Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 97

97 (A)Mukama afuga; ensi esanyuke,
    n’embalama eziri ewala zijaguze.
(B)Ebire n’ekizikiza bimwetooloola;
    obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’entebe y’obwakabaka bwe.
(C)Omuliro gumukulembera
    ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna.
(D)Okumyansa kwe kumulisa ensi;
    ensi n’ekulaba n’ekankana.
(E)Ensozi zisaanuuka ng’envumbo awali Mukama,
    mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.
(F)Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe;
    n’abantu bonna ne balaba ekitiibwa kye.

(G)Abasinza ebifaananyi ebikole n’emikono bonna baswadde,
    abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole.
    Mumusinze mwe mwenna bakatonda.

(H)Sayuuni akiwulira n’asanyuka,
    n’ebyalo bya Yuda bijaguza;
    kubanga ogoberera eby’ensonga, Ayi Katonda.
(I)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli waggulu nnyo okusinga ensi;
    ogulumizibwa okusinga bakatonda bonna.
10 (J)Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi,
    akuuma obulamu bw’abamwesiga,
    n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi.
11 (K)Omusana gwe gwakira abatuukirivu,
    n’abalina omutima ogw’amazima bajjula essanyu.
12 (L)Musanyukirenga mu Mukama mmwe abatuukirivu,
    era mwebazenga erinnya lye ettukuvu.

Zabbuli 99-100

99 (A)Mukama afuga,
    amawanga gakankane;
atuula wakati wa bakerubi,
    ensi ekankane.
(B)Mukama mukulu mu Sayuuni;
    agulumizibwa mu mawanga gonna.
(C)Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.
    Mukama mutukuvu.

(D)Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya.
    Onywezezza obwenkanya;
era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya
    era bituufu.
(E)Mumugulumize Mukama Katonda waffe;
    mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye.
    Mukama mutukuvu.

(F)Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be;
    ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye;
baasabanga Mukama
    n’abaanukula.
(G)Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire;
    baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa.

(H)Ayi Mukama Katonda waffe,
    wabaanukulanga;
n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri,
    newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi.
Mugulumizenga Mukama Katonda waffe,
    mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu,
    kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.

Zabbuli ey’okwebaza.

100 (I)Muleetere Mukama eddoboozi ery’essanyu mmwe ensi zonna.
    (J)Muweereze Mukama n’essanyu;
    mujje mu maaso ge n’ennyimba ez’essanyu.
(K)Mumanye nga Mukama ye Katonda;
    ye yatutonda, tuli babe,
    tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye.

(L)Muyingire mu miryango gye nga mwebaza,
    ne mu mpya ze n’okutendereza;
    mumwebaze mutendereze erinnya lye.
(M)Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera;
    n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

Zabbuli 94-95

94 (A)Ayi Mukama, ggwe Katonda awalana eggwanga,
    ggwe Katonda awalana eggwanga, labika omasemase.
(B)Golokoka, Ayi ggwe Omulamuzi w’ensi,
    osasule ab’amalala nga bwe kibagwanidde.
Ayi Mukama, omukozi w’ebibi alikomya ddi?
    Omukozi w’ebibi alituusa ddi ng’asanyuka?

(C)Bafukumula ebigambo eby’okwewaanawaana;
    abakola ebibi bonna beepankapanka.
(D)Babetenta abantu bo, Ayi Mukama,
    babonyaabonya ezzadde lyo.
Batta nnamwandu n’omutambuze;
    ne batemula ataliiko kitaawe.
(E)Ne boogera nti, “Katonda talaba;
    Katonda wa Yakobo tafaayo.”

(F)Mwerinde mmwe abantu abatategeera.
    Mmwe abasirusiru muligeziwala ddi?
(G)Oyo eyatonda okutu tawulira?
    Oyo eyakola eriiso talaba?
10 (H)Oyo akangavvula amawanga, taakubonereze?
    Oyo ayigiriza abantu talina ky’amanyi?
11 (I)Mukama amanyi ebirowoozo by’abantu;
    amanyi nga mukka bukka.

12 (J)Ayi Mukama, alina omukisa oyo gw’ogunjula,
    gw’oyigiriza eby’omu mateeka go;
13 (K)omuwummuzaako mu kabi kaalimu,
    okutuusa abakola ebibi lwe balisimirwa ekinnya.
14 (L)Kubanga Mukama talireka bantu be;
    talyabulira zzadde lye.
15 (M)Aliramula mu butuukirivu,
    n’abo abalina emitima emigolokofu bwe banaakolanga.

16 (N)Ani alinnwanyisizaako abakola ebibi?
    Ani alinnwanirira eri abakola ebibi?
17 (O)Singa Mukama teyali mubeezi wange,
    omwoyo gwange gwandiserengese emagombe.
18 (P)Bwe naleekaana nti, “Nseerera!”
    Okwagala kwo okutaggwaawo, Ayi Mukama, ne kumpanirira.
19 Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi,
    okusaasira kwo ne kuzzaamu omwoyo gwange amaanyi.

20 (Q)Oyinza okukolagana n’obufuzi obukyamu,
    obukaabya abantu n’amateeka gaabwe?
21 (R)Abakola ebibi beegatta ne balumbagana abatuukirivu;
    atasobezza ne bamusalira ogw’okufa.
22 (S)Naye Mukama afuuse ekiddukiro kyange eky’amaanyi;
    ye Katonda wange, era Olwazi lwange mwe neekweka.
23 (T)Mukama alibabonereza olw’ebibi byabwe,
    n’abazikiriza olw’ebyonoono byabwe;
    Mukama Katonda waffe alibamalirawo ddala.
95 (U)Mujje tuyimbire Mukama;
    tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.
(V)Tujje mu maaso ge n’okwebaza;
    tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.

(W)Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu;
    era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.
Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe;
    n’entikko z’ensozi nazo zize.
(X)Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola;
    n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.

(Y)Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge;
    tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.
(Z)Kubanga ye Katonda waffe,
    naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye,
    era tuli ndiga ze z’alabirira.

Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,
    (AA)“Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba[a],
    ne ku lunaku luli e Maasa[b] mu ddungu;
(AB)bajjajjammwe gye bangezesa;
    newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.
10 (AC)Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana;
    ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,
    era tebamanyi makubo gange.’
11 (AD)Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
    ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”

Isaaya 63:7-14

(A)Ndibuulira ku bulungi bwa Mukama,
    ebikolwa ebyamugwanyisa okutenderezebwa,
    okusinziira ku byonna Mukama by’atukoledde;
weewaawo ebirungi ebingi by’akoledde ennyumba ya Isirayiri,
    okusinziira ku kisa kye,
    okusinziira ku bungi bw’okwagala kwe okutajjulukuka.
(B)Yagamba nti, “Ddala bantu bange,
    abaana aboobulenzi abatannimbelimbe,”
    era bw’atyo n’afuuka omulokozi waabwe.
(C)Yabonaabonera wamu nabo mu kubonaabona kwabwe kwonna,
    era malayika ayimirira mu maaso ge n’abawonya.
Mu kwagala kwe n’ekisa kye yabanunula;
    yabayimusa
    n’abeetikka mu nnaku zonna ez’edda.
10 (D)Naye baajeema
    ne banyiiza Mwoyo Mutukuvu,
kyeyava abakyukira n’afuuka omulabe waabwe
    era ye kennyini n’abalwanyisa.

11 (E)Ne balyoka bajjukira ennaku ez’edda,
    ennaku ez’edda eza Musa n’abantu be;
aluwa oyo eyabayisa mu nnyanja n’omulunzi w’ekisibo kye.
    Aluwa oyo eyateeka Mwoyo Mutukuvu wakati mu bo
12 (F)eyatuma omukono gwe ogw’ekitiibwa
    ogw’amaanyi okubeera ku mukono gwa Musa ogwa ddyo,
eyayawulamu amazzi nga balaba,
    yeekolere erinnya ery’emirembe n’emirembe?
13 (G)Ani eyabakulembera n’abayisa mu buziba?
    Ng’embalaasi mu nsi eyeetadde enjereere tebeesittala.
14 Ng’ente ezigenda mu nsi eyeetadde,
    Omwoyo wa Mukama yabawummuza.
Bw’otyo bwe wakulembera abantu bo
    okwekolera erinnya ery’ettendo.

1 Timoseewo 1:18-2:8

18 (A)Mwana wange Timoseewo, nkukubiriza ojjukire ebigambo bya bannabbi bye baakwogerako edda, olyoke olwane olutalo n’obuzira, 19 (B)ng’okukkiriza, n’omwoyo omulungi, bye byokulwanyisa byo. Kubanga abalala abagaana okuba n’omwoyo ogwo omulungi bafiirwa okukkiriza kwabwe. 20 (C)Mu abo mwe muli Kumenayo ne Alegezanda be n’awaayo eri Setaani bayige obutavumanga Katonda.

Okusaba

Okusookera ddala, mbasaba, musabenga, mwegayirirenga, era mwebazenga Katonda ku lw’abantu bonna. (D)Era musabirenga bakabaka n’abafuzi abalala bonna, tulyoke tube bulungi nga tuli mirembe, nga tussaamu Katonda ekitiibwa, era nga twegendereza mu buli ngeri. Ekyo kirungi era ekisiimibwa mu maaso ga Katonda Omulokozi waffe, (E)ayagala abantu bonna balokolebwe, era bategeere amazima. (F)Kubanga Katonda ali omu, era omutabaganya w’abantu ne Katonda ali omu, ye muntu Kristo Yesu, (G)eyeewaayo abe omutango olwa bonna. Ekyo kyakakasibwa mu kiseera kyakyo ekituufu. (H)Era nze kye nateekebwawo mbeere omutume era omuyigiriza w’Abamawanga, mbategeeze eby’okukkiriza n’eby’amazima; njogera bituufu sirimba.

(I)Noolwekyo njagala abantu buli wantu, basabenga Katonda nga bayimusa emikono gyabwe emirongoofu, nga tebalina busungu wadde empaka.

Makko 11:12-26

Yesu Akolimira Omuti Ogutabala

12 Enkeera bwe baali bava e Besaniya, Yesu n’alumwa enjala. 13 (A)N’alengera omutiini, nga guddugazza bulungi amalagala, n’agendayo alabe obanga anaasangako ebibala. Yagenda okugutuukako nga kuliko makoola meereere, kubanga si kye kyali ekiseera kyagwo okubaako ebibala. 14 Awo Yesu n’agamba omuti nti, “Omuntu yenna alemenga okuddayo okulya ekibala kyo!” Abayigirizwa be ne bamuwulira ng’akyogera.

Yesu Alongoosa Yeekaalu

15 Bwe baatuuka mu Yerusaalemi n’ayingira mu Yeekaalu, n’atandika okugobamu abaali batundiramu n’abaali baguliramu, n’avuunika emmeeza z’abaali bawaanyisa ensimbi, n’avuunika n’entebe z’abatunzi b’amayiba. 16 Era n’ataganya muntu kuyisa kintu kyonna. 17 (B)N’abayigiriza ng’agamba nti, “Tekyawandiikabwa nti, ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kusabiramu amawanga?’ Naye mmwe mugifudde mpuku y’abanyazi.”

18 (C)Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka bwe baakiwulira, ne batandika okusala amagezi balabe bwe bayinza okumuzikiriza. Baali bamutya engeri ekibiina kyonna bwe kyali kyewuunya okuyigiriza kwe. 19 (D)Obudde bwe bwawungeera Yesu n’abayigirizwa be ne bafuluma mu kibuga.[a]

Eky’okuyiga ku Mutiini Ogwakala

20 Awo enkeera mu makya abayigirizwa be ne balaba omuti omutiini Yesu gwe yakolimira nga gukaze okuviira ddala ku kikolo! 21 (E)Peetero n’ajjukira n’agamba Yesu nti, “Omuyigiriza, laba omutiini gwe wakolimira gukaze!”

22 Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mukkiririze mu Katonda. 23 (F)Ddala ddala mbagamba nti buli aligamba olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ n’atabuusabuusa mu mutima gwe, naye n’aba n’okukkiriza, ky’ayogedde kirituukirira. 24 (G)Noolwekyo mbagamba nti buli kye munaasabanga, mukkirize nti mukiweereddwa, era kinaabanga bwe kityo gye muli. 25 (H)Bwe mubanga mugenda okusaba musonyiwenga omuntu yenna gwe mulinako ensonga, ne Kitammwe ali mu ggulu alyoke abasonyiwe ebyonoono byammwe. 26 Naye bwe mutaasonyiwenga, ne Kitammwe ali mu ggulu talibasonyiwa byonoono byammwe.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.