Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:1-24

א Alefu

119 (A)Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu;
    abatambulira mu mateeka ga Mukama.
(B)Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,
    era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
(C)Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.
Ggwe wateekawo ebiragiro byo;
    n’olagira bigonderwenga n’obwegendereza bungi.
Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo;
    nga nkuuma bye walagira.
Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga
    ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.
Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu,
    nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.
Nnaakwatanga amateeka go;
    Ayi Mukama, tonsuulira ddala.

ב Bessi

(D)Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?
    Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.
10 (E)Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
    tonzikiriza kuva ku mateeka go.
11 (F)Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange;
    ndyoke nneme okwonoona.
12 (G)Ogulumizibwe, Ayi Mukama;
    onjigirize amateeka go.
13 (H)Njatula n’akamwa kange
    amateeka go gonna ge walagira.
14 Nsanyukira okugondera ebiragiro byo,
    ng’asanyukira eby’obugagga.
15 (I)Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo,
    ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.
16 (J)Nnaasanyukiranga amateeka go,
    era siigeerabirenga.

ג Gimero

17 (K)Omuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu,
    ngobererenga ekigambo kyo.
18 Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba
    eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.
19 (L)Nze ndi muyise ku nsi;
    tonkisa bye walagira.
20 (M)Bulijjo emmeeme yange
    eyaayaanira amateeka go.
21 (N)Onenya ab’amalala, abaakolimirwa,
    abaleka amateeka go.
22 (O)Mponya okuduula kwabwe n’okunyooma kwabwe;
    kubanga bye walagira mbigondera.
23 Newaakubadde ng’abalangira bansalira enkwe;
    naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
24 Amateeka go lye ssanyu lyange,
    era ge gannuŋŋamya.

Zabbuli 12-14

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

12 (A)Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;
    abantu abeesigwa bonna baweddewo.
(B)Buli muntu alimba munne;
    akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.

(C)Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,
    na buli lulimi olwenyumiriza;
nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,
    kubanga ani alitukuba ku mukono.”

(D)Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu,
    n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu,
nnaasituka kaakano
    ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
(E)Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima.
    Bigeraageranyizibwa n’effeeza
    erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.

(F)Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga,
    n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.
(G)Ababi beeyisaayisa
    nga bagulumiza ebitaliimu nsa.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

13 (H)Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna?
    Olikomya ddi okunkweka amaaso go?
(I)Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi,
    n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi?
    Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?

(J)Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange;
    onzizeemu amaanyi nneme okufa.
(K)Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;”
    abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.

(L)Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka;
    era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.
(M)Nnaayimbiranga Mukama,
    kubanga ankoledde ebirungi.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

14 (N)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
    “Tewali Katonda.”
Aboogera bwe batyo boonoonefu,
    bakola ebitasaana tekuli n’omu ku bo akola kirungi.

(O)Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi
    ng’asinziira mu ggulu,
okulaba obanga mulimu mu bo ategeera,
    era abanoonya Katonda.
(P)Naye bonna bakyamye
    boonoonese;
teri akola kirungi,
    era teri n’omu.

(Q)Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga?
    Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere;
    so tebakoowoola Mukama.
Balitya nnyo!
    Kubanga Katonda abeera wamu n’abatuukirivu.
(R)Mulemesa entegeka z’omwavu,
    songa Mukama kye kiddukiro kye.

(S)Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni!
    Mukama bw’alirokola abantu be,
    Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.

Ekyamateeka Olwokubiri 4:25-31

Ekibonerezo olw’Okusinza Bakatonda Abalala

25 (A)“Bw’olimala okuzaala abaana ng’ofunye n’abazzukulu, era nga mu nsi omwo mumazeemu emyaka mingi nga mukaddiye; ne mugenda mweyonoonanga nga mwekolera bakatonda abalala ab’engeri zonna, ne mukolanga ebibi mu maaso ga Mukama Katonda wo ne mumusunguwazanga, 26 (B)nkoowoola eggulu n’ensi okubeera abajulirwa bange ku lunaku lwa leero nga mbakuutira mmwe nti, Bwe muneeyonoonanga bwe mutyo, muliggweerawo ddala mu nsi eyo gye mugenda okwefunira okuba obutaka bwammwe, nga mumaze okusomoka Yoludaani. Muligibeeramu akabanga katono ne muzikirizibwa mwenna. 27 (C)Mukama anaabasaasaanyanga mu mawanga amalala, era erisigalayo batono mu mmwe abalibeera mu nsi ezo Mukama Katonda gy’anaabanga abasindiikirizza. 28 (D)Nga muli eyo munaasinzanga bakatonda abakolebwa n’emikono gy’abantu, mu miti ne mu mayinja, abatayinza kulaba, oba okuwulira oba okulya, wadde okuwunyiriza. 29 (E)Naye ng’oli eyo, bw’onoonoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga, singa onoomunoonyanga n’omutima gwo gwonna awamu n’omwoyo gwo gwonna. 30 (F)Ebintu ebyo byonna bwe binaakutuukangako n’olaba ennaku nnyingi, olwo onookomangawo eri Mukama Katonda wo mu biseera eby’oluvannyuma, n’omugonderanga. 31 (G)Kubanga Mukama Katonda wo ajjudde okusaasira, taakusuulirirenga wadde okukuzikiriza, oba okwerabira endagaano ye gye yakola ne bajjajjaabo gye yabalayiririra.

2 Abakkolinso 11:21-33

21 (A)Ekyo kinswaza okukyogera kubanga tubadde banafu mu ekyo. Naye omuntu yenna kye yeewaayo okukola, nga njogera mu busirusiru, nange neewaayo okukikola. 22 (B)Bo Baebbulaniya? Nange bwe ndi. Bagamba nti Bayisirayiri? Nange bwe ntyo. Bazzukulu ba Ibulayimu? Nange bwe ndi. 23 (C)Bagamba nti baweereza ba Kristo? Nga njogera ng’agudde eddalu, nze mbasinga; Mbasinga okukola ennyo, era nsibiddwa mu kkomera emirundi mingi okubasinga, n’emirundi gye nkubiddwa mingi okusingawo, era emirundi mingi ne mba kumpi n’okufa. 24 Abayudaaya bankuba embooko amakumi asatu mu mwenda ku mirundi egy’enjawulo etaano. 25 (D)Nakubwa emiggo emirundi esatu. Omulundi gumu nakubwa amayinja. Emirundi esatu ekyombo kye nalingamu kyamenyeka. Olulala ne nsula era ne nsiiba mu buziba. 26 (E)Ntambudde nnyo, era emirundi mingi ne mpona akabi k’omujjuzo gw’emigga, ne mpona n’akabi ak’abanyazi, n’empona ab’eggwanga lyange, era n’Abamawanga abalala. Nayolekera obubenje obw’omu kibuga, ne mpona n’okufiira mu ddungu ne mu muyaga ogw’oku nnyanja, ne mpona n’akabi ak’abantu abeeyita abooluganda; 27 (F)mu kukola ennyo ne mu kufuba nga seebaka, mu kulumwa enjala ne mu kufuuyibwa empewo ne mu kubeera obwereere. 28 Ebirala bye simenye nga nabyo bikyali awo, neeraliikirira buli lunaku nga ndowooza ku Kkanisa zonna nga bwe ziri. 29 Bwe wabaawo anafuye, nange nzigwamu amaanyi, omulala bw’agwa mu kibi, nange njaka munda yange.

30 (G)Naye obanga kiŋŋwanidde okwenyumiriza, ka neenyumirize olw’ebyo ebiraga obunafu bwange! 31 (H)Katonda, era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu, atenderezebwa emirembe n’emirembe, amanyi nga ssirimba. 32 (I)Bwe nnali mu Damasiko, Kabaka Aleta yalagira gavana alagire abakuumi b’ekibuga, nkwatibwe, 33 (J)naye ne mpisibwa mu ddirisa, eryali mu kisenge kya bbugwe w’ekibuga, nga ndi mu kisero kye baaleebeesa ku miguwa okuntuusa ebweru wansi, bwe ntyo abo ne mbawona.

Matayo 6:24-34

24 (A)“Tewali n’omu ayinza kuweereza bakulu babiri, kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.[a]

Temweraliikiriranga

25 (B)“Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe, bye munaalya oba bye munaanywa, wadde ebyokwambala. Kubanga obulamu businga ebyokulya, n’omubiri gusinga ebyambalo. 26 (C)Mulabire ku nnyonyi ez’omu bbanga! Tezisiga so tezikungula so tezikuŋŋaanyiza mmere mu tterekero, naye Kitammwe ali mu ggulu aziriisa. Naye mmwe temusinga nnyo ennyonyi ezo? 27 (D)Ani ku mmwe, bwe yeeraliikirira, ayinza okwongerayo obulamu bwe akatundu n’akamu?”

28 “Naye lwaki mweraliikirira ebyokwambala? Mulabire ku malanga ag’oku ttale! Tegaliiko kye geekolera, 29 (E)naye ne Kabaka Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyagenkana mu kwambala. 30 (F)Naye obanga Katonda ayambaza obulungi bw’atyo omuddo ogw’omu nsiko ogw’ekiseera obuseera, ogubaawo leero ate enkeera ne gwokebwa mu kyoto, talisingawo nnyo okubambaza? Nga mulina okukkiriza okutono! 31 Noolwekyo temweraliikiririranga nga mugamba nti, ‘Tunaalya ki? Oba nti, Tunaanywa ki? Oba nti, Tunaayambala ki?’ 32 (G)Ebyo byonna bannamawanga bye bayaayaanira. Naye Kitammwe ali mu ggulu amanyi ng’ebyo byonna mubyetaaga. 33 (H)Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe, ebyo byonna mulibyongerwako. 34 Noolwekyo temweraliikiriranga bya nkya. Kubanga olunaku olw’enkya lulyeraliikirira ebyalwo. Buli lunaku lulina emitawaana gyalwo egimala.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.