Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba “olw’Amalanga.” Zabbuli ya Batabani ba Koola.
45 Omutima gwange gujjudde ebigambo ebirungi
nga nnyimba oluyimba lwa Kabaka.
Olulimi lwange kkalaamu y’omuwandiisi omukugu.
2 (A)Ggw’osinga abaana b’abantu obulungi;
n’akamwa ko nga kafukiddwako amafuta ag’ekisa.
Kubanga Katonda akuwadde omukisa emirembe gyonna.
3 (B)Weesibe ekitala kyo, Ayi ggwe ow’amaanyi,
yambala ekitiibwa kyo n’obukulu bwo!
4 (C)Weebagale embalaasi yo mu kitiibwa kyo eky’obuwanguzi,
ng’olwanirira amazima, obuwombeefu, n’obutuukirivu.
Omukono gwo ogwa ddyo gukole ebyewuunyisa.
5 Obusaale bwo obwogi bufumite emitima gy’abalabe ba kabaka;
afuge amawanga.
6 (D)Entebe yo ey’obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera;
n’omuggo ogw’obwenkanya gwe guliba ogw’obwakabaka bwo.
7 (E)Oyagala obutuukirivu n’okyawa okukola ebibi;
noolwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akugulumiza
n’akufukako amafuta ag’essanyu okusinga bakabaka banno bonna.
8 (F)Ebyambalo byo birina akawoowo ka mmooli ne alowe, ne kasiya.
Ebivuga eby’enkoba bikusanyusiza
mu mbiri zo ez’amasanga.
9 (G)Mu bakyala bo mulimu abambejja;
namasole ali ku mukono gwo ogwa ddyo ng’ayambadde ebya zaabu ya Ofiri.
10 (H)Muwala, wuliriza bye nkugamba:
“Weerabire ab’ewammwe n’ab’omu nnyumba ya kitaawo.
11 (I)Kabaka akulowoozaako nnyo, kubanga walungiwa n’oyitirira;
nga bw’ali mukama wo, muwenga ekitiibwa.”
12 (J)Muwala w’e Ttuulo[a] alijja n’ekirabo,
abasajja abagagga balikwegayirira obalage ekisa kyo.
13 (K)Omuwala wa kabaka ajjudde ekitiibwa mu kisenge kye,
ng’ayambadde ekyambalo ekyalukibwa ne zaabu.
14 (L)Aleetebwa mu maaso ga kabaka ng’ayambadde ebyambalo eby’emidalizo emingi.
Emperekeze ze zimuwerekerako;
bonna ne bajja gy’oli.
15 Baleetebwa nga bajjudde essanyu n’okweyagala,
ne bayingira mu lubiri lwa kabaka.
16 Batabani bo baliweebwa ebifo bya bajjajjaabwe,
olibafuula ng’abalangira mu nsi omwo.
17 (M)Erinnya lyo linajjukirwanga emirembe gyonna.
Amawanga kyeganaavanga gakutendereza emirembe n’emirembe.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
47 (A)Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna;
muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu;
2 (B)Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa.
Ye Kabaka afuga ensi yonna.
3 (C)Yatujeemululira abantu,
n’atujeemululira amawanga ne tugafuga.
4 (D)Yatulondera omugabo gwaffe,
Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza.
5 (E)Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi.
Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira.
6 (F)Mutendereze Katonda, mumutendereze.
Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze.[a]
7 (G)Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna,
mumutendereze ne Zabbuli ey’ettendo.
8 (H)Katonda afuga amawanga gonna;
afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.
9 (I)Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye
ng’abantu ba Katonda wa Ibulayimu;
kubanga Katonda y’afuga abakulembeze b’ensi.
Katonda agulumizibwenga nnyo.
Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
48 (J)Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo
mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.
2 (K)Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu,
olusanyusa ensi yonna.
Ku ntikko Zafoni kwe kuli
ekibuga kya Kabaka Omukulu;
3 (L)Katonda mw’abeera;
yeeraze okuba ekigo kye.
4 (M)Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana
ne bakyolekera bakirumbe;
5 (N)bwe baakituukako ne bakyewuunya,
ne batya nnyo ne badduka;
6 nga bakankana,
ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala.
7 (O)Wabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba
bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi.
8 (P)Ebyo bye twawuliranga obuwulizi,
kaakano tubirabye
mu kibuga kya Mukama ow’Eggye,
mu kibuga kya Katonda waffe,
kyalinywereza ddala emirembe gyonna.
9 (Q)Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo
nga tuli mu Yeekaalu yo.
10 (R)Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda,
bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna.
Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.
11 (S)Sanyuka gwe Sayuuni,
musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda;
kubanga Katonda alamula bya nsonga.
12 Mutambule mu Sayuuni, mukibune;
mubale n’ebigo byakyo.
13 (T)Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo
n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna;
mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo.
14 (U)Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna;
y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.
29 (A)Yobu n’ayongera okwogera nti,
2 (B)“Nga nneegomba emyezi egyayita,
ennaku Katonda mwe yali nga y’andabirira,
3 (C)ettaala ye bwe yayakiranga omutwe gwange,
n’ekitangaala kye bwe kyanjakiranga nga ntambulira mu kizikiza.
4 (D)Mu biro we nabeerera ow’amaanyi,
omukwano gwa Katonda omuyitirivu nga gukuuma amaka gange,
5 Ayinzabyonna bwe yali ng’akyali nange
n’abaana bange nga bakyanneetoolodde,
6 (E)n’ekkubo lyange nga lisiigiddwa omuzigo
n’olwazi nga lunfukirira omugga ogw’amafuta.
7 (F)“Bwe nalaganga ku mulyango gw’ekibuga
ne ntuula ku ntebe mu kifo we baakubiranga enkiiko,
8 abavubuka abato bandabanga ne badda ebbali,
abakadde ne basituka ne bayimirira;
9 (G)abakungu ab’oku ntikko ne balekeraawo okwogera,
ne bakwata ne ku mimwa;
10 (H)ab’ebitiibwa ne balekeraawo okwogera,
ennimi zaabwe ne zeesibira waggulu mu kamwa.
11 Buli kutu okwampuliranga nga kwesiima,
era n’abo abandabanga nga basiima
12 (I)kubanga nawonyanga abaavu abaakaabiranga obuyambi,
n’abatalina bakitaabwe abatalina abayamba.
13 (J)Omusajja ng’afa, y’ansabira omukisa,
ne ndeetera omutima gwa nnamwandu okuyimba.
14 (K)Ne nnyambala obutuukirivu ng’engoye zange,
obwenkanya bwe bwali omunagiro gwange era ekitambala kye neesiba ku mutwe.
15 (L)Nnali maaso g’abamuzibe
era ebigere by’abalema.
16 (M)Nnali kitaawe w’abanaku,
ne nneyama okuwolereza besimanyiiko.
17 (N)Namenyanga amannyo g’abakozi b’ebibi,
ne nziggya mu kamwa kaabwe, be baali bakutte.
18 (O)“Nalowooza nti, ‘Ndifiira mu nnyumba yange
nga mpezezza ennaku zange nga nnyingi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja.
19 (P)Omulandira gwange gulituuka mu mazzi,
era n’omusulo gulibeera ku ttabi lyange okukeesa obudde.
20 (Q)Ekitiibwa kyange tekirikaddiwa mu nze,
n’omutego gwange ogw’akasaale gusigale nga tegukaddiye mu mukono gwange.’
14 (A)Awo Pawulo ne Balunabba bwe baatuuka mu Ikoniya ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. Ne babuulira n’amaanyi mangi era abantu bangi Abayudaaya n’Abayonaani ne bakkiriza. 2 Naye Abayudaaya abaagaana okukkiriza ne bassa omutima omubi mu baamawanga okukyawa abooluganda. 3 (B)Ne baabeerayo ebbanga gwanvu nga babuulira n’obuvumu, era Mukama n’akakasanga ekigambo ky’ekisa kye ng’abawa okukola obubonero n’ebyamagero. 4 (C)Naye ekibiina ky’abantu mu kibuga ne kyawukanamu abamu ne bagoberera Abayudaaya n’abalala ne bakkiriza abatume. 5 (D)Abayudaaya n’abakulembeze baabwe awamu n’Abamawanga, ne basala olukwe okubonyaabonya abatume, n’okubakuba amayinja. 6 (E)Naye Pawulo ne Balunabba olukwe ne baluggukamu ne baddukira mu bibuga ebya Lukawoniya ne Lusitula ne Derube, ne mu bitundu ebiriraanyeewo, 7 (F)era n’eyo ne babuulirirayo Enjiri.
Pawulo ne Balunabba mu Lusitula ne Derube
8 (G)Mu Lusitula mwalimu omusajja eyazaalibwa nga mulema, ng’ebigere bye bigongobavu, nga tatambulangako. 9 (H)N’atuula awo ng’awuliriza Pawulo bye yali ayogera. Pawulo n’amwekaliriza amaaso n’alaba ng’alina okukkiriza okuwonyezebwa. 10 (I)Pawulo n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yimirira ku bigere byo, weegolole!” Amangwago omusajja n’ayimirira, n’atandika okutambula! 11 (J)Awo ekibiina ky’abantu bwe baalaba Pawulo ky’akoze, ne baleekaanira waggulu mu lulimi lwabwe Olulikaoniya nti, “Bakatonda basse wansi gye tuli nga bali mu kifaananyi ky’abantu!” 12 Balunabba ne bamuyita Zewu, Pawulo ne bamuyita Kerume kubanga ye yali omwogezi omukulu. 13 Awo kabona wa Zewu, eyali ebweru w’ekibuga, n’agenda n’aleeta ente ennume n’ebimuli ku wankaaki, ye n’ekibiina ky’abantu ne baagala okuwaayo ssaddaaka.
14 (K)Naye abatume, Balunabba ne Pawulo, bwe baabiwulira, ne bayuza engoye zaabwe, ne bafubutuka ne bayingira mu kibiina ky’abantu nga baleekaana nga bagamba nti, 15 (L)“Abasajja! Kiki ekibakozesa ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe! Twazze tubabuulire mukyuke okuva ku bintu bino ebitaliimu mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja n’ebintu byonna ebirimu. 16 (M)Mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okukwata amakubo ge baayagalanga. 17 (N)Kyokka tasigalirangako awo nga talina bujulirwa ng’abakolera ebirungi okuva mu ggulu, ng’aweereza enkuba, n’okubawa ebiro eby’okubalizangamu ebibala n’okubakkusa emmere, era n’okubajjuza essanyu mu mitima gyabwe.” 18 Newaakubadde baabategeeza bwe batyo, naye era katono balemwe okuziyiza ebibiina okubawa ssaddaaka.
31 (A)Awo Abayudaaya ne bakwata amayinja okumukuba. 32 Yesu n’abagamba nti, “Mwalaba ebyamagero bingi Kitange bye yankozesa, kiruwa ku ebyo kye musinziirako okunkuba amayinja?”
33 (B)Ne bamuddamu nti, “Tetukuvunaana lwa birungi by’okola wabula lwa kubanga ovvoola; ggwe oli muntu buntu naye weeyita Katonda.”
34 (C)Yesu n’abaddamu nti, “Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti, Katonda yagamba nti, ‘Muli bakatonda’? 35 Obanga abo abaweebwa ekigambo kya Katonda, yabayita bakatonda, ate ng’Ebyawandiikibwa tebidiba, 36 (D)ate Nze, Kitange gwe yatukuza n’antuma mu nsi, lwaki mugamba nti avvoola kubanga ŋŋambye nti, Ndi Mwana wa Katonda? 37 (E)Obanga sikola ebyo Kitange by’ayagala nkole, kale temunzikiriza; 38 (F)naye obanga nkola by’ayagala, newaakubadde Nze temunzikiriza waakiri mukkirize ebyo bye nkola mulyoke mutegeere nti Kitange ali mu Nze, era nange ndi mu Kitange.” 39 (G)Awo ne bagezaako nate okumukwata, kyokka ne yeemulula.
40 (H)N’addayo emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yasooka okubatiriza, n’abeera eyo. 41 (I)Abantu bangi ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Yokaana teyakola byamagero, naye buli kimu kye yayogera ku muntu ono kyali kya mazima.” 42 (J)Bangi ne bamukkiririza eyo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.