Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Engero 22-23

Omugaso gw’Erinnya Eddungi

22 (A)Erinnya eddungi lyagalibwa okusinga eby’obugagga ebingi,
    n’okuganja kusinga ffeeza oba zaabu.

(B)Abagagga n’abaavu balina kimu ekibagatta,
    Mukama ye Mutonzi waabwe bonna.

(C)Omuntu omutegeevu bw’alaba akabi yeekweka,
    naye abatalina magezi bagenda bugenzi mu maaso ne balumizibwa.

Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu
    y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.

(D)Amaggwa n’emitego biri mu kkubo ly’omubambaavu;
    naye oyo akuuma emmeeme ye anaabyewalanga.

(E)Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,
    ne bw’alikula talirivaamu.

Omugagga afuga abaavu,
    naye eyeewola aba muddu w’oyo amuwola.

(F)Asiga obutali butuukirivu akungula mitawaana,
    n’oluga olw’obusungu bwe lulizikirizibwa.

(G)Omuntu omugabi anaabanga n’omukisa,
    kubanga emmere ye agirya n’abaavu.

10 (H)Goba omunyoomi, entalo zinaagenda,
    ennyombo n’okuvumagana binaakoma.

11 (I)Omuntu eyeegomba omutima omulongoofu
    era ayogera n’eggonjebwa, talirema kuganja ewa kabaka.

12 Amaaso ga Mukama galabirira amazima,
    era adibya entegeka z’abatali beesigwa.

13 (J)Omugayaavu ayogera nti, “Ebweru eriyo empologoma,”
    oba nti, “Nnyinza okutemulirwa mu kkubo.”

14 (K)Malaaya mutego gwa kabi,
    akolimiddwa Mukama mw’afiira.

15 (L)Obusirusiru busibiddwa ku mutima gw’omwana omuto,
    naye omuggo ogukangavvula gulimuwonyeza ddala.

16 Omuntu atulugunya abaavu ne yeeyongera okugaggawala,
    n’oyo agabira omugagga awa abagagga enguzi, enkomerero ya bombi bwavu.

17 (M)Ossangayo omwoyo okuwuliriza ebigambo by’omugezi,
    n’omutima gwo eri ebyo bye njigiriza.
18 Kibeera kya ssanyu bw’obikwata ku mutima gwo,
    n’oba mwetegefu okubiddamu byonna.
19 Mbikumanyisa leero ggwe,
    obwesige bwo bubeerenga mu Mukama.
20 Kale sikuwandiikidde ebintu amakumi asatu ebikuwabula
    era ebikuwa okumanya?
21 (N)Sikulaze ekirungi n’ekituufu,
    olyoke obe n’eky’okuddamu eri oyo eyakutuma?

22 (O)Tonyaganga mwavu, kubanga mwavu,
    oba okutulugunyanga aleeteddwa mu mbuga.
23 (P)Kubanga Mukama alibawolereza,
    n’abo ababanyaga alibanyaga.

24 Tokwananga muntu wa busungu,
    oba okuyitanga n’omuntu anyiiganyiiga amangu,
25 (Q)oleme okuyiga amakubo ge
    ne weesuula mu mitawaana.

26 (R)Teweegattanga ku abo abeeyama,
    newaakubadde ku abo abeeyimirira ab’amabanja.
27 (S)Bw’oliba nga tolina kya kusasula
    ekitanda kyo kyennyini kye kirikuggyibwako.

28 (T)Tojjululanga nsalo
    bajjajjaabo gye bassaawo edda.

29 (U)Omanyi omuntu omunyiikivu era omukugu mu mulimu gwe?
    Aliweereza bakabaka; taliweereza bantu batamanyiddwa.
23 Bw’otuulanga okulya n’omufuzi,
    weetegerezanga ebiri mu maaso go;
era weegendereze
    bw’obanga omanyi ng’olulunkanira ebyokulya.
(V)Tolulunkanira mmere ye ennungi,
    kubanga erimbalimba.

Teweemalangako mirembe ng’oyaayaanira obugagga;
    weefuge obeere mukkakkamu.
(W)Eby’obugagga obikubako eriiso limu nga by’agenze dda,
    kubanga ddala bimera ebiwaawaatiro
    ne bibuuka mu bbanga ng’empungu.

(X)Tolyanga mmere ya muntu mukodo,
    wadde okwegomba ebirungi by’alya.
Kubanga ye muntu
    abalirira ensimbi z’asaasaanyizza,
    n’akugamba nti, “Weeriire, weenywere,”
    naye ng’omutima gwe tegukusanyukira.
Akatono k’onooba olidde onookasesema,
    ebigambo byo ebirungi eby’okwebaza bibe bya bwereere.

(Y)Totegana kubuulirira musirusiru,
    kubanga ajja kunyooma ebigambo byo eby’amagezi.

10 (Z)Tojjululanga nsalo ey’edda,
    so toyingiriranga nnimiro za bamulekwa,
11 (AA)kubanga abalwanirira w’amaanyi,
    alikuggulako omusango.

12 Ossangayo omwoyo eri okuyigirizibwa,
    n’amatu go eri ebigambo by’okutegeera.

13 Tolekangayo kukangavvula mwana,
    bw’omubonereza n’akaggo tekimutta.
14 Mubonerezenga n’akaggo,
    kiwonye emmeeme ye okufa.

15 Mwana wange, bw’oba n’omutima ogw’amagezi,
    kinsanyusa.
16 (AB)Nnaajjaguzanga okuva ku ntobo y’omutima gwange,
    bw’onooyogeranga ebituufu.

17 (AC)Omutima gwo gulemenga okukwatirwa aboonoonyi obuggya,
    kyokka nyiikira okutya Mukama ebbanga lyonna.
18 (AD)Mazima ddala onoobanga n’essuubi mu biseera eby’omu maaso,
    n’essuubi lyo eryo teririggwaawo.

19 Mwana wange wulirizanga, obeerenga n’amagezi,
    okumenga omutima gwo mu kkubo ettuufu.
20 (AE)Teweegattanga ku abo abeekamirira omwenge,
    n’abalulunkanira ennyama:
21 (AF)Kubanga omutamiivu n’omuluvu baavuwala,
    n’okubongoota olutata kubambaza enziina.

22 (AG)Wulirizanga kitaawo eyakuzaala,
    so togayanga nnyoko ng’akaddiye.
23 (AH)Gula amazima so togatunda,
    ffuna amagezi, n’okuyigirizibwa n’okutegeera.
24 (AI)Kitaawe w’omutuukirivu alina essanyu lingi,
    n’oyo azaala omwana ow’amagezi amwenyumiririzaamu.
25 Leka kitaawo ne nnyoko basanyuke,
    omukazi eyakuzaala ajaguzenga.

26 (AJ)Mwana wange mpa omutima gwo,
    n’amaaso go geekalirize amakubo gange,
27 (AK)kubanga omukazi omwenzi lukonko luwanvu,
    n’omukazi omubambaavu luzzi lufunda.
28 (AL)Ateega ng’omutemu,
    n’ayongera ku muwendo gw’abasajja abatali beesigwa eri bakazi baabwe.

29 Ani alina obuyinike? Ani alina ennaku?
    Ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya?
    Ani alina ebiwundu eby’obwereere? Ani amyuse amaaso?
30 (AM)Abo abatava ku mwenge,
    nga bagenda baloza ku mwenge omutabule.
31 Totunuulira wayini ng’amyuse,
    bw’atemaganira mu ggiraasi
    ng’akka empolampola;
32 ku nkomerero aluma ng’omusota,
    wa busagwa ng’essalambwa.
33 Amaaso go galiraba ebyewuunyo,
    n’omutwe gwo ne gulowooza ebitategeerekeka.
34 Oliba ng’omuntu eyeebase wakati mu nnyanja,
    obanga oyo alengejjera waggulu ku mulongooti.
35 Olyogera nti, “Bankubye, naye sirumiddwa.
    Bankubye naye sirina kye mpuliddemu.
Nnaazuukuka ddi,
    neeyongere okunywa?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.