Book of Common Prayer
93 (A)Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa.
Mukama ayambadde ekitiibwa
era yeesibye amaanyi.
Ensi yanywezebwa;
teyinza kunyeenyezebwa.
2 (B)Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda.
Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe.
3 (C)Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama;
ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo,
n’amazzi g’ennyanja gayira.
4 (D)Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;
oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja.
5 (E)Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu,
n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo,
ennaku zonna.
96 (A)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya;
muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.
2 (B)Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye,
mulangirire obulokozi bwe buli lukya.
3 Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna,
eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.
4 (C)Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa;
asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.
5 (D)Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi;
naye Mukama ye yakola eggulu.
6 (E)Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola;
amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.
7 (F)Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna;
mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
8 (G)Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye;
muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.
9 (H)Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe.
Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.
10 (I)Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga.
Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako;
Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.
11 (J)Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze;
ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.
12 (K)Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze;
n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu.
13 (L)Kubanga Mukama ajja;
ajja okusalira ensi omusango.
Mukama aliramula ensi mu butuukirivu,
n’abantu bonna abalamule mu mazima.
Ya Dawudi. Bwe yeefuula okuba omugu w’eddalu mu maaso ga Abimereki, oluvannyuma eyamugoba, era naye n’amuviira.
34 (A)Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera,
akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.
2 (B)Omwoyo gwange guneenyumiririzanga mu Mukama;
ababonyaabonyezebwa bawulire bajaguzenga.
3 (C)Kale tutendereze Mukama,
ffenna tugulumizenga erinnya lye.
4 (D)Nanoonya Mukama, n’annyanukula;
n’ammalamu okutya kwonna.
5 (E)Abamwesiga banajjulanga essanyu,
era tebaaswalenga.
6 Omunaku ono yakoowoola Mukama n’amwanukula,
n’amumalako ebyali bimuteganya byonna.
7 (F)Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama,
n’abawonya.
8 (G)Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi!
Balina omukisa abaddukira gy’ali.
9 (H)Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be,
kubanga abamutya tebaajulenga.
10 (I)Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi;
naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.
11 (J)Mujje wano baana bange, mumpulirize;
mbayigirize okutya Mukama.
12 (K)Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi,
okuba mu ssanyu emyaka emingi?
13 (L)Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana,
n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba.
14 (M)Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi;
noonya emirembe era ogigobererenga.
15 (N)Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu,
n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
16 (O)Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi,
okubasaanyizaawo ddala n’obutaddayo kujjukirwa ku nsi.
17 (P)Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira
n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.
18 (Q)Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.
Abantu Baatula Ekibi Kyabwe
10 (A)Awo Ezera bwe yali ng’asaba, ng’ayatula ebibi mu lwatu, ng’akaaba, era ng’avunnamye mu maaso g’ennyumba ya Katonda, ekibiina ekinene eky’Abayisirayiri, abasajja, n’abakyala, n’abaana ne bakuŋŋaana gy’ali, nabo nga bakaaba nnyo nnyini. 2 (B)Awo Sekaniya mutabani wa Yekyeri, omu ku bazzukulu ba Eramu n’agamba Ezera nti, “Tetubadde beesigwa eri Katonda waffe, kubanga twawasa abakazi bannaggwanga ab’oku mawanga agatwetoolodde. Naye newaakubadde nga twakola bwe tutyo, wakyaliwo essuubi eri Isirayiri. 3 (C)Noolwekyo tukole endagaano ne Katonda waffe tuve ku bakazi abo bonna n’abaana be twabazaalamu, ng’okuteesa kwa mukama wange n’abo abatya ebiragiro bya Katonda waffe bwe kuli, era kikolebwe ng’etteeka bwe litulagira. 4 Golokoka kubanga obuvunaanyizibwa obwo buli mu mukono gwo era tuli beeteefuteefu okukuwagira, noolwekyo guma omwoyo okikole.”
5 (D)Awo Ezera n’agolokoka n’alayiza bakabona abakulu n’Abaleevi ne Isirayiri yenna okukola nga bwe kyateesebwa. Ne balayira. 6 (E)Ezera n’agolokoka n’ava mu maaso g’ennyumba ya Katonda n’agenda mu kisenge kya Yekokanani mutabani wa Eriyasibu, naye n’atalya mmere newaakubadde okunywa amazzi ng’akyanakuwalidde obutali bwesigwa bw’abaawaŋŋangusibwa.
7 Awo ekirango ne kiyisibwa mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi nti abawaŋŋangusibwa abaakomawo bakuŋŋaanire mu Yerusaalemi. 8 Era ne kigambibwa nti omuntu yenna aliba tazze mu nnaku ssatu, alifiirwa ebintu bye byonna, ate n’agobebwa ne mu kuŋŋaaniro lya baawaŋŋangusibwa.
9 (F)Mu nnaku ssatu, abasajja bonna aba Yuda ne Benyamini ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi. Awo ku lunaku olw’amakumi abiri olw’omwezi ogw’omwenda abantu bonna ne batuula mu luggya olugazi mu maaso g’ennyumba ya Katonda nga banakuwavu olw’ensonga eyo ate era n’olw’enkuba eyatonnya. 10 Awo Ezera kabona n’ayimirira n’abagamba nti, “Mwayonoona bwe mwawasa abakazi bannamawanga ne mwongera ku musango gwa Isirayiri. 11 (G)Kaakano mwatule ebibi byammwe eri Mukama Katonda wa bajjajjammwe, mukole ebyo by’asiima. Mweyawule ku mawanga agabeetoolodde era muleke n’abakazi bannamawanga.”
12 (H)Awo ekibiina kyonna ne kiddamu n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Oli mutuufu, tuteekwa okukola nga bw’ogambye. 13 Naye abantu bangi, era n’ekiseera kya nkuba, tetuyinza kuyimirira bweru. N’ensonga eyookubiri, omulimu guno teguyinza kukolebwa mu lunaku lumu oba mu nnaku bbiri, kubanga twonoonye nnyo nnyini mu kigambo ekyo. 14 (I)Abakulu baffe beeyimirire olukuŋŋaana lwonna, na buli muntu awamu n’abakadde n’abalamuzi aba buli kibuga mu bibuga byaffe eyawasa omukazi omunnaggwanga, ajje mu kiseera ekiragaane alongoose ensonga eyo, okutuusa obusungu bwa Katonda waffe lwe bulituvaako olw’ekigambo ekyo.” 15 (J)Yonasaani mutabani wa Asakeri ne Yozeya mutabani wa Tikuva, nga bawagirwa Mesullamu ne Sabbesayi Omuleevi be bokka abawakanya ekiteeso ekyo.
16 Awo abaava mu buwaŋŋanguse ne bakola ng’ekiteeso bwe kyali. Ezera kabona n’abaalondebwa ku bakulu b’ennyumba, omu mu buli nnyumba ne baawulibwa mu mannya gaabwe. Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’ekkumi ne batuula okunoonyereza ku bigambo ebyo; 17 ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye ne bamaliriza ensonga eyo ey’abasajja bonna abaali bawasizza abakazi abannamawanga.
10 (A)Oluwalo lwa Pawulo ne lutuuka, gavana n’amuwenya asituke ayogere. Pawulo n’ayanukula nti, “Mmanyi, ssebo, nga bw’osaze emisango egifa ku nsonga zaffe ez’Ekiyudaaya okumala emyaka emingi, ekyo kimpa obugumu nga mpoleza mu maaso go. 11 (B)Ggwe bw’onoobuuza, ojja kuzuula nti ennaku tezinnayita kkumi na bbiri kasookedde nyambuka mu Yerusaalemi okusinza mu Yeekaalu. 12 (C)Abo abampawaabira tebansisinkanangako nga nnina gwe nnyumya naye mu Yeekaalu, wadde nga nsasamaza ekibiina mu kuŋŋaaniro oba awalala wonna mu kibuga. 13 (D)Era tebayinza kukulaga bukakafu bwonna ku bintu bino bye bampawaabira nti nabikola. 14 (E)Naye waliwo ekintu kimu kye nzikiriza. Nsinza Katonda nga nzikiririza mu Kkubo, bano kye bayita enzikiriza endala. Nsinza Katonda n’okumuweereza nga ngoberera empisa za bajjajjaffe n’obulombolombo, nga bwe baabitegeka, era nzikiririza ddala mu mateeka g’Ekiyudaaya ne mu byonna ebyawandiikibwa mu bitabo bya bannabbi. 15 (F)Era nzikiriza, nga bano bwe bakkiriza, nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’ababi. 16 (G)Olw’essuubi lino lye nnina, nfuba bulijjo okuba n’emmeeme ennongoofu eri Katonda n’eri abantu.
17 (H)“Oluvannyuma lw’emyaka mingi, nga siriiwo, nakomawo mu Yerusaalemi ng’Abayudaaya mbaleetedde n’ensimbi ez’okubayamba, nga nange neeretedde ekirabo eky’okuwaayo eri Katonda mu Yeekaalu. 18 (I)Bano abampawaabira bansanga ndi mu kusinza kuno mu Yeekaalu, nga nneerongoosezza, mmaze n’okumwa omutwe ng’amateeka bwe galagira, nga tewaliiwo kibiina kinneetoolodde, era nga tewali kasasamalo. 19 (J)Naye waliwo Abayudaaya abava mu kitundu kye Asiya era basaanye babeewo wano boogere obanga balina kye banvunaana. 20 Oba si ekyo buuza bano abali wano kaakano, bakutegeeze omusango Olukiiko lw’Abayudaaya Olukulu gwe lwandabako, bwe nayimirira mu maaso gaalwo. 21 (K)Mpozzi kino ekimu kye nayogera nti, ‘Ndi wano mu Lukiiko nga mpozesebwa olwokubanga nzikiriza okuzuukira kw’abafu!’ ”
12 Awo Yesu n’akyukira eyamuyita n’amugamba nti, “Bw’otegekanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, wadde baganda bo, wadde ab’olulyo lwo, wadde baliraanwa bo abagagga; kubanga bw’okola otyo nabo bayinza okukuyita olulala ne baba ng’abakusasula. 13 (A)Naye bw’ofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, n’abagongobavu, n’abalema ne bamuzibe. 14 (B)Oliweebwa omukisa kubanga bo tebalina kya kukusasula. Olisasulibwa mu kuzuukira kw’Abatuukirivu.”
15 (C)Omu ku bagenyi abaali batudde ku mmeeza bwe yawulira ebigambo ebyo n’agamba Yesu nti, “Alina omukisa oyo alirya embaga mu bwakabaka bwa Katonda.”
16 Yesu n’amuddamu nti, “Waaliwo omusajja eyateekateeka okufumba embaga ennene, n’ayita abantu bangi. 17 Bwe yamala okutegeka, n’atuma omuddu we agende ategeeze abaayitibwa nti, ‘Mujje byonna biwedde okutegeka.’
18 “Naye bonna ne batandika okwewolereza; eyasooka n’agamba nti, ‘Nnaakagula ennimiro noolwekyo njagala kugenda kugirambula. Nkusaba onsonyiwe, nneme kujja.’
19 “Omulala n’agamba nti, ‘Nnakagula emigogo gy’ente ezirima etaano njagala kuzigezaamu. Nkusaba onsonyiwe nneme kujja.’
20 “Omulala n’agamba nti, ‘Nnawasizza omukazi noolwekyo sisobola kujja.’
21 (D)“Omuddu n’akomawo n’ategeeza mukama we ng’abagenyi be yayita bwe bagambye. Mukama we n’anyiiga, n’amulagira agende mangu mu nguudo ez’omu kibuga ne mu bikubo, ayite abaavu n’abagongobavu, n’abalema, ne bamuzibe.
22 “Omuddu n’agamba mukama we nti, ‘Bonna mbayise nga bw’ondagidde, naye era mu kisenge ky’embaga mukyalimu ebifo.’
23 “N’agamba omuddu we nti, ‘Genda mu nguudo ez’omu byalo ne mu bukubo obutono okubirize b’onoosangayo bajje, ennyumba yange ejjule. 24 (E)Era mbategeeza nti tewali n’omu ku abo be nayita alirya ku mbaga yange.’ ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.