Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Samwiri 9-12

Samwiri Afuka ku Sawulo Amafuta

(A)Waaliwo omusajja Omubenyamini eyali omututumufu erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeri, mutabani wa Zeroli, mutabani wa Bekolaasi, mutabani wa Afiya, Omubenyamini. (B)Yalina mutabani we erinnya lye Sawulo, nga mulenzi alabika bulungi, era nga tewali amwenkana obulungi mu bantu ba Isirayiri, nga muwanvu okusinga abantu bonna.

Endogoyi za Kiisi, kitaawe wa Sawulo zaali zibuze. Kiisi n’agamba mutabani we Sawulo nti, “Twala omu ku baweereza, mugende munoonye endogoyi.” (C)Ne bayitira mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ne mu nsi ya Salisa, naye ne bataziraba. Ne bayita ne mu nsi ya Saalimu naye ne bataziraba. Ne bayita ne mu nsi ye Benyamini, naye ne zibabula.

(D)Awo bwe baatuuka mu nsi ya Zufu, Sawulo n’agamba omuweereza eyali naye nti, “Jjangu tuddeyo, sikuba nga kitange ava ku b’endogoyi, n’atandika okweraliikirira ffe.” (E)Naye omuweereza n’amuddamu nti, “Laba, mu kibuga muno mulimu omusajja wa Katonda, era assibwamu nnyo ekitiibwa, na buli ky’ayogera kituukirira. Tugendeyo, oboolyawo anaayinza okututegeeza ekkubo lye tuba tukwata.” (F)Sawulo n’agamba omuweereza we nti, “Naye bwe tugendayo, omusajja tunaamutwalira ki? Emmere eweddemu mu nsawo zaffe, ate tewali na kirabo kya kutwalira musajja wa Katonda. Tulinawo ki?”

Omuweereza n’addamu Sawulo nti, “Laba, wano nninawo gulaamu ssatu eza ffeeza, era ze nzija okuwa omusajja wa Katonda atutegeeze ekkubo lye tuba tukwata.” (G)(Edda mu Isirayiri, omuntu bwe yagendanga okwebuuza ku Katonda, yayogeranga nti, “Jjangu tugende ew’omulabi;” kubanga ayitibwa nnabbi mu nnaku zino, edda ye yayitibwanga omulabi).

10 Sawulo n’amuddamu nti, “Oteesezza bulungi, jjangu tugende.” Ne basitula okugenda mu kibuga omusajja wa Katonda gye yali. 11 (H)Awo bwe baali nga balinnyalinnya akasozi okugenda mu kibuga ne basisinkana abawala abaali bagenda okusena amazzi, ne bababuuza nti, “Omulabi gy’ali?” 12 (I)Ne babaddamu nti, “Gy’ali. Ali mu maaso awo. Mwanguweeko, yaakatuuka kati mu kibuga, kubanga leero abantu balina ssaddaaka ey’okuweerayo mu kifo ekigulumivu. 13 Bwe munaaba nga mwakayingira mu kibuga, mujja kumusisinkana nga tannayambuka kuliira[a] mu kifo ekigulumivu. Abantu tebajja kulya nga tannatuuka, kubanga alina okusabira ssaddaaka omukisa n’oluvannyuma abayitiddwa balyoke balye. Kaakano mwanguwe mugende, mujja kumusisinkana.”

14 Awo ne bayambuka okugenda mu kibuga. Bwe baali bakiyingira ne balaba Samwiri ng’ajja gye bali, ng’ayolekedde ekifo ekigulumivu. 15 Kyokka bwe waali wakyabulayo olunaku lumu Sawulo ajje, Mukama yali abikkulidde Samwiri ekigambo ng’agamba nti, 16 (J)“Enkya ku ssaawa nga zino nzija kukusindikira omusajja okuva mu nsi ya Benyamini. Mufukeeko amafuta okuba omukulembeze w’abantu bange, Isirayiri; oyo y’alirokola abantu bange okuva mu mukono gw’Abafirisuuti. Ntunuulidde abantu bange; okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.”

17 (K)Awo Samwiri olwalengera Sawulo, Mukama n’amugamba nti, “Omusajja gwe nakutegeezezzaako wuuyo. Oyo y’ajja okufuga abantu bange.” 18 Sawulo n’asemberera Samwiri mu mulyango, n’amubuuza nti, “Ssebo oyinza okundagirira ennyumba y’omulabi w’eri?” 19 Samwiri n’amuddamu nti, “Nze mulabi, nkulemberaamu nga twambuka mu kifo ekigulumivu, kubanga leero onooliira wamu nange, enkya ku makya nzija kukuleka ogende era nzija kukubuulira ebyo byonna ebiri ku mutima gwo. 20 (L)Naye ebifa ku ndogoyi zo ezimaze ennaku essatu nga zibuze, tobyeraliikirira, kubanga zaazuuliddwa. Okwegomba kwa Isirayiri yonna kunaaba kw’ani, bwe kutaabe ku ggwe n’ennyumba ya kitaawo yonna?” 21 (M)Sawulo n’addamu nti, “Nze ndi Mubenyamini, era nva mu kika ekisingirayo ddala obutono, ate nga n’ennyumba yaffe y’esingira ddala okuba eya wansi mu nnyumba zonna ez’ekika kya Benyamini. Lwaki oyogera nange ebigambo ebifaanana ng’ebyo?” 22 Awo Samwiri n’atwala Sawulo n’omuweereza we mu kisenge ekinene, n’abatuuza mu bifo eby’oku mwanjo mu maaso g’abo bonna abaayitibwa abaali bawera ng’amakumi asatu.

23 Samwiri n’agamba omufumbi nti, “Leeta ekifi ky’ennyama, kye nakuteresezza, kye nakugambye oteeke wabbali.”

24 (N)Awo omufumbi n’addira ekisambi, n’ebyakiriko n’akiteeka mu maaso ga Sawulo. Samwiri n’ayogera nti, “Laba kino kye kyakuterekeddwa. Kirye kubanga kyakuterekeddwa okutuusa ekiseera kino olw’omukolo guno, okuva ku kiseera kiri, bwe nagamba nti, ‘Nnina abagenyi abayite.’ ” Awo Sawulo n’aliira wamu ne Samwiri ku lunaku olwo. 25 (O)Bwe baava mu kifo ekigulumivu ne baserengeta mu kibuga, Samwiri n’atwala Sawulo waggulu ku nnyumba ye ne banyumyamu. 26 Awo enkeera Samwiri n’agolokoka mu makya n’akoowoola Sawulo nti, “Golokoka nkusibule odde ku lugendo lwo.” Sawulo ne yeteekateeka, ye ne Samwiri ne baserengeta okugenda mu kibuga. 27 Bwe baali baserengeta nga banaatera okutuuka ekibuga we kikoma, Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Gamba omuweereza wo ayitewo, atukulemberemu, gwe osigaleko wano, nkutegeeze obubaka obuva eri Katonda.”

10 (P)Awo Samwiri n’addira eccupa ey’amafuta n’agifuka ku mutwe gwa Sawulo, n’amunywegera ng’agamba nti, “Mukama akufuseeko amafuta okufuga abantu be, Isirayiri. (Q)Bw’onoova wano leero, onoosisinkana abasajja babiri okumpi n’amalaalo ga Laakeeri, e Zereza ku nsalo ya Benyamini, banaakugamba nti, ‘Endogoyi ze wagenda okunoonya zaalabise. Kitaawo kaakano takyalowooza ku ndogoyi, naye, yeeraliikirira ggwe, nga yeebuuza nti, “Ebya mutabani wange mbikole ntya?” ’ 

(R)“Bw’onoova awo, ne weeyongerayo okutuuka ku mwera gwa Taboli, onoosisinkana abasajja basatu abanaaba bagenda okusisinkana Katonda e Beseri, omu nga yeetisse obubuzi busatu, omulala nga yeetisse emigaati esatu, n’omulala ng’asitudde eccupa y’envinnyo. Banaakulamusa ne bakuwa emigaati ebiri, era gikkirize.

(S)“Bw’onoova eyo ogenda ku Lusozi lwa Katonda oluliko ekigo eky’Abafirisuuti. Bw’onooba onootera okutuuka ku kibuga, onoosisinkana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta okuva mu kifo ekigulumivu nga bakulembeddwamu abakuba entongooli, n’ebitaasa, n’endere, n’ennanga, era nga bawa obunnabbi. (T)Omwoyo wa Mukama anakukkako mu maanyi, n’owa obunnabbi wamu nabo, era onookyusibwa n’ofuuka omuntu omuggya. (U)Obubonero obwo bwe bunaatuukirira, kola kyonna ky’onoolaba nga kituufu, kubanga Katonda ali wamu naawe.

(V)“Serengeta onsookeyo e Girugaali[b]. Nnaakugoberera ne nzija gy’oli okuwaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, naye oteekwa okunnindako okumala ennaku musanvu okutuusa lwe ndijja gy’oli ne nkutegeeza eky’okukola.”

Sawulo Afuulibwa Kabaka

(W)Awo Sawulo bwe yava eri Samwiri, Katonda n’amuwa omutima omuggya, n’obubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo. 10 (X)Bwe baatuuka ku lusozi ekibiina kya bannabbi ne kimusisinkana, Omwoyo wa Katonda n’amukkako mu maanyi era n’atandika okuwa obunnabbi wamu nabo. 11 (Y)Abaali baamumanya okuva edda n’edda bwe baamulaba ng’awa obunnabbi wamu ne bannabbi, ne bagambagana nti, “Kiki kino ekituuse ku mutabani wa Kiisi? Sawulo naye ali omu ku bannabbi?” 12 Omu ku batuuze b’ekitundu ekyo n’abuuza nti, “Ye kitaabwe y’ani?” Kyerwava lufuuka olugero nti, “Ne Sawulo ali omu ku bannabbi?” 13 Awo Sawulo bwe yamala okuwa obunnabbi, n’ayambuka mu kifo ekigulumivu.

14 (Z)Awo kojja wa Sawulo n’ababuuza ye n’omuweereza nti, “Mubadde wa?” N’addamu nti, “Tubadde tunoonya endogoyi, naye bwe tutaazirabye, ne tugenda eri Samwiri.” 15 Kojja wa Sawulo n’amugamba nti, “Mbuulira Samwiri kye yakugambye.” 16 (AA)Sawulo n’addamu nti, “Yatutegeeza nti endogoyi zaali zirabise.” Naye n’atamubuulira Samwiri bye yamugamba ku by’obwakabaka.

17 (AB)Samwiri n’ayita abantu ba Isirayiri bakuŋŋaanire eri Mukama e Mizupa[c]. 18 (AC)N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Naggya Isirayiri mu Misiri, ne mbalokola okuva mu mukono gw’Abamisiri, ne mu mukono gw’obwakabaka bwonna obwabajooganga. 19 (AD)Naye kaakano mujeemedde Katonda wammwe eyabalokola okuva mu buyinike bwammwe n’ennaku yammwe, ne mwogera nti, Nedda, tuteerewo kabaka atufuge.’ Kale mweyanjule mu maaso ga Mukama mu bika byammwe ne nnyiriri zammwe nga bwe biri.”

20 Awo Samwiri bwe yasembeza ebika byonna ebya Isirayiri okumpi ne we yali, ekika kya Benyamini ne kirondebwa na kalulu[d]. 21 N’asembeza ekika kya Benyamini, lunyiriri ku lunyiriri, era olunyiriri lwa Materi ne lulondebwa. N’oluvannyuma Sawulo mutabani wa Kiisi n’alondebwa, naye bwe baamunoonya, nga talabika. 22 (AE)Ne beeyongera okwebuuza ku Mukama nti, “Omusajja w’ali wano, atuuse?”

Awo Mukama n’abaddamu nti, “Ye, yeekwese mu bitereke.”

23 (AF)Ne badduka ne bagenda ne bamuleeta. Bwe yayimirira mu bantu, n’aba ng’asinga abantu bonna obuwanvu. 24 (AG)Samwiri n’agamba abantu bonna nti, “Mulaba omusajja Mukama gw’alonze? Tewali amwenkana mu bantu bonna.” Abantu ne baddamu n’eddoboozi eddene nti, “Wangaala Kabaka.”

25 (AH)Samwiri n’annyonnyola abantu ebiragiro n’obulombolombo eby’obwakabaka, n’abiwandiika mu kitabo n’akiteeka mu maaso ga Mukama. Awo Samwiri n’asiibula abantu bonna, buli omu n’addayo ewuwe.

26 (AI)Sawulo naye n’addayo ewaabwe mu Gibea, ng’awerekerwako abasajja abazira Katonda be yali akomyeko ku mitima. 27 (AJ)Naye abamu ku basajja ab’effujjo ne boogera nti, “Omusajja ono ayinza atya okutulokola?” Ne bamunyooma, era ne batamuwa na birabo. Naye Sawulo n’akisirikira n’atabanyega.

Sawulo Anunula Ekibuga Yabesi

11 (AK)Awo olwatuuka Nakkasi Omwamoni[e] n’ayambuka n’azingiza Yabesugireyaadi. Abasajja bonna ab’e Yabesi ne bamugamba nti, “Kola naffe endagaano, tunaakuweerezanga.” (AL)Naye Nakkasi Omwamoni n’abaddamu nti, “Sijja kukola nammwe ndagaano okuggyako nga munzikirizza okuggya mu buli muntu, eriiso lye erya ddyo, olwo nswaze Isirayiri yenna.” Abakulu ba Yabesi ne bamugamba nti, “Tuweeyo ebbanga lya nnaku musanvu, tusindike ababaka mu nsi yonna eya Isirayiri. Bwe wataabeewo n’omu anajja okutubeera, kale tuneewaayo gy’oli.”

(AM)Ababaka bwe baatuuka e Gibea ewa Sawulo, ne bategeeza abantu ebigambo ebyo; bwe baabiwulira bonna ne bakuba ebiwoobe. Mu kiseera ekyo Sawulo yali ava mu nnimiro ng’agoberera ente ze ezirima, n’abuuza nti, “Abantu babadde ki? Kiki ekibakaabya?” Ne bamutegeeza obubaka abasajja ab’e Yabesi bwe baali baleese.

(AN)Awo Sawulo bwe yawulira ebigambo ebyo, Omwoyo wa Katonda n’amukkako mu maanyi, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo. (AO)N’addira ente bbiri, n’azitemaatema, n’aziwa ababaka ne bazitwala okubuna ensi yonna eya Isirayiri ng’agamba nti, “Buli ataagoberere Sawulo ne Samwiri, ente ze ezirima bwe zityo bwe zinaakolebwa.” Entiisa ya Mukama n’egwa ku bantu, ne bakuŋŋaana wamu n’omutima gumu. (AP)Sawulo n’ababalira e Bezeki, abasajja abaava mu Isirayiri nga bawera emitwalo amakumi asatu, n’abaava mu Yuda ne bawera emitwalo esatu.

Ne bagamba ababaka abaali bazze nti, “Mutegeeze abasajja ab’e Yabesugireyaadi nti, ‘Obudde we bunaatuukira mu ssaawa ez’omu ttuntu, munaaba mulokolebbwa.’ ” Ababaka bwe bazzaayo obubaka obwo e Yabesi, abatuuze baayo ne bassa ekikkowe. 10 (AQ)Abatuuze ab’e Yabesi ne bagamba Abamoni nti, “Enkya tujja kwewaayo gye muli, mutukole kye mwagala.” 11 (AR)Enkeera Sawulo yakeera mu matulutulu n’ayawulamu abasajja be ebibinja bisatu; ne balumba olusiisira lw’Abamoni ne babatta okutuusa mu ssaawa ez’omu ttuntu. Abaaluwona ne basaasaana, ne wataba n’omu asigala na munne.

Sawulo Akakasibwa Okuba Kabaka

12 (AS)Awo abantu ne bagamba Samwiri nti, “Ani eyali abuuza nti, ‘Sawulo alitufuga?’ Mubatuwe tubatte.”

13 (AT)Naye Sawulo n’addamu nti, “Nedda, tewali muntu anattibwa leero, kubanga olwa leero Mukama alokodde Isirayiri.” 14 (AU)Awo Samwiri n’agamba abantu nti, “Mujje, tugende e Girugaali tukakase obwakabaka.” 15 (AV)Awo abantu bonna ne bagenda e Girugaali mu maaso ga Mukama ne bakakasa Sawulo okuba kabaka. Era mu kifo ekyo ne baweerayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe mu maaso ga Mukama, Sawulo n’Abayisirayiri bonna ne basanyuka ne bajaguza nnyo ne bakola n’entujjo ey’amaanyi.

Ebigambo bya Samwiri ng’Asiibula

12 (AW)Samwiri n’ayogera eri Isirayiri yenna, ng’agamba nti, “Mpulirizza buli kintu kye muŋŋambye, ne mbateerawo kabaka okubafuga. (AX)Kaakano mulina kabaka ng’omukulembeze wammwe. Naye nze nkaddiye, mmeze n’envi, era n’abaana bange bali wano nammwe. Mbadde mukulembeze wammwe okuva mu buvubuka bwange n’okutuusa leero. (AY)Nzuuno mu maaso gammwe. Munnumirize ensonga yonna mu maaso ga Mukama ne mu maaso g’oyo gwe yafukako amafuta. Ani gwe nnali ntwalidde ente ye? Oba ani gwe nnali ntwalidde endogoyi ye? Oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? Oba ani gwe nnali njooze? Oba ani gwe nnali nsabye enguzi? Bwe wabaawo anvunaana mu nsonga yonna nzija kumuliyira.”

Ne baddamu nti, “Totunyagangako newaakubadde okutujooga, wadde okulya enguzi okuva mu mukono gw’omuntu yenna.”

(AZ)Awo Samwiri n’abaddamu nti, “Mukama ye mujulirwa gye muli, era n’oyo gwe yafukako amafuta mujulirwa leero, nga sirina nsobi yonna mu maaso gammwe.” Ne baddamu nti, “Mujulirwa.”

(BA)Samwiri n’agamba abantu nti, “Mukama ye yalonda Musa ne Alooni era n’aggya bajjajjammwe mu Misiri. (BB)Kale nno, musseeyo omwoyo mutege amatu mu maaso ga Mukama, eri okubalamula era n’okubajjukiza ebikolwa eby’obutuukirivu Mukama bye yabakolera mmwe ne bajjajjammwe.

(BC)“Yakobo bwe yabeera mu Misiri, bajjajjammwe ne bakaabirira Mukama; Mukama yatuma Musa ne Alooni, abaabaggya mu Misiri, n’abateeka mu kifo kino.

(BD)“Naye ne beerabira Mukama Katonda waabwe, kyeyava abatunda mu mukono gwa Sisera omuduumizi w’eggye lya Kazoli, ne mu mukono gw’Abafirisuuti, ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu, abaabalwanyisanga. 10 (BE)Abayisirayiri ne bakaabirira Mukama, nga boogera nti, ‘Twasobya, twava ku Mukama ne tuweereza Babaali ne Baasutoleesi. Naye kaakano tulokole okuva mu mukono gw’abalabe baffe, tunaakuweerezanga.’ 11 (BF)Mukama n’alyoka atuma Yerubbaali[f], ne Bedani, ne Yefusa ne Samwiri ne babalokola mu mukono gw’abalabe bammwe enjuuyi zonna, ne mutuula mirembe. 12 (BG)Naye bwe mwalaba Nakkasi kabaka w’Abamoni ng’abalumba, newaakubadde nga Mukama Katonda wammwe ye yali kabaka wammwe ne muŋŋamba nti, ‘Nedda, ffe twagala kabaka okutufuga.’ 13 (BH)Kaakano kabaka gwe mulonze era gwe mwasaba wuuno, era laba Mukama ataddewo kabaka okubafuga. 14 (BI)Bwe munaatyanga Mukama ne mumuweerezanga, ne mugonderanga eddoboozi lye, ne mutajeemera biragiro bye, mmwe ne kabaka abafuga ne mugobereranga Mukama Katonda wammwe, kinaabanga kirungi. 15 (BJ)Naye bwe mutaagonderenga Mukama, ne mujeemera ebiragiro bye, omukono gwe gunaalwananga nammwe, nga bwe kyali ku bajjajjammwe.

16 (BK)“Kale nno mulindirire mulabe ekintu ekikulu Mukama kyagenda okukola mu maaso gammwe. 17 (BL)Bino kaakano si biseera bya kukungula ŋŋaano. Naye nzija kusaba Mukama, aweereze okubwatuka n’enkuba, mulyoke mutegeere nga kye mwakola okusaba kabaka kyali kibi mu maaso ga Mukama.”

18 (BM)Awo Samwiri n’asaba Mukama, Mukama n’aweereza okubwatuka n’enkuba, abantu bonna ne batya nnyo Mukama ne Samwiri. 19 (BN)Awo abantu bonna ne bagamba Samwiri nti, “Tusabire eri Mukama Katonda wo, ffe abaweereza bo, tuleme kufa, kubanga twongedde ku bibi byaffe ebirala byonna, bwe twasabye kabaka.”

20 Samwiri n’addamu abantu nti, “Temutya, okukola mwakola ebibi ebyo byonna, naye temuvanga ku Mukama, kaakano mumuweerezenga n’omutima gwammwe gwonna. 21 (BO)Temukyukanga okugoberera ebintu ebitaliimu, ebitayinza kubagasa wadde okubawonya, kubanga tebiriimu nsa. 22 (BP)Mukama tagenda kwabulira bantu be, olw’erinnya lye ekkulu, kubanga Mukama yasiima okubafuula ababe. 23 (BQ)Nze ku lwange, kikafuuwe, okwonoona eri Mukama ne ssibasabira; nnaabalaganga ekkubo ettuufu era eggolokofu. 24 (BR)Kyokka mutyenga Mukama era mumuweerezenga n’obwesigwa n’omutima gwammwe gwonna, nga mujjukira ebintu ebikulu bye yabakolera. 25 (BS)Naye bwe muneeyongeranga okukola ebibi, mmwe ne kabaka wammwe mulizikirizibwa.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.