)Newaakubadde nga basiiba, sijja kuwulira kukaaba kwabwe, era wadde bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’empeke, sijja kubikkiriza. Naye nnaabazikiriza n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli.”
13 (L)Naye ne njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda, bannabbi abalala babagamba nti, ‘Tewajja kubaawo lutalo wadde okulumwa enjala. Naye nzija kuleeta mirembe egitakoma mu kifo kino.’ ”
14 (M)Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba mu linnya lyange, sibatumanga wadde okubalagira okwogera nabo. Babategeeza okwolesebwa okw’obulimba n’obunnabbi obutaliimu, n’obutaliimu bw’emitima gyabwe. 15 (N)Noolwekyo, bw’atyo bw’ayogera Mukama, ebikwata ku bannabbi abategeeza ebyobunnabbi mu linnya lyange wadde nga sibatumanga, era abagamba nti, ‘Ekitala n’enjala tebijja kujja mu nsi eno.’ Bannabbi abo bennyini bajja kuzikirizibwa ekitala n’enjala. 16 (O)N’abantu be bategeezezza obunnabbi balifa enjala n’ekitala ne bakasukibwa mu nguudo babulweko abaziika, bo ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n’abawala. Kubanga ndibayiwako obusungu obubasaanira.
17 (P)“Kino ky’oba obagamba nti,
“ ‘Leka amaaso gange gakulukute amaziga
emisana n’ekiro awatali kukoma;
kubanga muwala wange embeerera, abantu bange,
bafunye ekiwundu ekinene,
ekintu eky’amaanyi.
18 (Q)Bwe ŋŋenda mu byalo
ndaba abafumitiddwa n’ekitala!
Bwe ŋŋenda mu kibuga
ndaba okutaagulwataagulwa okw’enjala.
Naye nnabbi ne kabona beeyongera okukola emirimu gyabwe mu ggwanga
kyokka nga bye boogera bya bulimba.’ ”
19 (R)Yuda ogigaanidde ddala?
Sayuuni ogyetamiriddwa ddala?
Otufumitidde ddala awatali kuwonyezebwa?
Twasuubira emirembe naye tewali kalungi ke tufunye,
ekiseera eky’okuwonyezebwa
naye laba tufunye bulabe bwereere.
20 (S)Ayi Mukama tukkiriza ebibi byaffe
era n’obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe,
kubanga ddala twayonoona gy’oli.
21 (T)Olw’erinnya lyo totugoba,
tovumaganyisa ntebe yo ey’obwakabaka ey’ekitiibwa.
Jjukira endagaano gye wakola naffe,
togimenya, gituukirize.
22 (U)Waliwo ku bakatonda ababajje bannaggwanga asobola okutonnyesa enkuba?
Eggulu ku bw’alyo lisobola okuleeta enkuba?
Nedda, wabula ggwe, Ayi Mukama Katonda waffe.
Noolwekyo essuubi lyaffe liri mu ggwe,
kubanga ggwe okola bino byonna.
Yuda Wakuzikirira
15 (V)Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Musa ne Samwiri ne bwe bandiyimiridde okunneegayirira, sandisonyiye bantu bano. Bagobe okuva mu maaso gange, banviire. 2 (W)Era bwe bakubuuza nti, ‘Tunaagenda wa?’
“Bagambe nti, ‘Kino Mukama kyagamba nti,
Ab’okuttibwa bagenda kuttibwa,
n’ab’ekitala bafe ekitala, n’ab’enjala bafe enjala,
n’ab’okuwambibwa bawambibwe.’
3 (X)“Ndiweereza engeri nnya ez’okubazikiriza,” bw’ayogera Mukama. “Ekitala kya kufumita, embwa zikulule, ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko zirye n’okuzikiriza. 4 (Y)Era ndibawaayo babeetamwe eruuyi n’eruuyi mu bwakabaka bwonna obw’omu nsi olw’ekyo Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda kye yakola mu Yerusaalemi.
5 (Z)“Ani alikukwatirwa ekisa ggwe Yerusaalemi?
Oba ani alikukungubagira?
Oba ani alikyama okubuuza ebikufaako?
6 (AA)Mwanneegaana,” bw’ayogera Mukama.
“Temutya kudda nnyuma.
Noolwekyo mbagololeddeko omukono gwange
ne mbazikiriza.
Sikyasobola
kukukwatirwa kisa.
7 (AB)Era ndibakuŋŋunta n’ekitiiyo eky’amannyo
mu miryango gy’ebibuga eby’omu nsi.
Ndizikiriza abantu bange ne mbamalawo
kubanga tebaaleka makubo gaabwe.
8 (AC)Bannamwandu beeyongedde obungi
okusinga n’omusenyu gw’ennyanja.
Mu ttuntu mbaleetedde omuzikiriza
amalewo ababazaalira abalenzi abato.
Mbakubiddewo
obubalagaze n’entiisa.
9 (AD)Eyazaala omusanvu ayongobedde,
awejjawejja.
Enjuba ye egudde nga bukyali misana,
amaanyi gamuwedde, ensonyi zimukutte, awuunze, awuubadde.
N’abo abawonyeewo ndi wa kubasogga ekitala,
mu maaso ga balabe baabwe,”
bwayogera Mukama.
10 (AE)Zinsanze, mmange lwaki wanzaala
omuntu eggwanga lyonna gwe lirwanyisa ne likuluusanya?
Siwolanga wadde okweyazika,
kyokka buli muntu ankolimira.
11 (AF)Mukama agamba nti,
“Ddala ndikununula olw’ekigendererwa ekirungi,
ddala ndireetera abalabe bo okukwegayirira,
mu biseera eby’okuluma obujiji, mu biseera eby’akabi.
12 (AG)“Omusajja ayinza okumenya ekikomo
oba ekyuma eky’omu bukiikakkono?
13 (AH)“Ndiwaayo eby’obugagga byo n’ebintu byo eby’omuwendo ennyo
binyagibwe awatali kusasulwa,
olw’ebibi byo byonna
ebikoleddwa mu ggwanga lyonna.
14 (AI)Ndibafuula abasibe b’abalabe bammwe
mu ggwanga lye mutamanyi,
kubanga obusungu bwange bwakukoleeza omuliro
ogunaabookya gubamalewo.”
Yeremiya Yeekaabirako
15 (AJ)Ayi Mukama ggwe omanyi byonna.
Nzijukira ondabirire.
Ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya.
Mu kugumiikiriza kwo okunene tontwala.
Lowooza ku ngeri gye mbonyeebonye ku lulwo.
16 (AK)Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya,
byali ssanyu era okujaguza kw’omutima gwange.
Kubanga mpitibwa linnya lyo,
Ayi Mukama Katonda ow’Eggye.
17 (AL)Situulangako mu kuŋŋaaniro ly’abo ab’ebinyumu
era sibeerangako mu biduula nabo.
Natuulanga nzekka kubanga naliko omukono gwo,
era wandeetera okwekyawa.
18 (AM)Lwaki okulumwa kwange tekukoma
era n’ekiwundu kyange ne kitawona?
Onomberera ng’akagga akalimbalimba
ng’ensulo ekalira?
19 (AN)Noolwekyo kino Mukama ky’agamba nti,
“Bwe muneenenya,
ndibakomyawo musobole okumpeereza;
bwe mulyogera ebigambo ebisaana so si ebitasaanidde,
mulibeera boogezi bange.
Leka abantu bano be baba bajja gy’oli,
so si ggwe okugenda gye bali.
20 (AO)Ndikufuula ekisenge eri abantu bano,
ekisenge ekinywezebbwa eky’ekikomo.
Balikulwanyisa
naye tebalikuwangula,
kubanga ndi naawe,
okukununula, n’okukulokola,”
bw’ayogera Mukama.
21 (AP)“Ndikununula okuva mu mukono gw’abakozi b’ebibi
era n’enkuggya mu mukono gw’abasajja abakambwe,” bw’ayogera Mukama.
Olunaku olw’Akabi
16 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, 2 (AQ)“Towasa, kuzaalira balenzi na bawala mu kifo kino. 3 (AR)Kubanga kino Mukama ky’agamba ku balenzi n’abawala abazaalibwa mu nsi eno era ne ku bakazi ba nnyaabwe ne ku basajja ba kitaabwe. 4 (AS)Balifa endwadde ez’akabi. Tebalibakungubagira wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisaaniko ebisuuliddwa ku ttaka. Balizikirira na kitala era balifa njala; n’emirambo gyabwe girifuuka mmere ya binyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko.”
5 Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Toyingira mu nnyumba we balya emmere y’olumbe, togenda kukungubaga wadde okubasaasira kubanga nziggyewo omukisa gwange n’okwagala kwange era n’okusaasira kwange ku bantu bano,” bw’ayogera Mukama. 6 (AT)Bonna ab’ekitiibwa n’abakopi baakufiira mu nsi eno. Tebajja kuziikibwa wadde okukungubagirwa era tewali ajja kwesala misale wadde okumwa omutwe ku lwabwe. 7 (AU)Tewaliba n’omu aliwaayo mmere okuliisa abakungubagira abafiiriddwa, ne bwaliba kitaabwe oba nnyaabwe nga kwe kuli afudde; tewaliba n’omu alibawaayo wadde ekyokunywa okubakubagiza.
8 (AV)Era toyingiranga mu nnyumba muli kinyumu n’otuula okulya n’okunywa. 9 (AW)Kubanga kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ky’agamba nti, “Nga weerabirako n’amaaso go, mu nnaku z’obulamu bwo, ndikomya eddoboozi ery’essanyu era n’ery’okwesiima ery’abagole omusajja ne mukyala we mu kifo kino.
10 (AX)“Bw’oligamba abantu bino byonna ne bakubuuza nti, ‘Lwaki Mukama atutuusizaako akabi kano konna? Kibi ki kye tukoze? Musango ki gwe tuzizza eri Mukama Katonda waffe?’ 11 (AY)Kale bagambe nti, ‘Kubanga bakitammwe bandeka ne batakuuma mateeka gange,’ bw’ayogera Mukama, ‘ne bagoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza. Bandeka ne batakuuma mateeka gange. 12 (AZ)Era mweyisizza bubi n’okusinga bakitammwe. Laba buli omu nga bwe yeeyisa ng’akakanyaza omutima gwe ogujjudde ebibi mu kifo ky’okuŋŋondera. 13 (BA)Noolwekyo ndibaggya mu nsi eno ne mbateeka mu nsi mmwe gye mutamanyi wadde bakitammwe gye bataamanya, era nga muli eyo muliweereza bakatonda abalala emisana n’ekiro, era siribakwatirwa kisa.’
14 (BB)“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama. “Abantu lwe bataliddayo kwogera nti, ‘Ddala nga Katonda bw’ali omulamu eyaggya Isirayiri mu nsi y’e Misiri,’ 15 (BC)naye baligamba nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era n’okuva mu nsi zonna gye yali abasudde.’ Kubanga ndibakomyawo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe.
16 (BD)“Naye kaakano leka ntumye abavubi bange,” bw’ayogera Mukama, “era bajja kubavuba. Ng’ekyo kiwedde nzija kutumya abayizzi bange, era bajja kubayigga ku buli lusozi era na buli kasozi na buli lwatika lwonna mu njazi. 17 (BE)Amaaso gange galaba buli kye bakola, tebinkwekeddwa wadde obutali butuukirivu bwabwe okuunkwekebwa. 18 (BF)Ndibasasula olw’obutali butuukirivu bwabwe n’olw’ekibi kyabwe emirundi ebiri, kubanga boonoonye ensi yange olw’ebintu ebitaliimu bulamu ne bajjuza omugabo gwange ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakolerere, eby’emizizo.”
19 (BG)Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange,
ekiddukiro kyange mu biro eby’okulabiramu ennaku,
bannaggwanga balijja gy’oli,
okuva ku nkomerero z’ensi bagambe nti,
“Bakitaffe tebaalina kantu okuggyako bakatonda ab’obulimba,
ebifaananyi ebikolerere ebitagasa ebitaabayamba.
20 (BH)Abantu beekolera bakatonda baabwe?
Ye, naye si Katonda!
21 “Noolwekyo ndibayigiriza,
ku mulundi guno;
ŋŋenda kubalaga amaanyi gange n’obuyinza bwange.
Olwo balyoke bamanye nti
erinnya lyange nze Mukama.”
Ekibi n’Ekibonerezo kya Yuda
17 (BI)“Ekibi kya Yuda kiwandiikiddwa n’ekkalaamu ey’ekyuma
n’ejjinja essongovu;
kirambiddwa ku mitima gyabwe
ne ku mayembe g’ebyoto byabwe.
2 (BJ)N’abaana baabwe basinziza
ku byoto bya bakatonda ba Asera
ebiri ku buli muti oguyimiridde
era ne ku busozi obuwanvu.
3 (BK)Olusozi lwange oluli mu nsi,
obugagga bwammwe n’ebintu byo eby’omuwendo byonna,
ndibiwaayo byonna binyagibwe
n’ebifo byammwe ebigulumivu kwe musaddaakira
olw’ekibi ekibunye mu nsi yonna.
4 (BL)Musango gwo ggwe nti olifiirwa ensi gye nakuwa okuba omugabo gwo,
ndikufuula muddu wa balabe bo mu nsi gy’otomanyangako,
kubanga mu busungu bwange omuliro gukoleezeddwa
ogunaayakanga emirembe gyonna.”
5 (BM)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
Akolimiddwa oyo eyeesiga omuntu
era eyeesiga omubiri okuba amaanyi ge,
era alina omutima oguva ku Katonda.
6 (BN)Aliba ng’ekisaka mu ddungu,
ataliraba birungi bwe birijja,
naye alibeera mu biwalakate mu ddungu,
ensi ey’omunnyo omutali abeeramu.
7 (BO)Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama,
nga Mukama ly’essuubi lye.
8 (BP)Ali ng’omuti ogusimbiddwa awali amazzi,
ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali g’omugga,
nga wadde omusana gujja, tegutya
n’amakoola gaagwo tegawotoka,
so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeya
era teguliremwa kubala bibala.
9 (BQ)Omutima mulimba okusinga ebintu byonna,
era gulwadde endwadde etawonyezeka.
Ani ayinza okugutegeera?
10 (BR)“Nze Mukama nkebera omutima,
ngezesa emmeeme,
okuwa buli muntu ng’amakubo ge bwe gali,
ng’ebikolwa bye bwe biri.”
11 (BS)Ng’enkwale bw’eyalula amagi geetebiikanga,
bw’atyo bw’abeera oyo afuna obugagga mu makubo amakyamu;
obulamu bwe nga bwakabeerawo kaseera buseera,
bulimuggwaako era oluvannyuma alizuulibwa nga musiru.
12 (BT)Ekifo kyaffe ekitukuvu,
ntebe ey’ekitiibwa eyagulumizibwa okuva ku lubereberye.
13 (BU)Ayi Mukama essuubi lya Isirayiri,
bonna abakuvaako baliswala.
Abo abakuvaako ne bakuleka baliba ng’abawandiikiddwa mu nfuufu,
kubanga bavudde ku Mukama,
oluzzi olw’amazzi amalamu.
14 (BV)Mponya, Ayi Mukama, nange nnaawona,
ndokola nange nnaalokoka,
kubanga ggwe gwe ntendereza.
15 (BW)Tobakkiriza kuŋŋamba nti,
“Ekigambo kya Mukama kiri ludda wa?
Ka kituukirire nno kaakano!”
16 Sirekeddaawo kuba musumba wa ndiga zo,
omanyi nga sikusabanga kubaleetako nnaku.
Byonna ebiva mu kamwa kange tebikukwekeddwa, obimanyi.
17 (BX)Toba wa ntiisa gye ndi,
ggwe oli buddukiro bwange mu kiseera eky’okulabiramu ennaku.
18 (BY)Abo abanjigganya leka baswale,
era onkuume nneme kuswala;
leka bagwemu ekyekango
nze onkuume nneme okwekanga,
batuuse ku lunaku olw’ekikangabwa,
bazikiririze ddala.
Okukuuma Ssabbiiti nga Ntukuvu
19 (BZ)Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda oyimirire ku mulyango gw’abantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira n’okufuluma; yimirira ne ku nzigi endala eza Yerusaalemi. 20 (CA)Bagambe nti, ‘Muwulirize ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda n’abantu bonna ababeera mu Yerusaalemi, abayita mu miryango gy’ekibuga. 21 (CB)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Weegendereze oleme kufulumya mugugu gwonna mu nnyumba yo wadde okukola omulimu gwonna ku ssabbiiti, naye mukuume olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga temulukolerako mulimu gwonna, 22 (CC)era kuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga bwe nalagira bajjajjammwe.’ 23 (CD)Naye tebaawuliriza wadde okukkiriza okunenyezebwa. 24 Kyokka bwe muneegendereza ne muŋŋondera, bw’ayogera Mukama, ‘ne mutayisa kintu kyonna kye mwetisse mu miryango gy’ekibuga ku ssabbiiti, naye ne mukuuma olwa Ssabbiiti nga lutukuvu obutakolerako mulimu gwonna, 25 (CE)olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi bajja kuyita mu miryango gy’ekibuga n’abakungu baabwe. Bo n’abakungu baabwe baakujja ng’abamu bavuga amagaali abalala nga beebagadde embalaasi, nga bawerekeddwako abasajja ba Yuda n’abo abali mu Yerusaalemi era ekibuga kino kiribeerwamu emirembe gyonna. 26 (CF)Abantu balijja okuva mu bibuga bya Yuda ne mu byalo ebiriraanye Yerusaalemi, okuva mu bitundu bya Benyamini ne mu biwonvu ne mu nsozi z’ebugwanjuba, n’okuva mu nsi ey’ensozi ey’e Negevu, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa, ne ssaddaaka, ebiweebwayo eby’empeke, n’obubaane era n’ebiweebwayo eby’okwebaza mu nnyumba ya Mukama. 27 (CG)Naye bwe mutaŋŋondere kukuuma lunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu ne mwetikkirako emigugu gyammwe nga mufuluma mu nguudo za Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti, ndikoleeza omuliro ogutazikira mu miryango gya Yerusaalemi oguliyokya ebigo byakyo.’ ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.