Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 26

Zabbuli ya Dawudi.

26 (A)Onnejjeereze, Ayi Mukama,
    kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
    nga sibuusabuusa.
(B)Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;
    weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
(C)Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,
    era mu mazima go mwe ntambulira.

(D)Situula na bantu balimba,
    so siteesaganya na bakuusa.
(E)Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;
    so situula na bakozi ba bibi.
(F)Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;[a]
    ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
(G)ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,
    olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.

(H)Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,
    kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
(I)Tombalira mu boonoonyi,
    wadde mu batemu,
10 (J)abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi,
    era abali b’enguzi.
11 (K)Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa;
    nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.

12 (L)Nnyimiridde watereevu.
    Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.

Zabbuli 28

Zabbuli ya Dawudi.

28 (A)Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange,
    tolema kumpuliriza;
kubanga bw’onoonsiriikirira
    nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.
(B)Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange,
    nga mpanise emikono gyange
okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu,
    nga nkukaabirira okunnyamba.

(C)Tontwalira mu boonoonyi,
    abakola ebibi;
abanyumya obulungi ne bannaabwe,
    so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.
(D)Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri,
    n’olw’ebyambyone bye bakoze.
Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza,
    obabonereze nga bwe basaanidde.

(E)Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama,
    oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye,
alibazikiririza ddala,
    era talibaddiramu.

Atenderezebwe Mukama,
    kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
(F)Mukama ge maanyi gange,
    era ye ngabo yange, ye gwe neesiga.
Bwe ntyo ne nyambibwa.
    Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.

(G)Mukama y’awa abantu be amaanyi,
    era kye kiddukiro eky’obulokozi bw’oyo gwe yafukako amafuta.
(H)Olokole abantu bo, obawe omukisa abalonde bo.
    Obakulemberenga ng’omusumba, era obawanirirenga emirembe gyonna.

Zabbuli 36

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

36 (A)Nnina obubaka mu mutima gwange
    obukwata ku bwonoonyi bw’omukozi w’ebibi.
N’okutya
    tatya Katonda.

Ye nga bw’alaba yeewaanawaana n’atasobola kutegeera
    oba okukyawa ekibi kye.
(B)Ebigambo ebiva mu kamwa ke biba bibi era nga bya bulimba;
    takyalina magezi era takyakola birungi.
(C)Ne ku kitanda kye afumiitiriza ebibi by’anaakola;
    amalirira okutambuliranga mu kkubo ekyamu,
    era ebitali bituufu tabyewala.

Okwagala kwo, Ayi Mukama, kutuuka ne ku ggulu;
    obwesigwa bwo butuuka ku bire.
(D)Obutuukirivu bwo bugulumivu ng’agasozi aganene,
    n’obwenkanya bwo buwanvu nnyo ng’ennyanja ennene ennyo.
Ayi Mukama, olabirira abantu n’ebisolo.
    (E)Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika.
Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa
    baddukira mu biwaawaatiro byo.
(F)Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta;
    obawa ebyokunywa by’omugga gwo ogwesiimisa.
(G)Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu,
    era gw’otwakiza omusana.

10 Yongeranga okwagala abo abakutegeera,
    era n’obutuukirivu bwo eri abo abalina emitima emirongoofu.
11 Ab’amalala baleme okunninnyirira,
    wadde ababi okunsindiikiriza.
12 (H)Laba, ababi nga bwe bagudde!
    Basuuliddwa wansi era tebasobola na ku golokokawo.

Zabbuli 39

Ya Mukulu wa Bayimbi: Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.

39 (A)Nagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola,
    n’olulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu.
Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange
    nnaabuniranga bubunizi ne soogera.”
(B)Naye bwe nasirika
    ne sibaako kye njogedde wadde ekirungi,
    ate obuyinike bwange ne bweyongera.
Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange.
    Bwe nnali nkyakifumiitirizaako, omuliro ne gukoleera munda yange;
    kyenava njogera nti:

(C)“Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba,
    n’ennaku ze nsigazza;
    ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.”
(D)Ennaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta.
    Obungi bw’emyaka gyange tobulabamu kantu.
    Buli muntu, mukka bukka.

(E)Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize.
    Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu.
    Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.

(F)Naye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe.
(G)Ondokole mu bibi byange byonna,
    abasirusiru baleme okunsekerera.
(H)Nasirika busirisi, saayasamya kamwa kange;
    kubanga kino ggwe wakikola.
10 (I)Olekere awo okunkuba,
    emiggo gy’onkubye giyitiridde!
11 (J)Onenya omuntu ng’omukangavvula olw’ekibi kye ky’akola,
    omumaliramu ddala ensa, ng’ennyenje bw’ekola olugoye.
    Ddala omuntu mukka bukka.

12 (K)Ayi Mukama, wulira okusaba kwange,
    owulire okukaaba kwange onnyambe.
    Tonsiriikirira nga nkukaabirira.
Kubanga ndi mugenyi bugenyi, omutambuze,
    nga bajjajjange bonna bwe baali.
13 (L)Ndeka nsanyukemu, nga sinnava mu nsi muno,
    ne mbulirawo ddala.

Engero 30:1-4

Ebigambo ba Aguli

30 Bino bye bigambo bya Aguli mutabani wa Yake; obubaka bwe yawa bwe buno:

Bw’ati omusajja ono bwe yagamba Isiyeri, Isyeri ono ne Ukali.
Ddala Ayi Katonda wange nze nsinga obutategeera,
    sirina kutegeera kwa bantu.
(A)Siyize magezi,
    so n’oyo Omutukuvu simumanyi.
(B)Ani eyali alinnye mu ggulu n’akka?
    Ani eyali akuŋŋaanyiza empewo mu kibatu ky’engalo ze?
Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye?
    Ani eyatonda enkomerero zonna ez’ensi?
Erinnya lye y’ani, ne mutabani we y’ani?
    Mbulira obanga obimanyi.

Engero 30:24-33

24 Waliwo ebintu ebitono bina ku nsi,

ebirina amagezi amangi ennyo.

25 (A)Enkolooto bye biwuka ebitalina maanyi mangi,

naye byeterekera emmere yaabyo mu kyeya;

26 (B)obumyu busolo bunafu

naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja;

27 (C)enzige tezirina kabaka,

kyokka zitabaala zonna mu bibiina byazo;

28 omunya oyinza okugukwasa engalo,

naye mu mbiri za bakabaka gusangibwamu.

29 Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kitiibwa nga bitambula,

weewaawo bina ebitambulira mu kitiibwa:

30 empologoma esinga ensolo zonna amaanyi era kabaka waazo, so tewali gy’esegulira yonna;

31 sseggwanga,

n’embuzi ennume,

ne kabaka eyeetooloddwa eggye lye.

32 (D)Bw’oba ng’obadde okoze eby’obusirusiru ne weegulumiza,
    obanga obadde oteekateeka okukola ebibi,
    weekomeko weekwate ku mumwa.
33 Kubanga okusunda amata kuzaala omuzigo,
    n’okunyiga ennyindo kuleeta omusaayi,
    okutankuula obusungu, bwe kutyo kuleeta entalo.

Abafiripi 3:1-11

Obutuukirivu obwa Nnama ddala

Ebisigaddeyo, baganda bange, musanyukirenga mu Mukama waffe. Okuddamu ebyo bye nnabawandiikira edda tekunkooya kubanga kyongera kubanyweza. (A)Mwekuumenga embwa, era mwekuumenga ab’empisa embi, era mwekuumenga abakomola omubiri. (B)Kubanga ffe bakomole, abasinza Katonda ng’Omwoyo bw’atuluŋŋamya, era twenyumiririza mu Kristo Yesu so tetwesiga mubiri.

Ne bwe kwandibadde okwesiga omubiri, omuntu omulala yenna bw’alowooza okuba n’obwesige mu mubiri, nze musinga. (C)Kubanga nze nakomolebwa ku lunaku olw’omunaana. Ndi Muyisirayiri, ow’omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu, era mu mateeka ndi Mufalisaayo, (D)eyanyiikira okuyigganya ekkanisa, eyali omutuukirivu mu mateeka, nga siriiko kya kunenyezebwa.

(E)Naye ebyo byonna ebyali omugabo gye ndi, nabiraba nga butaliimu. (F)Naye okusinga byonna, byonna mbiraba ng’okufiirwa, kubanga okutegeera Kristo Yesu Mukama wange, kusinga ebirala byonna. Olwa Kristo nafiirwa ebintu byonna, era mbiraba ng’ebisasiro, ndyoke ngobolole Kristo, (G)ndabikire mu ye nga sirina butuukirivu bwange ku bwange obuva mu kukwata amateeka, wabula nga nnina obutuukirivu obuva mu kukkiriza Kristo, era obuva eri Katonda obwesigamye ku kukkiriza. 10 (H)Njagala okussa ekimu mu bibonoobono bye, nga mmufaanana mu kufa kwe, mmumanye era ntegeere amaanyi g’okuzuukira kwe, 11 (I)nga nsuubira nga nange ndizuukira.

Yokaana 18:28-38

Yesu mu maaso ga Piraato

28 (A)Awo Abayudaaya ne baggya Yesu ewa Kayaafa ne bamutwala mu lubiri lwa gavana Omuruumi. Obudde bwali bwakakya, ne batayingira mu lubiri baleme okusobya omukolo ogw’okwetukuza, si kulwa nga basubwa okulya Embaga y’Okuyitako. 29 Awo Piraato n’afuluma ebweru gye baali n’ababuuza nti, “Musango ki gwe muvunaana omuntu ono?”

30 Ne bamuddamu nti, “Singa yali tazizza musango tetwandimuleese gy’oli.”

31 Piraato kyeyava abagamba nti, “Kale mmwe mumutwale mumusalire omusango okusinziira mu mateeka gammwe.”

Ne bamuddamu nti, “Ffe tetukkiriza kutta muntu yenna.”

32 (B)Kino ne kituukiriza ebyo Yesu bye yayogera ku nfa gye yali agenda okufaamu.

33 (C)Awo Piraato n’addayo mu lubiri n’ayita Yesu. N’amubuuza nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?”

34 Yesu n’addamu nti, “Ekyo okyogedde ku bubwo oba balala be bakubuulidde ebinfaako?”

35 Piraato n’amubuuza nti, “Nze ndi Muyudaaya? Abantu bo ne Kabona Asinga Obukulu be bakundeetedde. Okoze ki?”

36 (D)Yesu n’addamu nti, “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno. Singa bubadde bwa mu nsi eno abaweereza bange bandirwanye ne siweebwayo mu Bayudaaya. Naye obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.”

37 (E)Piraato n’amubuuza nti, “Kwe kugamba oli kabaka?”

Yesu n’amuddamu nti, “Okyogedde nti ndi kabaka. Ekyo kye nnazaalirwa era kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Era abo bonna abaagala amazima bawulira eddoboozi lyange.”

38 (F)Piraato n’amubuuza nti, “Amazima kye ki?” Piraato bwe yamala okwogera bw’atyo n’afuluma ebweru eri Abayudaaya n’abagamba nti, “Omuntu ono talina musango.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.