Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 61-62

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

61 (A)Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda;
    wulira okusaba kwange.

(B)Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi,
    omutima gwange nga gugenda gunafuwa.
    Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.
(C)Kubanga gw’oli kiddukiro kyange.
    Oli kigo eky’amaanyi mwe neekweka omulabe.

(D)Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna;
    ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.
(E)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange:
    ompadde omugabo awamu n’abo abatya erinnya lyo.

(F)Oyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka;
    emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi,
(G)alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna.
    Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga.

(H)Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna,
    nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.

62 (I)Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka;
    oyo obulokozi bwange mwe buva.
(J)Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange;
    ye kye kigo kyange siinyeenyezebwenga n’akatono.

(K)Mulituusa ddi nga mulumba omuntu,
    mmwe mwenna okwagala okumusuula wansi
    ng’ekisenge ekyewunzise era ng’olukomera oluyuuguuma?
(L)Bateesa okumuggya
    mu kifo kye ekinywevu,
    basanyukira eby’obulimba.
Basaba omukisa n’emimwa gyabwe
    so nga munda bakolima.

Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka;
    kubanga mu ye mwe muli essuubi lyange.
Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange,
    ye kye kigo kyange, siinyeenyezebwenga.
(M)Okulokolebwa kwange n’ekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka;
    ye lwe lwazi lwange olw’amaanyi era kye kiddukiro kyange.
(N)Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu,
    mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe,
    kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.

(O)Abaana b’abantu mukka bukka,
    abazaalibwa mu bugagga bulimba bwereere;
ne bwe bageraageranyizibwa ku minzaani,
    n’omukka gubasinga okuzitowa.
10 (P)Temwesigamanga ku bujoozi
    wadde ku bintu ebibbe.
Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga,
    era temubumalirangako mwoyo gwammwe.

11 Katonda ayogedde ekintu kimu,
    kyokka nze nziggyemu ebintu bibiri nti:
Katonda, oli w’amaanyi,
12     (Q)era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala.
Ddala olisasula buli muntu
    ng’ebikolwa bye bwe biri.

Zabbuli 68

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba lwa Dawudi.

68 (A)Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane,
    n’abo abamukyawa bamudduke.
(B)Ng’empewo bw’efuumuula omukka,
    naawe bafuumuule bw’otyo;
envumbo nga bw’esaanuuka mu muliro,
    n’abakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda!
(C)Naye abatuukirivu basanyuke
    bajagulize mu maaso ga Katonda,
    nga bajjudde essanyu.

(D)Muyimbire Katonda,
    muyimbe nga mutendereza erinnya lye;
mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire.
    Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.
(E)Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu;
    ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.
(F)Katonda afunira abatalina we babeera ekifo eky’okubeeramu,
    aggya abasibe mu kkomera n’abagaggawaza;
    naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala.

(G)Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo,
    n’obayisa mu ddungu,
(H)ensi yakankana,
    eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda;
n’olusozi Sinaayi ne lukankana
    awali Katonda, Katonda wa Isirayiri!
(I)Watonnyesa enkuba nnyingi ku nsi, Ayi Katonda;
    ensi y’obusika bwo n’ogizzaamu obugimu bwe bwali nga buggweerera;
10 (J)abantu bo ne babeera omwo; era olw’ekisa kyo ekingi, Ayi Katonda,
    abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo.
11 Mukama yalangirira;
    ne babunyisa ekigambo kye; baali bangi ne boogera nti:
12 (K)“Bakabaka badduse n’amaggye gaabwe;
    abantu ne bagabana omunyago.
13 (L)Balabe bwe banyirira n’obugagga bwa ffeeza ne zaabu!
    Babikkiddwa ng’ejjuba bwe libikkibwa
    ebiwaawaatiro byalyo.”
14 (M)Ayinzabyonna yasaasaanya bakabaka,
    ne baba ng’omuzira bwe gugwa ku Zalumoni.
15 Ggwe olusozi olw’ekitiibwa, olusozi lwa Basani;
    ggwe olusozi olw’emitwe emingi, olusozi lwa Basani!
16 (N)Lwaki otunuza obuggya ggwe olusozi olw’emitwe emingi?
    Lwaki okwatirwa obuggya olusozi Katonda lwe yalonda okufugirako?
    Ddala okwo Mukama kw’anaabeeranga ennaku zonna.
17 (O)Mukama ava ku lusozi Sinaayi
    nga yeetooloddwa amagaali enkumi n’enkumi
    n’ajja mu kifo kye ekitukuvu.
18 (P)Bwe walinnyalinnya olusozi,
    ng’abanyage bakugoberera;
    abantu ne bakuwa ebirabo
nga ne bakyewaggula mwebali;
    bw’atyo Mukama Katonda n’abeeranga wamu nabo.
19 (Q)Atenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe,
    eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku.
20 (R)Katonda waffe ye Katonda alokola;
    era tuddukira eri Mukama Katonda okuwona okufa.
21 (S)Ddala, Katonda alibetenta emitwe gy’abalabe be,
    kubanga ne mu bukadde bwabwe balemera mu bibi byabwe.
22 (T)Mukama agamba nti, “Ndibakomyawo nga mbaggya mu Basani,
    ndibazza nga mbaggya mu buziba bw’ennyanja,
23 (U)mulyoke munaabe ebigere byammwe mu musaayi gw’abalabe bammwe,
    n’embwa zammwe zeefunire ebyokulya.”

24 (V)Ekibiina kyo ky’okulembedde bakirabye, Ayi Katonda,
    balabye abali ne Katonda wange, era Kabaka wange, ng’otambula okugenda mu watukuvu;
25 (W)abayimbi nga bakulembedde, ab’ebivuga nga bavaako emabega
    ne wakati waabwe nga waliwo abawala abakuba ebitaasa.
26 (X)Mutendereze Katonda mu kibiina ekinene;
    mumutendereze Mukama, mmwe abakuŋŋaanye abangi Abayisirayiri.
27 (Y)Waliwo ekika kya Benyamini asinga obuto kye kikulembedde,
    ne kuddako ekibinja ekinene eky’abalangira ba Yuda,
    n’abalangira ba Zebbulooni n’abalangira ba Nafutaali.

28 Laga obuyinza bwo, Ayi Katonda,
    otulage amaanyi go, Ayi Katonda onyweze ebyo by’otukoledde.
29 (Z)Bakabaka balikuleetera ebirabo
    olwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi.
30 (AA)Nenya ensolo enkambwe ey’omu bisaalu,
    eggana lya ziseddume eriri mu nnyana z’amawanga.
Gikkakkanye ereete omusolo ogwa ffeeza.
    Osaasaanye amawanga agasanyukira entalo.
31 (AB)Ababaka baliva e Misiri,
    ne Kuusi aligondera Katonda.

32 Muyimbire Katonda mmwe obwakabaka obw’ensi zonna.
    Mutendereze Mukama.
33 (AC)Oyo eyeebagala eggulu erya waggulu ery’edda,
    eddoboozi lye ery’amaanyi liwuluguma okuva mu ggulu.
34 (AD)Mulangirire obuyinza bwa Katonda,
    ekitiibwa kye kibuutikidde Isirayiri;
    obuyinza bwe buli mu bire.
35 (AE)Oli wa ntiisa, Ayi Katonda, mu kifo kyo ekitukuvu.
    Katonda wa Isirayiri, yawa abantu obuyinza n’amaanyi.

Katonda atenderezebwe.

Omubuulizi 8:14-9:10

14 (A)Waliwo ekintu ekirala ekiraga obutaliimu ekiri ku nsi: abantu abatuukirivu batukibwako ebyo ebisaanira ababi, ate abatali batuukirivu ne batuukibwako ebyo ebigwanira abatuukirivu. Kino nakyo nkiyita butaliimu. 15 (B)Bwe ntyo nteesa nti omuntu yeyagalire mu bulamu: kubanga wansi w’enjuba tewali kisinga, wabula omuntu okulya n’okunywa n’okweyagala. Kale essanyu linaamuwerekeranga mu mirimu gye, ennaku zonna ez’obulamu bwe Katonda bw’amuwadde wansi w’enjuba.

16 (C)Bwe nanoonyereza amagezi ne neetegereza okutegana kw’omuntu ku nsi kuno, nga teyeebaka emisana n’ekiro. 17 (D)Ne ndaba ebyo byonna Katonda by’akoze, nga tewali n’omu ayinza kutegeera Katonda by’akola wansi w’enjuba, omuntu ne bw’agezaako ennyo okukinoonyereza tayinza kukivumbula. Newaakubadde omuntu omugezi yeefuula nti akimanyi, tayinza kukitegeera.

Ekkubo Bonna lye Bakwata

(E)Awo ne ndowooza ku ebyo, ne nzuula ng’omutuukirivu n’omugezi bye bakola biri mu mukono gwa Katonda; naye tewali muntu n’omu amanyi obanga kwagalibwa oba kukyayibwa bye bimulindiridde. (F)Omutuukirivu n’omwonoonyi, omulungi n’omubi, omuyonjo n’omujama, abo abawaayo ssaddaaka n’abo abatagiwaayo bonna gye bagenda y’emu.

Nga bwe kiri eri omuntu omulungi,
    era bwe kiri n’eri omwonoonyi;
Nga bwe kiri eri abo abalayira,
    era bwe kiri n’eri abo abatya okulayira.

(G)Bonna ekibalindiridde kimu; kano ke kabi akabeera wansi w’enjuba. Ate emitima gy’abantu mu bulamu buno giraluse gijjudde ebibi, bayaayaanira buli kimu; n’oluvannyuma ne bakka emagombe eri bannaabwe. Naye omuntu omulamu aba n’essuubi, wadde embwa ennamu esinga empologoma enfu!

(H)Kubanga buli kiramu kimanya nga kya kufa,
    naye abafu tebaliiko kye bamanyi:
tebakyagasa
    wadde okujjukirwa.
(I)Okwagala kwabwe, n’obukyayi bwabwe,
    n’obuggya bwabwe nga bizikiridde;
nga tebakyetaba mu ebyo byonna
    ebikolebwa wansi w’enjuba.

(J)Genda olye emmere yo ng’osanyuka, onywe ne wayini wo nga weeyagala; kubanga Katonda asiimye ky’okola. (K)Yambalanga engoye ennyonjo[a], era weesiigenga n’ebyakaloosa. (L)Ssanyukanga ne mukyala wo gw’oyagala ennaku zo zonna, mu bulamu buno obutaliimu, Katonda bw’akuwadde wansi w’enjuba, kubanga ekyo gwe mugabo gwo mu kutegana kwo kw’oteganamu wansi w’enjuba. 10 (M)Buli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole n’amaanyi go gonna; kubanga teri mulimu wadde okulowooza, oba okutegeera wadde amagezi emagombe gy’olaga.

Abaggalatiya 4:21-31

Agali ne Saala

21 Mumbulire, mmwe abaagala okufugibwa amateeka, lwaki temuwulira mateeka? 22 (A)Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yazaala abaana babiri aboobulenzi, omu yamuzaala mu mukazi omuddu, n’omulala n’amuzaala mu mukazi ow’eddembe. 23 (B)Omwana ow’omukazi omuddu yazaalibwa nga wa mubiri, naye omwana ow’omukazi ow’eddembe yazaalibwa lwa kusuubiza.

24 Ebyo biri nga bya lugero; kubanga ezo ndagaano bbiri. Emu yava ku Lusozi Sinaayi, ye yazaala abaana ab’obuddu, ye yava mu Agali. 25 Agali lwe Lusozi Sinaayi oluli mu Buwalabu, era afaananyirizibwa ne Yerusaalemi eya kaakano kubanga ye ne bazzukulu be bali mu buddu. 26 (C)Naye Yerusaalemi eky’omu ggulu ye mukazi ow’eddembe, era ye nnyaffe. 27 (D)Kubanga kyawandiikibwa nti,

“Sanyuka
    ggwe omugumba atazaala.
Leekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka
    newaakubadde nga tozaalanga ku mwana.
Kubanga ndikuwa abaana bangi,
    abaana abangi okusinga omukazi alina omusajja b’alina.”

28 Naye mmwe abooluganda muli baana abaasuubizibwa, nga Isaaka bwe yali. 29 (E)Naye mu biro biri ng’eyazaalibwa omubiri bwe yayigganya oyo eyazaalibwa Omwoyo, ne kaakano bwe kiri. 30 (F)Naye Ebyawandiikibwa bigamba bitya? Bigamba nti, “Goba omukazi omuddu n’omwana we, kubanga omwana w’omukazi omuddu talisikira wamu n’omwana w’omukazi ow’eddembe.” 31 Noolwekyo abooluganda tetuli baana ba mukazi omuddu naye tuli baana ab’omukazi ow’eddembe.

Matayo 15:29-39

Yesu Aliisa Enkumi Ennya

29 Yesu n’avaayo n’ajja emitala okumpi n’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alinnya ku lusozi n’atuula eyo. 30 (A)Abantu bangi ne bajja gy’ali, ne bamuleetera, abakoozimbye, n’abatayogera n’abalala bangi ne babassa we yali n’abawonya. 31 (B)Abantu bangi ne beewuunya, nga balaba ababadde batayogera nga boogera, n’ababadde bakoozimbye nga bawonye, n’ababadde abalema nga batambula, n’ababadde abazibe b’amaaso nga balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Isirayiri.

32 (C)Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti, “Abantu bano mbasaasira, kubanga baakamala nange ennaku ssatu ate tebalina kyakulya. Ssaagala kubasiibula ne bagenda enjala, si kulwa nga bagwa ku kkubo.”

33 Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Wano mu ddungu tunaggya wa emigaati emingi gye tunaaliisa abantu abangi bwe bati?”

34 Yesu n’ababuuza nti, “Mulinawo emigaati emeka?” Ne bamuddamu nti, “Tulinawo emigaati musanvu n’ebyennyanja bitono.”

35 Yesu n’alagira abantu bonna batuule wansi, 36 (D)n’addira emigaati omusanvu n’ebyennyanja, bwe yamala okwebaza, n’abimenyaamenyamu, n’awa abayigirizwa be ne batandika okugabula ekibiina. 37 (E)Buli muntu n’alya n’akkuta. Ne babukuŋŋaanya obutundutundu obwasigalawo ne bujjuza ebisero musanvu. 38 Abaalya baawera abasajja enkumi nnya nga totaddeeko bakazi na baana. 39 Awo Yesu n’asiibula ekibiina, n’asaabala mu lyato n’agenda mu nsalo y’e Magadani.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.