Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 25

Zabbuli ya Dawudi.

25 (A)Eri ggwe, Ayi Mukama,
    gye ndeeta okusaba kwange.

(B)Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
(C)Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga,
    naye ab’enkwe baliswazibwa.

(D)Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
    ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
    kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange
    era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
(E)Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,
    kubanga byava dda.
(F)Tojjukira bibi byange
    n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.
Onzijukire, Ayi Mukama,
    ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.

(G)Mukama mulungi, era wa mazima,
    noolwekyo ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye.
(H)Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu
    n’abayigiriza ekkubo lye.
10 (I)Amakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala n’amazima
    eri abo abagondera endagaano ye n’ebiragiro bye.
11 (J)Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama,
    onsonyiwe ebibi byange, kubanga bingi.

12 (K)Omuntu wa ngeri ki atya Katonda?
    Oyo gw’anaayigirizanga okukwata ekkubo lye yamulondera.
13 (L)Obulamu bwe bunajjuzibwanga emikisa gya Katonda,
    era bazzukulu be ensi eriba yaabwe.
14 (M)Mikwano gya Mukama be bo abamugondera;
    anaababikkuliranga ekyama eky’endagaano ye.
15 (N)Ntunuulira Mukama buli kiseera,
    kubanga yekka y’anzigya mu kabi.

16 (O)Nkyukira, Ayi Mukama, onkwatirwe ekisa,
    kubanga nsigadde bw’omu, era ndi munafu.
17 (P)Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange;
    mponya okweraliikirira kwange.
18 (Q)Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange;
    onzigyeko ebibi byange byonna.
19 (R)Laba abalabe bange nga bwe beeyongedde obungi
    n’okunkyawa kwe bankyawamu!

20 (S)Labiriranga obulamu bwange, obamponye;
    tondekanga mu buswavu,
    kubanga ggwe kiddukiro kyange.
21 (T)Amazima n’obulongoofu bindabirirenga,
    essubi lyange liri mu ggwe.

22 (U)Nunula Isirayiri, Ayi Katonda,
    omuwonye emitawaana gye gyonna.

Zabbuli 9

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa okujjukira Okufa kw’Omwana. Zabbuli ya Dawudi.

(A)Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna;
    nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.
(B)Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe.
    Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.

Abalabe bange bazzeeyo emabega,
    beesittadde ne bazikiririra mu maaso go.
(C)Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange;
    era otudde ku ntebe yo ey’obwakabaka n’osala omusango mu bwenkanya.
(D)Waboggolera amawanga, n’ozikiriza ababi;
    erinnya lyabwe n’olisangulirawo ddala emirembe n’emirembe.
(E)Abalabe obamaliddewo ddala,
    n’ebibuga byabwe obizikirizza,
    era tewali aliddayo kubijjukira.

(F)Naye Mukama afuga emirembe gyonna;
    era ataddewo entebe ye ey’okusalirako emisango.
(G)Aliramula ensi mu butuukirivu,
    era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.
(H)Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;
    era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.
10 (I)Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;
    kubanga abakunoonya tobaleka bokka.

11 (J)Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni;
    mutegeeze amawanga gonna by’akoze.
12 (K)Ajjukira n’awoolera eggwanga
    era assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.

13 (L)Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya,
    onzigye ku miryango gy’okufa.
14 (M)Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu
    mu miryango[a] gy’omuwala wa Sayuuni:
    era njagulizenga mu bulokozi bwo.

15 (N)Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima;
    era n’emitego gyabwe gimasuse ne gibakwasa.
16 Mukama yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga.
    Omubi akwatiddwa mu mutego gw’emikono gye.
17 (O)Ababi balisuulibwa emagombe;
    ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda.
18 (P)Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna,
    era n’ababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna.

19 Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula;
    leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.
20 (Q)Bakankanye n’okutya, Ayi Mukama;
    amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.

Zabbuli 15

Zabbuli ya Dawudi.

15 (A)Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo?
    Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu?

(B)Oyo ataliiko kya kunenyezebwa,
    akola eby’obutuukirivu,
era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.
    (C)Olulimi lwe talwogeza bya bulimba,
era mikwano gye tagiyisa bubi,
    so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.
(D)Anyooma ababi,
    naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa.
Atuukiriza ky’asuubiza
    ne bwe kiba nga kimulumya.
(E)Bw’awola tasaba magoba;
    so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna.

Oyo akola ebyo
    aliba munywevu emirembe gyonna.

Engero 27:1-6

Amagezi aga Leero n’Ebiseera eby’omu mu Maaso

27 (A)Teweenyumirizanga mu bya nkya,
    kubanga olunaku bye lunaaleeta tobimanyi.

(B)Leka omulala akutenderezenga so si kamwa ko ggwe,
    omuntu omulala so si mimwa gyo.

(C)Ejjinja lizitowa, n’omusenyu muzito,
    naye obulumbaganyi bw’omusirusiru businga byonna okuzitowa.

(D)Obusungu bwa ttima, n’ekiruyi kifugira ddala nnyo,
    naye ani ayinza okwolekera amaaso g’obuggya?

Okunenya mu lwatu,
    kisinga okwagala okukisibbwa.

(E)Okunywegera kw’omulabe kwandiba okungi,
    naye ebiwundu by’okunenya kw’owoomukwano tebitiisa.

Engero 27:10-12

10 (A)Mukwano gwo ne mukwano gwa kitaawo tobaabuuliranga,
    olemenga okutawaana okuswala ewa muganda wo ng’ogudde mu mitawaana.
    Muliraanwa wo akira muganda wo akuli ewala.

11 (B)Beeranga n’amagezi mwana wange, osanyusenga omutima gwange,
    ndyoke nyanukule oyo yenna ansekerera.

12 (C)Omuntu omutegeevu alaba akabenje ne yeekweka,
    naye abatalina magezi batambula butambuzi ne bagwa mu kabi.

Abafiripi 2:1-13

Mulabire ku Kristo

(A)Kale bwe wabaawo okubazaamu endasi kwonna mu Kristo, oba okusanyusa kwonna okw’okwagala, oba okussa ekimu mu mwoyo, oba okwagala okw’engeri yonna, oba okusaasira, (B)mutuukirize essanyu lyange, mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala, n’omwoyo gumu, nga mulowooza bumu, (C)nga temukola kintu na kimu olw’okuvuganya wadde okwewaana okutaliimu, wabula mu bwetoowaze nga buli muntu agulumiza munne okusinga bwe mwegulumiza mwekka, nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ng’afaayo ne ku by’abalala.

(D)Mubengamu endowooza eri eyali mu Kristo Yesu,

(E)ye newaakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda,
    Teyeerowooza kwenkanankana ne Katonda,
(F)wabula yeewaayo n’afuuka ng’omuddu,
    era n’azaalibwa ng’omuntu,
    era n’alabikira mu kifaananyi ky’omuntu,
(G)ne yeetoowaza,
    n’aba muwulize n’okutuukira ddala ku kufa,
    ate okufa okw’okukomererwa ku musaalaba.

(H)Katonda kyeyava amugulumiza,
    n’amuwa erinnya erisinga amannya gonna;
10 (I)buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi,
    era n’abali wansi w’ensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu,
11 (J)era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama,
    Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.

Okwakira Ensi

12 (K)Noolwekyo abaagalwa, nga bwe muli abawulize bulijjo nga ndi nammwe, kaakano nga bwe siri nammwe mube bawulize nnyo n’okusinga bwe mwali. Munyiikirenga okukola ebiraga nti mwalokolebwa, nga mutya era nga mukankana. 13 (L)Kubanga Katonda yakolera mu mmwe, era yabaagazisa n’abasobozesa okukola by’ayagala, olw’okumusanyusa.

Yokaana 18:15-18

Peetero Yeegaana Yesu Omulundi Ogusooka

15 (A)Simooni Peetero n’omuyigirizwa omulala eyali amanyiddwa Kabona Asinga Obukulu, ne bagoberera Yesu. Omuyigirizwa oyo eyali amanyiddwa n’agoberera Yesu mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu, 16 nga Peetero ye ayimiridde wabweru ku mulyango; omuyigirizwa oyo omulala bwe yayogera n’omuggazi w’oluggi n’ayingiza Peetero.

17 (B)Omuwala omuggazi n’abuuza Peetero nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa b’omuntu oyo?”

Peetero n’addamu nti, “Nedda.”

18 (C)Obudde bwali bwa mpewo, abaddu n’abaweereza baali bakumye omuliro nga boota, ne Peetero naye ng’ayimiridde nabo ng’ayota omuliro.

Yokaana 18:25-27

Peetero Yeeyongera Okwegaana Yesu

25 (A)Mu kiseera ekyo Simooni Peetero yali ayimiridde ng’ayota omuliro. Ne bamubuuza nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa ba Yesu?”

N’abaddamu nti, “Nedda.”

26 (B)Awo omu ku baddu ba Kabona Asinga Obukulu, muganda w’oyo Peetero gwe yasalako okutu, n’amubuuza nti, “Saakulabye naye mu nnimiro?” 27 (C)Peetero n’addamu okwegaana. Amangwago enkoko n’ekookolima.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.