Add parallel Print Page Options

Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

48 (A)Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo
    mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.

Read full chapter

(A)Ebyo bye twawuliranga obuwulizi,
    kaakano tubirabye
mu kibuga kya Mukama ow’Eggye,
    mu kibuga kya Katonda waffe,
    kyalinywereza ddala emirembe gyonna.

Read full chapter

14 (A)Batabani baabo abaakunyigirizanga balijja okukuvuunamira;
    era bonna abaakusekereranga balivuunamira ku bigere byo.
Balikuyita kibuga kya Katonda,
    Sayuuni ey’Omutukuvu wa Katonda.

Read full chapter