Book of Common Prayer
Ya Dawudi. Bwe yeefuula okuba omugu w’eddalu mu maaso ga Abimereki, oluvannyuma eyamugoba, era naye n’amuviira.
34 (A)Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera,
akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.
2 (B)Omwoyo gwange guneenyumiririzanga mu Mukama;
ababonyaabonyezebwa bawulire bajaguzenga.
3 (C)Kale tutendereze Mukama,
ffenna tugulumizenga erinnya lye.
4 (D)Nanoonya Mukama, n’annyanukula;
n’ammalamu okutya kwonna.
5 (E)Abamwesiga banajjulanga essanyu,
era tebaaswalenga.
6 Omunaku ono yakoowoola Mukama n’amwanukula,
n’amumalako ebyali bimuteganya byonna.
7 (F)Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama,
n’abawonya.
8 (G)Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi!
Balina omukisa abaddukira gy’ali.
9 (H)Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be,
kubanga abamutya tebaajulenga.
10 (I)Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi;
naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.
11 (J)Mujje wano baana bange, mumpulirize;
mbayigirize okutya Mukama.
12 (K)Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi,
okuba mu ssanyu emyaka emingi?
13 (L)Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana,
n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba.
14 (M)Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi;
noonya emirembe era ogigobererenga.
15 (N)Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu,
n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
16 (O)Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi,
okubasaanyizaawo ddala n’obutaddayo kujjukirwa ku nsi.
17 (P)Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira
n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.
18 (Q)Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.
14 (A)“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama. “Abantu lwe bataliddayo kwogera nti, ‘Ddala nga Katonda bw’ali omulamu eyaggya Isirayiri mu nsi y’e Misiri,’ 15 (B)naye baligamba nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era n’okuva mu nsi zonna gye yali abasudde.’ Kubanga ndibakomyawo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe.
16 (C)“Naye kaakano leka ntumye abavubi bange,” bw’ayogera Mukama, “era bajja kubavuba. Ng’ekyo kiwedde nzija kutumya abayizzi bange, era bajja kubayigga ku buli lusozi era na buli kasozi na buli lwatika lwonna mu njazi. 17 (D)Amaaso gange galaba buli kye bakola, tebinkwekeddwa wadde obutali butuukirivu bwabwe okuunkwekebwa. 18 (E)Ndibasasula olw’obutali butuukirivu bwabwe n’olw’ekibi kyabwe emirundi ebiri, kubanga boonoonye ensi yange olw’ebintu ebitaliimu bulamu ne bajjuza omugabo gwange ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakolerere, eby’emizizo.”
19 (F)Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange,
ekiddukiro kyange mu biro eby’okulabiramu ennaku,
bannaggwanga balijja gy’oli,
okuva ku nkomerero z’ensi bagambe nti,
“Bakitaffe tebaalina kantu okuggyako bakatonda ab’obulimba,
ebifaananyi ebikolerere ebitagasa ebitaabayamba.
20 (G)Abantu beekolera bakatonda baabwe?
Ye, naye si Katonda!
21 “Noolwekyo ndibayigiriza,
ku mulundi guno;
ŋŋenda kubalaga amaanyi gange n’obuyinza bwange.
Olwo balyoke bamanye nti
erinnya lyange nze Mukama.”
Yesu Ayita Abayigirizwa Abaasooka
14 (A)Oluvannyuma nga Yokaana Omubatiza amaze okusibwa mu kkomera, Yesu n’ajja mu Ggaliraaya okubuulira Enjiri ya Katonda, 15 (B)ng’agamba nti, “Ekiseera kituukiridde, n’obwakabaka bwa Katonda busembedde! Mwenenye mukkirize Enjiri.” 16 Awo Yesu yali ng’ayita ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya, n’alaba Simooni ne muganda we Andereya nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja; kubanga baali bavubi. 17 Yesu n’abagamba nti, “Mujje mungoberere nange ndibafuula abavubi b’abantu!” 18 Amangwago ne baleka obutimba bwabwe ne bamugoberera. 19 Bwe yeeyongerayo katono, n’alaba Yakobo ne Yokaana batabani ba Zebbedaayo, nga bali mu lyato baddaabiriza obutimba bwabwe. 20 Amangwago n’abayita ne baleka kitaabwe Zebbedaayo mu lyato n’abapakasi, ne bagoberera Yesu.
Zabbuli ya Dawudi.
33 (A)Muyimbire Mukama n’essanyu mmwe abatuukirivu;
kisaanira abalongoofu okumutenderezanga.
2 (B)Mutendereze Mukama n’ennanga,
mumukubire ennyimba ku ntongooli ey’enkoba ekkumi.
3 (C)Mumuyimbire oluyimba oluggya;
musune enkoba ze ntongooli n’amagezi nga bwe muyimba mu ddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu.
4 (D)Kubanga ekigambo kya Mukama kituufu era kya mazima;
mwesigwa mu buli ky’akola.
5 (E)Mukama ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.
Ensi ejjudde okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.
6 (F)Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa;
n’assiza omukka mu kamwa ke eggye lyonna ery’omu ggulu ne litondebwa.
7 Yakuŋŋaanya amazzi g’ennyanja mu ntuumu,
agayanja n’agasibira mu masitoowa gaago.
8 (G)Ensi yonna esaana etyenga Mukama,
n’abantu ab’omu mawanga gonna bamussengamu ekitiibwa;
9 (H)kubanga yayogera bwogezi n’etondebwa,
n’alagira n’eyimirira nga nywevu.
10 (I)Mukama asansulula enteekateeka y’amawanga;
alemesa abantu okutuukiriza bye bagenderera.
11 (J)Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna;
n’ebigendererwa by’omutima gwe bya lubeerera.
12 (K)Lirina omukisa eggwanga eririna Katonda nga ye Mukama waalyo,
ng’abantu baalyo yabalonda babeere bantu be.
13 (L)Mukama asinziira mu ggulu
n’alaba abaana b’abantu bonna;
14 (M)asinziira mu kifo kye mw’abeera
n’alaba abantu bonna abali ku nsi.
15 (N)Ye y’ategeka ebirowoozo byabwe bonna
ne yeetegereza byonna bye bakola.
16 (O)Tewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye;
era tewali mulwanyi ayinza kuwona olw’amaanyi ge amangi.
17 (P)Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere;
newaakubadde erina amaanyi mangi naye tesobola kulokola.
18 (Q)Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya;
abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo,
19 (R)abawonya okufa,
era abawonya enjala.
16 (A)“Laba mbatuma ng’endiga mu misege. Noolwekyo mubeere bagezigezi ng’emisota, era abataliiko kya kunenyezebwa ng’amayiba. 17 (B)Mwekuume abantu! Kubanga balibawaayo eri enkiiko z’Abakadde, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe, ne babakuba emigo. 18 (C)Mulitwalibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka ku lwange, okuba abajulirwa eri bo n’abannaggwanga. 19 (D)Bwe muweebwangayo, temweraliikiriranga kye munaawoza, kubanga kinaabaweebwanga mu kiseera ekyo. 20 (E)Kubanga si mmwe mugenda okwogera wabula Omwoyo wa Kitammwe y’alyogerera mu mmwe!
21 (F)“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa era n’abazadde baliwaayo abaana baabwe okuttibwa. Abaana nabo balyefuukira bazadde baabwe ne babatta. 22 (G)Mulikyayibwa abantu bonna olw’erinnya lyange. Naye oyo aligumiikiriza okutuuka ku nkomerero alirokolebwa. 23 Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu muddukirenga mu kirala! Ddala ddala mbagamba nti muliba temunnabuna bibuga bya Isirayiri, Omwana w’Omuntu n’ajja.
24 (H)“Omuyigirizwa tasinga amusomesa, so n’omuddu tasinga mukama we. 25 (I)Kirungi omuyigirizwa okuba ng’omusomesa we, n’omuddu okuba nga mukama we. Obanga nnannyinimu ayitibwa Beeruzebuli, tekisingawo nnyo ku b’omu nju ye.
26 (J)“Noolwekyo temubatyanga. Teri kyakisibwa ekitalimanyibwa, era tewali kyakwekebwa ekitalizuulibwa. 27 Buli kye mbabuulira mu kizikiza mukyogereranga mu musana, na buli kye mbagamba mu kaama, nakyo mukyasanguzanga waggulu ku nnyumba. 28 (K)Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo n’omubiri mu ggeyeena. 29 Enkazaluggya ebbiri tezigula sente emu? Naye tewali n’emu ku zo eyinza okuttibwa nga Kitammwe tamanyi. 30 (L)Era buli luviiri oluli ku mitwe gyammwe lwabalibwa. 31 (M)Kale temweraliikiriranga kubanga mmwe muli ba muwendo munene eri Kitammwe okusinga enkazaluggya ennyingi.
32 (N)“Buli muntu alinjatulira mu maaso g’abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.