Add parallel Print Page Options

20 (A)“Ndibagobako eggye ery’omu bukiikakkono
    ne ndigobera mu ddungu ery’ewala ennyo.
Ekibinja ekikulembeddemu ndikigobera mu nnyanja ey’Ebuvanjuba,
    n’ekibinja eky’emabega ndikigobera mu nnyanja ey’Ebugwanjuba.
Ekivundu n’okuwunya birituuka wala
    okusinga ebyo byonna bye libakoze.”

Read full chapter

10 (A)“Nabasindikira kawumpuli
    nga gwe nasindika mu Misiri.
Abavubuka bammwe ne mbattira mu lutalo n’ekitala
    awamu n’embalaasi zammwe ze mwawamba.
Okuwunya kw’olusisira lwammwe ne kuyitirira nnyo
    naye era ne mugaana okudda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

(A)Embogo zirifiira wamu nazo,
    n’obute obulume, ne ziseddume zirifiira wamu nazo.
Ensi yaabwe erijjula omusaayi,
    n’enfuufu erinnyikira amasavu.

Read full chapter

19 (A)“Oba singa ndeeta kawumpuli mu nsi eyo, ne mbafukako ekiruyi kyange, ne njiwa omusaayi mu nsi eyo, ne nzita abantu baamu n’ensolo zaabwe,

Read full chapter

(A)nga bwe ndi omulamu, kyendiva mbawaayo muttiŋŋane era okuttiŋŋana kulibalondoola, bw’ayogera Mukama Katonda. Kubanga temwakyawa kuyiwa musaayi, okuyiwa omusaayi kyekuliva kubalondoola.

Read full chapter

22 (A)Ndibabonereza ne kawumpuli n’okuyiwa omusaayi, era nditonnyesa amatondo ag’enkuba amanene nga mulimu omuzira n’omuliro ku ye, n’eggye lye ne ku mawanga amangi agaamwegattako.

Read full chapter