Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 66-67

Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.

66 (A)Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
    (B)Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye.
    Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
(C)Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa!
    Olw’amaanyi go amangi
    abalabe bo bakujeemulukukira.
(D)Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira,
    bakutendereza,
    bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”

(E)Mujje mulabe Katonda ky’akoze;
    mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu!
(F)Ennyanja yagifuula olukalu.
    Abantu baasomoka omugga n’ebigere nga temuli mazzi,
    kyetuva tujaguza.
(G)Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna;
    amaaso ge agasimba ku mawanga,
    ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera.

(H)Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga;
    eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna.
(I)Oyo y’atukuumye ne tuba balamu,
    n’ataganya bigere byaffe kuseerera.
10 (J)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza,
    n’otulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro.
11 (K)Watuteeka mu kkomera,
    n’otutikka emigugu.
12 (L)Waleka abantu ne batulinnyirira;
    ne tuyita mu muliro ne mu mazzi,
    n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima.

13 (M)Nnaayambukanga mu yeekaalu yo n’ebiweebwayo ebyokebwa,
    ntuukirize obweyamo bwange gy’oli,
14 nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza;
    akamwa kange kye kaayogera bwe nnali mu kabi.
15 (N)Nnaawaayo gy’oli ssaddaaka ez’ensolo ensava,
    mpeeyo ne ssaddaaka ey’endiga ennume;
    mpeeyo ente ennume n’embuzi.

16 (O)Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda,
    mbategeeze ebyo by’ankoledde.
17 Namukaabirira n’akamwa kange,
    ne mutendereza n’olulimi lwange.
18 (P)Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange,
    Mukama teyandimpulirizza;
19 (Q)ddala ddala Katonda yampuliriza era n’awulira eddoboozi lyange nga nsaba.
20 (R)Katonda atenderezebwenga,
    atagobye kusaba kwange,
    wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo!

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba.

67 (S)Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa,
    era otwakize amaaso go.
(T)Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi,
    n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.

Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
    abantu bonna bakutenderezenga.
(U)Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu.
    Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya,
    n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
    abantu bonna bakutenderezenga.

(V)Ensi erireeta amakungula gaayo;
    era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
(W)Katonda anaatuwanga omukisa;
    n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga.

Zabbuli 19

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

19 (A)Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda,
    ebbanga ne litegeeza emirimu gy’emikono gye.
(B)Buli lunaku litegeeza ekitiibwa kye,
    era liraga amagezi ge buli kiro.
Tewali bigambo oba olulimi olwogerwa,
    era n’eddoboozi lyabyo teriwulikika.
(C)Naye obubaka bwabyo
    bubunye mu nsi yonna.
Mu ggulu omwo Katonda mwe yasimbira enjuba eweema.
    Evaayo ng’awasa omugole bw’ava mu nju ye,
    era ng’omuddusi asinga bonna bw’ajjula essanyu ng’agenda mu mpaka.
(D)Evaayo ku ludda olumu olw’eggulu,
    ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo,
    era tewali kyekweka bbugumu lyayo.

(E)Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna,
    era kizzaamu amaanyi mu mwoyo.
Etteeka lya Mukama lyesigika,
    ligeziwaza abatalina magezi.
(F)Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu,
    kusanyusa omutima gw’oyo akugondera.
Ebiragiro bya Mukama bimulisiza amaaso,
    bye galaba.
(G)Okutya Mukama kirungi,
    era kya mirembe gyonna.
Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya,
    era bya butuukirivu ddala.
10 (H)Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu,
    okusingira ddala zaabu ennungi ennyo.
Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki,
    okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.
11 Ebyo bye birabula omuddu wo,
    era mu kubigondera muvaamu empeera ennene.
12 (I)Ani asobola okulaba ebyonoono bye?
    Onsonyiwe, Ayi Mukama, ebibi ebinkisiddwa.
13 Era omuddu wo omuwonye okukola ebibi ebigenderere,
    bireme kunfuga.
Bwe ntyo mbeere ng’ataliiko kyakunenyezebwa
    nneme okuzza omusango omunene ogw’ekibi.
14 (J)Nsaba ebigambo by’omu kamwa kange, n’okulowooza okw’omu mutima gwange,
    bisiimibwe mu maaso go,
    Ayi Mukama, Olwazi lwange, era Omununuzi wange.

Zabbuli 46

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

46 (A)Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;
    omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
(B)Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,
    ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
(C)amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu
    ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.

(D)Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,
    kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
(E)Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera.
    Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
(F)Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa;
    ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka.

(G)Mukama ow’Eggye ali naffe,
    Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

(H)Mujje, mulabe Mukama by’akola,
    mulabe nga bw’afaafaaganya ensi.
(I)Y’akomya entalo mu nsi yonna;
    akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya;
    amagaali n’engabo abyokya omuliro.
10 (J)Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda.
    Nnaagulumizibwanga mu mawanga.
    Nnaagulumizibwanga mu nsi.

11 Katonda ow’Eggye ali naffe;
    Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

Okubala 14:26-45

26 Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, 27 (A)“Ekibiina kino ekibi kirituusa ddi nga kinneemulugunyiza? Mpulidde okutolotooma kw’abaana ba Isirayiri nga banneemulugunyiza. 28 (B)Bategeeze nti, ‘Mukama agambye nti, Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, ebyo bye mpulidde nga mwogera, nange bye ndibakola. 29 (C)Mulifiira mu ddungu muno n’emirambo gyammwe mwe girisigala; mwenna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo egy’obukulu nga bwe mwamala okubalibwa, abanneemulugunyiza. 30 Tewaliba n’omu ku bo aliyingira mu nsi gye neelayirira nti ge galibeera amaka gammwe, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuuni. 31 (D)Naye abaana bammwe abato, be mwogeddeko nti balifuulibwa omunyago, ndibayingiza mu nsi eyo gye mugaanye ne beeyagalira omwo. 32 (E)Naye mmwe, emirambo gyammwe girisigala mu ddungu muno mwe girigwa. 33 Mmwe olw’obutabeera beesigwa, abaana bammwe balimala emyaka amakumi ana mu ddungu nga bwe balunda ebisibo byabwe okutuusa omulambo gw’oyo alisembayo okufa lwe guliziikibwa mu ddungu muno. 34 (F)Nga bwe mwamala ennaku amakumi ana nga muketta ensi eri, bwe mutyo bwe mujja okumala emyaka amakumi ana mu ddungu, nga buli lumu ku nnaku ezo muvaamu mwaka gumu gumu; muboneebone olw’ebibi byammwe, mulyoke mutegeere obuzibu obw’okunneesimbamu. 35 (G)Nze, Mukama Katonda, nkyogedde; ddala ddala ekyo ndikikola ku kibiina kyonna eky’abantu bano aboonoonyi abeegasse awamu okunjolekera. Tebagenda kuva mu ddungu lino, bonna mwe balifiira.’ ”

36 (H)Abasajja abo Musa be yatuma okuketta ensi ne bakomawo ne beemulugunyiza ekibiina ky’abantu bonna nga babaleetedde obubaka obutaali bulungi ku nsi eri, era ne babubunyisa mu bantu, 37 (I)abasajja abo abaaleeta obubaka obutaali bulungi ne babubunyisa mu bantu kawumpuli n’abattira awo mu maaso ga Mukama Katonda. 38 (J)Mu basajja bonna abaatumibwa okuketta ensi, Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune be bokka abaasigalawo nga balamu.

Abayisirayiri Bawangulwa mu Lutalo e Koluma

39 (K)Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri bonna ebigambo ebyo, ne bakungubaga nnyo. 40 (L)Enkeera mu makya ne bambuka mu nsi ey’ensozi. Ne boogera nti, “Twayonoona, naye nga bwe tuli wano tujja kwambuka tuyingire mu nsi Mukama Katonda gye yatusuubiza.”

41 (M)Naye Musa n’abagamba nti, “Lwaki munyooma ekiragiro kya Mukama Katonda? Ebyo bye mutegeka tebiyinza kutuukiririra. 42 (N)Temwambuka kubanga Mukama Katonda tali nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula. 43 Kubanga Abamaleki n’Abakanani bajja kuboolekera. Olwokubanga mwekyusizza ne muva ku Mukama Katonda, tajja kubeera nammwe, ekitala kijja kubatta.”

44 (O)Naye era bo ne beesigula ne bambuka mu nsi ey’ensozi, newaakubadde nga Musa teyagenda nabo era nga n’essanduuko ey’endagaano yasigala mu lusiisira. 45 (P)Awo Abamaleki n’Abakanani abaabeeranga mu nsi eyo ey’ensozi ne bakkirira ne babalumba ne babakubira ddala okubatuusa e Koluma.

Ebikolwa by’Abatume 15:1-12

Olukiiko lw’Abakristaayo mu Yerusaalemi

15 (A)Awo ne wajja abantu abamu abaava mu Buyudaaya ne bayigiriza abooluganda nti, “Ssinga temukomolebwa ng’akalombolombo ka Musa bwe kali temuyinza kulokolebwa.” (B)Pawulo ne Balunabba ne bawakana nnyo nabo ku nsonga eyo ne kisalibwawo nti Pawulo ne Balunabba n’abamu ku bakkiriza ab’omu Antiyokiya, batwale ensonga eyo eri abatume n’abakadde b’Ekkanisa mu Yerusaalemi. (C)Ababaka ne bakwata ery’e Yerusaalemi, ne bayimirirako mu kibuga ky’e Fayiniikiya n’e Samaliya okukyalira abakkiriza mu bibuga ebyo n’okubategeeza ng’Abamawanga bangi bwe baakyuka ne bakkiriza. Ebigambo ebyo ne bisanyusa nnyo abooluganda. (D)Bwe baatuuka mu Yerusaalemi ne baanirizibwa ekkanisa, abatume n’abakadde b’Ekkanisa bonna. Ne babategeeza byonna Katonda bye yabakozesa.

Naye abamu ku bakkiriza, ab’omu kibiina ky’Abafalisaayo, ne basituka ne bagamba nti Abaamawanga bonna abakkiriza bateekwa okukomolebwa nga bwe kiri mu mateeka ga Musa, era n’okugoberera obulombolombo bwonna ng’empisa z’Ekiyudaaya bwe ziragira.

Awo abatume n’abakadde b’Ekkanisa ne bakuŋŋaana bateese ku nsonga eyo. Oluvannyuma nga bateeserezza ebbanga ggwanvu, Peetero n’asituka n’abagamba nti, “Abooluganda, mwenna mumanyi nga Katonda yannonda dda mu mmwe mu nnaku ezaasooka, mbuulire Enjiri mu baamawanga nabo bakkirize. (E)Era Katonda amanyi emitima gy’abantu, yayaniriza Abaamawanga ng’abawa Mwoyo Mutukuvu nga naffe bwe yatumuwa. (F)Teyabasosola kubanga bwe baamala okukkiriza, obulamu bwabwe n’abunaaza ng’obwaffe bwe yabunaaza. 10 (G)Kale kaakano, lwaki mwagala okukema Katonda nga mukakaatika ekikoligo mu bulago bw’abayigirizwa, kye mumanyi nga bajjajjaffe kyabakaluubirira era naffe kitukaluubirira okwetikka? 11 (H)Tukkiriza nti tulokolebwa lwa kisa kya Mukama waffe Yesu, era n’abamawanga bwe batyo bwe balokolebwa.”

12 (I)Ekibiina kyonna ne kisiriikirira ne bawuliriza Balunabba ne Pawulo nga babategeeza eby’amagero n’obubonero Katonda bye yabakozesa nga bali ku mulimu gwe mu baamawanga.

Lukka 12:49-56

49 “Najja kuleeta muliro ku nsi, era kyandibadde kirungi singa gukoledde! 50 (A)Nninayo okubatizibwa kwe ndibatizibwa, naye nzija kuba mu nnaku nnyingi nga tekunnaba kutuukirizibwa! 51 Mulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbategeeza nti sajja kuleeta mirembe wabula okwawukana. 52 Okuva kaakano amaka gajjanga kwawukanamu, ag’abantu abataano, abasatu ku bo nga bawakanya ababiri, n’ababiri nga bawakanya abasatu. 53 (B)Kitaawe w’omwana alyawukana ne mutabani we, n’omwana n’ayawukana ne kitaawe, ne nnyina w’omwana alyawukana ne muwala we n’omuwala n’ayawukana ne nnyina, ne nnyazaala balyawukana ne muka mwana we ne muka mwana n’ayawukana ne nnyazaala we.”

Okunnyonnyola Ebiriwo

54 (C)Awo Yesu n’akyukira ekibiina n’abagamba nti, “Bwe mulaba ebire nga byekuluumulula ebugwanjuba, amangwago mugamba nti, ‘Enkuba egenda kutonnya,’ era n’etonnya. 55 Ate empewo bw’ekunta ng’eva ku bukiikaddyo, mugamba nti, ‘Leero akasana kajja kwaka nnyo,’ era bwe kiba. 56 (D)Bannanfuusi mmwe! Musobola bulungi okunnyonnyola obubonero obuli ku nsi ne mu bbanga, muyinza mutya obutamanya obubonero obw’omu kiseera kino?

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.