Beginning
Yeremiya Abuulira mu Yeekaalu
7 Kino kye kigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama. 2 (A)Yimirira ku mulyango gw’ennyumba ya Mukama otegeeze abantu obubaka buno.
Muwuliriza ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abantu ba Yuda abayita mu miryango gino okusinza Mukama. 3 (B)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Mulongoose amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe, nange ndibalekera ekifo kino ne mubeeramu. 4 (C)Teweesiga bigambo bino ebibuzaabuza ne mwogera nti, ‘Eno ye yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama!’ 5 (D)Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe; era bwe munaalaganga obwenkanya eri omuntu ne munne, 6 (E)ne mulekayo okunyigiriza omugwira, ne mulekwa, ne nnamwandu, ne mulekayo n’okutta abataliiko musango mu kifo ekyo, era ne mutasinza bakatonda abalala okwereetera emisango mmwe bennyini, 7 (F)kale ndibatuuza mu kifo ekyo mu nsi gye nawa bajjajjammwe ebeere yammwe emirembe n’emirembe. 8 Kale laba, mwesiga ebigambo ebitaliimu, ebitagasa.
9 (G)“Munabba ne mutta, ne mukola obwenzi ne mulayira eby’obulimba, ne mwoteza obubaane eri Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga; 10 (H)ne mulyoka mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno, eyitibwa Erinnya lyange, ne mugamba nti, ‘Tuli bulungi, tuli bulungi,’ ne mulyoka mukola eby’emizizo byonna? 11 (I)Mulowooza nti ennyumba eno eyitibwa ennyumba yange, mpuku y’abanyazi? Laba, nze kennyini nkirabye,” bw’ayogera Mukama.
12 (J)“Mugende kaakano mu kifo kyange ekyali e Siiro ekifo gye nasooka okuteeka essinzizo ly’erinnya lyange, mulabe kye nakikola olw’ekibi ky’abantu bange Isirayiri. 13 (K)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Bwe mwali mukola ebintu bino byonna, nayogera nammwe emirundi mingi naye ne mutampulira; nabakoowoola ne mutampitaba. 14 (L)Noolwekyo, ekyo kye nakola e Siiro nzija kukikola kaakano ku nnyumba eyitibwa Erinnya lyange, era gye mwesiga, era n’ebifo bye nabawa mmwe ne bakitammwe. 15 (M)Ndibagoba ne mu maaso gange, nga bwe nagoba baganda bammwe bonna, ezzadde lya Efulayimu lyonna.
16 (N)“Noolwekyo tosabira bantu abo wadde okubegayiririra newaakubadde okubasabira oba okubawolereza, kubanga siikuwulire. 17 Tolaba bye bakola mu bibuga bya Yuda era ne mu nguudo za Yerusaalemi? 18 (O)Abaana balonda enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, olwo abakazi ne bakanda eŋŋaano ne bakolera kabaka w’eggulu omukazi emigaati. Bafuka ekiweebwayo ekyokunywa eri bakatonda abalala okunkwasa obusungu. 19 (P)Naye nze gwe balumya?” bw’ayogera Mukama. “Tebeerumya bokka, ne beeswazaswaza?”
20 (Q)Noolwekyo bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Laba obusungu bwange n’ekiruyi kyange bijja kufukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo, ku miti egy’omu ttale era ne ku bibala eby’omu ttaka; bujja kubuubuuka era tebujja kukoma.”
Okugaana Okuwulira Bannabbi
21 (R)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mugatte ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, ennyama mugyeriire. 22 (S)Kubanga ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri saayogera eri bakitammwe wadde okubalagira ebikwata ku biweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka. 23 (T)Naye etteeka lino lye nabawa ligamba nti, ‘Muŋŋondere, nange nnaabeera Katonda wammwe, nammwe munaabeera bantu bange. Mutambulire mu makubo gonna ge mbalagira, mulyoke mubeere bulungi.’ 24 (U)Naye tebampulira wadde okunzisaako omwoyo, wabula bagoberera okuteesa kw’emitima gyabwe egijjudde ebibi. Badda emabega so tebaalaga mu maaso. 25 (V)Okuva mu biseera bajjajjammwe bye baaviiramu e Misiri okutuusa kaakano, mbadde mpeereza abaddu bange bannabbi emirundi n’emirundi. 26 (W)Naye tebampuliriza wadde okunzisaako omwoyo, bakakanyaza ensingo zaabwe era ne bakola ebibi ne basinga ne bajjajjaabwe.
27 (X)“Kale ojja kubagamba bino byonna naye tebajja kukuwuliriza, bw’onoobayita tebajja kukwanukula. 28 Noolwekyo bagambe nti, ‘Lino ly’eggwanga eritagondera Mukama Katonda waalyo oba okufaayo ku kugololwa. Amazima gabulawo, tegali ku mimwa gyabwe. 29 (Y)Salako enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala ddala okaabire ku ntikko z’ensozi, kubanga Mukama alese abantu be era n’asuula ab’omu mulembe guno mw’asunguwalidde ennyo.’ ”
Ekiwonvu eky’Okufiiramu
30 (Z)“Abantu ba Yuda bakoze ekintu eky’ekivve mu maaso gange, bw’ayogera Mukama. Batadde bakatonda abalala mu nnyumba yange eyitibwa erinnya lyange ne bagyonoona. 31 (AA)Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Tofesi mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ne bassaddaakiramu batabani baabwe be bazaala n’abawala, kye saalowoozaako wadde okukibalagira. 32 (AB)Laba, ennaku zijja,” bw’atyo bw’ayogera Mukama, bwe kitariyitibwa Kiwonvu kya Tofesi oba ekya Kinnomu ne kiyitibwa Kiwonvu kya ttambiro: kubanga baliziikamu Tofesi okutuusa we wataliba bbanga lya kuziikamu. 33 (AC)Era emirambo gy’abantu bano gifuuke emmere y’ebinyonyi eby’omu bbanga era n’ensolo ez’omu nsiko, era waleme kubaawo muntu wakuzigoba; 34 (AD)olwo nga nkomezza amaloboozi ag’okusanyuka n’okujaguza, n’eddoboozi ly’omusajja awasa n’ery’omugole we mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, olwo ensi ng’efuuse matongo.
8 “Mu kiseera ekyo, bw’ayogera Mukama, amagumba ga bakabaka ba Yuda, n’amagumba g’abalangira, n’amagumba ga bakabona, n’amagumba ga bannabbi, n’amagumba g’abatuuze b’omu Yerusaalemi galiggyibwa mu ntaana zaago. 2 (AE)Kale galyanikibwa mu musana, eri omwezi n’emmunyeenye ez’omu ggulu, ze baayagala era ne baaweereza era ze baagoberera ne beebuuzaako ne basinza. Tebalikuŋŋaanyizibwa wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisasiro wansi ku ttaka. 3 (AF)N’abantu b’ensi eno ennyonoonyi bw’etyo abalisigalawo, be ndiba nsasaanyizza mu mawanga, balyegomba okufa okusinga okuba abalamu,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
Ekibi n’Okubonerezebwa
4 (AG)“Bategeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Omuntu bw’agwa, tayimuka?
Oba omuntu bw’ava mu kkubo ettuufu, takyusa n’adda?
5 (AH)Kale lwaki abantu bange bano
banvaako ne bagendera ddala?
6 (AI)Nawuliriza n’obwegendereza
naye tebayogera mazima;
tewali muntu yenna yeenenya bibi byakoze n’okwebuuza nti,
‘Kiki kino kye nkoze?’
Buli muntu akwata kkubo lye
ng’embalaasi efubutuka ng’etwalibwa mu lutalo.
7 (AJ)Ebinyonyi ebibuukira mu bbanga
bimanyi ebiseera mwe bitambulira;
ne kaamukuukulu n’akataayi ne ssekanyolya
bimanyi ebiseera mwe bikomerawo,
naye abantu bange
tebamanyi biragiro bya Mukama.”
8 (AK)Muyinza mutya okwogera nti,
“Tuli bagezi nnyo, n’amateeka ga Mukama tugalina,
ate nga ekkalaamu y’abawandiisi ey’obulimba
yeebikyusizza.
9 (AL)Abagezigezi baliswala ne bakeŋŋentererwa
era balitwalibwa.
Bagaanyi ekigambo kya Mukama,
magezi ki ge balina?
10 (AM)Noolwekyo bakazi baabwe
ndibagabira abasajja abalala
n’ennimiro zaabwe
zitwalibwe abantu abalala.
Bonna ba mululu okuva ku asembayo wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,
nnabbi ne kabona bonna balimba ne babba abantu.
11 (AN)Ebiwundu by’abantu bange babijjanjaba nga tebafaayo,
babikomya kungulu nga boogera nti,
Mirembe, Mirembe, ate nga teri mirembe.
12 (AO)Baakwatibwa ensonyi bwe baakola ebivve?
Nedda tebakwatibwa nsonyi wadde,
so tebamanyi wadde okulimbalimba.
Noolwekyo baligwira mu bagudde,
balikka lwe balibonerezebwa,”
bw’ayogera Mukama.
13 (AP)“Ndimalirawo ddala amakungula gaabwe,”
bw’ayogera Mukama.
Tewaliba zabbibu,
na mutiini,
n’ebikoola byabwe biriwotoka.
Bye mbawadde
biribaggyibwako.
14 (AQ)Kiki ekitutuuzizza wano obutuuza?
Mukuŋŋaane.
Tuddukire mu bibuga ebiriko bbugwe
tuzikiririre eyo.
Mukama Katonda atuwaddeyo tuzikirire
era atuwadde amazzi agalimu obutwa tuganywe,
kubanga twonoonye mu maaso ge.
15 (AR)Twasuubira mirembe
naye tewali bulungi bwajja;
twasuubira ekiseera eky’okuwonyezebwa
naye waaliwo ntiisa.
16 (AS)Okukaaba kw’embalaasi z’omulabe kuwulirwa mu Ddaani;
ensi yonna yakankana olw’okukaaba kw’embalaasi.
Bajja okuzikiriza
ensi ne byonna ebigirimu,
ekibuga ne bonna abakibeeramu.
17 (AT)“Laba, ndikusindikira emisota egy’obusagwa,
amasalambwa g’otasobola kufuga,
emisota egyo girikuluma,”
bwayogera Mukama.
18 (AU)Nnina ennaku etewonyezeka,
omutima gwange gwennyise.
19 (AV)Wuliriza okukaaba kw’abantu bange
okuva mu nsi ey’ewala.
“Mukama taliimu mu Sayuuni?
Kabaka we takyalimu?”
“Lwaki bansunguwaza n’ebifaananyi byabwe,
bakatonda abalala abatagasa?”
20 “Amakungula gayise,
n’ekyeya kiyise,
tetulokolebbwa.”
21 (AW)Nnumiziddwa olw’okulumizibwa kwa muwala wange.
Nkaaba ne nzijula ennaku.
22 (AX)Teri ddagala mu Gireyaadi?
Teriiyo musawo?
Lwaki ekiwundu ky’abantu bange
tekiwonyezebwa?
9 (AY)Woowe, singa omutwe gwange gubadde mugga
n’amaaso gange luzzi lwa maziga,
nnandikaabye emisana n’ekiro
olw’abantu bange be batta!
2 (AZ)Woowe singa mbadde n’ekisulo
ky’abatambuze mu ddungu,
nnandivudde ku bantu bange
ne mbaleka
kubanga bonna benzi,
bibiina by’abasajja ab’enkwe.
3 (BA)“Bategeka olulimi lwabwe
ng’omutego ogunasula obulimba;
bakulaakulanye mu ggwanga
naye nga tebayimiridde ku mazima,
kubanga bakola ekibi kino ate ne bongera ekirala;
era tebammanyi,”
bw’ayogera Mukama.
4 (BB)“Mwegendereze mikwano gyammwe
era temwesiganga baganda bammwe:
kubanga buli wa luganda mulimba
na buli wamukwano agenda awaayiriza buwaayiriza.
5 Buli muntu alimba muliraanwa we
era tewali n’omu ayogera mazima.
Bayigirizza ennimi zaabwe okulimba
ne beemalamu amaanyi nga bakola ebitali bya butuukirivu.
6 (BC)Mubeera wakati mu bulimba;
mu bulimba bwabwe bagaana okummanya,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
7 (BD)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Laba, ndibalongoosa ne mbagezesa,
kiki ate kye nnaakolera abantu bange
kubanga boonoonye?
8 (BE)Olulimi lwabwe kasaale akatta,
lwogera bya bulimba,
buli muntu ayogeza mirembe n’akamwa ke,
naye mu mutima gwe ategeka kumutega.
9 (BF)Nneme okubabonereza olw’ebintu bino?”
bw’ayogera Mukama.
“Seesasuze ku ggwanga
eriri nga lino?”
10 (BG)Ndikaaba ne nkungubagira ensozi
era ne nkungubagira amalundiro ag’omu ddungu.
Galekeddwa awo era tegayitwamu,
n’okukaaba kw’ente tekuwulirwa.
Ebinyonyi eby’omu bbanga tebikyawulirwa
n’ensolo ez’omu nsiko zidduse.
11 (BH)“Ndifuula Yerusaalemi entuumu y’ebifunfugu,
ekisulo ky’ebibe.
Era ndyonoona ebibuga bya Yuda
waleme kubaawo muntu yenna abeeramu.”
12 (BI)Mugezigezi ki anaayinza okutegeera kino? Ani oyo Mukama gw’abuulidde alyoke akinnyonnyole? Lwaki ensi eyonoonese ng’eddungu ne wataba agiyitamu?
13 (BJ)Mukama n’agamba nti, “Kubanga balese amateeka gange, ge nabateekerawo. Tebaŋŋondedde wadde okugoberera amateeka gange. 14 (BK)Naye, bagoberedde obukakanyavu bw’emitima gyabwe ne basinza ebifaananyi bya Babaali nga bajjajjaabwe bwe baabayigiriza.” 15 (BL)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Laba ndiriisa abantu bano emmere ekaawa ne mbanyweesa n’amazzi ag’obutwa. 16 (BM)Ndibasaasaanya mu mawanga bakitaabwe ge bataamanya; era ndibasindiikiriza n’ekitala, okutuusa nga mbazikirizza.”
17 (BN)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Mulowooze kaakano, muyite abakazi abakungubazi, bajje;
era mutumye abasingayo obumanyirivu.
18 (BO)Leka bajje mangu
batukaabireko
okutuusa amaaso gaffe lwe ganaakulukuta amaziga,
n’obukoowekoowe bwaffe ne butiiriika amazzi.
19 (BP)Kubanga amaloboozi ag’okukungubaga gawuliddwa mu Sayuuni;
‘Nga tunyagiddwa!
Nga tuswadde nnyo!
Tuteekwa okuva mu nsi yaffe
kubanga amayumba gaffe gazikiriziddwa.’ ”
20 (BQ)Kaakano mmwe abakazi, muwulirize ekigambo kya Katonda,
era mutege okutu kwammwe kuwulire ekigambo ky’akamwa ke.
Muyigirize bawala bammwe okukaaba,
era buli muntu ayigirize munne okukungubaga.
21 (BR)Kubanga okufa kutuyingiridde mu madirisa,
kuyingidde mu mbiri zaffe,
okugoba abaana okubaggya ku nguudo,
n’abavubuka okubaggya mu bifo ebisanyukirwamu.
22 (BS)“Yogera,” bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,
“ ‘Emirambo gy’abasajja abafudde
gijja kugwa ng’obusa ku ttale
ng’ebinywa by’eŋŋaano ensale bwe bigwa
emabega w’omukunguzi nga tebiriiko alonda.’ ”
23 (BT)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Omusajja omugezi aleme kwenyumiririza mu magezi ge,
oba omusajja ow’amaanyi okwenyumiririza mu maanyi ge
oba omugagga mu bugagga bwe.
24 (BU)Naye leka oyo eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu kino:
nti antegeera era ammanyi,
nti nze Mukama akola ebyekisa
n’eby’ensonga n’eby’obutuukirivu mu nsi,
kubanga mu byo mwe nsanyukira,”
bw’ayogera Mukama.
25 (BV)“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “lwe ndibonereza abo bonna abakomole obukomozi mu mubiri: 26 (BW)Misiri, ne Yuda, ne Edomu, n’abaana ba Amoni, ne Mowaabu, era n’abo bonna ababeera mu ddungu mu bifo eby’ewala. Kubanga amawanga gano gonna ddala si makomole, ate era n’ennyumba ya Isirayiri yonna si nkomole mu mutima.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.