Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Mu ddoboozi ery’Amalanga. Zabbuli ya Dawudi.
69 (A)Ondokole, Ayi Katonda,
kubanga amazzi gandi mu bulago.
2 (B)Ntubira mu bitosi
nga sirina we nnywereza kigere.
Ntuuse ebuziba
n’amataba gansaanikira.
3 (C)Ndajanye ne nkoowa,
n’emimiro ginkaze.
Amaaso ganzizeeko ekifu gakooye
olw’okutunula enkaliriza nga nnindirira Katonda wange.
4 (D)Abo abankyayira obwereere
bangi okusinga enviiri ez’oku mutwe gwange;
abalabe bange bangi
abannoonya okunzita awatali nsonga;
ne mpalirizibwa mbaddizeewo
ekyo kye sibbanga.
5 (E)Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange,
n’okusobya kwange tekukukwekeddwa.
6 Sisaana kuswaza
abo abakwesiga,
Ayi Mukama, Mukama ow’Eggye.
Abo abakunoonya
baleme kuswazibwa ku lwange,
Ayi Katonda wa Isirayiri.
7 (F)Ngumiikirizza okuvumwa ku lulwo,
n’amaaso gange ne gajjula ensonyi.
8 (G)Nfuuse nga omugwira eri baganda bange,
munnaggwanga eri abaana ba mmange.
9 (H)Nzijudde obuggya olw’ennyumba yo,
n’abo abakuvuma bavuma nze.
10 (I)Bwe nkaaba ne nsiiba,
ekyo nakyo ne kinvumisa.
11 (J)Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.
12 (K)Abo abatuula ku mulyango gw’ekibuga banduulira,
era nfuuse luyimba lw’abatamiivu.
13 (L)Naye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe,
mu kiseera eky’ekisa kyo.
Olw’okwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda,
ondokole nga bwe wasuubiza.
14 (M)Onnyinyulule mu ttosi
nneme okutubira;
omponye abankyawa,
onzigye mu mazzi amangi;
15 (N)amataba galeme okumbuutikira
n’obuziba okunsanyaawo,
n’ennyanja ereme okummira.
16 (O)Onnyanukule, Ayi Mukama olw’obulungi bw’okwagala kwo;
onkyukire olw’okusaasira kwo okungi.
17 (P)Tokisa muddu wo maaso go; yanguwa okunziramu,
kubanga ndi mu kabi.
18 (Q)Onsemberere onziruukirire,
onnunule mu balabe bange.
19 (R)Omanyi bwe nsekererwa, ne bwe nswazibwa ne bwe siteekebwamu kitiibwa,
era n’abalabe bange bonna obamanyi.
20 (S)Okusekererwa kunkutudde omutima
era kummazeemu amaanyi.
Nanoonya okusaasirwa ne kumbula,
n’ow’okumpooyawooya naye nga simulaba.
21 (T)Mu kifo ky’emmere bampa mususa,
era bwe nalumwa ennyonta bampa nkaatu.
22 Emmere yaabwe gye bategese okulya ebafuukire ekyambika,
n’embaga zaabwe ez’ebiweebwayo zibafuukire omutego.
23 (U)Amaaso gaabwe gazibe baleme okulaba,
n’emigongo gyabwe gyewetenga ennaku zonna.
24 (V)Bayiweeko ekiruyi kyo,
obamalewo n’obusungu obw’amaanyi go obungi.
25 (W)Ebifo byabwe bifuuke bifulukwa,
waleme kubaawo n’omu abeera mu weema zaabwe.
26 (X)Kubanga bayigganya oyo gw’ofumise,
ne boogera ku bulumi bw’oyo gw’olumizza.
27 (Y)Bavunaane omusango kina gumu,
era tobaganya kugabana ku bulokozi bwo.
28 (Z)Bawanduukululwe mu kitabo ky’obulamu;
baleme kulabika ku lukalala lw’abatuukirivu.
29 (AA)Ndi mu bulumi era mu nnaku;
obulokozi bwo, Ayi Katonda, bunkuume.
30 (AB)Nnaatenderezanga erinnya lya Katonda nga nnyimba;
nnaamugulumizanga n’okwebaza.
31 (AC)Kino kinaasanyusanga Mukama okusinga okumuwa ente ennume,
oba okumuwa seddume n’amayembe gaayo, n’ebigere byayo.
32 (AD)Abaavu banaakirabanga ne basanyuka;
mmwe abanoonya Katonda omutima gwammwe ne gubeera omulamu.
33 (AE)Kubanga Mukama awulira abo abali mu kwetaaga,
era ababe ne bwe baba mu busibe, tabanyooma.
34 (AF)Kale eggulu n’ensi bimutenderezenga
awamu n’ennyanja zonna n’ebyo ebizirimu.
35 (AG)Kubanga Katonda alirokola Sayuuni,
n’ebibuga bya Yuda n’abizimba buggya,
abantu ne babibeerangamu nga byabwe.
36 (AH)Abaana b’abaweereza be balikisikira;
n’abo abaagala erinnya lya Mukama omwo mmwe banaabeeranga.
EKITABO III
Zabbuli 73–89
Zabbuli ya Asafu.
73 (A)Ddala Katonda mulungi eri Isirayiri
n’eri abo abalina omutima omulongoofu.
2 Naye nze amagulu gange gaali kumpi okutagala
era n’ebigere byange okuseerera.
3 (B)Kubanga nakwatirwa ab’amalala obuggya;
bwe nalaba ababi nga bagaggawala nnyo.
4 Kubanga tebalina kibaluma;
emibiri gyabwe miramu era minyirivu.
5 (C)Tebeeraliikirira kabi konna ng’abalala.
So tebalina kibabonyaabonya.
6 (D)Amalala kyegavudde gabafuukira ng’omukuufu ogw’omu bulago,
n’obukambwe ne bubafuukira ekyambalo.
7 (E)Bagezze n’amaaso gaabwe ne gazimbagatana;
balina bingi okusinga bye beetaaga.
8 (F)Baduula era emboozi zaabwe zijjudde eby’okujooga.
Batiisatiisa abalala n’okubeeragirako.
9 Emimwa gyabwe gyolekedde eggulu;
n’ennimi zaabwe zoogera eby’okwewaanawaana buli wantu.
10 Abantu ba Katonda kyebava babakyukira
ne banywa amazzi mangi.
11 Era ne beebuuza nti, “Katonda bino abimanyi atya?
Ali Waggulu Ennyo abitegeera?”
12 (G)Aboonoonyi bwe bafaanana bwe batyo;
bulijjo babeera mu ddembe, nga beeyongera kugaggawala.
13 (H)Ddala omutima gwange ngukuumidde bwereere obutayonoona,
n’engalo zange ne nzinaaba obutaba na musango.
14 Naye mbonaabona obudde okuziba,
era buli nkya mbonerezebwa.
15 Singa ŋŋamba nti njogere bwe nti,
nandibadde mukuusa eri omulembe guno ogw’abaana bo.
16 (I)Bwe nafumiitiriza ntegeere ensonga eyo;
nakisanga nga kizibu nnyo,
17 (J)okutuusa lwe nalaga mu watukuvu wa Katonda,
ne ntegeera enkomerero y’ababi.
18 (K)Ddala obatadde mu bifo ebiseerera;
obasudde n’obafaafaaganya.
19 (L)Nga bazikirizibwa mangu nga kutemya kikowe!
Entiisa n’ebamalirawo ddala!
20 (M)Bali ng’omuntu azuukuse n’ategeera nti yaloose buloosi;
era naawe bw’otyo, Ayi Mukama,
bw’oligolokoka olinyooma embeera yaabwe omutali nsa.
21 Omutima gwange bwe gwanyiikaala,
n’omwoyo gwange ne gujjula obubalagaze,
22 (N)n’aggwaamu okutegeera ne nfuuka ataliiko kye mmanyi,
ne mba ng’ensolo obusolo mu maaso go.
23 Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo;
gw’onkwata ku mukono gwange ogwa ddyo.
24 (O)Mu kuteesa kwo onkulembera,
era olintuusa mu kitiibwa.
25 (P)Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe?
Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe.
26 (Q)Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa;
naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange,
era ye wange ennaku zonna.
27 (A)Mukama Katonda w’abajjajjaffe atenderezebwe ayolesezza kabaka okuwa ennyumba ya Mukama mu Yerusaalemi ekitiibwa, 28 (B)era ansobozesezza okulaba omukisa mu maaso ga kabaka ne mu maaso g’abawi b’amagezi be ab’oku ntikko, n’abakungu ba kabaka bonna, n’olw’omukono gwa Mukama Katonda wange ogubadde awamu nange, nsobole okukuŋŋaanya abakulembeze ba Isirayiri okugenda nange.
21 (A)Awo ku mugga Akava, ne nangirira okusiiba, twetoowaze mu maaso ga Katonda waffe, nga tumwegayirira okubeera awamu naffe n’abaana baffe n’ebintu byaffe byonna mu lugendo lwaffe. 22 (B)Nakwatibwa ensonyi okusaba kabaka abaserikale abakuumi ab’ebigere n’abeebagala embalaasi okutukuuma eri abalabe, kubanga twali tumutegeezeza nti, “Omukono omulungi ogwa Katonda waffe gubeera ku buli muntu amunoonya, naye obusungu bwe bubeera ku abo abamujeemera.” 23 (C)Kyetwava tusiiba ne twegayirira Katonda waffe ku nsonga eyo, era n’addamu okusaba kwaffe.
24 (D)Awo ne nonda Serebiya ne Kasabiya ne baganda baabwe abalala kkumi, be bantu kkumi na babiri okuva mu bakabona abakulu, 25 (E)ne mbapimira ffeeza ne zaabu n’ebintu kabaka, n’abaami be, n’abakungu be, ne Isirayiri yenna, bye baawaayo ku lw’ennyumba ya Katonda waffe. 26 Ne mbagererera ttani amakumi abiri mu ttaano eza ffeeza, n’ebintu ebya ffeeza obuzito bwabyo ttani ssatu n’ebitundu bisatu byakuna, ne zaabu ttani ssatu n’ebitundu bisatu byakuna, 27 ne kilo munaana n’ekitundu eza zaabu, n’ebitundu bibiri eby’ekikomo ebirungi ebizigule, eby’omuwendo nga zaabu.
28 (F)Ne mbategeeza nti, “Muli batukuvu eri Mukama, n’ebintu bino bitukuvu eri Mukama. Effeeza ne zaabu biweebwayo kyeyagalire eri Mukama Katonda wa bajjajjammwe. 29 Mubikuume bulungi era mubituuse bulungi eri bakabona abakulu n’Abaleevi, n’abakulu b’ennyumba za Isirayiri.” 30 Awo bakabona n’Abaleevi ne baweebwa effeeza ne zaabu, n’ebintu ebyawongebwa, ebyali bipimiddwa, okubitwala mu nnyumba ya Katonda waffe e Yerusaalemi.
31 (G)Ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri olw’omwezi ogw’olubereberye ne tusitula okuva ku mugga Akava okugenda e Yerusaalemi. Omukono gwa Katonda waffe ne gubeera wamu naffe, n’atukuuma eri abalabe n’abanyazi mu kkubo. 32 (H)Ne tutuuka e Yerusaalemi gye twawumulira okumala ennaku ssatu. 33 (I)Awo ku lunaku olwokuna, nga tuli mu nnyumba ya Katonda waffe, ne tupima ffeeza ne zaabu n’ebintu ebyawongebwa ne tubikwasa Meremoosi kabona, mutabani wa Uliya, ne Eriyazaali mutabani wa Finekaasi eyali awamu naye, ne Yozabadi mutabani wa Yeswa, ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi, Abaleevi. 34 Byonna ne bibalibwa ng’omuwendo gwabyo bwe gwali n’obuzito bwabyo bwe bwali era ne biwandiikibwa.
35 (J)Mu kiseera ekyo abaawaŋŋangusibwa, abakomawo okuva mu busibe, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda wa Isirayiri: ente ennume kkumi na bbiri ku lwa Isirayiri yenna, n’endiga ennume kyenda mu mukaaga, n’obuliga obuto nga bulume nsanvu mu musanvu, n’embuzi ennume kkumi na bbiri okuba ekiweebwayo olw’ekibi, ebyo byonna ne biba ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama. 36 (K)Ate era ne batuusa n’ebiragiro bya kabaka eri bagavana[a] n’abaamasaza abaali emitala w’omugga Fulaati, abafuzi abo ne bayamba abantu ne bawaayo n’obuyambi eri ennyumba ya Katonda.
Bamalayika Omusanvu n’Ebibonoobono Omusanvu
15 (A)Awo ne ndaba akabonero akalala mu ggulu ak’amaanyi era nga ka kitalo bamalayika omusanvu nga balina ebibonoobono musanvu, olwo ekiruyi kya Katonda kiryoke kituukirire. 2 (B)Awo ne ndaba ekifaanana ng’ennyanja etangalijja ng’eri ng’endabirwamu erimu omuliro, era ku nnyanja eyo kwali kuyimiriddeko abo abaali bawangudde ekisolo n’ekifaananyi kyakyo awamu n’akabonero ak’omuwendo gwakyo, nga bakutte ennanga Katonda ze yabawa. 3 (C)Baali bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n’oluyimba lw’Omwana gw’Endiga nga lugamba nti,
“Ebikolwa byo bikulu era bya kyewuunyo,
ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna.
Amakubo go matukuvu era ga mazima,
ayi ggwe Kabaka w’amawanga.
4 (D)Ani ataakutye Ayi Mukama,
n’atagulumiza linnya lyo?
Ggwe wekka gwe Mutukuvu,
amawanga gonna galijja
ne gasinziza mu maaso go,
Kubanga ebikolwa byo eby’obutuukirivu birabise.”
5 (E)Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba Yeekaalu ng’eggaddwawo, lye kkuŋŋaaniro ly’obujulirwa mu ggulu. 6 (F)Awo bamalayika omusanvu abaalina ebibonoobono omusanvu ne bafuluma mu Yeekaalu nga bambadde engoye eza linena ennyonjo nga zimasamasa era nga beesibye mu bifuba byabwe enkoba eza zaabu. 7 (G)Ekimu ku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde ekiruyi kya Katonda omulamu era abeera omulamu emirembe n’emirembe. 8 (H)Awo Yeekaalu n’ejjula omukka ogwava mu kitiibwa kya Katonda n’emu maanyi ge, so tewaali muntu n’omu eyayinza okuyingira mu Yeekaalu okutuusa ebibonoobono omusanvu ebya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira.
13 Yesu bwe yabiwulira ebyo, n’asaabala mu lyato, n’abaako gy’alaga abeere yekka mu kyama. Naye abantu bangi nnyo bwe baakiwulira ne bava mu bibuga bingi, ne beekooloobya, ne bamugoberera nga bayita ku lukalu. 14 (A)Yesu bwe yava eyo n’alaba, abantu bangi n’abasaasira n’awonya abalwadde baabwe.
15 Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Laba obudde buzibye ate tuli mu ddungu, ssiibula abantu bagende beegulire emmere mu bibuga.”
16 Naye Yesu n’abaddamu nti, “Tekyetaagisa kubasiibula, mmwe mubawe ekyokulya.”
17 (B)Ne bamuddamu nti, “Ffe tetulina kyakulya kiyinza kubamala, wabula tulinawo emigaati etaano gyokka n’ebyennyanja bibiri.”
18 N’abagamba nti, “Kale mubindetere wano.” 19 (C)N’alagira ekibiina kituule wansi ku muddo, n’addira emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri, n’atunula waggulu ne yeebaza, emigaati n’agimenyaamenyamu n’agiwa abayigirizwa ne batandika okugabula ekibiina. 20 Bonna ne balya ne bakkuta; obutundutundu obwafikkawo ne babukuŋŋaanya wamu ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri! 21 Abantu bonna abaalya baali ng’enkumi ttaano nga totaddeeko bakazi na baana.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.