Book of Common Prayer
97 (A)Mukama afuga; ensi esanyuke,
n’embalama eziri ewala zijaguze.
2 (B)Ebire n’ekizikiza bimwetooloola;
obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’entebe y’obwakabaka bwe.
3 (C)Omuliro gumukulembera
ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna.
4 (D)Okumyansa kwe kumulisa ensi;
ensi n’ekulaba n’ekankana.
5 (E)Ensozi zisaanuuka ng’envumbo awali Mukama,
mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.
6 (F)Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe;
n’abantu bonna ne balaba ekitiibwa kye.
7 (G)Abasinza ebifaananyi ebikole n’emikono bonna baswadde,
abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole.
Mumusinze mwe mwenna bakatonda.
8 (H)Sayuuni akiwulira n’asanyuka,
n’ebyalo bya Yuda bijaguza;
kubanga ogoberera eby’ensonga, Ayi Katonda.
9 (I)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli waggulu nnyo okusinga ensi;
ogulumizibwa okusinga bakatonda bonna.
10 (J)Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi,
akuuma obulamu bw’abamwesiga,
n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi.
11 (K)Omusana gwe gwakira abatuukirivu,
n’abalina omutima ogw’amazima bajjula essanyu.
12 (L)Musanyukirenga mu Mukama mmwe abatuukirivu,
era mwebazenga erinnya lye ettukuvu.
99 (A)Mukama afuga,
amawanga gakankane;
atuula wakati wa bakerubi,
ensi ekankane.
2 (B)Mukama mukulu mu Sayuuni;
agulumizibwa mu mawanga gonna.
3 (C)Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.
Mukama mutukuvu.
4 (D)Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya.
Onywezezza obwenkanya;
era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya
era bituufu.
5 (E)Mumugulumize Mukama Katonda waffe;
mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye.
Mukama mutukuvu.
6 (F)Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be;
ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye;
baasabanga Mukama
n’abaanukula.
7 (G)Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire;
baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa.
8 (H)Ayi Mukama Katonda waffe,
wabaanukulanga;
n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri,
newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi.
9 Mugulumizenga Mukama Katonda waffe,
mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu,
kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.
Zabbuli ey’okwebaza.
94 (A)Ayi Mukama, ggwe Katonda awalana eggwanga,
ggwe Katonda awalana eggwanga, labika omasemase.
2 (B)Golokoka, Ayi ggwe Omulamuzi w’ensi,
osasule ab’amalala nga bwe kibagwanidde.
3 Ayi Mukama, omukozi w’ebibi alikomya ddi?
Omukozi w’ebibi alituusa ddi ng’asanyuka?
4 (C)Bafukumula ebigambo eby’okwewaanawaana;
abakola ebibi bonna beepankapanka.
5 (D)Babetenta abantu bo, Ayi Mukama,
babonyaabonya ezzadde lyo.
6 Batta nnamwandu n’omutambuze;
ne batemula ataliiko kitaawe.
7 (E)Ne boogera nti, “Katonda talaba;
Katonda wa Yakobo tafaayo.”
8 (F)Mwerinde mmwe abantu abatategeera.
Mmwe abasirusiru muligeziwala ddi?
9 (G)Oyo eyatonda okutu tawulira?
Oyo eyakola eriiso talaba?
10 (H)Oyo akangavvula amawanga, taakubonereze?
Oyo ayigiriza abantu talina ky’amanyi?
11 (I)Mukama amanyi ebirowoozo by’abantu;
amanyi nga mukka bukka.
12 (J)Ayi Mukama, alina omukisa oyo gw’ogunjula,
gw’oyigiriza eby’omu mateeka go;
13 (K)omuwummuzaako mu kabi kaalimu,
okutuusa abakola ebibi lwe balisimirwa ekinnya.
14 (L)Kubanga Mukama talireka bantu be;
talyabulira zzadde lye.
15 (M)Aliramula mu butuukirivu,
n’abo abalina emitima emigolokofu bwe banaakolanga.
16 (N)Ani alinnwanyisizaako abakola ebibi?
Ani alinnwanirira eri abakola ebibi?
17 (O)Singa Mukama teyali mubeezi wange,
omwoyo gwange gwandiserengese emagombe.
18 (P)Bwe naleekaana nti, “Nseerera!”
Okwagala kwo okutaggwaawo, Ayi Mukama, ne kumpanirira.
19 Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi,
okusaasira kwo ne kuzzaamu omwoyo gwange amaanyi.
20 (Q)Oyinza okukolagana n’obufuzi obukyamu,
obukaabya abantu n’amateeka gaabwe?
21 (R)Abakola ebibi beegatta ne balumbagana abatuukirivu;
atasobezza ne bamusalira ogw’okufa.
22 (S)Naye Mukama afuuse ekiddukiro kyange eky’amaanyi;
ye Katonda wange, era Olwazi lwange mwe neekweka.
23 (T)Mukama alibabonereza olw’ebibi byabwe,
n’abazikiriza olw’ebyonoono byabwe;
Mukama Katonda waffe alibamalirawo ddala.
95 (U)Mujje tuyimbire Mukama;
tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.
2 (V)Tujje mu maaso ge n’okwebaza;
tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.
3 (W)Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu;
era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.
4 Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe;
n’entikko z’ensozi nazo zize.
5 (X)Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola;
n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.
6 (Y)Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge;
tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.
7 (Z)Kubanga ye Katonda waffe,
naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye,
era tuli ndiga ze z’alabirira.
Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,
8 (AA)“Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba[a],
ne ku lunaku luli e Maasa[b] mu ddungu;
9 (AB)bajjajjammwe gye bangezesa;
newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.
10 (AC)Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana;
ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,
era tebamanyi makubo gange.’
11 (AD)Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”
Okusaba kwa Kaabakuuku
3 Okusaba kwa nnabbi Kaabakuuku, okw’Ekisigiyonosi.
2 (A)Ayi Mukama, mpulidde ebigambo byo;
mpulidde ettutumu lyo Ayi Mukama, ne ntya.
Bizze buggya mu nnaku zaffe,
bimanyise mu biro bino,
era mu busungu jjukira okusaasira.
3 (B)Katonda yajja ng’ava e Temani,
Omutukuvu oyo ng’ava ku lusozi Palani.
Ekitiibwa kye kyatimbibwa ku ggulu,
ensi n’eryoka ejjula ettendo lye.
4 Okumasamasa kwe ne kulyoka kubeera ng’enjuba evaayo.
Ebimyanso byayakanga okuva mu mukono gwe,
era omwo mwe mwasinziiranga amaanyi ge ag’ekitalo.
5 Kawumpuli ye yakulembera,
Endwadde endala zinaamutta ne zigoberera.
6 (C)Yayimirira n’anyeenyanyeenya ensi;
Yatunula n’akankanya amawanga.
Ensozi ez’edda za merenguka,
obusozi obw’edda ne buggwaawo. Engeri ze, za mirembe na mirembe.
7 (D)Nalaba eweema z’e Kusani nga ziri mu nnaku:
n’entimbe ez’ensi ya Midiyaani nga zijugumira.
8 (E)Ayi Mukama, wanyiigira emigga?
Obusungu bwo bwali ku bugga obutono?
Wanyiigira ennyanja
bwe weebagala embalaasi zo,
n’olinnya ku magaali go ag’obuwanguzi?
9 (F)Wasowolayo akasaale ko,
wategeka okulasa obusaale;
ensi n’ogyawulayawulamu n’emigga.
10 (G)Ensozi zaakulaba, ne zeenyogootola;
Amataba ne gayitawo mbiro,
obuziba bw’ennyanja ne buwuluguma,
ne busitula amayengo gaayo waggulu.
11 (H)Enjuba n’omwezi ne biyimirira butengerera mu bifo byabyo,
olw’okumyansa kw’obusaale bwo nga buwenyuka,
n’olw’okumyansa kw’effumu lyo eritemagana.
12 (I)Watambula okuyita mu nsi ng’ojjudde ekiruyi,
wasambirirasambirira amawanga mu busungu bwo.
13 (J)Wavaayo oleetere abantu bo obulokozi,
olokole gwe wafukako amafuta;
Wabetenta omukulembeze w’ensi ekola ebibi,
ng’omwerulira ddala okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.
14 (K)Wafumita omutwe gwe n’effumu lye ye,
abalwanyi be bwe baavaayo okutugoba,
nga bali ng’abanaatumalawo,
ffe abaali baweddemu essuubi nga twekwese.
15 (L)Walinnyirira ennyanja n’embalaasi zo,
n’otabangula amazzi amangi.
Okusanyukira mu Mukama
16 Nawulira, n’omutima gwange ne gukankana
n’emimwa gyange gijugumira olw’eddoboozi eryo;
Obuvundu ne buyingira mu magumba gange,
amagulu gange ne gakankana.
Naye nnaalindirira n’obugumiikiriza olunaku olw’okulabiramu ennaku
bwe lulijjira eggwanga eritulumba.
17 (M)Wadde omutiini tegutojjera,
so n’emizabbibu nga tegiriiko bibala,
amakungula g’emizeeyituuni ne gabula,
ennimiro ne zitabala mmere n’akamu,
endiga nga ziweddemu mu kisibo,
nga n’ente tezikyalimu mu biraalo,
18 (N)kyokka ndijaguliza Mukama,
ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange.
Okufuga olulimi
3 Abooluganda, abayigiriza tebasaanye kubeera bangi mu mmwe, kubanga mukimanyi nga ffe tulisalirwa omusango munene okusinga abalala. 2 (A)Ffenna tusobya mu ngeri nnyingi. Omuntu yenna atasobya mu kwogera, aba muntu eyatuukirira, asobola okufuga omubiri gwe gwonna.
3 (B)Tuyinza okufuga embalaasi ne tugikozesa kye twagala olw’ebyuma bye tuba tutadde mu kamwa kaayo. 4 Era n’enkasi entono esobola okukyusa ekyombo ekinene ennyo n’ekiraza omugoba waakyo gy’ayagala, newaakubadde ng’empewo ekisindika ebeera ya maanyi mangi. 5 (C)N’olulimi bwe lutyo, newaakubadde nga kantu katono, lwenyumiriza nnyo. Akaliro akatono kasobola okukoleeza ekibira ekinene ne kiggya. 6 (D)Olulimi nalwo muliro. Lujjudde obutali butuukirivu bungi okusinga ebitundu ebirala eby’omubiri gwaffe. Lwo omuliro luguggya mu ggeyeena, ne lulyoka lukoleeza omubiri gw’omuntu gwonna ne gwaka ng’oluyiira okumutuusa mu kuzikirira.
7 Abantu, ebisolo ebya buli ngeri n’ennyonyi, n’ebyekulula, era n’eby’omu nnyanja basobola okubiyigiriza ne babifuga, 8 (E)naye tewali muntu n’omu asobola kufuga lulimi. Terufugika era lubi nnyo, lujjudde obutwa obuttirawo.
9 (F)Olulimi tulukozesa okutendereza Mukama era Kitaffe, ate era lwe tukolimiza abantu abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. 10 Mu kamwa ke kamu ne muvaamu okutendereza n’okukolima. Abooluganda, kino si bwe kyandibadde bwe kityo! 11 Ensulo y’emu eyinza okuvaamu amazzi agawoomerera n’agakaawa? 12 (G)Abooluganda omutiini guyinza okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? Bw’etyo n’ensulo y’emu teyinza kuvaamu mazzi ga munnyo na gawoomerera.
Ekibi, Okukkiriza, Omulimu
17 (A)Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ebikemo ebireetera abantu okwonoona tebiyinza butajja, naye zimusanze omuntu oyo abireeta. 2 (B)Ekyandisinze kwe kusiba olubengo mu bulago bwe n’asuulibwa mu nnyanja okusinga okwesittaza omu ku baana bano abato. 3 (C)Mwekuume.
“Muganda wo bw’ayonoonanga, omunenyanga; era singa yeenenya omusonyiwanga. 4 (D)Ne bw’akusobyanga emirundi omusanvu mu lunaku olumu, naye buli mulundi n’ajja gy’oli n’akwenenyeza, musonyiwenga.”
5 (E)Awo abatume ne bagamba Mukama waffe nti, “Twongereko okukkiriza.”
6 (F)Mukama waffe n’abagamba nti, “Singa okukkiriza kwammwe kuba ng’akaweke ka kaladaali, mwandigambye omukenene guno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ era ne gubagondera.
7 “Naye ani ku mmwe, ng’omuddu we yaakakomawo okuva okulima oba okulunda endiga, amugamba nti, ‘Jjangu mangu otuule ku mmere?’ 8 (G)Tamugamba nti, ‘Teekateeka emmere yange, weerongoose olabike bulungi, olyoke ompeereze nga ndya era nga nnywa, bwe nnaamala naawe n’onywa era n’olya emmere yo?’ 9 Mulowooza nti Mukama w’omuweereza oyo amwebaza olw’okugondera bye yalagirwa okukola? 10 (H)Nammwe bwe mutyo bwe mumalanga okutuukiriza ebyo ebyabagambibwa okukola, mugambenga nti, ‘Ffe abaddu bo abatasaanira tukoze omulimu gwaffe ogutugwanidde.’ ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.