Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 20-21

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

20 (A)Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu.
    Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.
(B)Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu;
    akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni.
(C)Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna z’omuwa,
    era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa.
(D)Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga,
    era atuukirizenga by’oteekateeka byonna.
(E)Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo,
    ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe.

Mukama akuwenga byonna by’omusaba.

(F)Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta,
    amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo,
    ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu.
(G)Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi,
    naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
(H)Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo,
    naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.
(I)Ayi Mukama, lokola kabaka,
    otwanukule bwe tukukoowoola.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

21 (J)Ayi Mukama, kabaka ajaguliza mu maanyi go.
    Obuwanguzi bw’omuwadde nga bumuleetedde essanyu lingi!

(K)Omuwadde omutima gwe bye gwetaaga,
    era buli ky’asabye n’akamwa ke tokimummye.
(L)Ddala ddala wamwaniriza n’emikisa gyo egijjudde ebirungi,
    n’omutikkira engule eya zaabu omuka ennyo ku mutwe gwe.
(M)Yakusaba obulamu, era n’obumuwa,
    ennaku ennyingi ez’emirembe n’emirembe.
(N)Obuwanguzi bwe wamuwa bumuleetedde ekitiibwa kinene.
    Omuwadde ekitiibwa n’oyatiikirira.
(O)Ddala omuwadde emikisa gyo egy’olubeerera,
    n’omujjuza essanyu ng’oli naye buli kiseera.
Kubanga kabaka yeesiga Mukama,
    era olw’okwagala okutaggwaawo okw’oyo Ali Waggulu Ennyo,
    kabaka tagenda kunyeenyezebwa.

(P)Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna;
    omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.
(Q)Bw’olirabika, Ayi Mukama,
    olibasiriiza n’omuliro ng’ogw’omu kyoto ekyengeredde.
Mukama, ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna,
    era alibamalirawo ddala.
10 (R)Olizikiriza ezzadde lyabwe ku nsi,
    n’abaana baabwe bonna n’obamalawo mu baana b’abantu.
11 (S)Newaakubadde nga bakusalira enkwe,
    ne bateekateeka ebikolwa ebibi, kyokka tewali kye basobola kutuukiriza.
12 (T)Balikyuka ne bakudduka bwe baliraba
    ng’obaleezeemu omutego gwo ogw’obusaale.

13 Ogulumizibwenga, Ayi Mukama, mu maanyi go.
    Tunaayimbanga nga tutendereza obuyinza bwo.

Zabbuli 110

Zabbuli ya Dawudi.

110 (A)Mukama yagamba Mukama wange nti:

“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
    okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo
    ne mbassa wansi w’ebigere byo.[a]

(B)Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni;
    olifuga abalabe bo.
(C)Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo
    ng’ekiseera ky’olutalo kituuse.
Abavubuka bo,
    nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu,
    balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.

(D)Mukama yalayira,
    era tagenda kukijjulula,
yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna
    ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.”

(E)Mukama anaakulwaniriranga;
    bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi.
(F)Aliramula amawanga, abafuzi b’ensi yonna n’abazikiriza,
    n’entuumo z’emirambo ziriba nnyingi ku nsi yonna.
(G)Alinywa amazzi mu kagga ku kkubo,
    n’addamu amaanyi ag’obuwanguzi.

Zabbuli 116-117

116 (A)Mukama mmwagala,
    kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.
(B)Kubanga ateze okutu kwe gye ndi,
    kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.

(C)Emiguwa gy’okufa gyansiba,
    n’okulumwa okw’emagombe kwankwata;
    ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya.
(D)Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti,
    “Ayi Mukama, ndokola.”

(E)Mukama wa kisa, era mutuukirivu;
    Katonda waffe ajjudde okusaasira.
(F)Mukama alabirira abantu abaabulijjo;
    bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.

(G)Wummula ggwe emmeeme yange,
    kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.
(H)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa,
    n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba;
    n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala,
(I)ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama
    mu nsi ey’abalamu.

10 (J)Nakkiriza kyennava njogera nti,
    “Numizibbwa nnyo.”
11 (K)Ne njogera nga nterebuse nti,
    “Abantu bonna baliraba.”

12 Mukama ndimusasula ntya
    olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde?
13 (L)Nditoola ekikompe eky’obulokozi,
    ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
14 (M)Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
    mu maaso g’abantu be bonna.

15 (N)Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.
16 (O)Ayi Mukama,
    onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe,
    nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.

17 (P)Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza,
    ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
18 Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
    mu maaso g’abantu be bonna,
19 (Q)mu mpya z’ennyumba ya Mukama;
    wakati wo, ggwe Yerusaalemi.

Mutendereze Mukama.
117 (R)Mutendereze Mukama, mmwe ensi zonna;
    mumugulumize, mmwe amawanga gonna.
(S)Kubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli;
    n’obwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera.

Mutendereze Mukama.

Okuva 17

Amazzi Agaava mu Lwazi

17 (A)Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kisitula okuva mu ddungu lya Sini, ne batambula ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Ne bakuba eweema zaabwe mu Lefidimu, naye nga tewaliiwo mazzi bantu ge banaanywa. (B)Abantu ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Tuwe amazzi tunywe.” Musa n’abaddamu nti, “Lwaki munnyombesa? Lwaki mugezesa Mukama?”

(C)Naye abantu ennyonta y’amazzi n’ebaluma, ne beemulugunyiza Musa. Ne bagamba nti, “Lwaki watuggya mu Misiri, ennyonta okututtira wano, ffe n’abaana baffe n’ebisibo byaffe?”

(D)Musa n’akaabira Mukama nti, “Abantu bano mbakole ntya? Baabano baagala kunkuba mayinja.”

(E)Mukama n’addamu Musa nti, “Abantu abo bakulembere, otwale ne ku bakulembeze ba Isirayiri; n’omuggo gwo gwe wakubisa ku mugga genda nagwo ng’ogukutte mu mukono gwo, mutambule. (F)Nange nzija kukwesooka mu maaso nyimirire ku lwazi e Kolebu, onookuba olwazi ne muvaamu amazzi abantu banywe.” Musa n’akola bw’atyo nga n’abakulembeze ba Isirayiri balaba. (G)Ekifo ekyo n’akituuma erinnya Masa ne Meriba, olw’okuyomba kw’abaana ba Isirayiri, n’olw’okugezesa Mukama nga bagamba nti, “Mukama waali mu ffe oba taliiwo?”

Olutalo Abayisirayiri lwe Baasooka Okulwana

(H)Awo Abamaleki[a] ne bajja balwane ne Isirayiri mu Lefidimu. (I)Musa n’agamba Yoswa nti, “Tuyunguliremu abasajja bagende balwanyise Abamaleki. Enkya nzija kuyimirira ku ntikko y’olusozi nga nkutte omuggo gwa Katonda mu mukono gwange.”

10 (J)Yoswa n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’alwana n’Abamaleki. Musa ne Alooni ne Kuli ne bambuka ku ntikko y’olusozi. 11 (K)Musa bwe yawanikanga emikono gye, Abayisirayiri nga bagoba, naye bwe yagissanga, nga Abamaleki bagoba. 12 Emikono gya Musa ne gitandika okumufuuyirira. Alooni ne Kuli ne bamuleetera ejjinja, n’atuula okwo; ne bawanirira emikono gye, omu ng’ali ku ludda olumu, ne munne ku ludda olulala, emikono gye olwo ne ginywerera waggulu okutuusa enjuba lwe yagwa. 13 Yoswa n’awangula Abamaleki ng’akozesa obwogi bw’ekitala.

14 (L)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Kino kiwandiike mu kitabo kiryoke kijjukirwenga ennaku zonna, era Yoswa asaana akimanye, kubanga Abamaleki ŋŋenda kubasangulirawo ddala ku nsi.”

15 Musa n’azimbawo ekyoto n’akituuma erinnya Mukama ye Bendera Yange. 16 N’agamba nti, “Kubanga Mukama alayidde okulwanyisa Abamaleki emirembe gyonna.”

1 Peetero 4:7-19

Okukozesa Obulungi Ebirabo Katonda by’atuwa

(A)Enkomerero ya byonna eneetera okutuuka. Noolwekyo mwetegeke era mwegenderezenga, era bulijjo musabenga Katonda. (B)N’ekisingira ddala obukulu mwagalanenga ddala mu mazima, kubanga okwagalana kubikka ebibi bingi. (C)Musembezeganenga awatali kwemulugunya. 10 (D)Buli omu asaanidde okukozesa n’obwesigwa buli kirabo Katonda kye yamuwa olw’okugasa banne nabo balyoke bafune emikisa gya Katonda emingi gy’agaba. 11 (E)Ayogera, ayogerenga ng’atumiddwa Katonda; ayamba, akikolenga n’amaanyi gonna Katonda g’amuwadde; mu byonna Katonda alyoke agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa n’obuyinza emirembe n’emirembe. Amiina.

Okubonyaabonyezebwa olw’Okuba Omukristaayo

12 (F)Abaagalwa, temwewuunya obulumi obw’amaanyi bwe bubatuukako ng’abatuukiddwako ekintu ekitali kya bulijjo. 13 (G)Kyokka musanyuke kubanga mugabanye ku kubonaabona kwa Kristo, mulyoke mujjule essanyu, ng’ekitiibwa kye kirabise. 14 (H)Mulina omukisa bwe muvumibwa olw’erinnya lya Kristo kubanga Omwoyo ow’ekitiibwa owa Katonda ali ku mmwe. 15 Mu mmwe temusaana kubaamu mutemu, oba mubbi, oba omukozi w’ebibi, wadde eyeeyingiza mu by’abalala. Kubanga buli abonyaabonyezebwa olw’ebyo taliiko ky’agasibwa. 16 (I)Naye bw’abonyaabonyezebwa olw’okuba Omukristaayo aleme kukwatibwa nsonyi, wabula yeebazenga Katonda olw’okuba owa Kristo. 17 (J)Kubanga ekiseera kituuse Katonda okulamula ng’atandikira mu nnyumba ya Katonda. Obanga okulamula kutandikidde ku ffe, kale kiriba kitya ku abo abajeemera Enjiri ya Katonda?

18 (K)“Era obanga kizibu omutuukirivu okulokolebwa,
    kale aboonoonyi n’abatatya Katonda balikolebwa batya?”

19 Noolwekyo abo ababonaabona olw’okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala, basaanidde okuwaayo obulamu bwabwe eri Katonda waabwe omwesigwa, bakole obulungi.

Yokaana 16:16-33

16 (A)Mu bbanga ttono munaaba temukyandaba, ate wanaayitawo ebbanga ttono ne mundaba!”

17 (B)Abamu ku bayigirizwa be ne beebuzaganya nti, “Kiki ekyo ky’agamba nti, ‘Mu bbanga ttono temuliddayo kundaba, ate mu bbanga ttono munandaba,’ era nti, ‘Kubanga ŋŋenda eri Kitange?’ ” 18 Ne beeyongera okwebuuza nti, “Kiki ekyo ky’agamba nti, ‘Ebbanga ttono?’ Tetutegeera ky’agamba.”

19 Yesu bwe yamanya nga baagala okumubuuza n’abagamba nti, “Mwebuuzaganya ku kye ŋŋambye nti mu bbanga ttono munaaba temukyandaba ate wanaayitawo ebbanga ttono ne mundaba? 20 (C)Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, naye ensi yo erisanyuka. Mmwe mulinakuwala naye okunakuwala kwammwe kulifuuka essanyu eritagambika bwe mulindabako nate. 21 (D)Omukazi ng’azaala aba mu bulumi buyitirivu, kubanga ekiseera kye kituuse. Naye omwana bw’amala okuzaalibwa olwo omukazi aba takyajjukira bulumi buli olw’essanyu ery’okuzaala omuntu mu nsi. 22 (E)Kale nammwe kaakano munakuwadde, naye ndiddamu okubalaba ne musanyuka, era essanyu lyammwe tewali n’omu aliribaggyako. 23 (F)Mu kiseera ekyo nga temukyansaba kintu na kimu, mmwe bennyini munaasabanga Kitange mu linnya lyange. 24 (G)Kino mubadde temukikola, naye kaakano mukitandike. Musabe mu linnya lyange, mujja kuweebwa ekyo kye musaba, essanyu lyammwe liryoke lituukirire. 25 (H)Ebyo mbibabuulidde mu ngero. Naye ekiseera kijja kutuuka nneme kwogera nammwe mu ngero, wabula mbabuulire lwatu ebifa ku Kitange. 26 (I)Mu kiseera ekyo mulisaba mu linnya lyange, so si Nze okubasabira eri Kitange. 27 (J)Kitange abaagala nnyo kubanga nammwe munjagala nnyo era mukkiriza nti nava eri Katonda. 28 (K)Nava eri Kitange ne nzija mu nsi era nzija kuva mu nsi nzireyo eri Kitange.”

29 (L)Awo abayigirizwa be ne bamugamba nti, “Kaakano oyogera lwatu, so si mu ngero. 30 Kaakano tutegedde ng’omanyi byonna, era nga tewali kyetaagisa kukubuuza. Kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda.”

31 Yesu n’abaddamu nti, “Kaakano mukkirizza? 32 (M)Laba, ekiseera kijja, era kituuse mwenna lwe munaasaasaana buli omu n’addayo ku bibye, ne mundeka nzekka. Kyokka sijja kuba nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange.

33 (N)“Mbategeezezza ebyo byonna mulyoke mube n’emirembe mu nze. Mu nsi muno mujja kubonaabona, naye mugume, kubanga Nze mpangudde ensi.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.