Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 138:1-139:23

Zabbuli Ya Dawudi.

138 (A)Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;
    ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
(B)Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,
    ne ntendereza erinnya lyo
    olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;
kubanga wagulumiza ekigambo kyo
    n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;
    n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.

(C)Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,
    nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;
    kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.

(D)Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,
    naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
(E)Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,
    naye ggwe okuuma obulamu bwange;
ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,
    era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
(F)Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;
    kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.
    Tolekulira ebyo bye watonda.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

139 (G)Ayi Mukama, okebedde omutima gwange,
    n’otegeera byonna ebiri munda yange.
(H)Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;
    era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
(I)Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange.
    Omanyi amakubo gange gonna.
(J)Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,
    okimanya nga sinnaba na kukyogera.
(K)Ondi mu maaso n’emabega,
    era ontaddeko omukono gwo.
(L)Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde,
    era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.

(M)Nnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali?
    Oba nnaagenda wa ggwe gy’otoli?
(N)Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli;
    bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli.
Bwe nneebagala empewo ez’oku makya ne zintwala
    ne mbeera mu bitundu by’ennyanja ebisinga okuba ewala;
10 (O)era n’eyo omukono gwo gunannuŋŋamya,
    omukono gwo ogwa ddyo gunannywezanga.
11 Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire,
    n’obudde obw’emisana bwe ndimu bufuuke ekiro.”
12 (P)Naye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza,
    ekiro kyakaayakana ng’emisana;
    kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.

13 (Q)Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
    ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
14 (R)Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
    emirimu gyo gya kyewuunyo;
    era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
15 (S)Wammanya nga ntondebwa,
    bwe nakolerwa mu kyama;
bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
16     Wandaba nga si natondebwa.
Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera
    zawandiikibwa mu kitabo kyo.
17 (T)By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda!
    Omuwendo gwabyo munene!
18 Singa ngezaako okubibala
    bisinga omusenyu obungi.
Ne bwe ngolokoka mu makya
    oba okyandowoozaako.

19 (U)Abakola ebibi batte, Ayi Katonda;
    abasajja abassi b’abantu banveeko.
20 (V)Abantu abo bakwogerako bibi;
    bakwegulumiririzaako mu butategeera bwabwe.
21 (W)Abakukyawa, Ayi Mukama, nange mbakyawa;
    abo abakwegulumiririzaako bansunguwaza.
22 Mbakyayira ddala nnyo,
    era mbayita balabe bange.
23 (X)Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange.
    Ngezesa omanye ebirowoozo byange.

Zabbuli 147

147 (A)Mutendereze Mukama!

Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe;
    kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.

(B)Mukama azimba Yerusaalemi;
    era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse.
Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese,
    era ajjanjaba ebiwundu byabwe.
(C)Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye;
    era buli emu n’agituuma erinnya.
(D)Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka,
    n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.
(E)Mukama awanirira abawombeefu,
    naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.

(F)Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza;
    mumukubire entongooli ezivuga obulungi.

(G)Mukama abikka eggulu n’ebire,
    ensi agitonnyeseza enkuba,
    n’ameza omuddo ne gukula ku nsozi.
(H)Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.

10 (I)Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi,
    wadde mu magulu g’omuntu,
11 wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa,
    era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.

12 Tendereza Mukama ggwe Yerusaalemi,
    tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni,
13 kubanga ebisiba enzigi zo, ye abinyweza,
    n’abantu bo abasulamu n’abawa omukisa.
14 (J)Aleeta emirembe ku nsalo zo;
    n’akukkusa eŋŋaano esinga obulungi.

15 (K)Aweereza ekiragiro kye ku nsi;
    ekigambo kye ne kibuna mangu.
16 (L)Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ng’ebyoya by’endiga enjeru,
    n’omusulo ogukutte n’agusaasaanya ng’evvu.
17 Omuzira agukanyuga ng’obuyinjayinja;
    bw’aleeta obutiti ani ayinza okubusobola?
18 (M)Mukama aweereza ekigambo kye, omuzira ne gusaanuuka;
    n’akunsa empewo, amazzi ne gakulukuta.
19 (N)Yategeeza Yakobo ekigambo kye;
    Isirayiri n’amanya amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye.
20 (O)Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo;
    amawanga amalala tegamanyi mateeka ge.

Mutendereze Mukama!

Yeremiya 23:1-8

Ettabi Ettukuvu

23 (A)“Zibasanze abasumba abazikiriza era abasaasaanya endiga z’ekisibo kyange!” bw’ayogera Mukama. (B)Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ebikwata ku basumba abalabirira abantu bange nti, “Kubanga musaasaanyizza abantu bange ne mubagoba ne mutabalabirira, nzija kubaleetako ebibonerezo olw’ebibi bye mukoze,” bw’ayogera Mukama. (C)“Nze kennyini nzija kukuŋŋaanya abaasigalawo ku kisibo kyange okuva mu mawanga gonna gye nabagobera, mbakomyewo mu kisibo kyabwe, gye banaabalira ebibala beeyongere obungi. (D)Ndibawa abasumba abanaabalabirira, era tebaliddayo kutya oba kuggwaamu maanyi, era tewaabe n’omu abula,” bw’ayogera Mukama.

(E)“Ennaku zijja,
    lwe ndiyimusiza Dawudi Ettabi ettukuvu,
Kabaka alikulembera n’amagezi
    akole ebituufu eby’obwenkanya mu nsi,” bwayogera Mukama.
(F)Mu mirembe gye, Yuda alirokolebwa
    ne Isirayiri alibeera mu mirembe.
Lino lye linnya lye balimuyita:
    Mukama OBUTUUKIRIVU BWAFFE.

(G)“Noolwekyo ennaku zijja, abantu lwe batalyogera nate nti, ‘Ddala nga Mukama bwali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu Misiri,’ bwayogera Mukama, (H)naye bagambe nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu, eyaggya abaana ba Isirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Olwo balibeera mu nsi yaabwe ku bwabwe,” bw’ayogera Mukama.

Abakkolosaayi 2:8-23

(A)Mwekuumenga walemenga kubaawo n’omu ku mmwe abuzibwabuzibwa mu bufirosoofo ne mu by’obulimba ebitaliimu, okugobereranga obulombolombo obw’abantu n’ebiyigirizibwa abantu. Munywererenga ku biyigirizibwa ku Kristo. Kubanga mu Kristo okutuukiriza kwonna okw’Obwakabaka mwe kulabikira mu mubiri, 10 (B)era mmwe nga muli mu ye, mwatuukirira mu ye, oyo Kristo omutwe gw’obufuzi bwonna n’obuyinza bwonna. 11 (C)Mu ye mwakomolebwa, bwe mwaggibwako okwegomba kw’omubiri, naye si okukomolebwa okw’engalo z’abantu, wabula mu kukomolebwa okwa Kristo. 12 (D)Bwe mwabatizibwa, mwaziikibwa wamu naye, ate ne muzuukizibwa wamu naye olw’okukkiriza kwammwe mu maanyi ga Katonda eyamuzuukiza mu bafu.

13 (E)Mwali mufudde olw’ebyonoono byammwe ne mu butakomolebwa bwammwe obw’okwegomba kw’omubiri. Katonda n’abafuula balamu wamu ne Kristo, ffenna bwe yatusonyiwa ebyonoono byaffe byonna. 14 (F)Bwe yasazaamu era n’aggyawo ebiragiro ebyawandiikibwa mu mateeka ebyatwolekeranga, n’abikomerera ku musaalaba, 15 (G)n’aggya ebyokulwanyisa ebyo ku bafuzi n’ab’obuyinza ab’omu bbanga, n’abaswaza mu lwatu, n’abawangulira ddala.

16 (H)Noolwekyo waleme kubaawo muntu n’omu abasalira musango ku bye mulya ne bye munywa, oba okubasalira omusango olw’embaga z’Ekiyudaaya oba ez’omwezi ogubonese wadde olwa Ssabbiiti. 17 (I)Kubanga ebyo kisiikirize eky’ebyo ebyali bigenda okujja, naye ekirimu ensa ye Kristo. 18 (J)Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’abanyagako ekirabo kye mwaweebwa, nga yeesigama ku kwewombeeka okw’obulimba n’okuwa bamalayika ekitiibwa ekingi, ng’anywerera mu bintu bye yalaba, nga yeenyumiririza mu butaliimu obw’amagezi ag’omubiri gwe. 19 (K)Ab’engeri eyo baba tebakyali mu Kristo, omutwe gw’omubiri gwonna. Omubiri ogwo gugattibwa mu nnyingo ne mu binywa era ne gugattibwa wamu nga gukula, Katonda nga y’agukuza.

20 (L)Obanga mwafiira wamu ne Kristo ne musumululwa okuva mu magezi ag’ebintu ebyangu eby’ensi, lwaki mufugibwa ebiragiro ng’ab’omu nsi? 21 Bino bye bimu ku biragiro ab’omu nsi bye bawa: Tolya kino, tokwata ku kiri oba nti tokomba ku kino. 22 (M)Ebyo byonna ku nkomerero biriggwaawo kubanga biriba tebikyalina mugaso. 23 Birabika ng’eby’amagezi mu ngeri ey’okusinza, abantu gye beegunjirawo bokka mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri, songa tebiriiko kye bigasa n’akatono mu kufuga okwegomba kw’omubiri.

Yokaana 10:7-17

Awo Yesu kyeyava ayongera n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nze mulyango gw’endiga. (A)Abalala bonna abansooka baali babbi era banyazi, n’endiga tezaabawuliriza. Nze mulyango; buli ayingirira mu Nze alirokoka. Aliyingira, n’afuluma n’aliisibwa mu ddundiro. 10 Omubbi ky’ajjirira kwe kubba n’okutta n’okuzikiriza. Nze najja, zibe n’obulamu, era zibe nabwo mu bujjuvu.

11 (B)“Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw’endiga. 12 (C)Omupakasi, atali musumba, endiga nga si zize, bw’alaba omusege nga gujja adduka n’aleka awo endiga, omusege ne guzirumba ne guzisaasaanya. 13 Akola atyo kubanga mupakasi, so n’endiga tazifaako.

14 (D)“Nze ndi musumba mulungi, n’endiga zange nzimanyi era nazo zimmanyi. 15 (E)Nga Kitange bw’ammanyi, era nga nange bwe mmumanyi, bwe ntyo bwe mpaayo obulamu bwange olw’endiga. 16 (F)Nnina n’endiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba n’omusumba omu. 17 (G)Kitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.