Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 40

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

40 (A)Nalindirira Mukama n’obugumiikiriza,
    n’antegera okutu, n’awulira okukoowoola kwange,
(B)n’anziggya mu kinnya eky’entiisa,
    n’annyinyulula mu bitosi,
n’anteeka ku lwazi olugumu
    kwe nyimiridde.
(C)Anjigirizza oluyimba oluggya,
    oluyimba olw’okutenderezanga Katonda waffe.
Bangi bino balibiraba ne batandika okutya Mukama
    n’okumwesiganga.

(D)Balina omukisa
    abo abeesiga Mukama,
abatagoberera ba malala
    abasinza bakatonda ab’obulimba.
(E)Ayi Mukama Katonda wange,
    otukoledde eby’ewunyisa bingi.
Ebintu by’otuteekeddeteekedde
    tewali ayinza kubikutegeeza.
Singa ngezaako okubittottola,
    sisobola kubimalayo byonna olw’obungi bwabyo.

(F)Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.
    Ebiweebwayo ebyokebwa olw’okutangirira ebibi,
tobyetaaga.
    Naye onzigudde amatu.
Kyenava njogera nti, “Nzuuno,
    nzize nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw’ekitabo.”
(G)Nsanyukira okukola ky’oyagala, Ayi Katonda wange,
    kubanga amateeka go gali mu mutima gwange.

(H)Ntegeeza obutuukirivu mu lukuŋŋaana olunene.
    Sisirika busirisi,
    nga naawe bw’omanyi, Ayi Mukama.
10 (I)Bye mmanyi ku butuukirivu bwo sisirika nabyo mu mutima gwange,
    naye ntegeeza ku bwesigwa bwo n’obulokozi bwo.
Abantu nga bakuŋŋaanye,
    sirema kubategeeza ku mazima go n’okwagala kwo okungi.

11 (J)Onsasirenga bulijjo, Ayi Mukama,
    amazima n’okwagala kwo byeyongerenga okunkuuma.
12 (K)Kubanga ebizibu bye siyinza na kubala binneetoolodde;
    ebibi byange binsukiridde, sikyasobola na kulaba;
bisinga enviiri ez’oku mutwe gwange obungi,
    mpweddemu amaanyi.
13 (L)Onsasire ayi Mukama ondokole;
    Ayi Mukama, oyanguwe okumbeera.

14 (M)Abo abaagala okunzita batabuketabuke baswale;
    n’abo bonna abagenderera okummalawo bagobebwe nga baswadde.
15 Abo abankubira akasonso baswazibwe nnyo.
16 (N)Naye abo abakunoonya basanyuke
    era bajaguze;
abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,
    Mukama agulumizibwenga.”

17 (O)Ndi mwavu, eyeetaaga ennyo.
    Mukama ondowoozeeko.
Tolwawo, Ayi Katonda wange.
    Ggwe mubeezi wange era Omulokozi wange.

Zabbuli 54

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi, Abazifu bwe bajja ne babuulira Sawulo nti, “Dawudi yeekwese mu ffe.”

54 (A)Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda,
    n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.
(B)Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda,
    owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.

(C)Abantu be simanyi bannumba;
    abantu abalina ettima abatatya Katonda;
    bannoonya okunzita.

(D)Laba, Katonda ye mubeezi wange,
    Mukama ye mukuumi wange.

(E)Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize,
    obazikirize olw’obwesigwa bwo.

(F)Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire;
    ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama,
    kubanga ddungi.
(G)Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna;
    era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange.

Zabbuli 51

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya.

51 (A)Onsaasire, Ayi Mukama,
    ggwe alina okwagala okutaggwaawo.
Olw’okusaasira kwo okungi
    nziggyaako ebyonoono byange byonna.
(B)Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,
    ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.

(C)Ebyonoono byange mbikkiriza,
    era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
(D)Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,
    ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;
noolwekyo by’oyogera bituufu,
    era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
(E)Ddala, nazaalibwa mu kibi;
    kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
(F)Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.
    Ompe amagezi munda ddala mu nze.

(G)Onnaaze n’ezobu[a] ntukule
    onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.
(H)Onzirize essanyu n’okwesiima,
    amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.
(I)Totunuulira bibi byange,
    era osangule ebyonoono byange byonna.

10 (J)Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda,
    era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
11 (K)Tongoba w’oli,
    era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
12 (L)Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo,
    era ompe omutima ogugondera by’oyagala,
13 (M)ndyoke njigirizenga aboonoonyi amakubo go,
    n’abakola ebibi bakukyukirenga bakomewo gy’oli.
14 (N)Ondokole mu kibi eky’okuyiwa omusaayi, Ayi Katonda,
    ggwe Katonda ow’obulokozi bwange;
    olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.
15 (O)Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange,
    n’akamwa kange kanaakutenderezanga.
16 (P)Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde;
    n’ebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.
17 (Q)Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo.
    Omutima ogumenyese era oguboneredde,
    Ayi Katonda, toogugayenga.

18 (R)Okulaakulanye Sayuuni nga bw’osiima.
    Yerusaalemi okizzeeko bbugwe waakyo.
19 (S)Olyoke osanyukire ssaddaaka ey’obutuukirivu,
    ebiweebwayo ebyokebwa ebikusanyusa;
    n’ente ziweebweyo ku kyoto kyo.

Isaaya 50

Ekibi Kyawukanya Isirayiri ku Katonda

50 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ebbaluwa egoba nnyammwe, kwe namugobera eri ludda wa?
    Oba nabatunda eri ani?
Mwatundibwa lwa bikolwa byammwe ebibi;
    olw’obutali butuukirivu bwammwe nnyammwe kyeyava agobwa.
(B)Lwaki bwe najja tewaali muntu n’omu?
    Bwe nakoowoola lwaki tewaali muntu n’omu annyanukula?
Omukono gwange gwali mumpi nnyo okukununula?
    Mbuliddwa amaanyi agakununula?
Laba nnyinza okwogera obwogezi ennyanja n’ekalira,
    emigga ne ngifuula eddungu,
ebyennyanja byamu ne bifa ennyonta,
    ne bivunda olw’okubulwa amazzi.
(C)Nyambaza eggulu,
    n’ekizikiza ne nkiwa ebibukutu okulibikka.”

(D)Mukama Ayinzabyonna ampadde olulimi
    oluyigirizibbwa, mmanye ebigambo ebigumya abo abakooye.
Anzukusa buli nkya,
    buli nkya anzukusa okuwulira by’anjigiriza.
(E)Mukama Ayinzabyonna azibudde okutu kwange
    ne siba mujeemu.
    Sizzeeyo mabega.
(F)N’awaayo omugongo gwange eri abankuba,
    n’amatama gange eri abo abankunyuulako ekirevu.
Saakweka maaso gange eri abo abansekerera
    n’eri abo abanfujjira amalusu.
(G)Kubanga Mukama Ayinzabyonna anyamba
    kyennaava siswazibwa.
Noolwekyo kyenvudde n’egumya
    era mmanyi nti siriswazibwa.
(H)Kubanga oyo ampolereza ali kumpi.
    Ani alinnumiriza omusango?
    Twolekagane obwenyi.
Ani annumiriza?
    Ajje annumbe.
(I)Mukama Ayinzabyonna y’anyamba.
    Ani alinsalira omusango?
Bonna balikaddiwa bayulike ng’ekyambalo;
    ennyenje ziribalya.

10 (J)Ani ku mmwe atya Mukama,
    agondera ekigambo ky’omuweereza we?
Oyo atambulira mu kizikiza,
    atalina kitangaala
yeesige erinnya lya Mukama
    era yeesigame ku Katonda we.
11 (K)Naye mmwe mwenna abakoleeza omuliro,
    ne mwekoleereza ettaala z’omuliro,
mutambulire mu kitangaala ky’omuliro gwammwe,
    ne mu kitangaala kye ttaala ze mukoleezeza.
Naye kino kye munaafuna okuva mu mukono gwange;
    muligalamira mu nnaku.

Abaggalatiya 3:15-22

Etteeka n’Ekisuubizo

15 Abooluganda njogera mu buntu; endagaano bw’eba ng’ekakasibbwa, tewabaawo agiggyawo newaakubadde agyongerako. 16 (A)Katonda yasuubiza Ibulayimu n’Omwana we, naye tekigamba nti n’abaana be ng’abangi, naye yayogera ku omu, oyo ye Kristo. 17 (B)Kye ŋŋamba kye kino: endagaano eyakakasibwa Katonda nga wayiseewo emyaka ebikumi bina mu asatu n’efuuka etteeka, teyadibya ekyo ekyasuubizibwa. 18 (C)Kuba oba ng’obusika bwesigamye ku mateeka, buba tebukyali bwa kisuubizo; naye yabuwa Ibulayimu olw’okusuubiza.

19 (D)Kale lwaki amateeka gaateekebwawo? Gaagattibwa ku kisuubizo olw’aboonoonyi okutuusa ezzadde eryasuubizibwa lwe lirikomawo, nga lyawulibbwa mu bamalayika olw’omukono gw’omutabaganya. 20 (E)Naye omutabaganya si w’omu, naye Katonda ali omu.

21 (F)Amateeka galwanagana n’ebyo Katonda bye yasuubiza? Kikafuuwe. Kubanga singa amateeka gaali galeeta obulamu, ddala ddala amateeka gandituwadde obutuukirivu. 22 (G)Naye ebyawandiikibwa bitegeeza nti ebintu byonna bifugibwa kibi, ekyasuubizibwa kiryoke kiweebwe abakkiriza olw’okukkiriza mu Yesu Kristo.

Makko 6:47-56

47 Awo obudde bwe bwawungeera, Yesu ng’asigadde yekka ku lukalu, 48 n’abalengera nga bategana n’eryato kubanga waaliwo omuyaga mungi n’amayengo amagulumivu ebyabafuluma mu maaso gye baali balaga. Awo obudde bwali bunaatera okukya nga ku ssaawa mwenda ez’ekiro, n’ajja gye bali ng’atambulira ku mazzi, n’aba ng’ayagala okubayitako. 49 (A)Naye bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne baleekaana nnyo, bonna, nga batidde, kubanga baalowooza nti muzimu, 50 (B)kubanga bonna baamulaba ne batya.

Naye n’ayanguwa okwogera nabo, n’abagamba nti, “Mugume omwoyo. Ye Nze, temutya.” 51 (C)Awo n’alinnya mu lyato, omuyaga ne gulekeraawo okukunta! Abayigirizwa be ne bawuniikirira nnyo. 52 (D)Tebategeera kyamagero eky’emigaati kubanga emitima gyabwe gyali mikakanyavu.

Yesu Awonya Abalwadde e Genesaleeti

53 (E)Awo eryato lyabwe bwe lyagoba ku lubalama lw’ennyanja Genesaleeti, 54 ne bavaamu. Abantu bwe balaba Yesu, amangwago ne bamutegeererawo. 55 Ne babuna mu bitundu ebyali biriraanyeewo nga bamuleetera abalwadde nga basituliddwa ku butanda. 56 (F)Wonna wonna gye yagendanga, mu byalo, mu bibuga, mu butale ne ku nguudo ne baleeta abalwadde ne bamwegayirira waakiri bakwateko bukwasi ku lukugiro lw’ekyambalo kye. Era bonna abaakikwatako ne bawona.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.