Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Mu ddoboozi ery’Amalanga. Zabbuli ya Dawudi.
69 (A)Ondokole, Ayi Katonda,
kubanga amazzi gandi mu bulago.
2 (B)Ntubira mu bitosi
nga sirina we nnywereza kigere.
Ntuuse ebuziba
n’amataba gansaanikira.
3 (C)Ndajanye ne nkoowa,
n’emimiro ginkaze.
Amaaso ganzizeeko ekifu gakooye
olw’okutunula enkaliriza nga nnindirira Katonda wange.
4 (D)Abo abankyayira obwereere
bangi okusinga enviiri ez’oku mutwe gwange;
abalabe bange bangi
abannoonya okunzita awatali nsonga;
ne mpalirizibwa mbaddizeewo
ekyo kye sibbanga.
5 (E)Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange,
n’okusobya kwange tekukukwekeddwa.
6 Sisaana kuswaza
abo abakwesiga,
Ayi Mukama, Mukama ow’Eggye.
Abo abakunoonya
baleme kuswazibwa ku lwange,
Ayi Katonda wa Isirayiri.
7 (F)Ngumiikirizza okuvumwa ku lulwo,
n’amaaso gange ne gajjula ensonyi.
8 (G)Nfuuse nga omugwira eri baganda bange,
munnaggwanga eri abaana ba mmange.
9 (H)Nzijudde obuggya olw’ennyumba yo,
n’abo abakuvuma bavuma nze.
10 (I)Bwe nkaaba ne nsiiba,
ekyo nakyo ne kinvumisa.
11 (J)Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.
12 (K)Abo abatuula ku mulyango gw’ekibuga banduulira,
era nfuuse luyimba lw’abatamiivu.
13 (L)Naye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe,
mu kiseera eky’ekisa kyo.
Olw’okwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda,
ondokole nga bwe wasuubiza.
14 (M)Onnyinyulule mu ttosi
nneme okutubira;
omponye abankyawa,
onzigye mu mazzi amangi;
15 (N)amataba galeme okumbuutikira
n’obuziba okunsanyaawo,
n’ennyanja ereme okummira.
16 (O)Onnyanukule, Ayi Mukama olw’obulungi bw’okwagala kwo;
onkyukire olw’okusaasira kwo okungi.
17 (P)Tokisa muddu wo maaso go; yanguwa okunziramu,
kubanga ndi mu kabi.
18 (Q)Onsemberere onziruukirire,
onnunule mu balabe bange.
19 (R)Omanyi bwe nsekererwa, ne bwe nswazibwa ne bwe siteekebwamu kitiibwa,
era n’abalabe bange bonna obamanyi.
20 (S)Okusekererwa kunkutudde omutima
era kummazeemu amaanyi.
Nanoonya okusaasirwa ne kumbula,
n’ow’okumpooyawooya naye nga simulaba.
21 (T)Mu kifo ky’emmere bampa mususa,
era bwe nalumwa ennyonta bampa nkaatu.
22 Emmere yaabwe gye bategese okulya ebafuukire ekyambika,
n’embaga zaabwe ez’ebiweebwayo zibafuukire omutego.
23 (U)Amaaso gaabwe gazibe baleme okulaba,
n’emigongo gyabwe gyewetenga ennaku zonna.
24 (V)Bayiweeko ekiruyi kyo,
obamalewo n’obusungu obw’amaanyi go obungi.
25 (W)Ebifo byabwe bifuuke bifulukwa,
waleme kubaawo n’omu abeera mu weema zaabwe.
26 (X)Kubanga bayigganya oyo gw’ofumise,
ne boogera ku bulumi bw’oyo gw’olumizza.
27 (Y)Bavunaane omusango kina gumu,
era tobaganya kugabana ku bulokozi bwo.
28 (Z)Bawanduukululwe mu kitabo ky’obulamu;
baleme kulabika ku lukalala lw’abatuukirivu.
29 (AA)Ndi mu bulumi era mu nnaku;
obulokozi bwo, Ayi Katonda, bunkuume.
30 (AB)Nnaatenderezanga erinnya lya Katonda nga nnyimba;
nnaamugulumizanga n’okwebaza.
31 (AC)Kino kinaasanyusanga Mukama okusinga okumuwa ente ennume,
oba okumuwa seddume n’amayembe gaayo, n’ebigere byayo.
32 (AD)Abaavu banaakirabanga ne basanyuka;
mmwe abanoonya Katonda omutima gwammwe ne gubeera omulamu.
33 (AE)Kubanga Mukama awulira abo abali mu kwetaaga,
era ababe ne bwe baba mu busibe, tabanyooma.
34 (AF)Kale eggulu n’ensi bimutenderezenga
awamu n’ennyanja zonna n’ebyo ebizirimu.
35 (AG)Kubanga Katonda alirokola Sayuuni,
n’ebibuga bya Yuda n’abizimba buggya,
abantu ne babibeerangamu nga byabwe.
36 (AH)Abaana b’abaweereza be balikisikira;
n’abo abaagala erinnya lya Mukama omwo mmwe banaabeeranga.
EKITABO III
Zabbuli 73–89
Zabbuli ya Asafu.
73 (A)Ddala Katonda mulungi eri Isirayiri
n’eri abo abalina omutima omulongoofu.
2 Naye nze amagulu gange gaali kumpi okutagala
era n’ebigere byange okuseerera.
3 (B)Kubanga nakwatirwa ab’amalala obuggya;
bwe nalaba ababi nga bagaggawala nnyo.
4 Kubanga tebalina kibaluma;
emibiri gyabwe miramu era minyirivu.
5 (C)Tebeeraliikirira kabi konna ng’abalala.
So tebalina kibabonyaabonya.
6 (D)Amalala kyegavudde gabafuukira ng’omukuufu ogw’omu bulago,
n’obukambwe ne bubafuukira ekyambalo.
7 (E)Bagezze n’amaaso gaabwe ne gazimbagatana;
balina bingi okusinga bye beetaaga.
8 (F)Baduula era emboozi zaabwe zijjudde eby’okujooga.
Batiisatiisa abalala n’okubeeragirako.
9 Emimwa gyabwe gyolekedde eggulu;
n’ennimi zaabwe zoogera eby’okwewaanawaana buli wantu.
10 Abantu ba Katonda kyebava babakyukira
ne banywa amazzi mangi.
11 Era ne beebuuza nti, “Katonda bino abimanyi atya?
Ali Waggulu Ennyo abitegeera?”
12 (G)Aboonoonyi bwe bafaanana bwe batyo;
bulijjo babeera mu ddembe, nga beeyongera kugaggawala.
13 (H)Ddala omutima gwange ngukuumidde bwereere obutayonoona,
n’engalo zange ne nzinaaba obutaba na musango.
14 Naye mbonaabona obudde okuziba,
era buli nkya mbonerezebwa.
15 Singa ŋŋamba nti njogere bwe nti,
nandibadde mukuusa eri omulembe guno ogw’abaana bo.
16 (I)Bwe nafumiitiriza ntegeere ensonga eyo;
nakisanga nga kizibu nnyo,
17 (J)okutuusa lwe nalaga mu watukuvu wa Katonda,
ne ntegeera enkomerero y’ababi.
18 (K)Ddala obatadde mu bifo ebiseerera;
obasudde n’obafaafaaganya.
19 (L)Nga bazikirizibwa mangu nga kutemya kikowe!
Entiisa n’ebamalirawo ddala!
20 (M)Bali ng’omuntu azuukuse n’ategeera nti yaloose buloosi;
era naawe bw’otyo, Ayi Mukama,
bw’oligolokoka olinyooma embeera yaabwe omutali nsa.
21 Omutima gwange bwe gwanyiikaala,
n’omwoyo gwange ne gujjula obubalagaze,
22 (N)n’aggwaamu okutegeera ne nfuuka ataliiko kye mmanyi,
ne mba ng’ensolo obusolo mu maaso go.
23 Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo;
gw’onkwata ku mukono gwange ogwa ddyo.
24 (O)Mu kuteesa kwo onkulembera,
era olintuusa mu kitiibwa.
25 (P)Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe?
Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe.
26 (Q)Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa;
naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange,
era ye wange ennaku zonna.
6 (A)Awo Yusufu n’afa; ne baganda be ne bonna ab’omulembe ogwo ne bafa. 7 (B)Naye Abayisirayiri ne bazaala nnyo, ne baala, ne bayitirira obungi, era ne baba ba maanyi nnyo; ne bajjula ekitundu ekyo mwe baali.
8 Awo ne waddawo kabaka omuggya mu Misiri ataamanya Yusufu. 9 (C)N’agamba abantu be nti, “Abayisirayiri batuyitiriddeko obungi era ba maanyi. 10 (D)Ka tubasalire amagezi baleme kweyongera bungi. Kubanga singa wagwawo olutalo ne beegatta n’abalabe baffe, ne batulwanyisa, balituddukako ne bava mu nsi eno.”
11 (E)Bwe batyo ne babateekako bannampala bababonyeebonye n’emirimu egy’obuwaze; ne bazimbira Falaawo ebibuga eby’amaterekero, Pisomu ne Lamusesi. 12 Naye gye baakoma okutuntuzibwa, ate gye baakoma okweyongera obungi, ne basaasaana wonna. Abamisiri ne bakyawa abaana ba Isirayiri ate nga bwe babatya. 13 (F)Ne bongera okutuntuza abaana ba Isirayiri n’obukambwe. 14 (G)Obulamu bw’Abayisirayiri ne bubakaayirira nga bakozesebwa ng’abaddu; nga batabula ebbumba okukola amatoffaali; n’emirimu egya buli ngeri egikolebwa mu nnimiro. Mu mirimu egyo gyonna baabakozesanga n’amaanyi era n’obukambwe.
Falaawo Awa Abazaalisa Ekiragiro
15 Awo kabaka w’e Misiri n’ayogera n’abazaalisa b’Abaebbulaniya, amannya gaabwe Sifira ne Puwa[a], n’abagamba nti, 16 “Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abaebbulaniya, ne mulaba ng’omwana wabulenzi, mumuttanga bussi, naye bw’abanga owoobuwala, mumulekanga n’alama.” 17 (H)Naye abazaalisa baali batya Katonda, nga bamussaamu ekitiibwa, ebyo kabaka w’e Misiri bye yabalagira ne batabikolerako, n’abaana abalenzi nabo ne babaleka ne balama. 18 Kabaka w’e Misiri n’ayita abazaalisa, n’ababuuza nti, “Kiki ekibakozesezza bwe mutyo, okuleka abaana abalenzi ne balama?”
19 (I)Abazaalisa, ne baddamu Falaawo nti, “Abakazi Abaebbulaniya tebali ng’abakazi Abamisiri; bo balamu bulungi era ba maanyi; abazaalisa we bagendera okubatuukako nga bamaze okuzaala.”
20 (J)Katonda, n’ayisanga bulungi abazaalisa n’abawa emikisa. Abaana ba Isirayiri ne beeyongera nnyo obungi era ne baba ba maanyi nnyo. 21 (K)Olwokubanga abazaalisa bassangamu Katonda ekitiibwa, nga bamutya, n’abawa ezzadde.
22 (L)Falaawo n’alyoka alagira abantu be bonna nti, “Buli mwana wabulenzi Abaebbulaniya gwe banaazaalanga mumusuulanga mu mugga Kiyira, naye owoobuwala mumulekanga.”
Omubiri guli gumu naye ebitundu byagwo bingi
12 (A)Kuba omubiri nga bwe guli ogumu, ne guba n’ebitundu bingi, ate ebitundu byonna ne byegatta ne biba omubiri gumu, kale, ne Kristo bw’ali bw’atyo. 13 (B)Bwe tutyo ffenna twabatizibwa mu Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, oba Bayudaaya, oba baamawanga, oba baddu, oba ba ddembe, era ne tunywa ku Mwoyo oyo omu.
14 Kubanga omubiri tegulina kitundu kimu, naye gulina ebitundu bingi. 15 Singa ekigere kigamba nti, “Nze siri mukono, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri. 16 Era singa okutu kugamba nti, “Siri liiso, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo kikiggyako okubeera ekitundu ky’omubiri? 17 Kale singa omubiri gwonna gwali liiso, olwo okuwulira kwandibadde wa? Era singa omubiri gwonna gwali kutu, olwo okuwunyiriza kwandibadde wa? 18 (C)Naye kaakano Katonda yakola ebitundu bingi eby’enjawulo n’alyoka abifuula omubiri gwaffe nga bwe yayagala. 19 Singa byonna byali ekitundu kimu olwo omubiri gwandibadde wa? 20 (D)Naye kaakano ebitundu bingi naye ng’omubiri guli gumu.
21 Eriiso terisobola kugamba mukono nti, “Ggwe sikwetaaga,” oba n’omutwe teguyinza kugamba bigere nti, “Mmwe sibeetaaga.” 22 Era ebitundu ebyo eby’omubiri ebirabika ng’ebisinga obunafu bye byetaagibwa ennyo. 23 Era n’ebitundu ebyo eby’omubiri bye tulowooza obutaba bya kitiibwa bye bisinga okwambazibwa, n’ebitundu ebitukwasa ensonyi bye tusinga okulabirira, 24 so ng’ebitundu byaffe ebisinga okwolekebwa mu bantu tebikyetaaga. Bw’atyo Katonda bwe yakola omubiri, ebitundu ebyandibadde biragajjalirwa n’abyongera ekitiibwa, 25 olwo omubiri ne guteeyawulamu naye ebitundu byonna, ne biyambagana byokka ne byokka. 26 Ekitundu ekimu bwe kirumwa, ebitundu ebirala byonna birumirwa. Era ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bijaguliza wamu nakyo.
Peetero Ayatula Kristo
27 Awo Yesu n’abayigirizwa be, ne bagenda mu bubuga obw’e Kayisaliya ekya Firipo. Naye bwe baali batambula, Yesu n’ababuuza nti, “Abantu bampita ani?”
28 (A)Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Yokaana Omubatiza, abalala Eriya, naye abalala nti omu ku bannabbi.”
29 (B)Kwe kubabuuza nti, “Naye mmwe mumpita ani?” Peetero n’addamu nti, “Ggwe Kristo.”
30 (C)Naye Yesu n’abakuutira baleme okukibuulirako omuntu yenna!
Yesu Alanga Okufa kwe n’Okuzuukira kwe
31 (D)Awo Yesu n’atandika okubabuulira nti, “Kigwanidde Omwana w’Omuntu okubonaabona ennyo, n’okugaanibwa abakadde, ne bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, n’okuttibwa, n’oluvannyuma lw’ennaku ssatu okuzuukira.” 32 (E)Yayogera nabo ku nsonga zino zonna mu lwatu, Peetero kyeyava amuzza wabbali n’atandika okumunenya.
33 (F)Yesu n’akyuka n’atunuulira abayigirizwa be, n’alyoka anenya Peetero nti, “Setaani dda ennyuma wange, kubanga tolowooza ku bya Katonda wabula olowooza ku by’abantu.”
34 (G)Awo Yesu n’ayita ekibiina wamu n’abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Obanga waliwo omuntu ayagala okungoberera, asaanidde okwefiiriza asitule omusaalaba gwe alyoke angoberere. 35 (H)Kubanga buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa. Naye oyo awaayo obulamu bwe ku lwange ne ku lw’Enjiri alibuwonya. 36 Kale omuntu agasibwa ki singa alya ensi yonna, naye n’afiirwa obulamu bwe? 37 Omuntu ayinza kuweebwa ki, akiwanyise olw’obulamu bwe? 38 (I)Era buli muntu yenna ankwatirwa ensonyi, n’ebigambo byange ne bimukwasa ensonyi mu mulembe guno ogutali mwesigwa era ogujjudde ebibi, Omwana w’Omuntu alimukwatirwa ensonyi bw’alijja mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.”
Okufuusibwa kwa Yesu
9 (J)Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Abamu ku bantu abali wano tebalifa okuggyako nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda nga bujja n’amaanyi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.