Book of Common Prayer
Zabbuli ya Dawudi.
29 (A)Mutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi.
Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.
2 (B)Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye;
musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.
3 (C)Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;
Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,
n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
4 (D)Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;
eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
5 (E)Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;
Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
6 (F)Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana,
ne Siriyooni[a] ng’ennyana y’embogo.
7 Eddoboozi lya Mukama
libwatukira mu kumyansa.
8 (G)Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
9 (H)Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule,
n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola.
Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”
Zabbuli.
98 (A)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
kubanga akoze eby’ekitalo.
Omukono gwe ogwa ddyo,
era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi.
2 (B)Mukama ayolesezza obulokozi bwe,
era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe.
3 (C)Ajjukidde okwagala kwe okutakoma
n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri.
Enkomerero z’ensi yonna zirabye
obulokozi bwa Katonda waffe.
18 “Olw’ebyo bye bakola ne bye balowooza, nnaatera okujja nkuŋŋaanye amawanga gonna n’ennimi zonna, era balijja balabe ekitiibwa kyange.
19 (A)“Nditeeka akabonero mu bo. Ndiwonyaako abamu mbasindike mu mawanga, e Talusiisi, e Puuli[a], n’e Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani,[b] mu bizinga eby’ewala, abatawuliranga ttutumu lyange, wadde okulaba ekitiibwa kyange. 20 (B)Balikomyawo baganda bammwe bonna okuva mu mawanga nga ekirabo gye ndi. Balibaleetera ku mbalaasi, ne mu magaali ge mbalaasi n’ebigaali ne ku nnyumbu n’eŋŋamira ku lusozi lwange olutukuvu nga Isirayiri bwe baleeta ebiweebwayo ebirongoofu mu nnyumba ya Mukama Katonda. 21 (C)Era ndifuula abamu ku bo okubeera bakabona n’abaleevi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
22 (D)“Kubanga nga eggulu eppya n’ensi empya, bye ndikola bwe biribeerawo olw’amaanyi gange, bw’ayogera Mukama Katonda, bwe lityo ezzadde lyammwe n’erinnya lyammwe bwe birisigala. 23 (E)Okuva ku mwezi okutuuka ku mwezi, n’okuva ku ssabbiiti okutuuka ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange,” bw’ayogera Mukama Katonda.
7 (A)Noolwekyo mwanirizaganenga, nga Kristo bwe yabaaniriza olw’ekitiibwa kya Katonda. 8 (B)Kubanga njogera nti Kristo yafuuka muweereza w’abakomole olw’amazima ga Katonda alyoke anyweze ebisuubizo bya bajjajjaffe 9 (C)n’Abaamawanga balyoke bagulumize Katonda olw’okusaasira kwe, nga bwe kyawandiikibwa nti,
“Kyendiva nkutendereza mu Baamawanga,
era ne ntendereza erinnya lyo.”
10 (D)Era n’ayongera n’agamba nti:
“Mmwe Abaamawanga musanyukirenga wamu n’abantu be.”
11 (E)Era nate nti,
“Abaamawanga mwenna, mutendereze Mukama,
era abantu bonna bamutenderezenga.”
12 (F)Ne Nnabbi Isaaya agamba nate nti,
“Walibaawo muzzukulu wa Yese alijja
era alisituka okufuga Abaamawanga,
era mu ye mwe muliba essuubi lyabwe.”
13 (G)Kaakano Katonda w’okusuubira, abajjuze essanyu lyonna n’emirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi ery’amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.