Add parallel Print Page Options

17 Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza;
    kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.

Read full chapter

(A)Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange,
    ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka;
    ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.

Read full chapter

46 (A)Mukama mulamu! Atenderezebwe, Olwazi lwange;
    era agulumizibwe Katonda w’obulokozi bwange.

Read full chapter

(A)Laba Katonda bwe bulokozi bwange;
    nzija kumwesiga era siritya;
kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
    era afuuse obulokozi bwange.”

Read full chapter

18 (A)kyokka ndijaguliza Mukama,
    ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange.

Read full chapter

21 (A)olwo Mukama n’aba Katonda wange.

Read full chapter

(A)Ne yeeyongera n’amugamba nti, “Nze Katonda wa kitaawo, era nze Katonda wa Ibulayimu, nze Katonda wa Isaaka, era nze Katonda wa Yakobo.”

Musa bwe yawulira ebyo n’akweka amaaso ge, kubanga yatya okutunuulira Katonda.

Read full chapter

15 (A)Katonda n’ayongera n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mukama, Katonda wa bajjajjammwe: Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era nga ye Katonda wa Yakobo, y’antumye gye muli.’

“Eryo lye linnya lyange ery’olubeerera,
    era lye linnya lye nnajjuukirirwangako
    mu buli mulembe ogunaddiriranga gunnaagwo.

16 (B)“Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isirayiri, obategeeze nti, ‘Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikira, n’aŋŋamba nti, Ntunuulidde abantu bange, ne ndaba ebibakolebwa mu Misiri.

Read full chapter

25 (A)Ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wange;
    ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo,
kubanga okoze ebintu eby’ettendo,
    ebintu bye wateekateeka edda,
    mu bwesigwa bwo.

Read full chapter