Zabbuli 100:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Mumanye nga Mukama ye Katonda;
ye yatutonda, tuli babe,
tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye.
Olubereberye 9:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)“Buli anaayiwanga omusaayi gw’omuntu,
n’ogugwe gunaayiibwanga,
kubanga mu kifaananyi kya Katonda,
Katonda mwe yakolera omuntu.
Yakobo 3:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Olulimi tulukozesa okutendereza Mukama era Kitaffe, ate era lwe tukolimiza abantu abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda.
Read full chapter
Zabbuli 8:6-8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo:
byonna wabissa wansi w’ebigere bye,
7 ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,
8 n’ennyonyi ez’omu bbanga,
n’ebyennyanja eby’omu nnyanja;
era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.