Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 75-76

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu. Oluyimba.

75 (A)Tukwebaza, Ayi Katonda.
    Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi.
    Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.

Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera
    era nsala omusango gwa bwenkanya.
(B)Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira,
    naye nze nywezezza empagi zaayo.”
(C)Nalabula ab’amalala bagaleke,
    n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.
Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu
    n’okwogera nga muduula.

Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu
    era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,
(D)wabula biva eri Katonda;
    era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.
(E)Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe
    ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu;
akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi
    ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.

(F)Naye nze nnaatendanga obulungi bwa Mukama;
    nnaatenderezanga Katonda wa Yakobo ennaku zonna.
10 (G)Mukama ayogera nti, Ababi ndibamalamu amaanyi,
    naye abatuukirivu nnaabongeranga amaanyi.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu.

76 Katonda amanyiddwa mu Yuda;
    erinnya lye kkulu mu Isirayiri.
(H)Eweema ye eri mu Yerusaalemi;
    era abeera mu Sayuuni.
(I)Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza;
    n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo.

Owa ekitangaala,
    oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.
(J)Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa,
    beebaka ne batasobola kugolokoka,
ne watabaawo n’omu asobola
    okuyimusa omukono gwe.
(K)Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo,
    abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.

(L)Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga.
    Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?
(M)Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu,
    ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,
(N)bw’ogolokoka okusala omusango,
    okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.
10 (O)Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa,
    n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.
11 (P)Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga;
    bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo,
    kubanga asaanidde okutiibwa.
12 Mukama akkakkanya abalangira,
    ne bakabaka b’ensi bamutya.

Zabbuli 23

Zabbuli ya Dawudi.

23 (A)Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
    (B)Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto.
Antwala awali amazzi amateefu.
    (C)Akomyawo emmeeme yange.
Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu
    olw’erinnya lye.
(D)Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;
    kubanga ggwe oli nange.
Oluga lwo n’omuggo gwo
    bye binsanyusa.

(E)Onsosootolera emmere
    abalabe bange nga balaba;
onsiize amafuta ku mutwe,[a]
    ekikompe kyange kiyiwa.
Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nange
    ennaku zonna ez’obulamu bwange;
nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama,
    ennaku zonna.

Zabbuli 27

Zabbuli ya Dawudi.

27 (A)Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;
    ani gwe nnaatyanga?
Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;
    ani asobola okuntiisa?

(B)Abalabe bange n’abantu ababi bonna
    bwe banannumba nga baagala okunzita,
baneesittala
    ne bagwa.
(C)Newaakubadde ng’eggye linaasiisira okunneebungulula,
    omutima gwange teguutyenga;
olutalo ne bwe lunansitukirangako,
    nnaabanga mugumu.

(D)Ekintu kimu kye nsaba Mukama,
    era ekyo kye nnoonya:
okubeeranga mu nnyumba ya Mukama
    ennaku zonna ez’obulamu bwange,
ne ndabanga obulungi bwa Mukama,
    era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.
(E)Kubanga mu biseera eby’obuzibu
    anansuzanga mu nju ye;
anankwekanga mu weema ye,
    n’ankuumira ku lwazi olugulumivu.

(F)Olwo ononnyimusanga
    waggulu w’abalabe bange abanneetoolodde.
Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza n’eddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu;
    nnaayimbiranga Mukama ennyimba ez’okumutenderezanga.

(G)Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola;
    onkwatirwe ekisa onnyanukule!
Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.”
    Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”
(H)Tonneekweka,
    so tonyiigira muweereza wo,
    kubanga ggw’obadde omubeezi wange bulijjo.
Tonneggyaako, so tonsuula,
    Ayi Katonda, Omulokozi wange.
10 Kitange ne mmange bwe balindeka,
    Mukama anandabiriranga.
11 (I)Njigiriza, Ayi Mukama, by’oyagala nkole,
    era onkulembere mu kkubo lyo,
    kubanga abalabe bange banneetoolodde.
12 (J)Tompaayo mu balabe bange,
    kubanga abajulizi ab’obulimba bansitukiddeko n’enkwe zaabwe,
    okunkambuwalira.

13 (K)Nkyakakasiza ddala
    nga ndiraba obulungi bwa Mukama
    mu nsi ey’abalamu.
14 (L)Lindirira Mukama.
    Ddamu amaanyi, ogume omwoyo.
    Weewaawo, lindirira Mukama.

Balam 5:19-31

19 (A)“Ku mugga gw’e Megiddo mu Taanaki,
    bakabaka bajja ne balwana,
bakabaka b’e Kanani baalwana.
    Naye tebaanyaga bintu.
20 (B)Emunyeenye zaalwana nga zisinziira mu ggulu,
    zaalwanyisa Sisera nga bwe zetoloola mu bbanga.
21 (C)Omugga Kisoni gwabasanyizaawo ddala,
    omugga ogwo ogw’edda omugga Kisoni.
    Ggwe emmeeme yange, kkumba n’amaanyi.
22 Awo embalaasi ne zijja nga zirigita
    era nga bwe zisambirira ettaka, ensolo zaabwe ezo ez’amaanyi.
23 Malayika wa Mukama n’agamba nti, ‘Mukolimire Merozi[a].
    Mukolimire nnyo ababeera e Merozi;
kubanga tebeetaba mu lutalo lwa Mukama.
    Tebaalwetabaamu nga Mukama Katonda alwanyisa ab’amaanyi.’

24 (D)“Nga wa mukisa Yayeeri okusinga abakazi bonna!
    Nga wa mukisa Yayeeri mukazi w’Omukeeni Keberi,
    okusinga abakazi bonna ababeera mu weema!
25 (E)Bwe yasaba amazzi, yamuwa mata,
    era n’amuleetera n’omuzigo mu bbawulo ey’ekikungu.
26 (F)Yakwata enkondo ya weema mu mukono gwe ogwa kkono,
    n’ennyondo mu gwa ddyo,
n’akomerera Sisera enkondo
    mu kyenyi n’eyita namu.
27 Amaanyi gaamuggwa n’agwa;
    yagwa ku bigere bya Yayeeri
n’alambaala
    we yagwa we yafiira.

28 (G)“Nnyina wa Sisera yalingiriza mu ddirisa;
    yayisa amaaso mu ddirisa, n’aleekaanira waggulu nti
‘Kiki ekirwisizza eggaali lye okujja?
    Okuguluba kw’eggaali lye nga sikuwulira?’
29 Abazaana be abagezi baba tebanamuddamu
    ne yeddamu yekka.
30 (H)‘Tebazudde omunyago era tebali mu kugugabana,
    omuwala omu oba babiri buli musajja?
    Sisera tufunye omunyago ogw’engoye enduke ez’amabala?
    Eminagiro ebiri emiruke, egy’amabala tegiibe gyange?’

31 (I)“Ayi Mukama Katonda abalabe bo bazikirirenga bwe batyo nga Sisera.
    Naye abo bonna abakwagala bamasemasenga ng’enjuba
    ey’akavaayo mu maanyi gaayo.”

Awo ne wayitawo emyaka ana nga Abayisirayiri bali mu mirembe.

Ebikolwa by’Abatume 2:22-36

22 (A)“Abasajja Abayisirayiri, muwulirize ebigambo bino! Yesu Omunnazaaleesi omuntu Katonda gwe yakakasa gye muli n’ebyamagero eby’ekitalo, Katonda bye yamukozesanga ng’ali mu mmwe, nga mwenna bwe mumanyi. 23 (B)Naye ng’enteekateeka ya Katonda bwe yali, omuntu oyo yaweebwayo mu mikono gy’abantu abatagoberera mateeka, ne mumutta nga mumukomeredde ku musaalaba. 24 (C)Kyokka Katonda yamuzuukiza ng’asaanyizaawo obulumi bw’okufa, kubanga okufa tekwayinza kumunyweza. 25 (D)Kubanga Dawudi amwogerako nti,

“ ‘Nalaba nga Mukama ali nange bulijjo,
    kubanga ali ku mukono gwange ogwa ddyo,
    nneme okusagaasagana.
26 Noolwekyo omutima gwange kyeguvudde gusanyuka, n’olulimi lwange ne lukutendereza.
    Era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu ssuubi.
27 (E)Kubanga tolireka mwoyo gwange kuzikirira
    so toliganya mutukuvu wo kuvunda.
28 Wandaga amakubo g’obulamu,
    era olinzijuza essanyu nga ndi mu maaso go.’ 

29 (F)“Abasajja abooluganda, nnyinza okwogera n’obuvumu gye muli ku bifa ku jjajjaffe Dawudi nga yafa n’aziikibwa, era n’amalaalo ge weegali ne kaakano. 30 (G)Naye Dawudi yali nnabbi, n’amanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bibala eby’omu ntumbwe ze mwe muliva alituula ku ntebe ey’obwakabaka bwe, 31 (H)bwe yakiraba olubereberye nayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa magombe so nga n’omubiri gwe tegwavunda. 32 (I)Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, era ffe ffenna tuli bajulirwa. 33 (J)Awo bwe yagulumizibwa n’alaga ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n’aweebwa Mwoyo Mutukuvu eyamusuubizibwa Kitaffe, n’alyoka atuwa kino nammwe kye mwerabiddeko era kye mwewuliriddeko. 34 Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye agamba nti,

“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti,
    “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
35 (K)okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.” ’

36 (L)“Noolwekyo ennyumba yonna eya Isirayiri, bamanyire ddala nti oyo Yesu gwe mwakomerera ku musaalaba, Katonda yamufuula Mukama era Kristo!”

Matayo 28:11-20

Abakuumi bye Baayogera

11 (A)Abakazi bwe baali bagenda mu kibuga, abamu ku bakuumi abaali bakuuma entaana ne bagenda eri bakabona abakulu ne babategeeza byonna ebibaddewo. 12 Awo abakulembeze b’Abayudaaya bonna ne bakuŋŋaana ne bateesa era ne batoola ffeeza na basalawo bagulirire abakuumi. 13 Ne babalagira bagambe nti, “Bwe twali twebase ekiro, abayigirizwa ne bajja ne babba omulambo gwa Yesu ne bagutwala.” 14 (B)Abaali mu lukiiko olwo ne basuubiza abakuumi nti, “Singa ebigambo bino bituuka ku gavana, ffe tujja kumuwooyawooya, tubazibire.” 15 Bwe batyo abaserikale ne balya enguzi, ne bakkiriza okwogera nga bwe baabagamba. Ebigambo byabwe ne bibuna nnyo wonna mu Buyudaaya, n’okutuusa ku lunaku lwa leero.

Okutumibwa mu Nsi yonna

16 (C)Awo abayigirizwa ekkumi n’omu ne basitula ne bagenda e Ggaliraaya ku lusozi Yesu gye yabagamba okumusanga. 17 Ne bamusisinkana ne bamusinza. Naye abamu ku bo tebaakakasiza ddala nti ye Yesu, ne babuusabuusa! 18 (D)Awo Yesu n’asemberera abayigirizwa be n’abategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. 19 (E)Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu. 20 (F)Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo n’okutuukira ddala ensi lw’eriggwaawo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.